LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w25 Ddesemba lup. 14-19
  • Koppa Obwetoowaze bwa Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Koppa Obwetoowaze bwa Yakuwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Subheadings
  • Similar Material
  • YAKUWA ATUUKIRIKIKA
  • YAKUWA SI MUKAKANYAVU
  • YAKUWA MUGUMIIKIRIZA
  • YAKUWA AYAGALA NNYO ABEETOOWAZE
  • Yiga Okulowooza nga Yakuwa ne Yesu Bwe Balowooza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Beera Mwetoowaze Bwe Wabaawo Ebintu by’Otategeera
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Funa Essanyu Erisingawo Eriva mu Kugaba
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Okusalawo mu Ngeri Eraga nti Twesiga Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Ddesemba lup. 14-19

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 50

OLUYIMBA 48 Okutambula ne Yakuwa Buli Lunaku

Koppa Obwetoowaze bwa Yakuwa

“Mukoppe Katonda ng’abaana abaagalwa.”—BEF. 5:1.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulabayo engeri nnya ze tulina okukulaakulanya okusobola okukoppa obwetoowaze bwa Yakuwa.

1. Lwaki kyewunyisa okuba nti Yakuwa mwetoowaze?

BW’OTUNUULIRA abantu abalina obuyinza, kikwanguyira okubalowoozaako ng’abantu abeetoowaze? Oboolyawo nedda. Kyokka Yakuwa Katonda Omuyinza w’ebintu byonna ye si bw’atyo bw’ali. (Zab. 113:​5-8) Yakuwa talina malala gonna era mwetoowaze nnyo; mu butuufu, teri amusinga kuba mwetoowaze. Mu kitundu kino tugenda kulabayo engeri za Yakuwa nnya era tulabe engeri obwetoowaze bwe gye bweyolekera mu buli emu ku zo. Ate era tugenda kulaba engeri Yesu gye yakoppamu obwetoowaze bwa Kitaawe. Okwekenneenya engeri ezo kijja kutuyamba okwongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa n’okukoppa obwetoowaze bwe ku kigero ekisingako.

YAKUWA ATUUKIRIKIKA

2. Zabbuli 62:8 watuyigiriza ki ku Yakuwa? (Laba ku ddiba.)

2 Abantu ab’amalala emirundi mingi baba tebatuukirikika. Olw’okuba beetwala nti ba kitalo, beeyisa mu ngeri ereetera abalala okubeewalira ddala oba okutya okubatuukirira. Kyokka Yakuwa ye wa njawulo nnyo ku bantu ng’abo! Olw’okuba Kitaffe ow’omu ggulu mwetoowaze nnyo, atugamba okumutuukirira mu kusaba tumutegeeze byonna ebitweraliikiriza. (Soma Zabbuli 62:8.) Nga taata omulungi bw’awuliriza abaana be nga bamubuulira ebibeeraliikiriza, Yakuwa naye akubiriza abaweereza be okumusaba era awuliriza essaala zaabwe. Mu butuufu, yawandiisa essaala z’abaweereza be nnyingi mu Bayibuli. Ekyo kiraga nti atuukirikika. (Yos. 10:​12-14; 1 Sam. 1:​10-18) Naye watya singa oluusi tuwulira nti tetugwanira kutuukirira Yakuwa?

Taata awuliriza bulungi mutabani we amenye ekibya eky’ebbumba kye bateekamu ebimuli ng’azannyisa akanyonyi k’akutte mu ngalo.

