EKITUNDU EKY’OKUSOMA 24
OLUYIMBA 98 Ebyawandiikibwa—Byaluŋŋamizibwa Katonda
Bye Tuyigira ku Bunnabbi Yakobo Bwe Yayogera ng’Anaatera Okufa—Ekitundu 1
“Mukuŋŋaane wamu mbabuulire ebiribatuukako mu nnaku ezisembayo.”—LUB. 49:1.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba bye tuyigira ku bunnabbi Yakobo bwe yayogera ng’anaatera okufa obukwata ku Lewubeeni, Simiyoni, Leevi, ne Yuda.
1-2. Kiki Yakobo kye yakola ng’anaatera okufa, era lwaki? (Laba ddiba.)
WAAKAYITA emyaka nga 17 bukya Yakobo omuweereza wa Yakuwa omwesigwa ava mu Kanani n’agenda okubeera mu Misiri awamu n’ab’ennyumba ye. (Lub. 47:28) Musanyufu nnyo okuddamu okulaba omwana we Yusufu gw’ayagala ennyo, era n’okulaba ab’omu maka ge nga bazzeemu okubeera awamu. Naye kati Yakobo akiraba nti anaatera okufa. N’olwekyo ayita batabani be ng’aliko obubaka obukulu bw’ayagala okubagamba.—Lub. 49:28.
2 Mu kiseera ekyo, kyabanga kya bulijjo omutwe gw’amaka eyabanga anaatera okufa okuyita ab’omu maka ge okubaako ebiragiro by’abawa nga tannafa. (Is. 38:1) Bwe yabayitanga era yabanga asobola okubalaga oyo eyandibadde ow’okumusikira.
Yakobo ng’anaatera okufa, ng’ayogera obunnabbi eri batabani be 12 (Laba akatundu 1-2)
3. Okusinziira ku Olubereberye 49:1, 2, lwaki ebigambo Yakobo bye yayogera byali bya makulu nnyo?
3 Soma Olubereberye 49:1, 2. Naye ku luno ebigambo Yakobo bye yategeeza batabani be byali bya njawulo. Olw’okuba yali nnabbi, Yakuwa yamusobozesa okubuulira batabani be ebintu ebikulu ebyandibatuuseeko awamu n’ab’ennyumba zaabwe mu biseera eby’omu maaso. Eyo ye nsonga lwaki ebiseera ebimu ebigambo ebyo biyitibwa obunnabbi.
4. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino n’ekiddako era bituganyula bitya? (Laba n’akasanduuko “Ab’Ennyumba ya Yakobo.”)
4 Mu kitundu kino tugenda kulaba ebyo Yakobo bye yagamba batabani be bana: Lewubeeni, Simiyoni, Leevi, ne Yuda. Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba ebyo bye yagamba batabani be abalala omunaana. Nga bwe tugenda okulaba, ebyo Yakobo bye yayogera byali tebikwata ku batabani be bokka, naye era byali bikwata ne ku b’ennyumba zaabwe abaali bagenda okuvaamu eggwanga lya Isirayiri. Okwekenneenya ebyafaayo by’eggwanga eryo kijja kutuyamba okulaba engeri obunnabbi bwa Yakobo gye bwatuukiriramu. Ate era okwekenneenya ebigambo bye yayogera, kijja kutuyamba okubaako ebintu ebikulu bye tuyiga ebinaatusobozesa okusanyusa Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu.
LEWUBEENI
5. Kiki Lewubeeni ky’ayinza okuba nga yali asuubira okufuna okuva eri kitaawe?
5 Yakobo yasooka kwogera ne Lewubeeni. Yamugamba nti: “Ggwe mwana wange omubereberye.” (Lub. 49:3) Olw’okuba Lewubeeni ye yali omwana omubereberye, ayinza okuba nga yali asuubira nti yali agenda kufuna emigabo ebiri ku bintu bya kitaawe. Ate era ayinza okuba nga yali alowooza nti ye yali agenda okuba nga y’akulira ennyumba ya kitaawe oluvannyuma lwa kitaawe okufa, era nti enkizo eyo yandibadde eweebwa n’abaana be ne bazzukulu be.
