EKITUNDU EKY’OKUSOMA 10
OLUYIMBA 31 Tambulanga ne Katonda!
Yiga Okulowooza nga Yakuwa ne Yesu Bwe Balowooza
“Okuva Kristo bwe yabonaabona mu mubiri, nammwe mubeere n’endowooza ng’eyiye.”—1 PEET. 4:1.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba engeri Peetero gye yayiga okulowooza nga Yesu bw’alowooza era n’engeri naffe gye tuyinza okukola kye kimu.
1-2. Okwagala Yakuwa kizingiramu ki, era Yesu yakiraga atya nti ayagala nnyo Yakuwa?
“OYAGALANGA Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amaanyi go gonna, n’amagezi go gonna.” (Luk. 10:27) Yesu yagamba nti eryo ly’etteeka erisinga obukulu mu Mateeka ga Musa. Weetegereze nti okwagala Yakuwa kuzingiramu omutima gwaffe, kwe kugamba, ebyo bye twagala awamu n’enneewulira zaffe. Ate era kuzingiramu okumwagala n’obulamu bwaffe bwonna n’amaanyi gaffe gonna. Kyokka era kuzingiramu okumwagala n’amagezi gaffe gonna, kwe kugamba endowooza gye tuba nayo ku bintu ebitali bimu. Tulina okufuba okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa. Kya lwatu, tetusobola kutegeerera ddala mu bujjuvu ndowooza ye. Naye bwe twekenneenya “endowooza ya Kristo” kisobola okutuyamba okutegeera endowooza ya Yakuwa, kubanga Yesu yakoppera ddala endowooza ya Kitaawe.—1 Kol. 2:16.
2 Yesu yali ayagala Yakuwa n’amagezi ge gonna. Yali amanyi bulungi Kitaawe ky’ayagala akole, era yali mumalirivu okukikola wadde ng’ekyo kyandimuviiriddeko okubonaabona. Olw’okuba Yesu yali yeemalidde ku kukola Kitaawe by’ayagala, teyakkiriza kintu kyonna kumuwugula.
3. Kiki Peetero kye yayigira ku Yesu, era kiki kye yakubiriza bakkiriza banne okukola? (1 Peetero 4:1)
3 Peetero n’abatume abalala baafuna enkizo okubeerako awamu ne Yesu era ekyo kyabayamba okumanya endowooza ye. Mu bbaluwa esooka Peetero gye yawandiika, yakubiriza Abakristaayo okuba n’endowooza ng’eya Kristo. (Soma 1 Peetero 4:1.) Ekigambo “mubeere n’endowooza” Peetero kye yakozesa wano, mu Luyonaani kyakozesebwanga nga boogera ku musirikale akutte ebyokulwanyisa nga yeeteekeddeteekedde olutalo. N’olwekyo, Abakristaayo bwe bakoppa endowooza ya Kristo, baba n’eky’okulwanyisa eky’amaanyi kye basobola okukozesa okulwanyisa okwegomba okubi n’ebikemo ebiri mu nsi efugibwa Sitaani.—2 Kol. 10:3-5; Bef. 6:12.
4. Ekitundu kino kinaatuyamba kitya okukolera ku kubuulirira kwa Peetero?
4 Mu kitundu kino tugenda kwekenneenya ebikwata ku ngeri Yesu gye yali alowoozaamu era tulabe n’engeri gye tuyinza okumukoppa. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza (1) okukoppa endowooza ya Yakuwa, kituyambe ffenna okuba obumu mu ndowooza, (2) okuba abeetoowaze, (3) n’okuba n’endowooza ennuŋŋamu nga tusaba Yakuwa okutuyamba.
KOPPA ENDOWOOZA YA YAKUWA
5. Lumu Peetero yakyoleka atya nti teyalina ndowooza ng’eya Yakuwa?
5 Waliwo omulundi Peetero lw’ataayoleka ndowooza ng’eya Yakuwa. Yesu yali agambye abatume be nti yali ajja kugenda e Yerusaalemi, aweebweyo mu mikono gy’Abakulembeze be ddiini, abonyaabonyezebwe, era oluvannyuma attibwe. (Mat. 16:21) Okuva bwe kiri nti Peetero yali akimanyi nti Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa eyandirokodde abantu ba Katonda, kiyinza okuba nga kyamubeerera kizibu okukkiriza nti Yakuwa yandirese Yesu okuttibwa. (Mat. 16:16) Bwe kityo Peetero yazza Yesu ebbali n’amugamba nti: “Weesaasire Mukama wange; kino tekirikutuukako n’akatono.” (Mat. 16:22) Olw’okuba Peetero teyalina ndowooza ya Yakuwa ku nsonga eyo, endowooza ye yali tekwatagana na ya Yesu.
