LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w25 Okitobba lup. 12-17
  • Okwagala kwa Katonda kwa Mirembe na Mirembe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okwagala kwa Katonda kwa Mirembe na Mirembe
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OKWAGALA YAKUWA KW’ALINA KUTWALE NG’ENJIGIRIZA YA BAYIBULI ESOOKERWAKO
  • FUMIITIRIZA KU ‘KWAGALA’ KWA YAKUWA
  • ENSIBUKO Y’OKUBUUSABUUSA
  • SIGALA NG’OLI MWESIGWA
  • Yakuwa Akwagala Nnyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Beera Mukakafu Nti Yakuwa Akwagala Nnyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Yakuwa Akulaga Okwagala Okutajjulukuka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Ebiyinza Okutuyamba Okuggwaamu Okubuusabuusa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Okitobba lup. 12-17

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 41

OLUYIMBA 108 Okwagala kwa Katonda Okutajjulukuka

Okwagala kwa Katonda kwa Mirembe na Mirembe

“ Mwebaze Yakuwa, kubanga mulungi; okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.”—ZAB. 136:1.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulaba engeri okumanya ekyo Ebyawandiikibwa kye byogera ku kwagala kwa Yakuwa gye kisobola okutuyamba nga tuweddemu amaanyi olw’ebizibu bye tuba nabyo.

1-2. Mbeera ki Abakristaayo bangi gye bayitamu?

KUBA akafaananyi ng’oli mu lyato eriri wakati mu nnyanja esiikuuse olw’omuyaga ogw’amaanyi. Amayengo ag’amaanyi gatandika okulisuukunda era galitwala. Eryato eryo lijja kugenda yonna amayengo gye galitwala okuggyako ng’omu ku abo abali mu lyato asudde ennanga mu mazzi. Ennanga eyo ejja kuyamba eryato okubeera mu kifo kimu lireme okutwalibwa omuyaga.

2 Bw’oba olina ebizibu eby’amaanyi, oyinza okuba ng’eryato eryo. Engeri gye weewuliramu eyinza okukyukakyuka. Olunaku olumu oyinza okuba omukakafu nti Yakuwa akwagala nnyo era nti akuyamba; naye olunaku oluddako n’otandika okubuusabuusa obanga Yakuwa alaba embeera gy’oyitamu. (Zab. 10:1; 13:1) Mukwano gwo ayinza okwogera ebigambo ebikubudaabuda, n’oddamu amaanyi okumala akaseera. (Nge. 17:17; 25:11) Kyokka bwe wayitawo ekiseera oyinza okuddamu okubuusabuusa. Oyinza n’okutandika okulowooza nti Yakuwa takyakutwala nti oli wa muwendo. Mu ngeri ey’akabonero oyinza otya okusuula ennanga bw’oba mu mbeera ng’eyo? Mu ngeri endala, oyinza otya okuba omukakafu era n’osigala ng’oli mukakafu nti Yakuwa akwagala era akuyamba?

3. Ebigambo ‘okwagala okutajjulukuka,’ ebyogerwako mu Zabbuli 31:7 ne 136:1 bitegeeza ki, era lwaki tugamba nti Yakuwa y’akyasingiddeyo ddala okwoleka okwagala okutajjulukuka? (Laba n’ekifaananyi.)

3 Ekimu ku bintu ebisobola okukuyamba okusigala ng’oli munywevu wadde ng’olina ebizibu, kwe kujjukira okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka. (Soma Zabbuli 31:7; 136:1.) Ebigambo ‘okwagala okutajjulukuka’ biwa amakulu ag’omuntu omu okunywerera ku mulala. Yakuwa y’akyasingiddeyo ddala okwoleka okwagala okutajjulukuka. Mu butuufu, Bayibuli emwogerako ng’oyo alina “okwagala kungi okutajjulukuka.” (Kuv. 34:​6, 7) Ate era Bayibuli bw’eba eyogera ku Yakuwa egamba nti: “Abo bonna abakukoowoola obalaga okwagala okutajjulukuka kungi.” (Zab. 86:5) Lowooza ku ekyo kye kitegeeza: Yakuwa tasobola kwabulira baweereza be abeesigwa! Bw’okijjukira nti Yakuwa mwesigwa kiyinza okukuyamba okusigala ng’oli munywevu ng’oyolekagana n’ekizibu eky’amaanyi.—Zab. 23:4.

