EKITUNDU EKY’OKUSOMA 12
OLUYIMBA 119 Tulina Okuba n’Okukkiriza
Tambulanga lwa Kukkiriza
“Tutambula lwa kukkiriza, so si lwa kulaba.”—2 KOL. 5:7.
EKIGENDERERWA
Engeri gye tuyinza okukolera ku bulagirizi Katonda bw’atuwa nga tusalawo ebintu ebikulu.
1. Lwaki omutume Pawulo yali mumativu n’engeri gye yali akozesezzaamu obulamu bwe?
OMUTUME Pawulo yali akimanyi nti anaatera okuttibwa naye yali mumativu n’engeri gye yali akozesezzaamu obulamu bwe. Yagamba nti: “Nnwanye olutalo olulungi, embiro nzimalirizza, okukkiriza nkukuumye.” (2 Tim. 4:6-8) Pawulo yasalawo bulungi okukozesa obulamu bwe okuweereza Yakuwa era yali mukakafu nti Yakuwa amusiima. Naffe twagala okusalawo obulungi tusobole okusiimibwa Yakuwa. Ekyo tuyinza kukikola tutya?
2. Kitegeeza ki okutambula olw’okukkiriza?
2 Pawulo bwe yali yeeyogerako era ng’ayogera ne ku Bakristaayo banne yagamba nti: “Tutambula lwa kukkiriza, so si lwa kulaba.” (2 Kol. 5:7) Kiki Pawulo kye yali ategeeza? Emirundi egimu Bayibuli ekozesa ekigambo “okutambula” ng’eyogera ku ngeri omuntu gy’akozesaamu obulamu bwe. Omuntu atambula olw’okulaba asalawo ng’asinziira ku ebyo byokka by’alaba, by’awulira, n’engeri gye yeewuliramu. Ku luuyi olulala omuntu atambula olw’okukkiriza bw’aba alina by’asalawo alowooza ku ebyo Yakuwa by’ayagala. Ebikolwa bye biraga nti mukakafu nti Yakuwa ajja kumuwa emikisa era nti ajja kuganyulwa bw’anaakolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kye.—Zab. 119:66; Beb. 11:6.
3. Miganyulo ki gye tufuna bwe tukolera ku bulagirizi bwa Katonda? (2 Abakkolinso 4:18)
3 Kya lwatu, ffenna oluusi tusalawo nga tusinziira ku ebyo bye tulaba, bye tuwulira, oba engeri gye twewuliramu. Naye bwe tusinziira ku ebyo byokka nga tulina ebintu ebikulu bye tusalawo, tuyinza okukola ensobi. Lwaki? Kubanga ebyo bye tulaba oba bye tuwulira, ebiseera ebimu biyinza obutaba bituufu. Naye ne bwe biba ebituufu, singa tusalawo nga tusinziira ku ebyo byokka, tuyinza okukola ekintu Katonda ky’atayagala. (Mub. 11:9; Mat. 24:37-39) Naye bwe tuba nga twesiga Yakuwa, ebyo bye tusalawo biba ‘bikkirizibwa Mukama waffe.’ (Bef. 5:10) Bwe tukolera ku bulagirizi Katonda bw’atuwa, tuba n’emirembe era tuba basanyufu. (Zab. 16:8, 9; Is. 48:17, 18) Ate era bwe tweyongera okukolera ku bulagirizi obwo, tujja kufuna obulamu obutaggwaawo.—Soma 2 Abakkolinso 4:18.
4. Omukristaayo asobola atya okumanya obanga atambula lwa kukkiriza oba lwa kulaba?
4 Tuyinza tutya okumanya obanga tutambula lwa kukkiriza oba lwa kulaba? Tusaanidde okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Nsinziira ku ki bwe mba nga nnina bye nsalawo? Nsinziira ku ebyo byokka bye ndaba? Oba nsinziira ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa?’ Ka tulabe engeri gye tuyinza okukiraga nti tutambula lwa kukkiriza mu mbeera zino ssatu: nga tunoonya omulimu, nga tulonda ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa, oba nga tuweereddwa obulagirizi okuva eri ekibiina kya Yakuwa. Mu buli emu ku mbeera ezo tugenda kulaba ebintu bye tusaanidde okulowoozaako okusobola okusalawo obulungi.
