EKITUNDU EKY’OKUSOMA 45
OLUYIMBA 111 Ebituleetera Essanyu
Sigala ng’Oli Musanyufu bw’Oba Olabirira Abalwadde oba Abo Abakaddiye
“ Abo abasiga ensigo nga bakaaba, balikungula nga boogerera waggulu n’essanyu.”—ZAB. 126:5.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba amagezi agasobola okukuyamba okusigala ng’oli musanyufu bw’oba olabirira omuntu omulwadde oba akaddiye.
1-2. Yakuwa atunuulira atya abo abalabirira abalwadde oba abakaddiye? (Engero 19:17) (Laba n’ebifaananyi.)
OW’OLUGANDA Jin-yeol ow’omu Korea agamba nti: “Nze ne mukyala wange tumaze emyaka egisukka mu 32 nga tuli bafumbo. Emyaka etaano emabega, mukyala wange yalwala obulwadde obuyitibwa Parkinson. Tasobola kutambula bulungi era nze amulabirira. Njagala nnyo mukyala wange era sikirinaamu buzibu kumulabirira. Buli kiro asula ku kitanda ky’abalwadde ekiri awaka. Nneebaka kumpi naye era twebaka twekutte mu ngalo.”
2 Olina omuntu gw’oyagala ennyo gw’olabirira gamba nga muzadde wo, munno mu bufumbo, omwana wo, oba mukwano gwo? Bwe kiba kityo, oteekwa okuba ng’ogitwala nga nkizo okuyamba omuntu oyo kubanga omwagala nnyo. Ate era bw’olabirira omuntu oyo gw’oyagala ennyo kiba kiraga nti oyagala nnyo Yakuwa. (1 Tim. 5:4, 8; Yak. 1:27) Naye oluusi kiyinza obutakubeerera kyangu kulabirira muntu oyo. Ebiseera ebimu oyinza okufuna ebintu ebikusoomooza abalala bye bayinza obutalaba. Abalala bayinza okukulaba ng’otaddeko akamwenyumwenyu naye nga bw’oba wekka ebiseera ebimu oba munakuwavu era okaaba n’okukaaba. (Zab. 6:6) Kyokka Yakuwa amanyi engeri gye weewuliramu wadde ng’abalala bayinza obutagimanya. (Geraageranya Okuva 3:7.) Amaziga g’okaaba n’ebyo byonna bye weefiiriza abiraba era ajja kukuwa emikisa. (Zab. 56:8; 126:5) Alaba ebyo byonna by’okola okuyamba oyo gw’olabirira. Mu butuufu ebyo byonna by’okola ng’olabirira omuntu wo Yakuwa akitwala nti oba omuwoze ebbanja era asuubiza okukusasula.—Soma Engero 19:17.
Olina omuntu gw’olabirira? (Laba akatundu 2)
3. Lwaki kiyinza okuba nga tekyali kyangu eri Ibulayimu ne Saala okulabirira Teera?
3 Bayibuli erimu ebyokulabirako by’abasajja n’abakazi abaalabirira abantu baabwe abaali abalwadde oba abakaddiye. Lowooza ku Ibulayimu ne Saala. We baaviira mu Uli, Teera kitaabwe, yali aweza emyaka nga 200 egy’obukulu. Kyokka baagenda naye. Baatambula olugendo lwa mayiro nga 600 okutuuka mu Kalani. (Lub. 11:31, 32) Wadde nga Ibulayimu ne Saala baali baagala nnyo Teera, kiteekwa okuba nga tekyababeerera kyangu kumulabirira nga bali ku lugendo olwo. Oboolyawo baatambuliranga ku ŋŋamira oba endogoyi, era kiteekwa okuba nga tekyali kyangu eri Teera eyali akaddiye, okutambulira ku nsolo ezo. Okulabirira Teera mu mbeera eyo eyali enzibu kiteekwa okuba nga tekyali kyangu eri Ibulayimu ne Saala. Ka kube kusoomooza ki kwe baayolekagana nakwo, Yakuwa ateekwa okuba nga yabawa amaanyi ge baali beetaaga. Naawe Yakuwa ajja kukuyamba era akuwe amaanyi ge weetaaga nga bwe yayamba Ibulayimu ne Saala.—Zab. 55:22.
4. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
4 Ekimu ku bintu ebisobola okukuyamba obutaggwaamu maanyi ng’olina gw’olabirira, kwe kuba omusanyufu. (Nge. 15:13) Kijjukire nti osobola okuba omusanyufu ne bw’oba ng’olina ebizibu. (Yak. 1:2, 3) Biki by’osobola okukola okusigala ng’oli musanyufu? Ekimu ku byo kwe kwesiga Yakuwa era n’omusaba akuyambe okusigala ng’olina endowooza ennuŋŋamu. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu ebirala abo abalina be balabirira bye basobola okukola okusigala nga basanyufu. Ate era tujja kulaba engeri abalala gye basobola okubayambamu. Naye ka tusooke tulabe ebyo ebisobola okumalako abo abalina be balabirira essanyu, n’ebyo ebisobola okubayamba okusigala nga basanyufu.
EBIYINZA OKUSOOMOOZA ABO ABALIKO BE BALABIRIRA
5. Lwaki abo abaliko be balabirira basaanidde okusigala nga basanyufu?
5 Okumalira ebirowoozo byaffe ku kusoomooza kwe tufuna nga tulabirira omuntu kiyinza okutumalamu amaanyi. (Nge. 24:10) Ate bwe tuggwaamu amaanyi, tuyinza obutaba ba kisa era tuyinza obutamuyamba nga bwe twandyagadde. Kusoomooza ki abo abaliko be balabirira kwe bafuna okuyinza okubaleetera okuggweebwako essanyu?
6. Lwaki abamu ku abo abaliko be balabirira bakoowa nnyo?
6 Abaliko be balabirira bayinza okuwulira nga bakoowu nnyo. Mwannyinaffe Leah agamba nti: “Ebintu ne bwe biba bitambudde bulungi, olunaku we luggweerako mba mukoowu nnyo. Emirundi egimu mpulira nga mba sisobola kuddamu bubaka obuba bumpeerezeddwa ku ssimu.” Abalala tebeebaka kimala oba tebafuna budde bumala kuwummulamu. Mwannyinaffe Inés agamba nti: “Si kyangu gye ndi okwebaka otulo otumala. Mu budde obw’ekiro nzuukuka buli luvannyuma lwa ssaawa bbiri okulabirira nnyazaala wange. Ate era, nze n’omwami wange tumaze emyaka nga tetufuna kiseera kubaako kifo gye tugenda okuwummulako.” Abamu ku abo abalwadde oba abo abakaddiye beetaaga obuyambi ekiseera kyonna, n’olwekyo abo ababalabirira basalawo obutakkiriza obumu ku buvunaanyizibwa obubaweebwa mu kibiina, oba okugenda okusanyukirako awamu ne mikwano gyabwe. N’ekivaamu bayinza okuwulira nti embeera yaabwe ebayitiriddeko era ekyo ne kibaleetera okuwulira ekiwuubaalo.
7. Lwaki abamu ku abo abaliko be balabirira bayinza okuwulira obubi oba okulumirizibwa omutima?
7 Abo abaliko be balabirira bayinza okuwulira obubi oba omutima guyinza okubalumiriza. Mwannyinaffe Jessica agamba nti: “Ebiseera ebimu mpulira nti nnandibadde nkola ekisingawo okulabirira taata wange. Ne bwe nfuna akadde okubaako kye nneekolera, muli mpulira ng’aba yeefaako nzekka era omutima gunnumiriza.” Abamu ku abo abaliko be balabirira bayinza okwetamwa embeera gye babaamu. Abalala bayinza okuwulira nti tebakola kimala kuyamba abo be balabirira. Ate abalala olw’obukoowu, bayinza okwogera ebigambo ebitali bya kisa eri abo be balabirira. Ebintu ng’ebyo bisobola okuleetera abo abaliko be balabirira okulumirizibwa omutima. (Yak. 3:2) Ate abamu bawulira bubi bwe balaba omuntu waabwe eyali omulamu obulungi ng’embeera ye yeeyongera kuba mbi. Mwannyinaffe Barbara agamba nti: “Ekimu ku bintu ebisinga okundeetera okuwulira obubi kwe kulaba ng’omuntu gwe njagala obulwadde bwongera kumunafuya buli lukya.”
8. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri okusiima abo abaliko be balabirira gye kiyinza okubakwatako.
