EKITUNDU EKY’OKUSOMA 20
OLUYIMBA 7 Yakuwa, Ggwe Maanyi Gaffe
Yakuwa Akubudaabuda
“Atenderezebwe . . . Kitaffe ow’okusaasira era Katonda ow’okubudaabuda kwonna.”—2 KOL. 1:3.
EKIGENDERERWA
Bye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yabudaabudamu Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse.
1. Embeera y’Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse yali etya?
LOWOOZA ku ngeri Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse e Babulooni gye baali bawuliramu. Baali balabye ensi yaabwe ng’esaanyizibwawo. Olw’ebibi byabwe n’ebya bajjajjaabwe, baali baggiddwa mu nsi yaabwe ne batwalibwa mu nsi endala. (2 Byom. 36:15, 16, 20, 21) Kyo kituufu nti mu Babulooni baalina eddembe okukola ebintu ebitali bimu mu bulamu bwabwe obwa bulijjo. (Yer. 29:4-7) Naye ebintu tebyali byangu, era obwo si bwe bulamu bwe baali baagala okubeeramu. Baawulira batya nga bali mu mbeera eyo? Omu ku bo yagamba nti: “Okumpi n’emigga gy’omu Babulooni gye twatuulanga. Twakaabanga bwe twajjukiranga Sayuuni.” (Zab. 137:1) Abayudaaya abo abaali ab’ennyamivu baali beetaaga okubudaabudibwa. Naye ani yandibadde ababudaabuda?
2-3. (a) Kiki Yakuwa kye yakolera Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?
2 Yakuwa ye “Katonda ow’okubudaabuda kwonna.” (2 Kol. 1:3) Olw’okuba alina okwagala kungi, ayagala nnyo okubudaabuda abo bonna abamusemberera. Yakuwa yali akimanyi nti abamu ku abo abaali mu buwaŋŋanguse oluvannyuma bandiwulidde bubi olw’okumujeemera era ne baddamu okumuweereza mu ngeri entuufu. (Is. 59:20) N’olwekyo, ng’ebula emyaka egisukka mu 100 nga tebannatwalibwa mu buwaŋŋanguse, yaluŋŋamya nnabbi Isaaya okuwandiika ekitabo leero kye tumanyi nga Isaaya. Yalina kigendererwa ki? Isaaya yagamba nti: “‘Mubudeebude abantu bange; mubabudeebude,’ Katonda wammwe bw’agamba.” (Is. 40:1) Yakuwa yaluŋŋamya nnabbi oyo okuwandiika ebyo ebyandibadde bibudaabuda abo abandigenze mu buwaŋŋanguse.
3 Okufaananako Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse, naffe oluusi twetaaga okubudaabudibwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri ssatu Yakuwa gye yabudaabudamu Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse: (1) Yasuubiza okusonyiwa abo abandyenenyezza, (2) yawa abantu be essuubi, era (3) yabayamba obuteeraliikirira. Ate era mu kitundu kino tugenda kulaba engeri naffe Yakuwa gy’atubudaabudamu.
YAKUWA MUSAASIZI ERA ASONYIWA
4. Yakuwa yakiraga atya nti musaasizi? (Isaaya 55:7)
4 Yakuwa ye “Kitaffe ow’okusaasira.” (2 Kol. 1:3) Yakyoleka nti musaasizi bwe yasuubiza nti yandisonyiye Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse abandyenenyezza. (Soma Isaaya 55:7.) Yagamba nti: “Ndikusaasira n’okwagala okutajjulukuka okw’emirembe n’emirembe.” (Is. 54:8) Yakuwa yandisaasidde atya abantu be? Wadde ng’Abayudaaya okutwaliza awamu baalina okwolekagana n’ebyo ebyandivudde mu bikolwa byabwe, yasuubiza nti baali tebagenda kusigala mu Babulooni mirembe na mirembe. E Babulooni baali bagenda kumalayo kiseera kigere. (Is. 40:2) Ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byazzaamu nnyo amaanyi Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse abeenenya!
5. Lwaki tuli bakakafu n’okusinga Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse nti Yakuwa mwetegefu okutusonyiwa?