Okufaananako Yakuwa, taata ayoleka obwetoowaze n’awuliriza bulungi mutabani we amenye ekibya eky’ebbumba kye bateekamu ebimuli (Laba akatundu 2)


3. Lwaki oli mukakafu nti Yakuwa ayagala omusabenga obutayosa?

3 Tusobola okutuukirira Yakuwa mu kusaba ne bwe tuba nga tuwulira nti tetugwanira kwagala kwe. Lwaki tugamba bwe tutyo? Mu lugero olw’omwana omujaajaamya, Yesu yageraageranya Yakuwa ku taata omusaasizi. Taata oyo yalina mutabani we eyali yakola ensobi ez’amaanyi, naye bwe yeenenya, yamusonyiwa era n’amukkiriza okukomawo mu maka ge wadde ng’omwana oyo yali awulira nti tagwanira kusonyiyibwa n’okukomezebwawo awaka. Kiki taata oyo kye yakola bwe yalaba nga mutabani we akomyewo? Yesu yagamba nti taata oyo olwalaba mutabani we, ‘yadduka n’amugwa mu kifuba n’amunywegera.’ (Luk. 15:​17-20) Yakuwa alinga taata oyo. Olw’okuba mwetoowaze, abaweereza be abennyamivu oba abalumirizibwa omutima bwe bamusaba, ayanguwa okuwuliriza essaala zaabwe era abaako ky’akolawo okubayamba. (Kung. 3:​19, 20) Ate era okufaananako taata oyo, Yakuwa naye alumirirwa abaweereza be. Bwe bamusaba abaako ky’akolawo okubabudaabuda, okubazzaamu amaanyi, n’okubakakasa nti musaasizi era nti abaagala nnyo. (Is. 57:15) Ekyo Yakuwa akikola atya leero? Emirundi mingi akozesa abakadde, ab’omu maka gaffe, n’abalala mu kibiina. (Yak. 5:​14, 15) Ebyo byonna Yakuwa abikola kubanga ayagala tube n’enkolagana ennungi naye.

4. Yesu yakiraga atya nti atuukirikika?

4 Okufaananako Kitaawe, Yesu atuukirikika. Okufaananako Kitaawe, Yesu naye mwetoowaze. Eyo ye nsonga lwaki bwe yali ku nsi abantu kyabanguyiranga okumutuukirira era tebaatyanga kumubuuza bibuuzo. (Mak. 4:​10, 11) N’olwekyo bwe yabangako ky’ababuuza ku nsonga emu, kyabanguyiranga okumubuulira kye baabanga balowooza. (Mat. 16:​13-16) Ate era bwe baabanga bakoze ensobi, tebaatyanga nti Yesu ajja kubanyiigira kubanga baabanga bamanyi nti Yesu wa kisa, musaasizi, era mugumiikiriza. (Mat. 17:​24-27) Olw’okuba Yesu yakoppera ddala engeri za Kitaawe, kyayamba abagoberezi be okutegeera obulungi Yakuwa. (Yok. 14:9) Abagoberezi be baakitegeera nti okwawukana ku bakulembeze b’eddiini abaaliwo mu kiseera ekyo abaali batafaayo ku bantu, Yakuwa ye si wa malala era si mukambwe. Ate era baakitegeera nti Yakuwa mwetoowaze era atuukirikika.

5. Bwe tuba abeetoowaze kiyamba kitya abalala okwanguyirwa okututuukirira?

5 Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa? Bwe tufuba okuba abeetoowaze, kijja kwanguyira abalala okututuukirira. Obwetoowaze bujja kutuleetera okwewala okuba n‘engeri eziyinza okuleetera abalala okutwesamba gamba ng’ensaalwa, amalala, n’obutasonyiwa. Ate era butuyamba okuba n’engeri ezikifuula ekyangu eri abalala okututuukirira gamba ng’obusaasizi, obugumiikiriza, n’okusonyiwa. (Bak. 3:​12-14) Okusingira ddala abakadde basaanidde okuba abantu abatuukirikika. Ekyo okusobola okukikola, abakadde basaanidde okubeerako awamu ne bakkiriza bannaabwe era n’okukolerako awamu nabo ebintu ebitali bimu. Kino kitegeeza nti abakadde basaanidde okufuba okubeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina mu buntu mu kifo ky’okubeera ku zoom nga tewali nsonga ya maanyi. Ate era okusinziira ku mbeera yaabwe, basaanidde okufuba okubuulirako ne bakkiriza bannaabwe nnyumba ku nnyumba. Ekyo kijja kuyamba ab’oluganda mu kibiina okutegeera obulungi abakadde, era bajja kwanguyirwa okubatuukirira ekiseera kyonna nga beetaaga obuyambi.

