EKITUNDU EKY’OKUSOMA 33
OLUYIMBA 4 “Yakuwa Ye Musumba Wange”
Beera Mukakafu Nti Yakuwa Akwagala Nnyo
‘Nkusembezza gye ndi n’okwagala okutajjulukuka.’—YER. 31:3.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba ensonga lwaki kikulu okuba abakakafu nti Yakuwa atwagala, n’ebyo bye tulina okukola okweyongera okuba abakakafu nti atwagala.
1. Lwaki weewaayo eri Yakuwa? (Laba n’ekifaananyi.)
OJJUKIRA olunaku lwe weewaayo eri Yakuwa? Weewaayo eri Yakuwa olw’okuba wali oyize ebimukwatako era ng’omwagala. Wamusuubiza nti ojja kukulembeza okukola by’ayagala mu bulamu bwo, era nti ojja kweyongera okumwagala n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna. (Mak. 12:30) Okuva mu kiseera ekyo weeyongedde okumwagala. Kati olwo wandizzeemu otya singa omuntu akubuuza nti, “Ddala oyagala Yakuwa?” Awatali kulwa omuddamu nti, “Mmwagala okusinga omuntu yenna, oba ekintu ekirala kyonna!”
Ojjukira okwagala kwe walina eri Yakuwa bwe weewaayo gy’ali, era n’obatizibwa? (Laba akatundu 1)
2-3. Yakuwa ayagala tube bakakafu ku ki, era kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino? (Yeremiya 31:3)
2 Naye wandizzeemu otya singa omuntu akubuuza nti, “Oli mukakafu nti Yakuwa akwagala?” Oboolyawo oyinza okulonzalonza okuddamu nga muli ogamba nti, sigwanira kwagalwa Yakuwa. Mwannyinaffe omu ataalagibwa kwagala nga muto agamba nti: “Nkimanyi nti njagala Yakuwa, ekyo sikibuusabuusa. Naye ntera okubuusabuusa obanga ddala Yakuwa anjagala.” Kati olwo kiki ekisobola okukuyamba okumanya engeri Yakuwa gy’akutwalamu?
3 Yakuwa ayagala obeere mukakafu nti akwagala nnyo. (Soma Yeremiya 31:3.) Ekituufu kiri nti Yakuwa ye yakuleetera okuyiga ebimukwatako osobole okufuuka mukwano gwe. Ate bwe weewaayo eri Yakuwa era n’obatizibwa, wafuna ekintu eky’omuwendo okuva gy’ali, nga kwe kwagala kwe okutajjulukuka. Akwagala nnyo era talikwabulira. Okwagala okwo kumuleetera okutwala abaweereza be abeesigwa, nga naawe mw’oli, ‘ng’ekintu kye eky’omuwendo.’ (Mal. 3:17, obugambo obuli wansi.) Yakuwa ayagala obe mukakafu nti akwagala nnyo ng’omutume Pawulo bwe yali omukakafu nti Yakuwa yali amwagala nnyo. Mu butuufu Pawulo yagamba nti: “Ndi mukakafu nti ka kube kufa, oba bulamu, oba bamalayika, oba bufuzi, oba ebintu ebiriwo kati, oba ebigenda okujja, oba maanyi, oba bugulumivu, oba buziba, oba ekitonde ekirala kyonna, tewali kiyinza kutwawukanya ku kwagala kwa Katonda.” (Bar. 8:38, 39) Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga lwaki kikulu okuba abakakafu nti Yakuwa atwagala nnyo, ne bye tusobola okukola okweyongera okuba abakakafu nti atwagala.