5 Biki bye tuyiga? Yakuwa mwetegefu okusonyiwa abaweereza be. Leero tuli bakakafu nnyo n’okusinga Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse nti ddala Yakuwa asonyiwa. Lwaki tugamba bwe tutyo? Tumanyi bulungi ekyo Yakuwa ky’asinziirako okutusonyiwa. Nga wayise emyaka mingi nnyo oluvannyuma lw’obunnabbi bwa Isaaya okuwandiikibwa, Yakuwa yasindika ku nsi Omwana we gw’ayagala ennyo okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka ku lw’aboonoonyi bonna abeenenya. Ssaddaaka eyo Yakuwa gy’asinziirako ‘okusangula’ ebibi byaffe. (Bik. 3:19; Is. 1:18; Bef. 1:7) Mazima ddala Katonda waffe musaasizi nnyo!
6. Lwaki kizzaamu amaanyi okulowooza ku ngeri Yakuwa gy’atusonyiwamu? (Laba n’ekifaananyi.)
6 Ebigambo bya Yakuwa ebiri mu Isaaya 55:7 bisobola okutubudaabuda bwe tuba nga tulumirizibwa omutima. Abamu ku ffe omutima guyinza okweyongera okutulumiriza olw’ekibi kye twakola ne bwe tuba nga twenenya. Ekyo kiba bwe kityo nnaddala bwe tuba nga tukyayolekagana n’ebyo ebyava mu kibi ekyo. Kyokka bwe tuba nga twayatula ekibi kyaffe era ne tutereeza amakubo gaffe, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa yatusonyiwa. Yakuwa bw’atusonyiwa asalawo obutaddamu kujjukira bibi byaffe. (Geraageranya Yeremiya 31:34.) N’olwekyo, bwe kiba nti Yakuwa tassa birowoozo ku bibi bye twakola, naffe tetusaanidde kubissaako birowoozo. Yakuwa ky’atwala ng’ekikulu kye kyo kye tukola kati so si ensobi ze twakola mu biseera eby’emabega. (Ezk. 33:14-16) Era mu kiseera ekitali kya wala, ajja kuggirawo ddala ebintu byonna ebibi ebiva mu nsobi ze twakola.
Yakuwa ky’atwala ng’ekikulu si ze nsobi ze twakola mu biseera eby’emabega, wabula ebyo bye tukola kati (Laba akatundu 6)
7. Bwe kiba nti waliwo ekibi eky’amaanyi kye twakola ne tukisirikira, kiki ekyanditukubirizza okusaba obuyambi?
7 Kiki kye tusaanidde okukola omuntu ow’omunda bw’aba ng’atulumiriza olw’ekibi eky’amaanyi kye twasirikira? Bayibuli etukubiriza okusaba abakadde batuyambe. (Yak. 5:14, 15) Naye kiyinza obutatubeerera kyangu kubabuulira kibi kye twakola. Kyokka tujja kusobola okubatuukirira singa twenenya era singa tukijjukira nti Yakuwa n’abakadde abo bajja kutulaga okwagala era nti bajja kutusaasira. Lowooza ku ngeri Yakuwa gye yakozesaamu abakadde okubudaabuda ow’oluganda ayitibwa Arthur,a eyali alumirizibwa ennyo omutima olw’ekyo kye yali akoze. Arthur agamba nti: “Nnamala omwaka nga mulamba nga ndaba ebifaananyi eby’obuseegu. Naye oluvannyuma lw’okuwulira emboozi eyali ekwata ku muntu ow’omunda, nnategeezaako mukyala wange ekibi ekyo kye nnali nkola era ne ntegeezaako n’abakadde. Oluvannyuma lw’ekyo nnawulira obuweerero, kyokka era nnali nkyawulira bubi olw’ekyo kye nnali nkoze. Abakadde banzijukiza nti Yakuwa yali tanjabulidde. Atukangavvula olw’okuba atwagala nnyo. Ebigambo ebyo byantuuka ku mutima era ne binnyamba okutereeza endowooza yange.” Leero Arthur aweereza nga payoniya era ng’omuweereza mu kibiina. Kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti bwe twenenya Yakuwa mwetegefu okutusonyiwa!
YAKUWA ATUWA ESSUUBI
8. (a) Kiki Yakuwa kye yasuubiza abo abaali mu buwaŋŋanguse? (b) Okusinziira ku Isaaya 40:29-31, ekyo Yakuwa kye yasuubiza Abayudaaya abeenenya kyandibakutteko kitya?