8 Abamu ku abo abaliko be balabirira bawulira nti tebafiibwako. Lwaki? Kubanga abalala tebatera kubeebaza olw’ebyo bye beefiiriza oba bye bakola. Bwe tubeebaza kibazzaamu nnyo amaanyi. (1 Bas. 5:18) Mwannyinaffe Melissa agamba nti: “Ebiseera ebimu nzigwamu amaanyi era nkaaba. Naye gwe mba ndabirira bw’aŋŋamba ebigambo gamba nga, ‘weebale nnyo olw’ebyo byonna by’onkolera,’ kinzizaamu nnyo amaanyi! Olw’ebigambo ng’ebyo, olunaku oluddako nzuukuka nga ndi mwetegefu okweyongera okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwange.” Ow’oluganda Ahmadu annyonnyola engeri okumusiima gye kimukwatako. Ye ne mukyala we babeera ne kizibwe waabwe eyalwala obulwadde bw’ensimbu era be bamulabirira. Agamba nti: “Wadde nga kizibwe waffe ayinza obutategeerera ddala ebyo byonna bye twefiiriza okusobola okumulabirira, kinsanyusa nnyo bw’akiraga nti asiima ebyo bye tumukolera oba bw’agezaako okuwandiika ebigambo nti ‘Mbaagala nnyo.’”
EBISOBOLA OKUBAYAMBA OKUSIGALA NGA BASANYUFU
9. Biki ebisobola okuyamba oyo alina gw’alabirira okumanya obusobozi bwe we bukoma?
9 Manya obusobozi bwo we bukoma. (Nge. 11:2) Teri muntu alina maanyi oba biseera kukola bintu byonna by’ayagala. N’olwekyo olina okusalawo bintu ki by’olina okukola, era ebiseera ebimu tekiba kikyamu obutakola bintu bimu. Ekyo bwe kibaawo towulira bubi, kiba kiraga nti omanyi obusobozi bwo we bukoma. Ate era, abalala bwe baba baagala okukuyamba, kkiriza obuyambi bwe bakuwa. Ow’oluganda Jay agamba nti: “Buli lunaku tukola ebyo bye tusobola okusinziira ku budde n’amaanyi ge tulina. Bwe tukola ebigya mu busobozi bwaffe kituyamba okusigala nga tuli basanyufu.”
10. Lwaki kikulu abo abalina be balabirira okwoleka okutegeera? (Engero 19:11)
10 Yoleka okutegeera. (Soma Engero 19:11.) Bw’oba n’engeri eyo kijja kukuyamba okusigala ng’oli mukkakkamu singa oyo gw’olabirira ayogera oba akola ekintu ekitali kirungi. Endwadde ezimu zisobola okuleetera omuntu okukola ebintu by’abadde takola. (Mub. 7:7) Ng’ekyokulabirako, omuntu abadde ayogera naawe mu ngeri ey’ekisa ayinza okutandika okukuyombesa. Ayinza okutandika okwemulugunya ennyo oba okusunguwala. Oba ayinza okukusaba omukolere ebyo ebisukka ku ebyo by’osobola era n’atasiima ebyo by’omukolera. Bw’oba olina omuntu alina obulwadde obw’amaanyi gw’ojanjaba kiyinza okukuyamba bw’onoonyereza ebikwata ku bulwadde obwo. Bw’omanya ebikwata ku bulwadde bw’alina kikuyamba okukiraba nti obulwadde bwe bumuleetera okweyisa oba okwogera mu ngeri etali ya kisa, so si nti aba akigenderedde.—Nge. 14:29.
11. Bintu ki ebikulu abo abaliko be balabirira bye basaanidde okukola buli lunaku? (Zabbuli 132:4, 5)
11 Fuba okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa. Ebiseera ebimu kiyinza okukwetaagisa okukendeeza ku budde bw’omala ng’okola ebintu ebimu, osobole okufuna obudde okukola ku bintu “ebisinga obukulu.” (Baf. 1:10) Ekimu ku bintu ebyo kwe kunyweza enkolagana yo ne Yakuwa. Kabaka Dawudi yalina eby’okukola bingi. Wadde kyali kityo, okusinza Yakuwa kye yali akulembeza mu bulamu bwe. (Soma Zabbuli 132:4, 5.) Mu ngeri y’emu, wadde nga naawe olina eby’okukola bingi, kikulu buli lunaku okufunayo obudde obw’okusoma Bayibuli n’okusaba. Mwannyinaffe Elisha agamba nti: “Ekimu ku bintu ebinnyambye okusigala nga ndi musanyufu kwe kusaba n’okufumiitiriza ku zabbuli ezitali zimu. Okusaba kye kintu ekisingira ddala okunnyamba. Emirundi mingi mu lunaku nsaba Yakuwa annyambe okusigala nga ndi mukkakkamu.”