ENSONGA LWAKI TUSAANIDDE OKUBA ABAKAKAFU NTI YAKUWA ATWAGALA NNYO
4. Tuyinza tutya okulwanyisa olumu ku nkwe za Sitaani?
4 Bwe tuba abakakafu nti Yakuwa atwagala, tusobola okuziyiza “enkwe” za Sitaani. (Bef. 6:11) Sitaani ayagala tulekere awo okuweereza Yakuwa, era akola kyonna ky’asobola okutuuka ku kigendererwa kye ekyo. Akamu ku bukodyo bw’akozesa kwe kutuleetera okulowooza nti Yakuwa tatwagala. Naye ekyo kya bulimba. Bayibuli etera okugeraageranya Sitaani ku mpologoma.(1 Peet. 5:8, 9) Empologoma zitera okulumba ensolo ennafu era ezitasobola kwerwanako. Mu ngeri y’emu Sitaani atulumba mu kiseera we tubeerera nga tukooye, nga tuli banafu, oba nga tuli banakuwavu olw’ebyo bye twayitamu mu biseera eby’emabega, olw’ebizibu bye tulina mu kiseera kino, oba nga tutidde ebyo ebiyinza okubaawo mu biseera eby’omu maaso. (Nge. 24:10) Sitaani asuubira nti ajja kutuleetera okuba abanafu tulekere awo okuweereza Yakuwa. Naye tusobola ‘okuziyiza omulyolyomi’ n’enkwe ze bwe tukola kyonna kye tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa atwagala.—Yak. 4:7.
5. Lwaki kikulu okuba abakakafu nti Yakuwa atwagala nnyo?
5 Bwe tuba abakakafu nti Yakuwa atwagala, enkolagana yaffe naye yeeyongera okunywera. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga Yakuwa yatutonda nga tulina obwetaavu obw’okwagalwa, era nga naffe tusobola okwagala abalala. Omuntu bw’atulaga okwagala, kya bulijjo naffe okwagala omuntu oyo. N’olwekyo gye tukoma okuwulira nti Yakuwa atwagala nnyo, naffe gye tukoma okweyongera okumwagala. (1 Yok. 4:19) Ate era gye tukoma okweyongera okumwagala, naye gy’akoma okutwagala. Bayibuli egamba nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” (Yak. 4:8) Kati olwo biki bye tusaanidde okukola okweyongera okuba abakakafu nti Yakuwa atwagala nnyo?
EBINAATUYAMBA OKUBA ABAKAKAFU NTI YAKUWA ATWAGALA NNYO
6. Bw’oba toli mukakafu nti Yakuwa akwagala, kiki ky’osaanidde okukola?
6 Weeyongere okusaba Yakuwa akuyambe okutegeera ensonga lwaki akwagala. (Luk. 18:1; Bar. 12:12) Saba Yakuwa, bwe kiba kisoboka emirundi mingi buli lunaku, akuyambe okweraba nga ye bw’akulaba. Ebiseera ebimu oyinza okuwulira ng’omutima gukulumiriza ne kikubeerera kizibu okukikkiriza nti Yakuwa akwagala. Naye kijjukire nti Yakuwa asinga omutima gwo. (1 Yok. 3:19, 20) Akumanyi okusinga ggwe bwe weemanyi, era alaba engeri ennungi z’olina gwe z’oyinza okuba nga tolaba. (1 Sam. 16:7; 2 Byom. 6:30) N’olwekyo, tolonzalonza kumubuulira ngeri gye weewuliramu n’okumusaba akuyambe okukikkiriza nti akwagala. (Zab. 62:8) Oluvannyuma kolera ku ssaala zo ng’ogoberera amagezi gano wammanga.
7-8. Zabbuli zituyamba zitya okuba abakakafu nti Yakuwa atwagala?
