EKITUNDU EKY’OKUSOMA 35
OLUYIMBA 121 Tulina Okwefuga
Osobola Okulwanyisa Okwegomba Okubi
“Temuleka kibi kweyongera kufuga nga kabaka mu mibiri gyammwe egifa, nga mugondera okwegomba kwagyo.”—BAR. 6:12.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba ebisobola okutuyamba obutaggwaamu maanyi bwe tuba n’okwegomba okubi, n’engeri gye tusobola okwewala okutwalirizibwa okwegomba okwo.
1. Kiki abantu bonna abatatuukiridde kye balwanagana nakyo?
WALI ofunyeeko okwegomba okubi era nga kukuleetera okwagala okukola ebintu Yakuwa by’atayagala? Bwe kiba kityo, toggwaamu maanyi ng’olowooza nti ggwe wekka ali mu mbeera eyo. Bayibuli egamba nti: “Okukemebwa kwonna kwe mufuna kwekwo abantu bonna kwe bafuna.” (1 Kol. 10:13) Kino kitegeeza nti ka kube kwegomba ki okubi kw’olwanyisa, waliyo n’abalala abakulina. Toli wekka, era Yakuwa asobola okukuyamba obutatwalirizibwa okwegomba okubi kw’olina.
2. Kwegomba ki okubi abamu ku Bakristaayo n’abayizi ba Bayibuli kwe balwanyisa? (Laba n’ebifaananyi.)
2 Bayibuli egamba nti: “Buli muntu agezesebwa ng’atwalirizibwa era ng’asendebwasendebwa okwegomba kwe.” (Yak. 1:14) Abantu basendebwasendebwa mu ngeri za njawulo. Ng’ekyokulabirako, Abakristaayo abamu bayinza okuwulira nga baagala okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu n’abantu be batafaanaganya nabo kikula, ate abalala n’abo be bafaanaganya nabo ekikula. Abo abaali baalekera awo okulaba ebifaananyi eby’obuseegu, bayinza okuwulira nga baagala nnyo okuddamu okubiraba. Ate era bangi abaali baalekera awo okukozesa ebiragalalagala oba okunywa ennyo omwenge, bayinza okuwulira nga baagala nnyo okuddamu okukola ebintu ebyo. Okwo kwe kumu ku kwegomba okubi abamu ku Bakristaayo n’abayizi ba Bayibuli kwe balwanagana nakwo. Buli omu ku ffe yali awuliddeko ng’omutume Pawulo eyagamba nti: “Bwe njagala okukola ekituufu, ekibi kiba nange.”—Bar. 7:21.
Tusobola okukemebwa nga tetukisuubira, ekiseera kyonna era awantu wonna (Laba akatundu 2)c
3. Omuntu ayinza kuwulira atya bw’aba nga buli kiseera alina okulwanyisa okwegomba okubi kwe kumu?
3 Bw’oba ng’otera okulwanyisa okwegomba okubi kwe kumu, oyinza okuwulira ng’oweddemu amaanyi muli n’owulira nti tolisobola kukola kituufu. Ate era oyinza okuwulira ng’oweddemu essuubi ng’okitwala nti Yakuwa akuvunaana olw’okuba olina okwegomba okubi. Naye beera mukakafu nti ebyo by’oba olowooza si bituufu! Lwaki tugamba bwe tutyo? Mu kitundu kino tugenda kuddamu ebibuuzo bino bibiri: (1) Ani ayagala tuwulire nti tetusobola kukola kituufu era nti tetulina ssuubi? (2) Oyinza otya okwewala okutwalirizibwa okwegomba okubi?
EKYO “OMUBI” KY’AYAGALA TULOWOOZE
4. (a) Lwaki Sitaani ayagala tulowooze nti tetusobola kulwanyisa kwegomba kubi? (b) Lwaki tuli bakakafu nti tusobola okulwanyisa okwegomba okubi?