12. Lwaki kikulu abo abaliko be balabirira nabo okufaayo ku bulamu bwabwe?
12 Faayo ku bulamu bwo. Abantu abalina eby’okukola ebingi gamba ng’abo abalina abalwadde oba abakaddiye be balabirira, bayinza okukisanga nga kizibu okulya obulungi kubanga tebaba na budde bumala kugula mmere nnungi era erimu ekiriisa n’okugifumba. Naye okusobola okuba omulamu obulungi mu mubiri ne mu birowoozo, weetaaga okulya emmere erimu ekiriisa era n’okukola dduyiro obutayosa. N’olwekyo wadde ng’olina eby’okukola bingi, fuba okulya emmere erimu ekiriisa era n’okukola dduyiro obutayosa. (Bef. 5:15, 16) Ate era, weebake ekimala. (Mub. 4:6) Okunoonyereza kulaga nti bwe twebaka ekimala obwongo bwaffe bwezza buggya. Ekiwandiiko ekimu ekikwata ku by’ekisawo kigamba nti omuntu bwe yeebaka ekimala, akendeeza ku kweraliikirira kw’aba nakwo era aba asobola okusigala nga mukkakkamu ne mu mbeera enzibu. Ate era kirungi okufunayo obudde ne weesanyusaamu. (Mub. 8:15) Mwannyinaffe omu alina gw’alabirira annyonnyola ekimuyambye okusigala nga musanyufu. Agamba nti: “Embeera y’obudde bw’eba nnungi nfuluma ebweru ne njota ku kasana. Ate era buli mwezi nfunayo waakiri olunaku lumu ne ŋŋenda ne mukwano gwange okwesanyusaamu.”
13. Lwaki kirungi okuseka? (Engero 17:22)
13 Kirungi okuseka. (Soma Engero 17:22; Mub. 3:1, 4) Okuseka kuyinza okukuyamba okuba omulamu obulungi mu mubiri ne mu birowoozo, era kukendeeza ne ku kweraliikirira. Bw’oba olina omuntu gw’olabirira, oluusi oyinza okufuna ebintu ebikusoomooza era nga si byangu kugumira. Naye bw’oseka wadde ng’olina ebizibu kijja kukuyamba okukendeeza ku kweraliikirira. Ate era bwe kiba kisoboka, sekera wamu n’oyo gw’olabirira, kubanga ekyo kiyinza okunyweza enkolagana yammwe.
14. Okwogera ne mukwano gwo gwe weesiga kiyinza kukuyamba kitya?
14 Buulirako mukwano gwo gwe weesiga engeri gye weewuliramu. Wadde ng’okoze kyonna ky’osobola okusigala ng’oli musanyufu, ebiseera ebimu oyinza okuwulira ng’embeera ekusukkiriddeko. Mu mbeera ng’eyo kiyinza okuba ekirungi okwogerako ne mukwano gwo, ajja okukuwuliriza obulungi era nga takusalira musango. (Nge. 17:17) Ebigambo ebirungi by’akugamba n’okuba nti akuwuliriza bulungi kiyinza okuba nga ky’obadde weetaaga okusobola okuddamu okuba omusanyufu.—Nge. 12:25.
15. Okwogera ku ebyo ebinaabaawo mu nsi empya kiyinza kitya okutuyamba okuba abasanyufu?
15 Kuba akafaananyi nga muli mu lusuku lwa Katonda. Kijjukire nti omulimu gw’okola ogw’okulabirira omuntu wo gwa kaseera buseera. Tekyali kigendererwa kya Katonda abantu okukaddiwa oba okulwala. (2 Kol. 4:16-18) “Obulamu obwa nnamaddala” bunaatera okutuuka. (1 Tim. 6:19) Gwe n’oyo gw’olabirira bwe mwogera ku ebyo bye muteekateeka okukola mu nsi empya kisobola okubayamba okuba abasanyufu. (Is. 33:24; 65:21) Mwannyinaffe Heather agamba nti: “Ntera okugamba oyo gwe ndabirira nti mu kiseera kitono tujja kutungira wamu, tuddukire wamu, era tuvugire wamu obugaali. Abaagalwa baffe abaliba bazuukidde tujja kubafumbira ebijjulo. Bulijjo twebaza Yakuwa olw’essuubi ly’atuwadde.”