NGA TUSALAWO OMULIMU GWE TUNAAKOLA
5. Kiki kye tusaanidde okulowoozaako nga tusalawo omulimu ogw’okukola?
5 Ffenna twagala okuba nga tusobola okwetuusaako ebyetaago byaffe awamu n’eby’ab’omu maka gaffe. (Mub. 7:12; 1 Tim. 5:8) Emirimu egimu gisasula ssente nnyingi. Omuntu bw’aba n’omulimu ng’ogwo asobola okukola ku byetaago bye era n’abaako ne ssente z’aterekawo. Kyokka emirimu emirala gisasula ssente ntono ne kiba nti omukozi asobola kukola ku byetaago bye n’eby’ab’omu maka ge byokka. Kya lwatu bwe tuba tusalawo omulimu gwe tunaakola, tulowooza ne ku ssente mmeka ze tunaafuna. Naye omuntu bw’aba ng’alowooza ku ssente zokka z’anaafuna, kiyinza okulaga nti atambula lwa kulaba.
6. Bwe tuba tusalawo omulimu ogw’okukola, tukiraga tutya nti tutambula lwa kukkiriza? (Abebbulaniya 13:5)
6 Bwe tuba nga tutambula lwa kukkiriza era tujja kulowooza ne ku ngeri omulimu gwe twagala okukola gye gunaakwata ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. Tuyinza okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Omulimu guno gunanneetaagisa okwenyigira mu bintu Yakuwa by’akyawa?’ (Nge. 6:16-19) ‘Gunaataataaganya enteekateeka zange ez’eby’omwoyo? Oba gunaanviirako okumala ekiseera kiwanvu nga siri wamu na ba mu maka gange?’ (Baf. 1:10) Bwe kiba ng’eky’okuddamu mu bibuuzo ebyo kiri nti yee, kiba kya magezi obutakola mulimu ogwo ka kibe nti emirimu si myangu kufuna. Bwe tuba nga ddala tutambula lwa kukkiriza, ebyo bye tusalawo bijja kukyoleka nti tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kukola ku byetaago byaffe.—Mat. 6:33; soma Abebbulaniya 13:5.
7-8. Ow’oluganda Javier yakiraga atya nti atambula lwa kukkiriza? (Laba n’ekifaananyi.)
7 Ow’oluganda Javier,a abeera mu Amerika ow’ebukiikaddyo, yakiraga nti amanyi obukulu bw’okutambula olw’okukkiriza. Agamba nti: “Nnasaba omulimu ogwandinsobozesezza okufuna ssente ezaali zikubisaamu emirundi ebiri ezo ze nnali nfuna era gwe nnandinyumiddwa okukola.” Kyokka era Javier yali ayagala okuweereza nga payoniya. Agattako nti: “Nnayitibwa okubuuzibwa ebibuuzo okulaba obanga nnalina ebisaanyizo okukola omulimu ogwo. Bwe nnali sinnagenda nnasaba Yakuwa annyambe nga ndi mukakafu nti yali amanyi ekijja okuŋŋanyula. Nnali njagala okukuguka mu mulimu gwange n’okusasulwa ssente eziwera, naye nnali saagala mulimu ogwo kunnemesa kutuuka ku biruubirirwa byange eby’eby’omwoyo.”
8 Javier agamba nti: “Bwe nnali mbuuzibwa ebibuuzo, maneja yaŋŋamba nti kyalinga kijja kunneetaagisa okukola essaawa nnyingi. Mu bukkakkamu nnamunnyonnyola nti ekyo nnali sisobola kukikola kubanga nnalina n’okuweereza Katonda wange.” Javier teyakkiriza mulimu ogwo. Oluvannyuma lwa wiiki bbiri, yatandika okuweereza nga payoniya. Era mu mwaka ogwo gwennyini, yafuna omulimu ogwali gutamwetaagisa kukola kiseera kyonna. Agamba nti: “Yakuwa yawulira okusaba kwange n’annyamba okufuna omulimu ogwansobozesa okuweereza nga payoniya. Ndi musanyufu nnyo okuba nti nnafuna omulimu ogunsobozesa okuba n’ebiseera ebisingawo okuweereza Yakuwa awamu ne bakkiriza bannange.”