4 Sitaani ayagala tuggweemu amaanyi ng’atuleetera okulowooza nti tetusobola kulwanyisa kwegomba kubi. Ekyo Yesu yali akimanyi era yayigiriza abagoberezi be okusaba nti: “Totutwala mu kukemebwa, naye tulokole okuva eri omubi.” (Mat. 6:13) Sitaani agamba nti abantu tebasobola kugondera Yakuwa bwe bakemebwa okukola ebintu ebibi. (Yob. 2:4, 5) Lwaki Sitaani alowooza bw’atyo? Sitaani ye yasookera ddala okutwalirizibwa okwegomba kwe, era teyali mwetegefu kusigala nga mwesigwa eri Yakuwa. Sitaani alowooza nti tulinga ye, era nti bwe tunaakemebwa tujja kuva ku Yakuwa. Yatuuka n’okulowooza nti Omwana wa Katonda atuukiridde, asobola okuva ku Yakuwa singa aba akemeddwa! (Mat. 4:8, 9) Lowooza ku kino: Ddala tetusobola kulwanyisa kwegomba kubi? Tusobola! Mu butuufu tukkiriziganya n’omutume Pawulo eyagamba nti: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.”—Baf. 4:13.
5. Tumanya tutya nti Yakuwa mukakafu nti tusobola okulwanyisa okwegomba okubi?
5 Okwawukana ku Sitaani, Yakuwa mukakafu nti tusobola okulwanyisa okwegomba okubi. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga Yakuwa yagamba nti ekibiina ekinene eky’abaweereza be abeesigwa bajja kuwonawo mu kibonyoobonyo ekinene. Ekyo kitegeeza nti Yakuwa, Katonda atasobola kulimba, mukakafu nti abantu bangi nnyo bajja kuyingira mu nsi empya nga balina enkolagana ennungi naye olw’okuba baliba “baayoza ebyambalo byabwe mu musaayi gw’Omwana gw’Endiga ne babitukuza.” (Kub. 7:9, 13, 14) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa mukakafu nti tusobola okulwanyisa okwegomba okubi.
6-7. Lwaki Sitaani ayagala tulowooze nti tetulina ssuubi bwe tuba nga tulwanyisa okwegomba okubi?
6 Ate era Sitaani ayagala tuwulire nti tetulina ssuubi, ng’atuleetera okulowooza nti Yakuwa atuvunaana olw’okubeera n’okwegomba okubi. Lwaki ayagala tulowooze bwe tutyo? Kubanga Sitaani kennyini talina ssuubi. Yakuwa yamusalira dda omusango era tagenda kufuna bulamu obutaggwaawo. (Lub. 3:15; Kub. 20:10) Awatali kubuusabuusa Sitaani ayagala naffe tuwulire nti tetulina ssuubi, kubanga atukwatirwa obuggya olw’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo lye tulina, ye ly’atalina. Naye ffe tulina essuubi. Mu butuufu, Bayibuli eraga nti Yakuwa ayagala okutuyamba, so si kutusalira musango. Egamba nti: “Tayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.”—2 Peet. 3:9.
7 Bwe tukitwala nti tetusobola kulwanyisa kwegomba okubi era nti tetulina ssuubi, tuba tukkirizza ekyo Sitaani ky’ayagala tulowooze. Ekyo bwe tukitegeera, kituyamba okuba abamalirivu okuziyiza Sitaani.—1 Peet. 5:8, 9.
ENGERI GYE TUWULIRAMU OLW’OKUBA TULINA EKIBI
8. Ng’oggyeeko ebikolwa ebibi, kiki ekirala Bayibuli ky’eba etegeeza bw’eyogera ku kibi? (Zabbuli 51:5) (laba ne “Ebigambo Ebinnyonnyolwa.”)
8 Ng’oggyeeko Sitaani, waliwo ekintu ekirala ekituleetera okuwulira nti tetusobola kulwanyisa kwegomba okubi era nti tetulina ssuubi. Kintu ki ekyo? Bwe butali butuukirivu bwe twasikira okuva ku bazadde baffe abaasooka.a—Yob. 14:4; soma Zabbuli 51:5.
9-10. (a) Adamu ne Kaawa baawulira batya bwe baayonoona ne bafuuka abatatuukiridde? (Laba n’ekifaananyi.) (b) Ekibi kye twasikira kituleetera kuwulira tutya?
9 Lowooza ku ngeri Adamu ne Kaawa gye baawuliramu bwe baayonoona ne bafuuka abatatuukiridde. Oluvannyuma lw’okujeemera Yakuwa, beekweka era ne bagezaako n’okubikka emibiri gyabwe. Ekitabo Insight on the Scriptures bwe kiba kyogera ku ekyo kye baakola kigamba nti: “Ekibi kyabaleetera okulumirizibwa omutima, okweraliikirira, okuwulira nga tebalina bukuumi, n’okuswala.” Adamu ne Kaawa baali tebasobola kuddamu kuba na nkolagana ya ku lusegere ne Yakuwa. Bulijjo bandiwulidde ng’omutima gubalumiriza, nga beeraliikirivu, nga tebalina bukuumi, era nga bawulira ensonyi kubanga baali bafuuse abantu abatatuukiridde.