6. Yesu yakiraga atya nti yalina endowooza y’emu n’eya Yakuwa?
6 Olw’okuba Yesu yalina endowooza y’emu n’eya Kitaawe ow’omu ggulu, yagamba Peetero nti: “Dda ennyuma wange Sitaani! Oli nkonge gye ndi, kubanga endowooza yo si ya Katonda wabula ya bantu.” (Mat. 16:23) Yesu yali akimanyi nti okusobola okutuukiriza Kitaawe by’ayagala, yalina okubonaabona n’oluvannyuma attibwe. N’olwekyo wadde nga Peetero teyalina kigendererwa kikyamu, Yesu yagaana okukolera ku magezi ge yamuwa. Ekyo ekyaliwo kyayamba Peetero okuyiga nti kikulu okuba n’endowooza Yakuwa gy’alina ku bintu. Naffe leero tusaanidde okuyiga okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa.
7. Peetero yakiraga atya nti yali ayagala okubeera n’endowooza ng’eya Yakuwa? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)
7 Oluvannyuma Peetero yakiraga nti yali ayagala okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa. Ekiseera kyali kituuse ab’Amawanga okufuuka abaweereza ba Katonda. Katonda yatuma Peetero okubuulira Koluneeriyo, eyandibadde omu ku b’amawanga abandisoose okufuuka abaweereza ba Yakuwa. Olw’okuba Abayudaaya baali tebakolagana na b’amawanga, tekyewuunyisa nti Peetero yali yeetaaga okuyambibwa okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo. Bwe yategeera endowooza Katonda gye yalina ku b’amawanga, yakyusa endowooza ye. N’olwekyo Koluneeriyo bwe yamutumya agende gy’ali, Peetero ‘teyagaana’ kugenda. (Bik. 10:28, 29) Yabuulira Koluneeriyo n’ab’omu maka ge amawulire amalungi era ne babatizibwa.—Bik. 10:21-23, 34, 35, 44-48.
Peetero ayingira mu nnyumba ya Koluneeriyo (Laba akatundu 7)
8. Tuyinza tutya okukiraga nti endowooza yaffe ekwatagana n’eya Yakuwa? (1 Peetero 3:8)
8 Nga wayise emyaka, Peetero yakubiriza bakkiriza banne ‘okubeera n’endowooza emu.’ (Soma 1 Peetero 3:8.) Abantu ba Yakuwa tusobola okuba n’endowooza emu singa tukoppa endowooza ya Yakuwa. Bwe tusoma Bayibuli tutegeera endowooza ye. Ng’ekyokulabirako, Yesu yakubiriza abagoberezi be okukulembezanga Obwakabaka. (Mat. 6:33) Watya singa mu kibiina kyo mubaamu omubuulizi ayagala okuweereza nga payoniya oba okwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna obulala? Mu kifo ky’okumugamba okwesaasira, osaanidde okwogera obulungi ku ekyo ky’ayagala okukola, era n’obaako ky’okolawo okumuyamba.
BEERA OMWETOOWAZE
9-10. Yesu yakiraga atya nti yali mwetoowaze nnyo?
9 Mu kiro ekyasembayo nga tannattibwa, Yesu yayigiriza Peetero n’Abatume abalala obukulu bw’okuba abeetoowaze. Ku olwo Yesu yali agambye Peetero ne Yokaana bagende bateeketeeke ekifo we baali bagenda okuliira ekijjulo kye yandisembyeeyo okuliirako awamu nabo. Kirabika okuteekateeka okwo kwali kuzingiramu n’okusaawo ebbenseni y’amazzi ne ttawulo, abandibaddewo basobole okunaaba ebigere byabwe nga tebannalya kijjulo. Naye ekiseera bwe kyandituuse ani yandibadde omwetegefu okukola omulimu gw’okunaaza ebigere by’abalala ogwali gutwalibwa okuba ogwa wansi?