Ennanga esibiddwa ku lyato eriyamba ne litatwalibwa muyaga ogw’amaanyi oguba ku nnyanja.

Ng’ennanga bw’ekuuma eryato ne litatwalibwa muyaga ogw’amaanyi oguba ku nnyanja, naffe bwe tuba abakakafu nti Yakuwa atwagala kituyamba okusigala nga tuli banywevu ne bwe tuba nga tulina ebizibu (Laba akatundu 3)


OKWAGALA YAKUWA KW’ALINA KUTWALE NG’ENJIGIRIZA YA BAYIBULI ESOOKERWAKO

4. Ezimu ku njigiriza za Bayibuli ezisookerwako ze ziruwa, era lwaki tuzikkiriza?

4 Bwe tutwala okwagala Yakuwa kw’alina gye tuli ng’enjigiriza ya Bayibuli esookerwako, kisobola okutuyamba okuba abanywevu nga twolekagana n’ebizibu. Kiki ky’olowoozaako bw’owulira ebigambo “enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako”? Oboolyawo olowooza ku ebyo by’okkiririzaamu bye wayiga okuva mu Kigambo kya Katonda. Ng’ekyokulabirako, wayiga nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa, nti Yesu ye mwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka, nti abafu tebaliiko kye bamanyi, era nti ensi ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda, abantu bagibeereko emirembe gyonna. (Zab. 83:18; Mub. 9:5; Yok. 3:16; Kub. 21:​3, 4) Bwe wayiga enjigiriza za Bayibuli ezo era n’okikkiriza nti ntuufu, tekyali kyangu kukubuzaabuza. Lwaki? Kubanga wafuna obukakafu obulaga nti by’oyize bya mazima. Ka tulabe engeri okutwala okwagala kwa Yakuwa ng’emu ku njigiriza za Bayibuli ezisookerwako gye kisobola okukuyamba okwewala okubuusabuusa nti Yakuwa akufaako era alaba embeera gy’oyitamu.

5. Nnyonnyola engeri omuntu gy’ayinza okwekutula ku njigiriza ez’obulimba.

5 Bwe watandika okuyiga Bayibuli, kiki ekyakuyamba okulekera awo okukkiririza mu njigiriza ez’obulimba? Oboolyawo ekyakuyamba kwe kugeraageranya ebyo bye wayigirizibwa mu ddiini yo, ku ebyo bye wali oyiga mu Bayibuli. Lowooza ku kyokulabirako kino: Ka tugambe nti wali okkiriza nti Yesu ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Kyokka bwe weeyongera okuyiga Bayibuli weebuuza nti, ‘Enjigiriza eyo ntuufu?’ Bwe weeyongera okwekkenneenya ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku nsonga eyo, wakizuula nti enjigiriza eyo nkyamu. Bw’otyo walekera awo okukkiririza mu njigiriza eyo ey’obulimba n’otandika okukkiriza ekyo Bayibuli ky’eyigiriza nti: Yesu ye ‘mubereberye w’ebitonde byonna,’ era ye “Mwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka.” (Bak. 1:15; Yok. 3:18) Kya lwatu enjigiriza ez’obulimba ziba ‘zaasimba amakanda’ era tekiba kyangu kuzeekutulako. (2 Kol. 10:​4, 5) Naye bwe wayiga amazima wazeekutulako era tewaddamu kuzikkiririzaamu.—Baf. 3:13.

6. Lwaki oli mukakafu nti “okwagala [kwa Yakuwa] okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe”?

6 Osobola okukola ekintu kye kimu bwe kituuka ku ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku kwagala kwa Yakuwa. Bw’oba olina ekizibu era n’otandika okubuusabusa obanga Yakuwa akwagala, weebuuze, ‘Endowooza yange ntuufu?’ Geraageranya ebyo by’obuusabuusa ku kwagala kwa Yakuwa n’ebyo ebiri mu Zabbuli 136:​1, ekyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino. Lwaki Yakuwa okwagala kw’alina akwogerako ‘ng’okutajjulukuka’? Lwaki ebigambo “okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe” bisangibwa mu Zabbuli 136 emirundi 26? Nga bwe tulabye, okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka eri abantu be njigiriza nkulu nnyo okufaananako enjigiriza endala ze twakkiriza ezisangibwa mu Kigambo kya Katonda. Endowooza egamba nti Yakuwa takwagala era nti takutwala nti oli wa mugaso nkyamu. Weewalire ddala endowooza eyo nga bwe wandyewaze okukkiririza mu njigiriza endala yonna ey’obulimba!