Bw’ogambibwa nti ogenda kukuzibwa ku mulimu, ekyo ky’osalawo kiraga nti oli mukakafu nti Yakuwa asobola okukulabirira? (Laba akatundu 7-8)
9. Kiki ky’oyigidde ku w’oluganda Trésor?
9 Kiki kye tusaanidde okukola singa tukiraba nti omulimu gwe tukola kati tegutusobozesa kutambula lwa kukkiriza? Lowooza ku w’oluganda Trésor, abeera mu Congo. Agamba nti: “Nnafuna omulimu gwe nnali nnayagala edda okukola. Nnali nsasulwa omusaala ogwali gukubisaamu emirundi esatu ogwo gwe nnafunanga ku mulimu ogwasooka era baali banzisaamu ekitiibwa.” Naye Trésor yayosanga enkuŋŋaana olw’okuba yalina okukola okumala essaawa nnyingi. Ate era bakozi banne baamupikirizanga okulimba asobole okubikkirira ebintu ebibi kampuni bye yabanga ekoze. Trésor yayagala okuleka omulimu ogwo, naye yali yeeraliikirira okubeera awo nga talina mulimu. Kiki ekyamuyamba? Agamba nti: “Ebyo ebiri mu Kaabakuuku 3:17-19 byannyamba okukitegeera nti ne bwe nnandifiiriddwa omulimu gwange, Yakuwa yandindabiridde. N’olwekyo nnasalawo okuguleka.” Ate era agamba nti: “Bangi ku abo abakozesa abalala balowooza nti bwe baba bakusasula ssente nnyingi oba olina okwefiiriza buli kimu, omuli amaka go n’obudde bw’olina okukozesa okwenyigira mu bintu eby’omwoyo. Ndi musanyufu nti nnakuuma enkolagana yange ne Yakuwa era saasuulirira ba mu maka gange. Nga wayiseewo omwaka gumu, Yakuwa yannyamba okufuna omulimu ogwali gunsobozesa okulabirira ab’omu maka gange n’okufuna ebiseera ebisingawo okwenyigira mu bintu eby’omwoyo. Bwe tukulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala oluusi tuyinza okuba ne ssente ntono okumala ekiseera, naye Yakuwa atulabirira.” Mazima ddala bwe twesiga ebisuubizo bya Yakuwa n’obulagirizi bw’atuwa, tujja kweyongera okutambula olw’okukkiriza era ajja kutuwa emikisa mingi.
NG’OLONDA OW’OKUWASA OBA OW’OKUFUMBIRWA
10. Bwe tuba tulonda ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa, kiki ekiraga nti tutambula lwa kulaba?
10 Obufumbo kirabo okuva eri Yakuwa era kya bulijjo omuntu okwagala okuwasa oba okufumbirwa. Mwannyinaffe bw’aba alowooza ku w’oluganda gw’ayinza okufumbirwa, ayinza okulowooza ku ngeri gy’alabikamu, engeri gye yeeyisaamu, engeri abalala gye bamutwalamu, engeri gy’akozesaamu ssente, obanga alina ab’ewaabwe b’alabirira, era oba ng’amuleetera okuwulira obulungi.b Ebintu ebyo byonna bikulu. Kyokka singa mwannyinaffe ebyo bye bintu byokka by’atunuulira, ekyo kiyinza okulaga nti atambula lwa kulaba.
11. Bwe tuba tulonda ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa, tukiraga tutya nti tutambula lwa kukkiriza? (1 Abakkolinso 7:39)
11 Yakuwa asanyuka nnyo bw’alaba nga baganda baffe ne bannyinaffe bakolera ku bulagirizi bwe nga balonda ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa! Ng’ekyokulabirako, bakolera ku kubuulirira okuli mu Bayibuli ne bamala okuyita “mu kiseera ekya kabuvubuka” ne balyoka balowooza ku ky’okwogerezeganya. (1 Kol. 7:36) Okusingira ddala batunuulira engeri Yakuwa z’agamba nti ze zifuula omuntu okuba omwami oba omukyala omulungi. (Nge. 31:10-13, 26-28; Bef. 5:33; 1 Tim. 5:8) Omuntu atali muweereza wa Yakuwa bw’abeegwanyiza, bakolera ku kubuulirira okuli mu 1 Abakkolinso 7:39 (Soma), awatukubiriza okuwasa oba okufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka.” Bakola bwe batyo kubanga bakakafu nti Yakuwa afaayo ku nneewulira yaabwe okusinga omuntu omulala yenna.—Zab. 55:22.