7 Kkiriza ebyo Yakuwa by’akugamba. Yaluŋŋamya abawandiisi ba Bayibuli okutubuulira ekyo kyennyini ky’ali. Omuwandiisi wa zabbuli, Dawudi, yakiraga nti Yakuwa atufaako nnyo. Yagamba nti: “Yakuwa ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese; alokola abo abaweddemu amaanyi.” (Zab. 34:18, obugambo obuli wansi.) Bw’oba munakuwavu, oyinza okuwulira nti tewali muntu mulala akutegeera oba asobola kukuyamba. Kyokka mu kiseera ekyo, Yakuwa aba kumpi naawe kubanga aba akimanyi nti weetaaga nnyo obuyambi bwe. Mu zabbuli endala, Dawudi yagamba nti: “Amaziga gange gakuŋŋaanyize mu nsawo yo ey’eddiba.” (Zab. 56:8) Yakuwa aba alaba bw’oba omunakuwavu era ng’oli mu bulumi. Akufaako nnyo era akulumirirwa. Ng’omuntu atambula mu ddungu bw’atwala amazzi g’aba nago nga ga muwendo ka gabe matono gatya, amaziga gaffe Yakuwa agatwala nga ga muwendo era ajjukira buli lwe tukaaba nga tuli mu bulumi. Zabbuli 139:3 wagamba nti: “Bwe ntambula era bwe ngalamira wansi, [Yakuwa] oba ondaba.” Yakuwa alaba amakubo go gonna, naye asinga kutunuulira ebirungi by’okola. (Beb. 6:10) Lwaki? Kubanga asiima nnyo ebyo byonna by’okola okusobola okumusanyusa.a
8 Okuyitira mu byawandiikibwa ebibudaabuda ebiri mu Bayibuli, Yakuwa alinga akugamba nti: “Njagala okimanye nti nkwagala nnyo era nkufaako nnyo.” Naye nga bwe twalabye, Sitaani ayagala olowooze nti Yakuwa takwagala. N’olwekyo ebiseera ebimu bw’oba obuusabuusa nti Yakuwa akwagala, siriikirira weebuuze, ‘Ani gwe mba nzikiriza, “kitaawe w’obulimba” oba “Katonda ow’amazima”?’—Yok. 8:44; Zab. 31:5, obugambo obuli wansi.
9. Kiki Yakuwa ky’asuubiza abo abamwagala? (Okuva 20:5, 6)
9 Fumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’atwalamu abo abamwagala. Lowooza ku ekyo Yakuwa kye yagamba Musa n’Abayisirayiri. (Soma Okuva 20:5, 6.) Yakuwa asuubiza nti ajja kweyongera okulaga abo abamwagala okwagala okutajjulukuka. Ebigambo ebyo bitukakasa nti Katonda waffe mwesigwa, era nti tayinza kulekera awo kwagala baweereza be abamwagala. (Nek. 1:5) N’olwekyo ebiseera ebimu bw’otandika okubuusabuusa obanga Yakuwa akwagala, siriikiriramu weebuuze, ‘Njagala Yakuwa?’ Oluvannyuma lowooza ku kino: Bw’oba ng’oyagala Yakuwa era ng’ofuba okukola ebimusanyusa, beera mukakafu nti naye akwagala nnyo. (Dan. 9:4; 1 Kol. 8:3) Bw’oba tobuusabuusa obanga oyagala Yakuwa, kati olwo lwaki oba obuusabuusa obanga ye akwagala? N’olwekyo, beera mukakafu nti Yakuwa akwagala nnyo era talikwabulira.
10-11. Ekinunulo Yakuwa ayagala okitwale otya? (Abaggalatiya 2:20)
10 Fumiitiriza ku kinunulo. Yakuwa yawa abantu ekirabo ekikyasinzeeyo obulungi bwe yatuma Yesu ku nsi okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka. (Yok. 3:16) Ekirabo ekyo naawe yakikuwa ng’omuntu kinnoomu? Yee! Lowooza ku mutume Pawulo. Kijjukire nti yali yakola ebibi eby’amaanyi nga tannafuuka Mukristaayo, era yalina obunafu bwe yali akyalwanyisa. (Bar. 7:24, 25; 1 Tim. 1:12-14) Kyokka ekinunulo yakitwala ng’ekirabo Yakuwa kye yamuwa kinnoomu. (Soma Abaggalatiya 2:20.) Kijjukire nti Yakuwa ye yaluŋŋamya omutume Pawulo okuwandiika ebigambo ebyo. Ate nga buli ekiri mu Bayibuli kyawandiikibwa okutuyigiriza. (Bar. 15:4) Ebigambo bya Pawulo ebyo biraga nti Yakuwa ayagala ekinunulo okitwale ng’ekirabo kye yakuwa. Bw’onookola bw’otyo, ojja kweyongera okuba omukakafu nti Yakuwa akwagala ng’omuntu kinnoomu.