7. Ebimu ku byawandiikibwa ebitukakasa nti Yakuwa atwagala bye biruwa?

7 Bayibuli erimu ebintu ebirala bingi ebitukakasa nti Yakuwa atwagala. Ng’ekyokulabirako, Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Muli ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.” (Mat. 10:31) Yakuwa kennyini yagamba nti: “Nja kukuwa amaanyi era nja kukuyamba, nja kukuwanirira n’omukono gwange ogwa ddyo ogw’obutuukirivu.” (Is. 41:10) Ebigambo ebyo bitegeerekeka bulungi. Yesu tagamba bugambi nti ‘Kirabika muli ba muwendo,’ ne Yakuwa tagamba nti ‘Nnyinza okukuyamba.’ Mu kifo ky’ekyo Yesu agamba nti: “muli ba muwendo nnyo” ne Yakuwa agamba nti, “nja kukuyamba.” Bw’oba n’ekizibu era ng’obuusabuusa nti Yakuwa akwagala, ebyawandiikibwa ng’ebyo tebijja kukoma ku kukuyamba kukiraba nti Yakuwa akwagala, naye era bijja kukuyamba okuba omukakafu nti akwagala nnyo. Ebyawandiikibwa ebyo kye byogera kituufu. Bw’oba olimu okubuusabuusa n’osaba Yakuwa era n’ofumiitiriza ku byawandiikibwa ebyo, ojja kuba osobola okwogera ebigambo ebiri mu 1 Yokaana 4:16 ebigamba nti: “Tutegedde nti Katonda atwagala era tuli bakakafu ku ekyo.”a

8. Kiki ky’osobola okukola bwe kiba nti oluusi obuusabuusa nti Yakuwa akwagala?

8 Kiki ky’osobola okukola singa weeyongera okubuusabuusa nti Yakuwa akwagala? Geraageranya engeri gye weewuliramu ku ekyo ky’omanyi. Enneewulira zaffe zikyukakyuka, naye ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku kwagala kwa Yakuwa mazima era tegakyuka. Bwe tulowooza nti Yakuwa tatwagala, tuba tubuusizza amaaso engeri ye enkulu, nga kwe kwagala.—1 Yok. 4:8.

FUMIITIRIZA KU ‘KWAGALA’ KWA YAKUWA

9-10. Kiki Yesu kye yali ayogerako bwe yayogera ebigambo ebiri mu Yokaana 16:​26, 27 awagamba nti: “Kitange kennyini abaagala”? (Laba n’ekifaananyi.)

9 Tusobola okuyiga ebirala ebikwata ku kwagala kwa Yakuwa bwe twekkenneenya ebigambo Yesu bye yagamba abagoberezi be. Yabagamba nti: “Kitange kennyini abaagala.” (Soma Yokaana 16:​26, 27.) Ebigambo ebyo Yesu teyabyogera kusanyusa busanyusa bayigirizwa be. Mu butuufu, ennyiriri eziriranyeewo ziraga nti Yesu yali tayogera ku ngeri gye baali bawuliramu mu kiseera ekyo, wabula yali ayogera ku nsonga ekwata ku kusaba.

10 Yesu yali yakagamba abayigirizwa be nti balina okusaba okuyitira mu linnya lye, so si kusaba ye. (Yok. 16:​23, 24) Ekyo kyali kikulu gye bali okukimanya. Oluvannyuma lwa Yesu okuzuukira, kirabika abayigirizwa be baali baagala kusaba ye. Ekyo kyali bwe kityo kubanga Yesu yali mukwano gwabwe. Bayinza okuba nga baali balowooza nti olw’okuba Yesu yali abaagala nnyo yandiwulirizza okusaba kwabwe oluvannyuma n’akutuusa eri Kitaawe. Kyokka Yesu yagamba nti tebasaanidde kulowooza bwe batyo. Lwaki? Kubanga yali abagambye nti: “Kitange kennyini abaagala.” Ekyo kye yabagamba y’emu ku njigiriza za Bayibuli ezisookerwako ezikwata ku kusaba. Ekyo kitegeeza ki gy’oli? Ebyo by’oyize mu Bayibuli bikuyambye okumanya Yesu n’okumwagala. (Yok. 14:21) Okufaananako abayigirizwa ba Yesu abaaliwo mu kyasa ekyasooka, naawe osobola okusaba Katonda ng’oli mukakafu nti ye ‘kennyini akwagala.’ Buli lw’osaba Yakuwa oba okiraga nti okkiririza mu bigambo ebyo.—1 Yok. 5:14.