YAKUWA SI MUKAKANYAVU

6-7. Waayo ebyokulabirako ebiraga nti Yakuwa yali mwetegefu okukyusa mu ekyo kye yali asazeewo ng’abaweereza be baliko kye bamusabye.

6 Abantu ab’amalala baba bakakanyavu bwe baba bakolagana n’abalala. Kyokka wadde nga Yakuwa amanyi buli kimu, si mukakanyavu bw’aba ng’akolagana n’abalala. Olw’okuba mwetoowaze, aba mwetegefu okuwuliriza endowooza z’abalala era bwe kiba kyetaagisa asobola okukyusa mu ekyo ky’aba asazeewo. Lowooza ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu ne Miriyamu mwannyina wa Musa. Ye ne Alooni beemulugunya ku Musa, Yakuwa gwe yali alonze okukulembera abantu be. Miriyamu bwe yakola bw’atyo, yali tawadde Yakuwa kitiibwa. Ekyo Miriyamu kye yakola kyanyiiza nnyo Yakuwa era n’amulwaza ebigenge. Naye Alooni bwe yeegayirira Musa okuyamba Miriyamu era Musa n’asaba Yakuwa awonye Miriyamu, kiki Yakuwa kye yakola? Singa Yakuwa yali wa malala, teyandikyusizza kibonerezo kye yali awadde Miriyamu. Naye olw’okuba mwetoowaze, yawuliriza ekyo Musa kye yamusaba, n’awonya Miriyamu.—Kubal. 12:​1-15.

7 Yakuwa era yakiraga nti mwetoowaze bwe yali akolagana ne Kabaka Keezeekiya. Yakuwa yakozesa nnabbi we okutegeeza kabaka oyo nti yali agenda kufa. Keezeekiya yakaaba nnyo era ne yeegayirira Yakuwa amuwonye. Yakuwa yawuliriza essaala ya Keezeekiya era n’amugamba nti ajja kuwangaala emyaka emirala 15. (2 Bassek. 20:​1, 5, 6) Mazima ddala, obwetoowaze bwa Yakuwa bumuleetera okuba omusaasizi era atali mukakanyavu.

8. Byakulabirako ki ebiraga nti Yesu si mukakanyavu? (Makko 3:​1-6)

8 Okufaananako Kitaawe, Yesu si mukakanyavu. Bwe yali ku nsi, Yesu yakolera abalala ebirungi buli lwe yabanga afunye akakisa. Ng’ekyokulabirako, Yesu yawonyanga abantu ku Ssabbiiti wadde ng’ekyo abakulembeze b’eddiini baali tebakyagala. (Soma Makko 3:​1-6.) Ne leero Yesu musaasizi era si mukakanyavu ng’akulembera ekibiina Ekikristaayo. Ng’ekyokulabirako, omuntu mu kibiina bw’akola ekibi eky’amaanyi, amugumiikiriza, era amuwa akakisa okutereeza amakubo ge.—Kub. 2:​2-5.

9. Tuyinza tutya okukiraga nti tetuli bakakanyavu? (Laba n’ebifaananyi.)

9 Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa? Tusaanidde okukoppa Yakuwa nga tuba beetoowaze era nga tufuba obutaba bakakanyavu mu ngeri gye tulowoozaamu, n’engeri gye tukolamu ebintu. (Yak. 3:17) Ng’ekyokulabirako, abazadde abatali bakakanyavu tebasuubira baana baabwe kukola bintu bisukka ku busobozi bwabwe. Ekyo tukiraba bulungi bwe tusoma ebyo ebikwata ku Yakobo ebiri mu Olubereberye 33:​12-14. Abazadde abeetoowaze era abatali bakakanyavu basaanidde okufuba okwewala okugeraageranya abaana baabwe mu ngeri etali nnungi. Abakadde mu kibiina nabo basaanidde okwewala okuba abakakanyavu. Emu ku ngeri gye bayinza okukikolamu kwe kukkiriziganya n’ekyo abasinga obungi ku kakiiko k’abakadde kye baba basazeewo kasita kiba nga tekikontana na misingi gya Bayibuli. (1 Tim. 3:​2, 3) Ate era, ffenna tusaanidde okufuba okutegeera endowooza y’abalala ne bwe kiba nti endowooza yaffe eyawukana ku yaabwe. (Bar. 14:1) Mu butuufu buli omu mu kibiina asaanidde okufuba okulaba nti ‘obutali bukakanyavu bwe bweyoleka eri abantu bonna.’—Baf. 4:5.