8 Mu ndaba ey’obuntu, tewaaliwo ssuubi lyonna nti Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse bandivudde mu mbeera eyo. Ekyo kiri bwe kityo kubanga Abababulooni tebaasumululanga bantu be baawambanga. (Is. 14:17) Naye Yakuwa yawa abantu be essuubi. Yabasuubiza okubaggya mu buwaŋŋanguse, era tewali kintu kyonna kyali kiyinza kumulemesa. (Is. 44:26; 55:12) Eri Yakuwa, Babulooni yali ng’enfuufu obufuufu ekutte ku kintu. (Is. 40:15) Yandibadde agiggyawo mu bwangu ng’omuntu bw’afuuwa enfuufu ku kintu n’evaako. Ekisuubizo ekyo kyandikutte kitya ku abo abaali mu buwaŋŋanguse? Kyandibadde kibabudaabuda. Naye era waliwo n’engeri endala gye kyandibadde kibayambamu. Isaaya yagamba nti: “Abo abateeka essuubi lyabwe mu Yakuwa bajja kuddamu okufuna amaanyi.” (Soma Isaaya 40:29-31.) Mazima ddala essuubi lyandibayambye okuddamu amaanyi ne batumbiira “waggulu nga balinga abalina ebiwaawaatiro by’empungu.”
9. Kiki ekyayamba abo abaali mu buwaŋŋanguse okuba abakakafu nti ebyo Yakuwa bye yabasuubiza byandituukiridde?
9 Yakuwa era yayamba abo abaali mu buwaŋŋanguse okuba n’ensonga gye bandisinziddeko okwesiga ebyo bye yabasuubiza. Mu ngeri ki? Lowooza ku bunnabbi obwali bumaze okutuukirira. Abayudaaya abo baali bakimanyi nti Abaasuli baali balumbye obwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi era ne batwala abantu baamu mu buwaŋŋanguse. (Is. 8:4) Baalaba Abababulooni nga basaanyaawo Yerusaalemi era ne batwala abantu baamu mu buwaŋŋanguse. (Is. 39:5-7) Baali bakimanyi nti kabaka wa Babulooni yaggyamu Kabaka Zeddeekiya amaaso era n’amutwala e Babulooni. (Yer. 39:7; Ezk. 12:12, 13) Buli kimu Yakuwa kye yali agambye kyali kituukiridde. (Is. 42:9; 46:10) Ebyo byonna byabayamba okweyongera okuba abakakafu nti n’ekyo Yakuwa kye yabasuubiza nti bandiggiddwa mu buwambe kyandituukiridde!
10. Kiki ekiyinza okutuyamba okusigala nga tulina essuubi ekkakafu mu nnaku zino ez’enkomerero?
10 Kiki kye tuyiga? Bwe tuba nga twennyamidde, essuubi lisobola okutubudaabuda ne tuddamu amaanyi. Ebiseera bye tulimu bizibu nnyo, era tulina abalabe ab’amaanyi abatuyigganya. Naye tetusaanidde kuggwaamu maanyi. Yakuwa atusuubiza obulamu obutaggwaawo mu nsi erimu emirembe n’obutebenkevu. Bulijjo tusaanidde okussanga ebirowoozo byaffe ku ssuubi eryo. Bwe tutakola tutyo, essuubi lyaffe liyinza okuba ng’ekifo ekirabika obulungi kye tutalaba bulungi olw’okuba tukitunuulira tusinziira mu ddirisa eririna endabirwamu eziddugala. Tuyinza tutya “okuyonja endabirwamu ezo,” kwe kugamba, okukuuma essuubi lyaffe nga linywevu? Bulijjo tusaanidde okufumiitirizanga ku ngeri obulamu bwe buliba mu nsi empya. Tusaanidde n’okulaba vidiyo, okuwuliriza ennyimba, n’okusoma ebitundu ebyogera ku ssuubi eryo. Ate mu ssaala zaffe kirungi okubuulira Yakuwa bye twesunga mu nsi empya.