Ebifaananyi: Ow’oluganda atudde ku ntebe eri wabweru era asaba Yakuwa ku bintu bisatu ebikulu. 1. Aleetedde mukyala we ali mu buliri emmere. 2. Ng’asomesa muwala we Bayibuli era muwala we anyumirwa by’ayiga. 3. Yeekenneenya ebiwandiiko ebikwata ku byenfuna ye.

Osobola okusaba Yakuwa ng’oli mukakafu nti ye ‘kennyini akwagala’ (Laba akatundu 9-10)b


ENSIBUKO Y’OKUBUUSABUUSA

11. Lwaki Sitaani kimusanyusa bwe tubuusabuusa nti Yakuwa atwagala?

11 Kiki ekisobola okutuleetera okubuusabuusa nti Yakuwa atwagala? Oboolyawo oyinza okuddamu nti Sitaani y’ensibuko y’okubuusabuusa okwo, era toba mukyamu. Omulyolyomi ayagala ‘okutulya’ era aba musanyufu bwe tubuusabuusa nti Yakuwa atwagala. (1 Peet. 5:8) Kijjukire nti okwagala Yakuwa kw’alina gye tuli kwe kwamuleetera okuwaayo ekinunulo, ekirabo Sitaani ky’ayagala tulowooze nti tekitugwanira. (Beb. 2:9) Ani asanyuka bwe tubuusabuusa nti Yakuwa atwagala? Ye Sitaani. Ate ani asanyuka bwe tuggwaamu amaanyi ne tulekera awo okuweereza Yakuwa? Era ye Sitaani. Sitaani ayagala tulowooze nti Yakuwa tatwagala, naye ekyo ky’ayagala tulowooze si kituufu. Ekituufu kiri nti Sitaani, Yakuwa gw’atayagala. Olumu ku ‘nkwe’ Sitaani z’asinga okukozesa kwe kutuleetera okuwulira nti Yakuwa tatwagala era nti tatusiima. (Bef. 6:11) Okumanya ekyo omulabe waffe ky’agezaako okukola kituleetera okuba abamalirivu ‘okumuziyiza.’—Yak. 4:7.

12-13. Ekibi kye twasikira kiyinza kitya okutuleetera okubuusabuusa okwagala Yakuwa kw’alina gye tuli?

12 Waliwo ekintu ekirala ekisobola okutuviirako okubuusabuusa nti Yakuwa atwagala. Kintu ki ekyo? Kye kibi kye twasikira. (Zab. 51:5; Bar. 5:12) Ekibi kyaleetera abantu okufiirwa enkolagana ennungi gye baalina ne Katonda. Ate era ekibi kyayonoona ebirowoozo by’abantu, omutima gwabwe, n’omubiri gwabwe.

13 Ekibi kye twasikira kituviirako okuba n’ennewulira embi era ekyo kituleetera okulumizibwa omutima, okweraliikirira, okuwulira nga tetulina bukuumi, n’okuwulira obuswavu. Tuyinza okwewulira bwe tutyo bwe tuba nga tukoze ekibi eky’amaanyi. Ate era tusobola okuwulira bwe tutyo buli lwe tukijjukira nti tuli boonoonyi, era nti Katonda teyatutonda kuba mu mbeera eyo. (Bar. 8:​20, 21) Ng’emmotoka erina omupiira oguliko ekituli bw’etasobola kutambula bulungi, naffe ng’abantu abatatuukiridde tetusobola kukola bintu mu ngeri etuukiridde, nga bwe twatondebwa okubikola. N’olwekyo tekyewuunyisa nti oluusi tubuusabuusa nti Yakuwa atwagala. Ekyo bwe kibaawo tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa ye “Katonda omukulu era ow’entiisa, . . . alaga okwagala okutajjulukuka eri abo [abamwagala] era abakwata ebiragiro [bye].”—Nek. 1:5.

14. Okufumiitiriza ku ssaddaaka ya Yesu kiyinza kitya okutuyamba okweggyamu endowooza egamba nti Yakuwa tasobola kutwagala? (Abaruumi 5:8) (Laba n’akasanduuko “Lwanyisa ‘Obulimba bw’Amaanyi g’Ekibi.’”)