Ebifaananyi: Taata abuulira n’abaana be nnyumba ku nnyumba. 1. Amwenya nga mutabani we awa omusajja brocuwa “Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!” 2. Oluvannyuma musanyufu ng’alaba muwala we awa omukazi kaadi eragirira abantu ku jw.org.

Ebyo taata by’asuubira mu baana be nga bagenze okubuulira biraga nti si mukakanyavu (Laba akatundu 9)


YAKUWA MUGUMIIKIRIZA

10. Yakuwa akiraze atya nti mugumiikiriza?

10 Oyinza okuba okyetegerezza nti abantu ab’amalala tebaagala kulinda. Amalala gabaleetera obutaba bagumiikiriza. Kyokka Yakuwa ye si bw’atyo bw’ali. Mugumiikiriza nnyo! Mu butuufu teri amusinga kuba mugumiikiriza. Ng’ekyokulabirako, mu kiseera kya Nuuwa Yakuwa yagamba nti yandigumiikirizza okumala emyaka 120 nga tannazikiriza bantu babi. (Lub. 6:3) Ekyo kyasobozesa Nuuwa okukuza abaana be n’okuzimba eryato ng’ayambibwako ab’omu maka ge. Oluvannyuma malayika wa Yakuwa yawuliriza n’obugumiikiriza nga Ibulayimu amubuuza ebikwata ku kuzikirizibwa kwa Sodomu ne Ggomola. Singa malayika oyo yali wa malala, oboolyawo yandibadde abuuza Ibulayimu nti, ‘Ggwe ani okumbuuza ebibuuzo ng’ebyo?’ Naye olw’okuba malayika oyo yali akoppa Yakuwa, yawuliriza Ibulayimu n’obugumiikiriza.—Lub. 18:​20-33.

11. Nga bwe kiragibwa mu 2 Peetero 3:​9, lwaki Yakuwa mugumiikiriza eri abantu ne mu kiseera kino?

11 Yakuwa akiraze nti mugumiikiriza eri abantu ne mu kiseera kino. Alindirira ekiseera ekituufu lw’anaaleeta enkomerero. Lwaki Yakuwa agumiikiriza? “Kubanga tayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.” (Soma 2 Peetero 3:9.) Obugumiikiriza bwa Yakuwa buvuddemu ebirungi byonna? Yee! Kirowoozeeko, abantu bukadde na bukadde bafuuse abaweereza be. Ate era tulina essuubi nti abantu abalala bukadde na bukadde nabo bajja kufuuka abaweereza be. Wadde kiri kityo, obugumiikiriza bwa Yakuwa buliko ekkomo. Yakuwa ayagala nnyo abantu, naye tajja kubaleka kweyongera kukola buli kimu kye baagala. Ajja kuzikiriza abantu ababi bonna.—Kaab. 2:3.