11 Twebaza nnyo Yakuwa olw’okusindika omwana we Yesu ku nsi okutufiirira. Naye ensonga endala eyaleeta Yesu ku nsi, kwe kuyigiriza abantu amazima agakwata ku Katonda. (Yok. 18:37) Amazima ago gazingiramu engeri Yakuwa gy’ayagalamu abantu.
YESU YATUYIGIRIZA NTI YAKUWA ATWAGALA NNYO
12. Lwaki tusobola okukkiriza ebyo Yesu bye yayigiriza ku Yakuwa?
12 Yesu bwe yali ku nsi, yayamba abantu okutegeera obulungi Yakuwa. (Luk. 10:22) Tusobola okukkiriza ebyo Yesu bye yayigiriza ku Yakuwa. Lwaki? Kubanga yabeera ne Yakuwa mu ggulu okumala emyaka mingi nga tannaba kujja ku nsi. (Bak. 1:15) Yesu yali akimanyi nti Yakuwa amwagala nnyo, ayagala nnyo bamalayika, era ayagala nnyo n’abaweereza be abeesigwa abali ku nsi. Yesu ayamba atya abantu okuba abakakafu nti Yakuwa abaagala?
13. Kiki Yesu ky’ayagala tutegeere ku Yakuwa?
13 Yesu ayagala abantu bamanye engeri Yakuwa gy’abatwalamu. Mu bitabo by’Enjiri, Yesu yayogera ku Yakuwa ng’akozesa ekitiibwa “Kitaffe” emirundi egisukka mu 160. Emirundi mingi bwe yabanga ayogera n’abagoberezi be, yakozesanga ebigambo gamba nga “Kitammwe ali mu ggulu.” (Mat. 5:16; 6:26) Yesu bwe yali tannajja ku nsi, abaweereza ba Yakuwa abeesigwa baakozesanga ebitiibwa nga ‘Omuyinza w’Ebintu Byonna,’ ‘Oyo Asingayo Okuba Waggulu,’ ‘Omutonzi,’ n’ebirala. Naye emirundi mingi, Yesu yayitanga Yakuwa ‘Kitaffe.’ Ekigambo ekyo kiraga nti Yakuwa ayagala abaweereza be babe n’enkolagana ey’oku lusegere naye ng’omwana gy’aba nayo ne kitaawe amwagala. Awatali kubuusabuusa, Yesu ayagala tutwale Yakuwa nga Kitaffe ayagala abaana be. Kati ka tulabeyo ebyokulabirako bya mirundi ebiri nga Yesu akozesa ekitiibwa “Kitaffe” okutuyigiriza ebikwata ku Yakuwa.
14. Yesu yakiraga atya nti buli omu ku ffe wa muwendo nnyo eri Kitaffe ow’omu ggulu? (Matayo 10:29-31) (Laba n’ekifaananyi.)
14 Ekisooka, lowooza ku bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 10:29-31. (Soma.) Yesu yagamba nti Kitaffe amanyi enkazaluggya zonna we ziba. Naye obunyonyi obwo tebusinza Yakuwa era tebumwagala. Bwe kiba nti Yakuwa afaayo nnyo ku bunyonyi obutono bwe butyo, tafaayo nnyo n’okusingawo ku baweereza be abamwagala era abamusinza? Yesu era yagamba nti Kitaffe amanyi omuwendo gw’enviiri buli omu gw’alina ku mutwe gwe. Bwe kiba nti Yakuwa amanyi n’ebintu ebitono ebitukwatako, tuli bakakafu nti atufaako nnyo. Mazima ddala Yesu ayagala tube bakakafu nti buli omu ku ffe wa muwendo nnyo eri Kitaffe ow’omu ggulu.
Yakuwa aba amanyi n’enkazaluggya entono ennyo w’eba eri. Bwe kiba nti Yakuwa afaayo nnyo ne ku kanyonyi akatono bwe katyo, ba mukakafu nti ggwe akufaako nnyo n’okusingawo olw’okuba omwagala era omusinza! (Laba akatundu 14)
15. Ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 6:44, bikuyigiriza ki ku Kitaffe ow’omu ggulu?