10 Kya lwatu, ffe tetuli mu mbeera yennyini Adamu ne Kaawa gye baalimu. Ekyo kiri bwe kityo kubanga bo baali tebasobola kuganyulwa mu kinunulo. Naye ffe ekinunulo kitusobozesa okusonyiyibwa ebibi byaffe ne tubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. (1 Kol. 6:11) Wadde kiri kityo, twasikira ekibi n’obutali butuukirivu, era ekyo naffe kituviirako okulumirizibwa omutima, okweraliikirira, n’okuwulira nti tetulina bukuumi. Mu butuufu, Bayibuli eraga nti ekibi kikyeyongera okufuga abantu. Ate era kifuga “n’abo abataayonoona mu ngeri y’emu nga Adamu.” (Bar. 5:14) Wadde ng’ekyo kisobola okutumalamu amaanyi, tetusaanidde kulowooza nti tetusobola kulwanyisa kwegomba kubi era nti tetulina ssuubi. Tusobola okwewala endowooza eyo enkyamu. Tutya?
Ekibi kyaleetera Adamu ne Kaawa okuwulira nga balumirizibwa omutima, nga beeraliikirivu, nga tebalina bukuumi, era nga baswavu (Laba akatundu 9)
11. Tusaanidde kukola ki bwe tuba nga tuwulira nti tetusobola kulwanyisa kwegomba kubi, era lwaki? (Abaruumi 6:12)
11 Olw’okuba tetutuukiridde, oluusi tuyinza okuwulira nti tetujja kusobola kulwanyisa kwegomba kubi. Tuba ng’abawulira “eddoboozi” eritugamba nti tekisoboka kulwanyisa kwegomba kubi. Naye tetusaanidde kuwuliriza “ddoboozi” eryo. Lwaki? Kubanga Bayibuli eraga nti tetusaanidde kuleka kibi kweyongera ‘kutufuga nga kabaka.’ (Soma Abaruumi 6:12.) Kino kitegeeza nti tusobola okusalawo obutakolera ku kwegomba kubi. (Bag. 5:16) Yakuwa mukakafu nti tusobola okulwanyisa okwegomba okubi. Bwe kitandibadde kityo, yandibadde tatugamba kukikola. (Ma. 30:11-14; Bar. 6:6; 1 Bas. 4:3) Awatali kubuusabuusa, kisoboka okulwanyisa okwegomba okubi.
12. Tusaanidde kukola ki bwe tuwulira nga tuweddemu essuubi, era lwaki?
12 Mu ngeri y’emu, bwe tuba nga tuweddemu essuubi nga tukitwala nti Yakuwa atuvunaana olw’okuba tulina okwegomba okubi, obwo buba butali butuukirivu era buba bufuuse ‘ng’eddoboozi’ eryogerera mu ffe. Naye tetusaanidde kuliwuliriza. Lwaki? Kubanga Bayibuli eyigiriza nti Yakuwa akimanyi nti tuli boonoonyi. (Zab. 103:13, 14) “Amanyi ebintu byonna” ebitukwatako, nga mw’otwalidde n’engeri ezitali zimu ekibi kye twasikira gye kitukosaamu. (1 Yok. 3:19, 20) Bwe tufuba okulwanyisa okwegomba okubi kwe tuba nakwo era ne twewala okukola ebintu ebibi, tusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Lwaki tugamba bwe tutyo?
13-14. Bwe tuba n’okwegomba okubi, kiba kitegeeza nti tetusobola kuba na nkolagana nnungi ne Yakuwa? Nnyonnyola.