14 Oluusi tuyinza okuwulira nti tetugwanira kwagalibwa Yakuwa. Ekituufu kiri nti ffenna tetugwanira kwagalwa Yakuwa, era ekyo kifuula okwagala Yakuwa kw’atulaga okuba okw’enjawulo. Tewali kintu kyonna kye tusobola kukola ne kiba nti Yakuwa kimukakatako okutwagala. Wadde kiri kityo, Yakuwa atuwadde ssaddaaka ya Yesu okubikka ku bibi byaffe era ekyo yakikola olw’okuba atwagala. (1 Yok. 4:10) Ate era kijjukire nti Yesu yajja kulokola aboonoonyi so si bantu abatuukiridde. (Soma Abaruumi 5:8.) Tewali n’omu ku ffe asobola kukola bintu mu ngeri etuukiridde, era Yakuwa tatusuubira kukola bintu mu ngeri eyo. Bwe tukitegeera nti ekibi kye twasikira kisobola okutuleetera okubuusabuusa obanga Yakuwa atwagala, ekyo kituleetera okuba abamalirivu okweggyamu endowooza eyo.—Bar. 7:​24, 25.

Lwanyisa ‘Obulimba bw’Amaanyi g’Ekibi’

Bayibuli eyogera ku ‘bulimba bw’amaanyi g’ekibi.’ (Beb. 3:13) Ng’oggyeeko okutuleetera okukola ebintu ebibi, ekibi kye twasikira era bulijjo kituleetera okubuusabuusa obanga Yakuwa atwagala. Mu butuufu, ekibi kirina ‘amaanyi.’

Tuyinza okulowooza nti abalala tebasobola kutulimba. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okulowooza nti omufere tasobola kutubuzaabuza. Kyokka bwe tutaba bulindaala, abafere bayinza okutubbako ssente nnyingi.

Mu ngeri y’emu twetaaga okuba obulindaala, ekibi kye twasikira bwe kigezaako okutuleetera okulowooza nti Yakuwa tasobola kutwagala. Ekibi kye twasikira kiyinza okutuleetera okuba nga buli kiseera tulowooza ku bunafu bwaffe n’ensobi ze tukola. Naye tusaanidde okukijjukira nti obwo ‘bulimba bw’amaanyi g’ekibi,’ era tusaanidde okubwewala.

SIGALA NG’OLI MWESIGWA

15-16. Bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa tuba bakakafu ku ki, era lwaki? (2 Samwiri 22:26)

15 Yakuwa ayagala tusalewo ‘okumunywererako.’ (Ma. 30:​19, 20) Bwe tukola bwe tutyo tuba bakakafu nti naye ajja kutunywererako era ajja kuba mwesigwa gye tuli. (Soma 2 Samwiri 22:26.) Kasita tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, tuba bakakafu nti ajja kutuyamba mu mbeera yonna gye tuyitamu.

16 Nga bwe tulabye mu kitundu kino, tulina ensonga nnyingi kwe tusinziira okusigala nga tuli banywevu bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu. Bayibuli eyigiriza nti Yakuwa atwagala era ajja kutuyamba. Bwe tubuusabuusa obanga Yakuwa atwagala, kiba kirungi okufumiitiriza ku ekyo Bayibuli ky’eyigiriza mu kifo ky’okumalira ebirowoozo byaffe ku ngeri gye twewuliramu. Ka tweyongere okuba abakakafu ku ekyo Bayibuli ky’eyigiriza nti okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Tuganyulwa tutya bwe tutwala okwagala kwa Yakuwa ng’enjigiriza ya Bayibuli esookerwako?

  • Ekibi kye twasikira kiyinza kitya okutuleetera okubuusabuusa okwagala Yakuwa kw’alina gye tuli?

  • Tuyinza tutya okulekera awo okubuusabuusa nti Yakuwa atwagala?

OLUYIMBA 159 Muwe Yakuwa Ekitiibwa

a Ebyawandiikibwa ebirala bye bino: Ekyamateeka 31:​8, Zabbuli 94:​14, ne Isaaya 49:15.

b EBIFAAANANYI: Ow’oluganda asaba Yakuwa amuyambe okulabirira mukyala we omulwadde, okusalawo obulungi engeri gy’anaakozesaamu ssente, n’okuyigiriza muwala we okwagala Yakuwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share