11. Kiki ekiyamba mwannyinaffe alina obulwadde obutawona okuddamu amaanyi?
11 Lowooza ku ngeri essuubi gye libudaabudamu mwannyinaffe ayitibwa Joy alina obulwadde obutawona. Agamba nti: “Bwe mpulira ng’embeera ensukkiriddeko, ntegeeza Yakuwa engeri gye mpuliramu nga nkimanyi nti antegeera bulungi. Yakuwa addamu essaala zange ng’ampa ‘amaanyi agasinga ku ga bulijjo.’”(2 Kol. 4:7) Joy era akuba akafaananyi ng’ali mu nsi empya ‘omutaliba muntu agamba nti: “Ndi mulwadde.” (Is. 33:24) Naffe bwe tutegeeza Yakuwa ebituli ku mutima era ne tussa ebirowoozo byaffe ku ssuubi lye tulina, tusobola okuddamu amaanyi.
12. Biki bye tusinziirako okuba abakakafu nti ebyo Yakuwa bye yatusuubiza ddala bijja kutuukirira? (Laba n’ekifaananyi.)
12 Nga Yakuwa bwe yakola eri Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse, naffe atuwadde ebintu bingi bye tusinziirako okwesiga ebyo bye yatusuubiza. Lowooza ku bunnabbi bwe tulaba nga butuukirira. Ng’ekyokulabirako, tulaba obufuzi kirimaanyi obuliwo nga ‘ku luuyi olumu bwa maanyi, ate ku luuyi olulala bunafu.’ (Dan. 2:42, 43) Tuwulira “musisi mu bifo ebitali bimu,” era tubuulira mu ‘mawanga gonna.’ (Mat. 24:7, 14) Obunnabbi obwo awamu n’obulala bungi butuyamba okweyongera okuba abakakafu nti ebintu Yakuwa bye yatusuubiza ebitannatuukirira ddala bijja kutuukirira.
Obunnabbi bwe tulaba nga butuukirizibwa leero butuyamba okuba abakakafu nti ebyo Yakuwa bye yasuubiza bijja kutuukirira (Laba akatundu 12)
YAKUWA ATUYAMBA OBUTEERALIIKIRIRA
13. (a) Kusoomooza ki Abayudaaya kwe bandibadde boolekagana nakwo nga banaatera okuteebwa? (b) Okusinziira ku Isaaya 41:10-13, Yakuwa yazzaamu atya amaanyi Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse?
13 Wadde nga Yakuwa yali asuubizza okuggya Abayudaaya mu buwaŋŋanguse, yali akimanyi nti ebintu tebyandibabeeredde byangu ng’ekiseera ekyo kinaatera okutuuka. Yakuwa yali agambye nti kabaka ow’amaanyi yandibadde alumba amawanga agaali geetoolodde Babulooni n’agawangula, era nti oluvannyuma yandibadde alumba ne Babulooni. (Is. 41:2-5) Ekyo kyandyeraliikirizza Abayudaaya? Yakuwa yabazzaamu amaanyi ng’ekyabula ekiseera, bwe yabagamba nti: “Totya, kubanga ndi naawe. Teweeraliikirira, kubanga nze Katonda wo.” (Soma Isaaya 41:10-13.) Kiki kye yali ategeeza bwe yagamba nti: “Nze Katonda wo”? Kya lwatu, yali tajjukiza Bayudaaya kumusinza kubanga ekyo baali bakimanyi bulungi. Mu kifo kyekyo, yali abajjukiza nti yali akyali ku ludda lwabwe.—Zab. 118:6.
14. Mu ngeri ki endala Yakuwa gye yayamba abo abaali mu buwaŋŋanguse okuggwaamu okutya?
14 Yakuwa era yayamba Abayudaaya okuggwaamu okutya bwe yabajjukiza nti alina amaanyi mangi nnyo, era nti okumanya kwe tekuliiko kkomo. Yabakubiriza okutunuulira emmunyeenye eziri ku ggulu. Yabagamba nti ng’oggyeeko okuba nti ye yatonda emmunyeenye ezo, era zonna azimanyi amannya. (Is. 40:25-28) Bwe kiba nti Yakuwa amanyi erinnya lya buli emu ku mmunyeenye, ateekwa okuba nga buli omu ku baweereza be amumanyi erinnya. Era bwe kiba nti yakozesa amaanyi ge amangi okutonda emmunyeenye, alina amaanyi okuyamba buli omu ku baweereza be. Mazima ddala Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse baali tebasaanidde kutya wadde okweraliikirira.