13 Bayibuli eraga nti waliwo enjawulo ya maanyi wakati w’okuba n’okwegomba okubi n’okukolera ku kwegomba okwo. Tetusobolera ddala kwewala kuba na kwegomba kubi, naye tusobola okwewala okukukolerako. Ng’ekyokulabirako, abamu ku Bakristaayo abaaliwo mu kibiina ky’omu Kkolinso eky’omu kyasa ekyasooka, beenyigiranga mu kulya ebisiyaga. Pawulo yagamba nti: “Abamu ku mmwe mwali ng’abo.” Ekyo kitegeeza nti tebaddamu kwegomba kulya bisiyaga? Kirabika baafunanga okwegomba okwo okubi, kubanga si kyangu kweggiramu ddala kwegomba ng’okwo. Naye Abakristaayo abeefuganga ne beewala okukolera ku kwegomba okwo, baali basiimibwa Yakuwa era yali abatwala nti ‘banaaziddwa.’ (1 Kol. 6:9-11) Naawe Yakuwa asobola okukutunuulira bw’atyo.
14 Ka kube kwegomba ki okubi kw’olwanyisa, osobola okukuwangula. Ne bwe kiba nti okwegomba okwo tosobola kukweggiramu ddala, osobola okwefuga era ne weewala ‘okukola ebyo omubiri n’ebirowoozo byo bye byagala.’ (Bef. 2:3) Kati olwo biki ebisobola okukuyamba okulwanyisa okwegomba okubi?
BY’OSOBOLA OKUKOLA OKUWANGULA
15. Bwe tuba ab’okuwangula okwegomba okubi, lwaki tusaanidde okuba abeesimbu?
15 Okusobola okuwangula okwegomba okubi, beera mwesimbu okikkirize nti olina obunafu. Weegendereze oleme okwerimbalimba “n’endowooza enkyamu.” (Yak. 1:22) Ng’ekyokulabirako, omuntu alina ekizibu ky’okunywa ennyo omwenge ayinza okulowooza nti si kya maanyi nnyo ng’agamba nti, ‘Abalala banywa okunsinga,’ oba omuntu alina omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu ayinza okugaana okukkiriza ensobi ye ng’agamba nti, ‘Sandirabye bifaananyi ebyo singa mukyala wange abadde andaga omukwano.’ Bw’ogezaako okwewolereza mu ngeri eyo, kiba kijja kukubeerera kizibu okulwanyisa okwegomba okubi. N’olwekyo togezaako kwewolereza, wadde mu ndowooza yo. Ovunaanyizibwa olw’ebyo by’okola .—Bag. 6:7.
16. Biki ebisobola okutuyamba okumalirira okukola ekituufu?
16 Ng’oggyeeko okubeera omwesimbu bwe kituuka ku kwegomba okubi kw’olina, era kikwetaagisa okuba omumalirivu obutakolera ku kwegomba okwo. (1 Kol. 9:26, 27; 1 Bas. 4:4; 1 Peet. 1:15, 16) Lowooza ku kintu ekikuleetera okwagala okukola ebintu ebibi, na ddi lwe kitera okubaawo. Kiyinza okuba ekikemo ekimu oba ekiseera ekimu mu lunaku we kiyinza okukubeerera ekizibu okwewala okukola ekintu ekibi. Ng’ekyokulabirako, kyandiba nti oyanguyirwa okukola ekintu ekibi ekiro mu ttumbi oba mu kiseera w’obeerera ng’okooye? Weeteeketeeke era salawo ky’onookola. Kirungi okweteekateeka ng’ekikemo tekinnajja.—Nge. 22:3.
17. Kiki kye tuyigira ku Yusufu? (Olubereberye 39:7-9) (Laba n’ebifaananyi.)
17 Lowooza ku ekyo Yusufu kye yakola muka Potifaali bwe yali amusendasenda. Yusufu yagaanirawo okukola ekyo omukazi oyo kye yali ayagala. (Soma Olubereberye 39:7-9.) Ekyo kiraga ki? Yusufu yali yamalirira dda okukola ekituufu nga mukyala wa Potifaali tannaba kumusendasenda. Mu ngeri y’emu, naawe osobola okuba omumalirivu okukola ekituufu ng’ekikemo tekinnakujjira. Bw’okola bw’otyo, kijja kukwanguyira okukola ekituufu bw’onooba ng’okemeddwa.