6. Lwaki Lewubeeni teyaweebwa mugabo gw’omwana omubereberye? (Olubereberye 49:3, 4)
6 Kyokka Lewubeeni teyaweebwa mugabo gw’omwana omubereberye. (1 Byom. 5:1) Lwaki? Emyaka egiwerako emabega Lewubeeni yali yeegatta ne Biruka, omuzaana wa kitaawe. Biruka yali muweereza wa Laakeeri, omukyala Yakobo gwe yali ayagala ennyo. Naye mu kiseera ekyo Laakeeri yali yafa. (Lub. 35:19, 22) Lewubeeni yali mutabani wa Leeya, mukyala wa Yakobo omulala. Oboolyawo okwegomba okw’okwegatta kwe kwaviirako Lewubeeni okukola ekyo kye yakola. Oba ayinza okuba yeegatta naye ng’ayagala Yakobo akyawe Biruka, yeeyongere okwagala maama we, Leeya. K’ebe nsonga ki eyamuviirako okukola ekyo, ekyo kye yakola kyali kibi nnyo mu maaso ga Yakuwa era kyanyiiza nnyo kitaawe.—Soma Olubereberye 49:3, 4.
7. Kiki ekyatuuka ku Lewubeeni ne bazzukulu be? (Laba n’akasanduuko “Obunnabbi Yakobo Bwe Yayogera ng’Anaatera Okufa.”)
7 Yakobo yagamba Lewubeeni nti: “Tolisukkuluma.” Ebigambo ebyo byatuukirira. Tewaliiwo wonna we tusoma mu Bayibuli nti omu ku bazzukulu ba Lewubeeni yafuuka kabaka, kabona, oba nnabbi. Naye Yakobo teyazaalukuka Lewubeeni era ab’omu nnyumba ya Lewubeeni baafuuka ekika kiramba mu Isirayiri. (Yos. 12:6) Lewubeeni yali ayolese engeri ennungi mu mbeera endala, era tewaliiwo kiraga nti yaddamu okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu.—Lub. 37:20-22; 42:37.
8. Biki bye tuyigira ku ebyo ebyatuuka ku Lewubeeni?
8 Biki bye tuyiga? Tusaanidde okufuba ennyo okuyiga okwefuga n’okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu. Singa tukemebwa okukola ekibi, tusaanidde okusiriikiriramu ne tufumiitiriza ku ngeri ekyo kye tuba twagala okukola gye kinaakwata ku Yakuwa, ku b’omu maka gaffe, ne ku balala. Ate era tusaanidde okukijjukira nti “ekyo omuntu ky’asiga era ky’alikungula.” (Bag. 6:7) Ku luuyi olulala, ebyo ebikwata ku Lewubeeni biraga nti Yakuwa musaasizi nnyo. Wadde nga tatuziyiza kutuukibwako bintu ebibi ebiva mu nsobi ze tuba tukoze, atuwa emikisa bwe tufuba okukola ekituufu.
SIMIYONI NE LEEVI
9. Lwaki Yakobo teyali musanyufu olw’ekyo Simiyoni ne Leevi kye baakola? (Olubereberye 49:5-7)
9 Soma Olubereberye 49:5-7. Yakobo yaddako kwogera ne Simiyoni ne Leevi. Naye ebyo bye yayogera byalaga nti teyali musanyufu olw’ekyo kye baakola. Emyaka egiwerako emabega, waliwo omusajja Omukanani eyali ayitibwa Sekemu eyakwata Dina muwala wa Yakobo. Batabani ba Yakobo bonna baali batuufu okusunguwala, naye Simiyoni ne Leevi tebaafuga busungu. Baalimbalimba abasajja b’omu kibuga Sekemu nti baali bajja kuba mu mirembe nabo singa bakkiriza okukomolebwa. Abasajja abo bakkiriza ne bakomolebwa. Naye bwe baali bakyali mu bulumi olw’okukomolebwa, Simiyoni ne Leevi baakwata “buli omu ekitala kye ne bazinduukiriza ekibuga ne batta buli musajja.”—Lub. 34:25-29.
10. Obunnabbi Yakobo bwe yayogera obwali bukwata ku Simiyoni ne Leevi bwatuukirira butya? (Laba n’akasanduuko “Obunnabbi Yakobo Bwe Yayogera ng’Anaatera Okufa.”)