10 Yesu teyalonzalonza kukola mulimu ogwo, era ekyo kyalaga nti yali mwetoowaze nnyo. Abatume bateekwa okuba nga beewuunya nnyo okumulaba ng’akola omulimu ogwo ogwandibadde gukolebwa omuweereza. Yesu yaggyako ekyambalo kye eky’okungulu, ne yeesiba ttawulo mu kiwato, n’ateeka amazzi mu bbenseni, n’atandika okubanaaza ebigere. (Yok. 13:4, 5) Kiteekwa okuba nga kyamutwalira ekiseera ekiwerako okunaaza ebigere by’abatume bonna 12, omwali ne Yuda eyali agenda okumulyamu olukwe. Naye Yesu yeetoowaza n’akola omulimu ogwo n’agumaliriza. Oluvannyuma yagamba abatume be nti: “Mutegedde kye mbakoze? Mumpita ‘Muyigiriza,’ era ‘Mukama waffe,’ era muli batuufu okumpita bwe mutyo kubanga ekyo kye ndi. Kale, oba nga nze, Mukama wammwe era Omuyigiriza, mbanaazizza ebigere, nammwe mugwanidde buli omu okunaazanga ebigere bya munne.”—Yok. 13:12-14.
Okuba omwetoowaze . . . kizingiramu engeri gye twetwalamu, n’engeri gye tutwalamu abalala
11. Peetero yakiraga atya nti yali ayize okubeera omwetoowaze? (1 Peetero 5:5) (Laba n’ekifaananyi.)
11 Peetero yayigira ku Yesu okuba omwetoowaze. Oluvannyuma lwa Yesu okuddayo mu ggulu, Peetero yakola ekyamagero bwe yawonya omusajja eyali yazaalibwa nga mulema. (Bik. 1:8, 9; 3:2, 6-8) Kya lwatu nti ekyo kyaviirako abantu bangi okukuŋŋaana. (Bik. 3:11) Naye Peetero teyayagala bantu abo kumutendereza, wadde nga mu buwangwa mwe yakulira abantu baali bakitwala nti kikulu nnyo okutenderezebwa. Mu kifo ky’ekyo, yayoleka obwetoowaze, ekitiibwa n’ettendo n’abiwa Yakuwa ne Yesu. Yagamba abantu abo nti: “[Okuyitira mu linnya lya Yesu], oba okukkiriza kwe tulina mu linnya lye, kwe kusobozesezza omusajja ono gwe mulaba era gwe mumanyi okufuna amaanyi.” (Bik. 3:12-16) Ebigambo Peetero bye yakozesa mu bbaluwa gye yawandiikira Abakristaayo ng’abakubiriza okuba abeetoowaze, bitujjukiza ekyo Yesu kye yakola bwe yeesiba ttawulo mu kiwato, n’anaaza ebigere by’abatume be.—Soma 1 Peetero 5:5.
Oluvannyuma lwa Peetero okukola ekyamagero, yagamba nti Yakuwa ne Yesu be bagwana okutenderezebwa so si ye. Naffe tukiraga nti tuli beetoowaze, nga bwe tubaako ekirungi kye tukoledde abalala, tetusuubira kututendereza oba kutusasula (Laba akatundu 11-12)
12. Okufaananako Peetero, tuyinza tutya okweyongera okukiraga nti tuli beetoowaze?
12 Naffe tusobola okukoppa Peetero nga tuyiga okuba abeetoowaze. Kijjukire nti okuba omwetoowaze tekikoma mu bigambo. Ekigambo ‘obwetoowaze’ Peetero kye yakozesa era kizingiramu engeri gye twetwalamu, n’engeri gye tutwalamu abalala. Tukolera abalala ebintu ebirungi olw’okuba twagala Yakuwa n’abantu, so si lwa kuba nti twagala kutenderezebwa. Bwe tukola kyonna kye tusobola okuweereza Yakuwa ne bakkiriza bannaffe, ka kibe nti abalala balaba bye tukola oba nedda, kiba kiraga nti tuli beetoowaze.—Mat. 6:1-4.
BEERA “N’ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU”
13. Kitegeeza ki okuba “n’endowooza ennuŋŋamu”?
13 Kitegeeza ki okubeera “n’endowooza ennuŋŋamu”? (1 Peet. 4:7) Omukristaayo alina endowooza ennuŋŋamu afuba okumanya endowooza Yakuwa gy’alina ku nsonga bw’aba alina ky’ayagala okusalawo. Aba akimanyi nti enkolagana ye ne Yakuwa kye kintu ekisingayo obukulu mu bulamu bwe. Aba teyeetwala nti wa kitalo, era aba akimanyi nti waliwo ebintu by’atamanyi. Ate era omuntu alina endowooza ennuŋŋamu akiraga nti yeesiga Yakuwa ng’amusaba obutayosa.