12. Yesu akoppa atya obugumiikiriza bwa Yakuwa?

12 Okufaananako Kitaawe, Yesu mugumiikiriza. Okumala emyaka nkumi na nkumi, Yesu abaddenga akoppa obugumiikiriza bwa Yakuwa. Yesu amanyi ebintu eby’obulimba ebyogerwa ku Yakuwa ne ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa. (Lub. 3:​4, 5; Yob. 1:11; Kub. 12:10) Ate era Yesu alaba ebizibu abantu bye bafuna. Ateekwa okuba nga yeesunga ekiseera ‘lw’anaggyawo ebikolwa by’Omulyolyomi’! (1 Yok. 3:8) Kiki ekiyamba Yesu okugumiikiriza ng’alindirira Yakuwa okumukkiriza okumalawo ebikolwa by’Omulyolyomi? Emu ku nsonga eri nti Yesu mwetoowaze. Akimanyi bulungi nti Yakuwa y’asalawo ddi lw’anaaleeta enkomerero.—Bik. 1:7.

13. Lwaki Yesu yali mwetoowaze eri abatume be era ekyo yakiraga atya?

13 Yesu bwe yali ku nsi, yali mugumiikiriza eri abatume be. Ng’ekyokulabirako, abatume bwe baakaayana enfunda n’enfunda ku ani ku bo asinga obukulu, Yesu yeeyongera okubagumiikiriza era teyakitwala nti tebasobola kukyusa. (Luk. 9:46; 22:​24-27) Yali mukakafu nti oluvannyuma lw’ekiseera bandikoze enkyukakyuka ezeetaagisa. Naawe wali okozeeko ensobi y’emu enfunda n’enfunda? Bwe kiba kityo, kiteekwa okuba nga kikusanyusa nnyo okuba nti olina Kabaka omwetoowaze era omugumiikiriza.

14. Kiki ekisobola okutuyamba okuba abagumiikiriza?

14 Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa? Bwe tubeera ‘n’endowooza ya Kristo,’ kijja kutuyamba okufuna endowooza ya Yakuwa era n’okukola ebintu nga bw’ayagala. (1 Kol. 2:16) Tuyinza tutya okufuna endowooza ya Kristo? Emu ku ngeri esingayo obukulu esobola okutuyamba kwe kusoma ebyo ebiri mu bitabo by’Enjiri. Oluvannyuma lw’okusoma tusaanidde okufumiitiriza ku engeri ebyo bye tusomye gye byolekamu endowooza ya Kristo ku nsonga ezitali zimu. Ate era tusaanidde okusaba Yakuwa okutuyamba okwoleka endowooza ng’eya Kristo. Gye tukoma okufuna endowooza ya Kristo, gye tukoma okukoppa Katonda nga tuba bagumiikiriza eri bakkiriza bannaffe n’eri ffe ffennyini.—Mat. 18:​26-30, 35.

YAKUWA AYAGALA NNYO ABEETOOWAZE

15. Waayo ebyokulabirako ebiraga nti Yakuwa ayagala abantu abeetoowaze. (Zabbuli 138:6)

15 Soma Zabbuli 138:6. Kirowoozeeko. Wadde nga Yakuwa ye Mufuzi w’obutonde bwonna, afaayo nnyo ku bantu abeetoowaze! Lowooza ku byokulabirako by’abantu abaaliwo mu biseera eby’edda, abalala be baali batwala nti ba wansi naye nga ye Yakuwa abatwala nti ba muwendo nnyo. Abamu ku bo oyinza obutabalowoozaako, naye Yakuwa yawandiisa ebibakwatako mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, Musa yaluŋŋamizibwa okuwandiika ebikwata ku muweereza omu ayitibwa Debola, eyaliwo mu biseera eby’edda. Yali muweereza mwesigwa mu maka ga Isaaka ne Yakobo okumala emyaka nga 125! Wadde nga tewali bingi bye tumanyi bikwata ku mukyala ono eyali omwesigwa, Yakuwa yakakasa nti ebimukwatako biwandiikibwa mu Bayibuli, okulaga nti yali wa muwendo gy’ali. (Lub. 24:59; 35:​8, obugambo obuli wansi.) Nga wayiseewo ebyasa bingi Yakuwa yalonda Dawudi omulenzi eyali omusumba, n’amufuula kabaka w’eggwanga lya Isirayiri. (2 Sam. 22:​1, 36) Yesu bwe yazaalibwa, Yakuwa yasindika bamalayika be eri abasumba abaali e Besirekemu okubategeeza nti oyo eyali agenda okuba Masiya yali azaaliddwa, era be baasooka okumanya amawulire ago. (Luk. 2:​8-11) Ate era Yusufu ne Maliyamu bwe baatwala Yesu ku Yeekaalu, Yakuwa yawa Simiyoni ne Ana abaali bakaddiye enkizo ey’okulaba omwana oyo n’okutegeeza abalala nti ye yandifuuse Masiya. (Luk. 2:​25-30, 36-38) Mazima ddala, “wadde nga Yakuwa wa waggulu nnyo, alowooza ku beetoowaze”!