10 Yakobo yasunguwala nnyo olw’okuba Simiyoni ne Leevi baali basse abantu bangi nnyo. Mu bunnabbi bwe yawa, yagamba nti bandibadde basaasaana mu Isirayiri yonna. Ebigambo ebyo byatuukirira nga wayise emyaka egisukka mu 200, Abayisirayiri bwe baayingira mu Nsi Ensuubize. Ekika kya Simiyoni tekyafuna kitundu kya wamu, wabula kyafuna ebitundu eby’enjawulo munda mu kitundu kya Yuda. (Yos. 19:1) Ate ekika kya Leevi kyasikira ebibuga 48 ebyali mu bitundu eby’enjawulo mu Isirayiri.—Yos. 21:41.
11. Bintu ki ebirungi ab’omu kika kya Simiyoni n’ekya Leevi bye baakola?
11 Bazzukulu ba Simiyoni ne Leevi tebaakola nsobi ze zimu bajjajjaabwe ze baakola. Abantu bangi okuva mu kika kya Leevi baasinza Yakuwa n’obwesigwa. Musa bwe yagenda ku Lusozi Sinaayi Yakuwa okumuwa Amateeka, Abayisirayiri bangi beenyigira mu kusinza ennyana. Naye ab’ekika kya Leevi baagaana okusinza ennyana eyo, era oluvannyuma baayambako Musa mu kusaanyaawo abo abaali beenyigidde mu kusinza okwo. (Kuv. 32:26-29) Yakuwa yayawulawo ab’ekika kya Leevi n’abawa enkizo ey’okuweereza nga bakabona. (Kuv. 40:12-15; Kubal. 3:11, 12) Ate ab’ekika kya Simiyoni oluvannyuma baayambako ab’ekika kya Yuda okulwanyisa Abakanani abaali mu kitundu ekyali kibaweereddwa mu Nsi Ensuubize.—Balam. 1:3, 17.
12. Biki bye tuyigira ku Simiyoni ne Leevi?
12 Biki bye tuyiga? Bulijjo tulina okufuga obusungu. Bw’oyisibwa obubi oba omuntu gw’oyagala bw’ayisibwa obubi, kya bulijjo okunyiiga. (Zab. 4:4) Kyokka tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa tasanyuka bwe twogera oba bwe tukola ebintu olw’okwagala okulumya abo ababa batuyisizza obubi. (Yak. 1:20) Bwe twolekagana n’obutali bwenkanya mu kibiina oba ebweru waakyo, tusaanidde okukolera ku misingi gya Bayibuli. Ekyo kijja kutuyamba okwewala okwogera oba okukola ebintu mu busungu ebiyinza okulumya abalala. (Bar. 12:17, 19; 1 Peet. 3:9) Bazadde bo ne bwe baba nga bakola ebintu ebitasanyusa Yakuwa, kijjukire nti toteekeddwa kubakoppa. Tokitwala nti tosobola kusanyusa Yakuwa era nti tasobola kukuwa mikisa. Yakuwa ajja kukuyamba okukola ekituufu era ajja kukuwa emikisa bw’onookikola.
YUDA
13. Lwaki Yuda ayinza okuba nga yali yeeraliikirira kitaawe bwe yatuuka okwogera naye?
13 Yakobo yaddako kwogera ne mutabani we Yuda. Oluvannyuma lwa Yuda okuwulira ebyo kitaawe bye yali agambye bakulu be, ayinza okuba nga muli yali yeeraliikiridde. Naye kennyini yali yakola ensobi ez’amaanyi. Ye ne baganda be baanyaga ebintu by’abantu b’omu kibuga Sekemu. (Lub. 34:27) Ate era baatunda Yusufu mu buddu ne balimbalimba taata waabwe nti ensolo yali emulidde. (Lub. 37:31-33) Oluvannyuma yeegatta ne Tamali muka mutabani we ng’alowooza nti yali malaaya.—Lub. 38:15-18.
14. Bintu ki ebirungi Yuda bye yali akoze? (Olubereberye 49:8, 9)
14 Naye Yakobo yatendereza butendereza Yuda, era n’amutegeeza ebintu ebirungi ye n’ab’ennyumba ye bye bandifunye mu biseera eby’omu maaso. (Soma Olubereberye 49:8, 9.) Yuda yali alaze nti afaayo nnyo ku kitaawe eyali akaddiye. Ate era yali alaze nti afaayo nnyo ku muganda we Benyamini, eyali asembayo obuto.—Lub. 44:18, 30-34.