15. Katonda yayamba atya Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse okweteekerateekera ebyali bigenda okubaawo?
15 Yakuwa era yayamba abantu be okweteekerateekera ebyali bigenda okubaawo. Mu bunnabbi bwa Isaaya, yagamba Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse nti: “Muyingire mu bisenge byammwe eby’omunda, era muggalewo enzigi. Mwekweke okumala akaseera katono okutuusa obusungu lwe bunaggwaawo.” (Is. 26:20) Olunyiriri olwo luyinza okuba nga lwasooka okutuukirira nga Kabaka Kuulo awamba Babulooni. Munnabyafaayo omu Omuyonaani eyaliwo mu kiseera eky’edda yagamba nti Kuulo bwe yayingira Babulooni, “yalagira [abasirikale be] okutta buli muntu gwe bandisanze wabweru.” Lowooza ku ntiisa ey’amaanyi abantu abaali babeera mu Babulooni gye baafuna! Naye bo Abayudaaya bayinza okuba nga tebaafuna ntiisa eyo olw’okugondera ebiragiro bya Yakuwa.
16. Lwaki tetusaanidde kweraliikirira ebyo ebinaabaawo mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene? (Laba n’ekifaananyi.)
16 Biki bye tuyiga? Mu kiseera ekitali kya wala, wagenda kubaawo ekibonyoobonyo ekinene ekitabangawo mu byafaayo by’abantu. Bwe kinaatandika, abantu bajja kusoberwa era bajja kutya nnyo. Naye tekijja kuba bwe kityo eri abantu ba Yakuwa. Tukimanyi nti Yakuwa ye Katonda waffe. Tujja kuyimirira busimba nga tukimanyi nti ‘okununulibwa kwaffe kunaatera okutuuka.’ (Luk. 21:28) Amawanga agagenda okwegatta awamu, ne bwe ganaatulumba tujja kusigala nga tuli bagumu. Yakuwa ajja kutuma bamalayika okutukuuma, era ajja kutuwa obulagirizi obunaatuyamba okuwonawo. Obulagirizi obwo bunaatutuusibwako butya? Kijja kutwetaagisa okulindirira tulabe engeri gye bunaatutuusibwako. Naye kirabika obulagirizi ng’obwo bujja kututuusibwako okuyitira mu bibiina byaffe. Mu ngeri eyo, ebibiina ebyo bye biyinza okuba ‘ebisenge eby’omunda,’ mwe tujja okufunira obukuumi. Tuyinza tutya okweteekerateekera ebijja mu maaso? Tusaanidde okuba n’enkolagana ennungi ne bakkiriza bannaffe, okugondera obulagirizi obutuweebwa ekibiina, era n’okuba abakakafu nti kino kye kibiina Yakuwa ky’akozesa.—Beb. 10:24, 25; 13:17.
Okufumiitiriza ku maanyi ga Yakuwa n’obusobozi bw’alina obw’okutuwonyaawo, kijja kutuyamba obuteeraliikirira kisukkiridde ng’ekibonyoobonyo ekinene kituuse (Laba akatundu 16)b
17. Biki ebiyinza okutuyamba okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutubudaabuda?
17 Wadde ng’Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse bandibadde mu mbeera nzibu nnyo, Yakuwa yabawa ebintu ebyandibadde bibabudaabuda. Naffe ajja kutukolera kye kimu. N’olwekyo, ka kibe ki ekiyinza okubaawo mu biseera eby’omu maaso, weeyongere okwesiga Yakuwa nti ajja kukubudaabuda. Ba mukakafu nti asonyiwa abaweereza be abeesigwa era nti akufaako. Bulijjo ebirowoozo byo bissenga ku ssuubi ly’olina. Kijjukire nti olw’okuba Yakuwa ye Katonda wo, tosaanidde kutya kintu kyonna.
OLUYIMBA 3 Amaanyi Gaffe, Essuubi Lyaffe, Obwesige Bwaffe
a Amannya agamu gakyusiddwa.
b EBIFAANANYI: Ab’oluganda ne bannyinaffe abatonotono bakuŋŋaanye wamu. Bakakafu nti Yakuwa alina amaanyi n’obusobozi okukuuma abantu be wonna we bali ku nsi.