12. Kiki ky’oyigidde ku mwannyinaffe Rosa?
12 Lowooza ku mwannyinaffe Rosa, aweereza nga payoniya mu Colombia. Ku mulimu gye yali akola waaliyo omusajja ataali Mujulirwa wa Yakuwa eyatandika okumwegwanyiza. Rosa naye yali awulira ng’amwagala. Agamba nti: “Yali alabika nga musajja mulungi. Yali ayamba abantu b’omu kitundu kye era yali yeeyisa bulungi. Nnayagalanga nnyo engeri gye yampisangamu. Yalina engeri zonna ze nnandyagadde mu musajja ow’okufumbirwa. Naye ekibi teyali Mujulirwa wa Yakuwa.” Rosa era agamba nti: “Tekyambeerera kyangu kumugamba nti nnali saagala kwogerezeganya naye. Mu kiseera ekyo nnalina ekiwuubaalo era nnali njagala okufumbirwa, naye nnali sinnafuna wa luganda mu kibiina gwe nnandyagadde okufumbirwa.” Kyokka Rosa ebirowoozo bye teyabimalira ku ngeri gye yali yeewuliramu. Yafumiitiriza ku ekyo ekyandituuse ku nkolagana ye ne Yakuwa singa yatandika okwogerezeganya n’omusajja oyo. N’olwekyo, yalekera awo okukolagana n’omusajja oyo ne yeemalira ku kuweereza Yakuwa. Nga wayiseewo ekiseera kitono, yayitibwa okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka, era kati aweereza nga payoniya ow’enjawulo. Rosa agamba nti: “Yakuwa ampadde emikisa mingi eginviiriddeko okuba omusanyufu.” Oluusi bwe wabaawo ekintu kye twagala ennyo naye nga kikontana n’ebyo Yakuwa by’ayagala, kitubeerera kizibu okukola ekituufu. Naye bwe tukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa, ffe tuganyulwa.
NGA TUWEEREDDWA OBULAGIRIZI OKUVA ERI EKIBIINA KYA YAKUWA
13. Tuyinza kweyisa tutya bwe tufuna obulagirizi okuva eri ekibiina kya Yakuwa?
13 Emirundi mingi tufuna obulagirizi obutuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa okuva eri abakadde mu kibiina, abalabirizi abakyalira ebibiina, ofiisi y’ettabi, oba Akakiiko Akafuzi. Naye watya singa tetutegeera nsonga lwaki batuwadde obulagirizi obumu? Tuyinza okutandika okubuusabuusa obanga obulagirizi obwo bukola. Tuyinza n’okutandika okussa ebirowoozo ku bunafu bw’ab’oluganda ababa batuwadde obulagirizi obwo.
14. Kiki ekinaatuyamba okukolera ku bulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa? (Abebbulaniya 13:17)
14 Bwe tuba nga tutambula lwa kukkiriza, tuba bakakafu nti Yakuwa awa ekibiina kye obulagirizi era nti amanyi embeera zaffe. Ekyo kituleetera okuba abawulize n’okukolera amangu ku bulagirizi obuba butuweereddwa. (Soma Abebbulaniya 13:17.) Tukimanyi nti bwe tukolera ku bulagirizi obuba butuweereddwa, tweyongera okuba obumu ne bakkiriza bannaffe. (Bef. 4:2, 3) Tuli bakakafu nti bwe tweyongera okugondera abo Yakuwa b’alonze okutukulembera wadde nga tebatuukiridde, Yakuwa ajja kutuwa emikisa. (1 Sam. 15:22) Ate era tuli bakakafu nti bwe wabaawo ensobi eyeetaaga okutereezebwa, Yakuwa aba ajja kugitereeza mu kiseera kye ekituufu.—Mi. 7:7.
15-16. Kiki ekyayamba ow’oluganda omu okukolera ku bulagirizi obwabaweebwa wadde nga mu kusooka yali abuusabuusa obanga bukola? (Laba n’ebifaananyi.)