15. Mikisa ki Yuda gye yafuna?
15 Mu bunnabbi bwe yayogera, Yakobo yagamba nti Yuda yandibadde akulemberamu baganda be. Naye waali wagenda kuyitawo emyaka nga 200 obunnabbi obwo bulyoke butuukirire. Abayisirayiri bwe baali mu ddungu nga bagenda mu Nsi Ensuubize, ab’ekika kya Yuda be baakulemberangamu ebika ebirala. (Kubal. 10:14) Nga wayise emyaka mingi, ab’ekika ya Yuda be baakulembera ebika ebirala okuwamba Ensi Ensuubize. (Balam. 1:1, 2) Ate Dawudi, omu ku bazzukulu ba Yuda, ye kabaka eyasooka okufuga mu bakabaka abangi abaava mu kika ekyo. Naye waliwo engeri endala obunnabbi obukwata ku Yuda gye bwatuukiriramu.
16. Obunnabbi obuli mu Olubereberye 49:10 bwatuukirira butya? (Laba n’akasanduuko “Obunnabbi Yakobo Bwe Yayogera ng’Anaatera Okufa.”)
16 Yakobo yakyoleka nti mu kika kya Yuda mwe mwandivudde omufuzi ow’enkalakkalira eyandifuze abantu. (Soma Olubereberye 49:10 n’obugambo obuli wansi.) Omufuzi oyo ye Yesu Kristo, Yakobo gwe yayita Siiro. Malayika bwe yali ayogera ku Yesu, yagamba nti: “Yakuwa Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe.” (Luk. 1:32, 33) Ate era Yesu ayitibwa “Empologoma y’omu kika kya Yuda.”—Kub. 5:5.
17. Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa mu ngeri gye tutwalamu abalala?
17 Biki bye tuyiga? Wadde nga Yuda alina ensobi ez’amaanyi ze yakola, Yakuwa yamuwa emikisa. Naye kyandiba nti baganda ba Yuda beebuuza kiki Yakuwa kye yamulabamu? Wadde nga tetumanyi kye baali balowooza, kye tumanyi kiri nti Yakuwa yawa Yuda emikisa. Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa? Mukkiriza munnaffe bw’abaako enkizo gy’aweereddwa, mu kusooka tuyinza okwebuuza ensonga lwaki yaweereddwa enkizo eyo olw’okuba tuba tumanyi obunafu bwe. Naye tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa alaba engeri ennungi omuntu oyo z’alina. Yakuwa abaweereza be abanoonyaamu birungi. Naffe ka tufube okukola kye kimu.
18. Lwaki tusaanidde okuba abagumiikiriza?
18 Ekintu ekirala kye tuyiga ku ebyo ebikwata ku Yuda kiri nti tusaanidde okuba abagumiikiriza. Bulijjo Yakuwa atuukiriza ebyo by’aba asuubizza. Naye ekyo takikola mu ngeri gye tusuubira oba mu kiseera kye tuba tusuubira. Bazzukulu ba Yuda tebaatandikirawo kukulembera bantu ba Katonda. Naye baawagira abo Yakuwa be yalonda okukulembera abantu be. Mu bano mwe mwali Musa ow’omu kika kya Leevi, Yoswa ow’omu kika kya Efulayimu, ne Kabaka Sawulo ow’omu kika kya Benyamini. Bulijjo naffe ka tuwagirenga abo bonna Yakuwa b’aba alonze okutuwa obulagirizi.—Beb. 6:12.
19. Biki bye tuyize ku Yakuwa mu bunnabbi Yakobo bwe yayogera ku batabani be abana?
19 Kiki kye tuyigidde ku bunnabbi Yakobo bwe yayogera obukwata ku batabani be abana? Kyeyoleka kaati nti “engeri abantu gye balabamu ebintu Katonda si bw’abiraba.” (1 Sam. 16:7) Yakuwa mugumiikiriza nnyo era asonyiwa. Wadde nga tasanyuka nga tukoze ebintu ebibi, naye era tatusuubira kumugondera mu ngeri etuukiridde. N’abantu abaakola ebibi eby’amaanyi mu biseera eby’emabega naye ne beenenya mu bwesimbu era ne bakola ebirungi, abawa emikisa. Mu kitundu ekiddako, tugenda kulaba obunnabbi Yakobo bwe yayogera obukwata ku batabani be abalala munaana.
OLUYIMBA 124 Tubeerenga Beesigwa