14. Peetero yalemererwa atya okwesiga Yakuwa?
14 Mu kiro ekyasembayo nga tannattibwa, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mmwenna mujja kwesittala olw’ekyo ekigenda okuntuukako ekiro kino.” Peetero yamuddamu nga yeekakasa nti: “Wadde abalala bonna baneesittala olw’ekyo ekigenda okukutuukako, nze sijja kwesittala!” Ekiro ekyo Yesu yali agambye abamu ku bayigirizwa be nti: “Musigale nga mutunula era nga musaba.” (Mat. 26:31, 33, 41) Singa Peetero yali akoledde ku kubuulirira okwo, yandibadde muvumu n’ateegaana nti yali mugoberezi wa Yesu. Mu kifo ky’ekyo Peetero yeegaana Mukama we, ekintu kye yejjusa oluvannyuma.—Mat. 26:69-75.
15. Yesu yayoleka atya endowooza ennuŋŋamu mu kiro ekyasembayo nga tannattibwa?
15 Yesu yali yeesiga nnyo Yakuwa. Wadde nga yali atuukiridde, yamusabanga obutayosa. Kino kyamusobozesa okufuna obuvumu okukola ekyo Yakuwa kye yali ayagala akole. (Mat. 26:39, 42, 44; Yok. 18:4, 5) Peetero ateekwa okuba nga teyeerabira ngeri Yesu gye yasabamu enfunda n’enfunda ekiro ekyo.
16. Peetero yakiraga atya nti yali ayize okuba n’endowooza ennuŋŋamu? (1 Peetero 4:7)
16 Oluvannyuma lw’ekiseera, Peetero yayiga okwesiga Yakuwa okuyitira mu kusaba. Yesu bwe yamala okuzuukira, yagamba Peetero n’abatume abalala nti baali bajja kufuna omwoyo omutukuvu basobole okutuukiriza omulimu gwe yabawa ogw’okubuulira. Naye baalina okusigala mu Yerusaalemi okutuusa ekyo lwe kyandibaddewo. (Luk. 24:49; Bik. 1:4, 5) Kiki Peetero kye yali akola ng’alindirira ekyo okubaawo? Bayibuli eraga nti ye n’Abakristaayo abalala baali ‘banyiikirira okusaba.’ (Bik. 1:13, 14) Oluvannyuma mu bbaluwa gye yasooka okuwandiika, yakubiriza bakkiriza banne okuba n’endowooza ennuŋŋamu n’okunyiikirira okusaba. (Soma 1 Peetero 4:7.) Peetero yayiga okwesiga Yakuwa era yali mpagi mu kibiina Ekikristaayo.—Bag. 2:9.
17. Ka kibe nti tulina busobozi ki, kiki kye tusaanidde okukolanga? (Laba n’ekifaananyi.)
17 Naffe okusobola okuba n’endowooza ennuŋŋamu, tulina okunyiikirira okusaba. Tukimanyi nti ka tube nga tulina busobozi ki, tulina okusabanga Yakuwa okutuyamba. N’olwekyo, tusaanidde okusaba Yakuwa obulagirizi naddala nga tulina ebintu ebikulu bye tusalawo, nga tuli bakakafu nti amanyi ekijja okutuganyula.
Peetero yayiga okwesiga Yakuwa okuyitira mu kusaba. Naffe tukiraga nti tulina endowooza ennuŋŋamu nga tusaba Yakuwa okutuyamba naddala nga tulina ebintu ebikulu bye tusalawo (Laba akatundu 7)a
18. Tusobola tutya okutuukanya endowooza yaffe n’eya Yakuwa?
18 Tusiima nnyo Yakuwa okuba nga yatutonda nga tusobola okwoleka engeri ze. (Lub. 1:26) Kya lwatu tetusobola kukoppa Yakuwa mu ngeri etuukiridde. (Is. 55:9) Naye okufaananako Peetero, tusobola okutuukanya endowooza yaffe n’eya Yakuwa. Ekyo tusobola okukikola nga tufuba okuba n’endowooza gy’alina ku bintu ebitali bimu, nga tuba beetoowaze, era nga tuba n’endowooza ennuŋŋamu.
OLUYIMBA 30 Kitange, Katonda Wange era Mukwano Gwange
a EKIFAANANYI: Mwannyinaffe asaba mu kasirise ng’agenze okusaba omulimu.