Ziyiza ekikemo mu bwangu nga Yusufu bwe yakola! (Laba akatundu 17)
‘WEEKEBERENGA’
18. Biki ebirala by’osobola okukola okuwangula okwegomba okubi? (2 Abakkolinso 13:5)
18 Okusobola okuwangula okwegomba okubi, bulijjo weetaaga ‘okwekeberanga’ olabe w’otuuse. (Soma 2 Abakkolinso 13:5.) Buli luvannyuma lwa kiseera, weekebere olabe oba ng’ebyo by’olowooza n’ebikolwa byo birungi, era kola enkyukakyuka we kiba kyetaagisa. Ng’ekyokulabirako, ne bw’oba ng’osobodde obutatwalirizibwa kikemo, weebuuze ebibuuzo bino: ‘Kintwalidde kiseera kyenkana wa okugaana?’ Bw’okiraba nti waluddewo, teweesalira musango. Mu kifo ky’ekyo, baako ky’okolawo okutereezaamu. Ate era weebuuze: ‘Bwe mba n’ekirowoozo ekibi, nfuba okukyeggyamu mu bwangu? Eby’okwesanyusaamu bye nneenyigiramu bikifuula kizibu gye ndi okulwanyisa okwegomba okubi? Nzigyayo amaaso gange mu bwangu nneme okutunuulira ebintu eby’obugwenyufu? Nkimanyi nti emitindo gya Yakuwa giriwo ku lwa bulungi bwange, ne bwe kiba nga kinneetaagisa okwefuga?’—Zab. 101:3.
19. Okusalawo obubi mu bintu ebirabika ng’ebitonotono, kiyinza kitya okukifuula ekizibu okulwanyisa okwegomba okubi?
19 Bw’oba weekebera, weewale okwekwasa obusongasonga olw’okuba oyagala okukola ebintu ebibi. Bayibuli egamba nti: “Omutima mukuusa okusinga ekintu ekirala kyonna era gwa kabi nnyo.” (Yer. 17:9) Yesu yagamba nti mu mutima mwe muva “ebirowoozo ebibi.” (Mat. 15:19) Ng’ekyokulabirako, omuntu eyali alaba ebifaananyi eby’obuseegu, oluvannyuma lw’ekiseera ayinza okutandika okulowooza nti “si kikyamu” okutunuulira ebifaananyi ebisiikuula okwegomba okubi kubanga aba talaba bantu bali bwereere. Oba ayinza okugamba nti, ‘Si kibi okulowooza ku bintu ebibi kasita kiba nti sibikola.’ Omuntu bw’aba alowooza bw’atyo, aba ‘ng’eyeeteekerateekera okukola ebyo omubiri bye gwegomba.’ (Bar. 13:14) Ekyo oyinza otya okwewala okukikola? Beera bulindaala era weewale okusalawo obubi mu bintu ebitonotono, ekisobola okukuviirako okusalawo obubi mu bintu ebinene, n’okola ebintu ebibi.b Weewale “ebirowoozo ebibi,” ebiyinza okukuleetera okwewolereza n’okola ebintu ebibi.
20. Kiki kye twesunga mu biseera eby’omu maaso, era buyambi ki bwe tulina mu kiseera kino?
20 Nga bwe tulabye, Yakuwa atuwa amaanyi ne twewala okukola ebintu ebibi. Ate era, olw’okuba Yakuwa musaasizi, tulina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi empya. Tujja kufuna obuweerero kubanga mu kiseera ekyo tujja kuba tuweereza Yakuwa nga tetulina kwegomba kubi! Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo tusaanidde okuba abakakafu nti tusobola okulwanyisa okwegomba okubi, era nti tulina essuubi. Olw’obuyambi bwa Yakuwa, tusobola okuwangula!
OLUYIMBA 122 Ba Munywevu, Tosagaasagana!
a EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Mu Bayibuli, ekigambo “ekibi” kitera okukozesebwa nga boogera ku bintu ebibi gamba ng’okubba, obwenzi, oba obutemu. (Kuv. 20:13-15; 1 Kol. 6:18) Naye mu byawandiikibwa ebimu ekigambo “ekibi” kitegeeza obutali butuukirivu bwe tuzaalibwa nabwo, wadde nga tuba tetunnakola kibi kyonna.
b Weetegereze nti omuvubuka ayogerwako mu Engero 7:7-23 yasooka kusalawo bubi mu buntu obutonotono ne kimuviirako okusalawo obubi mu kintu ekinene, ekyamuviirako okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu.
c EBIFAANANYI : Kkono: Ow’oluganda omuto bw’aba ali mu kifo we banywera kaawa alaba abasajja babiri nga balagaŋŋana omukwano. Ddyo: Mwannyinaffe atunuulidde abantu babiri nga banywa ssigala.