16. Yesu yakoppa atya Kitaawe mu ngeri gye yayisangamu abalala?

16 Okufaananako Kitaawe, Yesu mwetoowaze. Okufaananako Kitaawe, Yesu naye yali ayagala nnyo abantu abalala be baali batwala nti ba wansi. Mu bamu ku abo be yayigiriza ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda mwalimu ‘abataali bayigirize,’ era abaali batwalibwa nti “bantu ba bulijjo.” (Bik. 4:13; Mat. 11:25) Ate era Yesu bwe yawonya abalwadde, yabayisa mu ngeri eraga nti baagalibwa era nti bassibwamu ekitiibwa. (Luk. 5:13) Mu kiro ekyasembayo nga tannattibwa, Yesu yakola omulimu ogwakolebwanga omuweereza, n’anaaza ebigere by’abatume be. (Yok. 13:5) Ate era bwe yali tannaddayo mu ggulu, yawa abagoberezi be abaaliwo mu kiseera ekyo n’abo abandifuuse abagoberezi be mu biseera eby’omu maaso omulimu ogusinga obukulu, nga kwe kuyamba abantu okufuna obulamu obutaggwaawo.—Mat. 28:​19, 20.

17. Tuyinza tutya okukiraga nti twagala abalala era nti tubassaamu ekitiibwa? (Laba n’ekifaananyi.)

17 Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa? Tukiraga nti twagala abantu nga tubuulira amawulire amalungi eri abo bonna abaagala okuwuliriza. Tetubasosola olw’embeera gye baakuliramu oba gye balimu, langi yaabwe, oba obuyigirize bwe balina. Ate era tukiraga nti twagala bakkiriza bannaffe bwe tukitwala nti batusinga ka tube na busobozi ki oba ka tube na nkizo ki. (Baf. 2:3) Bwe tussaamu abalala ekitiibwa nga tukola ebintu ng’ebyo, kiba kiraga nti tuli beetoowaze era kisanyusa nnyo Yakuwa.—Bar. 12:10; Zef. 3:12.

Bannyinaffe babiri nga bayirigiza omukazi Bayibuli mu kkomera.

Tukoppa obwetoowaze bwa Yakuwa nga tubuulira amawulire amalungi eri abantu aba buli ngeri (Laba akatundu 17)a


18. Lwaki kirungi okukoppa obwetoowaze bwa Yakuwa?

18 Bwe tufuba okukoppa obwetoowaze bwa Kitaffe ali mu ggulu atwagala ennyo, tujja kweyongera okuba abantu abatuukirikika, abatali bakakanyavu, era abagumiikiriza. Ate era tujja kweyongera okwagala abalala n’okubassaamu ekitiibwa nga Yakuwa bw’akola. Kijjukire nti bwe tufuba okubeera abeetoowaze nga Katonda waffe, tweyongera okubeera ab’omuwendo ennyo mu maaso ge!—Is. 43:4.

OBWETOOWAZE BUYINZA BUTYA OKUKUYAMBA OKUBA OMUNTU . . .

  • atuukirikika?

  • atali mukakanyavu?

  • omugumiikiriza?

OLUYIMBA 159 Muwe Yakuwa Ekitiibwa

a EKIFAANANYI : Bannyinaffe bakoppa okwagala Yakuwa kw’alina eri abantu nga bayigiriza abakazi Bayibuli mu kkomera.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share