15 Lowooza ku kyokulabirako kino ekiraga emiganyulo gye tufuna bwe tukolera ku bulagirizi obutuweebwa ekibiina. Mu Peru, wadde ng’olulimi Olusipeyini lwe lusinga okwogerwa, abantu bangi baagala nnyo okwogera ennimi zaabwe ez’obuzaaliranwa. Olumu ku nnimi ezo luyitibwa Olukecwa. Okumala emyaka mingi ab’oluganda ne bannyinaffe bangi aboogera Olukecwa baanoonyanga abantu aboogera olulimi olwo mu kitundu mwe babuulira. Naye okusobola okugondera ebiragiro by’ab’obuyinza, enkyukakyuka zaakolebwa mu ngeri y’okubuuliramu abantu aboogera ennimi endala. (Bar. 13:1) Kyokka ab’oluganda abamu baalowooza nti enkyukakyuka ezo zaali zisobola okuviirako omulimu gw’okubuulira okuddirira mu kitundu kyabwe. Naye bwe baakolera ku bulagirizi obwabaweebwa, Yakuwa yabawa emikisa era baafuna abantu bangi aboogera Olukecwa.
16 Ow’oluganda Kevin, aweereza ng’omukadde mu kibiina ekyogera Olukecwa yali omu ku abo abaali balowooza nti enkyukakyuka eyo eyinza obutakola. Agamba nti: “Muli nneebuuza nti, ‘Tunaazuula tutya abantu aboogera Olukecwa?’” Kiki Kevin kye yakola? Agamba nti: “Nnalowooza ku ebyo ebiri mu Engero 3:5, era ne ndowooza ne ku Musa. Yakuwa yamuwa obulagirizi obwali bulabika ng’obutakola. Yamugamba okukulembera Abayisirayiri abaggye e Misiri abatwale ku Nnyanja Emmyufu, era kyalabika ng’Abayisirayiri abaali batasobola kuwona ggye lya Bamisiri eryali libawondera. Wadde kyali kityo, Musa yagondera Yakuwa, era Yakuwa yabanunula mu ngeri eyeewuunyisa ennyo.” (Kuv. 14:1, 2, 9-11, 21, 22) Bwe kityo Kevin yali mwetegefu okukyusa mu ngeri gye yali abuuliramu. Biki ebyavaamu? Agamba nti: “Nneewuunya nnyo engeri Yakuwa gye yatuwaamu emikisa. Ng’enkyukakyuka eno tennakolebwa, twatambulanga eŋŋendo empanvu era oluusi twazuulangayo omuntu omu oba babiri aboogera Olukecwa. Kati essira tuliteeka ku bitundu ebirimu abantu bangi aboogera Olukecwa. N’ekivuddemu tunyumya n’abantu bangi, tulina ab’okuddira bangi, era tulina n’abayizi ba Bayibuli bangi. Ate era omuwendo gw’abo ababaawo mu nkuŋŋaana nagwo gweyongedde.” Awatali kubuusabuusa bwe tutambula olw’okukkiriza Yakuwa atuwa emikisa mingi.
Ab’oluganda baakizuula nti abantu bangi be baasanganga baabayambanga okuzuula abantu bangi aboogera Olukecwa (Laba akatundu 15-16)
17. Biki by’oyize mu kitundu kino?
17 Tulabye engeri gye tusobola okweyongera okukiraga nti tutambula lwa kukkiriza mu mbeera za mirundi esatu. Naye tulina okweyongera okutambula olw’okukkiriza mu mbeera zaffe zonna ez’obulamu, gamba nga tulondawo eby’okwesanyusaamu, nga tusalawo ebikwata ku buyigirize, oba okukuza abaana. Ka kibe ki kye tusalawo tetulina kusalawo nga tusinziira ku ebyo byokka bye tulaba, wabula tulina okusalawo nga tusinziira ku nkolagana yaffe ne Yakuwa, obulagirizi bw’atuwa, n’ekisuubizo kye eky’okutulabirira. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja ‘kutambuliranga mu linnya lya Yakuwa Katonda waffe emirembe n’emirembe.’—Mi. 4:5.
OLUYIMBA 156 Okukkiriza Kunfuula Muvumu
a Amannya agamu gakyusiddwa.
b Wadde ng’akatundu kano koogera ku mwannyinaffe anoonya ow’okufumbirwa, ebyo bye koogerako bikwata ne ku w’oluganda anoonya ow’okuwasa.