15 Weetegereze ekyokulabirako eky’okubiri Yesu we yakozeseza ekigambo ‘Kitaffe.’ (Soma Yokaana 6:44.) Kitaawo ow’omu ggulu yakuyamba okuyiga ebimukwatako n’otandika okumwagala. Lwaki yakusembeza? Kubanga yalaba mu mutima gwo ng’olina endowooza ennuŋŋamu. (Bik. 13:48) Yesu bwe yayogera ebigambo ebiri mu Yokaana 6:44, ayinza okuba nga yali ayogera ku bigambo bya Yakuwa ebiri mu Yeremiya 31:3. Mu kyawandiikibwa ekyo, Yakuwa bwe yali ayogera ku bantu be yagamba nti: “Nkusembeza gye ndi n’okwagala okutajjulukuka [oba, nneeyongedde okukulaga okwagala okutajjulukuka].” (Yer. 31:3; obugambo obuli wansi; geraageranya Koseya 11:4.) Ekyo kitegeeza nti Kitaffe ow’omu ggulu atwagala ennyo, alaba engeri ennungi z’olina ggwe z’oyinza okuba nga tolaba.
16. (a) Kiki Yesu ky’atuyigiriza, era lwaki tusaanidde okumukkiriza? (b) Oyinza otya okuba omukakafu nti Yakuwa ye Kitaffe gwe weetaaga? (Laba akasanduuko “Kitaffe Ffenna Gwe Twetaaga.”)
16 Yesu bw’ayita Yakuwa Kitaffe, aba ng’atugamba nti: “Yakuwa si Kitange nzekka; nammwe Kitammwe. Era mbakakasa nti abaagala nnyo era abafaako kinnoomu.” N’olwekyo emirundi egimu bw’oba obuusabuusa nti Yakuwa akwagala, weebuuze nti, ‘Ssandyesize Omwana bulijjo ayogera amazima, era amanyi obulungi Kitaawe?’—1 Peet. 2:22.
WEEYONGERE OKUBA OMUKAKAFU NTI YAKUWA AKWAGALA NNYO
17. Lwaki tulina okweyongera okuba abakakafu nti Yakuwa atwagala nnyo?
17 Tusaanidde okweyongera okuba abakakafu nti Yakuwa atwagala nnyo. Nga bwe tulabye Sitaani, omulabe waffe, akola kyonna ky’asobola okutulemesa okuweereza Yakuwa. Olw’okuba ayagala okutunafuya, ajja kweyongera okutuleetera okuwulira nti Yakuwa tatwagala. Naye tetulina kukkiriza bulimba bwa Sitaani obwo!—Yob. 27:5.
18. Biki by’osobola okukola okweyongera okuba omukakafu nti Yakuwa akwagala nnyo?
18 Okusobola okweyongera okuba omukakafu nti Yakuwa akwagala, weeyongere okumusaba akuyambe okweraba nga bw’akulaba. Fumiitiriza ku nnyiriri eziraga nti Yakuwa afaayo nnyo ku abo abamwagala. Kijjukire nti bulijjo Yakuwa ayagala abo abamwagala. Era kijjukire nti ekinunulo kirabo Yakuwa kye yawa buli muntu kinnoomu. Ate era kkiriza ekyo Yesu kye yayigiriza nti Yakuwa ye Kitaawo ow’omu ggulu. N’olwekyo singa wabaawo akubuuza nti: “Oli mukakafu nti Yakuwa akwagala?” ojja kumuddamu nga weekakasa nti: “Yee, anjagala! Era buli lunaku nfuba okukola ebintu ebiraga nti nange mmwagala!”
OLUYIMBA 154 Okwagala Tekulemererwa
a Okufuna ebyawandiikibwa ebirala ebibudaabuda era ebitukakasa nti Yakuwa atwagala, laba omutwe “Okubuusabuusa,” mu kitabo Emisingi gya Bayibuli Egisobola Okutuyamba mu Bulamu.