Engeri Entalo Gye Zitukosaamu Ffenna
“Okuva mu Ssematalo ow’Okubiri, ekiseera kyaffe kye kikyasinzeeyo okubaamu entalo ennyingi. Abantu obuwumbi 2, kwe kugamba, omuntu omu ku buli bantu bana abali mu nsi, bali mu bitundu ebikoseddwa entalo.”
Omukungu omu ow’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte Amina. Mohammed, Jjanwali 26, 2023.
Olutalo lusobola okubalukawo essaawa yonna mu kitundu ekirimu emirembe. N’abantu abali mu bitundu ebitaliimu ntalo basobla okukosebwa olutalo. Ate era n’oluvannyuma lw’olutalo okuggwa, ebizibu ebiba bizzeewo olw’olutalo bikosa abantu okumala ebbanga ddene. Lowooza ku byokulabirako bino:
Ebbula ly’emmere. Ekitongole ky’ensi yonna ekikola ku by’emmere kyagamba nti: “Entalo ze zikyasinzeeyo okuleetawo enjala. Abantu nsanvu ku buli kikumi abatalina mmere emala babeera mu bitundu ebirimu entalo n’obutabanguko.”
Okutuusibwako ebisago n’okukosebwa mu birowoozo. Abantu bwe bamanya nti wayinza okubalukawo olutalo mu kitundu kyabwe, batya nnyo era ne beeraliikirira. Abantu abali mu bitundu awali olutalo basobola okutuusibwako ebisago ekiseera kyonna. Ate era basobola okufuna obulwadde obukosa ebirowoozo, kyokka ng’ebiseera ebisinga kiba kizibu okufuna obujjanjabi.
Abantu okudduka okuva mu maka gaabwe. Ekitongole ky’Ensi Yonna Ekikola ku Nsonga z’Abanoonyi b’Obubudamu kyagamba nti, omwezi gwa Ssebutemba 2023 we gwatuukira, abantu abasukka mu bukadde 114 okwetooloola ensi baali bawaliriziddwa okuva mu maka gaabwe, okusingira ddala olw’entalo.
Eby’enfuna okukaluba. Emirundi egisinga olutalo luleetera eby’enfuna okukaluba. Ng’ekyokulabirako, emiwendo gy’ebintu gyeyongera okulinnya. Abantu era bayinza okubonaabona, gavumenti bw’eteeka ssente mu ntalo mu kifo ky’okuzissa mu by’obujjanjabi n’eby’enjigiriza. Ate era oluvannyuma lw’olutalo, kiba kyetaagisa ssente nnyingi okuddamu okuzimba n’okuddaabiriza ebintu ebiba byonooneddwa.
Obutonde okwonooneka. Obutonde bwe bwonoonebwa, abantu babonaabona. Amazzi, empewo, n’ettaka bwe byonoonebwa bisobola okulwaza abantu okumala ebbanga ddene. Ate era abantu basobola okutuusibwako ebisago oba okufa olwa bbomu eziba zaategebwa mu kiseera ky’olutalo.
Mazima ddala olutalo lubi nnyo.