ENGERI ABALALA GYE BASOBOLA OKUYAMBAMU
16. Tuyinza tutya okuyamba ow’oluganda mu kibiina kyaffe alina gw’alabirira? (Laba n’ekifaananyi.)
16 Baako by’okolera abo abalina be balabirira basobole okufuna obudde okuwummulako. Ffenna mu kibiina tusobola okuyambako abo abaliko be balabirira kibasobozese okuwummulamu n’okubaako ebintu ebirala bye bakola. (Bag. 6:2) Ab’oluganda abamu mu kibiina batera okukola enteekateeka buli lunaku mu wiiki ne wabaawo ayambako mu ngeri eyo. Mwannyinaffe Natalya alabirira omwami we eyasannyalala agamba nti: “Waliwo ow’oluganda mu kibiina atukyalirako awaka omulundi gumu oba ebiri mu wiiki n’abeerako n’omwami wange. Babuulirirako wamu, banyumya, era balabirako wamu firimu. Omwami wange anyumirwa nnyo ekiseera ky’amala n’ow’oluganda oyo, era nange kimpa akakisa okukola ebintu bye njagala gamba ng’okutambulako.” Emirundi egimu oyinza n’okusalawo okusula mu maka g’oyo aliko gw’alabirira kimusobozese okwebaka ekimala.
Oyinza otya okuyamba oyo aliko gw’alabirira ali mu kibiina kyo? (Laba akatundu 16)a
17. Biki bye tusobola okukola okuyamba abo abaliko be balabirira okuganyulwa mu nkuŋŋaana?
17 Yamba oyo aliko gw’alabirira ng’enkuŋŋaana zigenda mu maaso. Abo abalina be balabirira bayinza obutaganyulwa bulungi ng’enkuŋŋaana zigenda mu maaso ku kizimbe ky’Obwakabaka oba nga bali ku lukuŋŋaana olunene, kubanga baba balina okufaayo ku abo be balabirira. Ab’oluganda mu kibiina basobola okuyambako abo abalina be balabirira nga babaako bye bakola okubayamba okusinziira ku bwetaavu obubaawo. Ekyo basobola okukikola mu lukuŋŋaana lwonna oba mu bitundu ebimu eby’olukuŋŋaana. Oyo gwe balabirira bw’aba tasobola kuva waka oyinza okusalawo okugenda mu maka gy’abeera ne weeyunga ku nkuŋŋaana ng’okozesa essimu, ne kisobozesa oyo amulabirira okugenda mu nkuŋŋaana mu buntu.
18. Biki ebirala bye tusobola okukolera abo abaliko be balabirira?
18 Siima abo abaliko be balabirira era basabire. Abakadde basaanidde okukyalira abo abaliko be balabirira ne babazzaamu amaanyi. (Nge. 27:23) Ffenna mu kibiina ka tube nga twolekagana na mbeera ki, tusaanidde okugamba abo abaliko be balabirira nti tubaagala nnyo era ne tubasiima. Ate era tusobola okusaba Yakuwa yeeyongere okubawa amaanyi era abayambe okusigala nga basanyufu.—2 Kol. 1:11.
19. Biki bye twesunga mu biseera eby’omu maaso?
19 Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kuggyawo ebintu byonna ebituleetera okubonaabona n’obulumi. Obulwadde n’okufa bijja kuggibwawo. (Kub. 21:3, 4) ‘Abalema balibuuka ng’empeewo.’ (Is. 35:5, 6) Olw’okuba tujja kuba nga tetukyalwala era nga tetukyakaddiwa, tujja kuba tetukyetaaga kulabirira bantu baffe olw’embeera ezo. Mu kiseera ekyo ‘ebintu ebyasooka tebirijjukirwa.’ (Is. 65:17) Ne mu kiseera kino nga tulindirira okutuukirizibwa kw’ebisuubizo ebyo, Yakuwa tajja kutwabulira. Bwe tweyongera okumwesiga era ne tumusaba atuwe amaanyi, ajja kutuyamba “okugumira byonna n’okugumiikiriza n’essanyu.”—Bak. 1:11.
OLUYIMBA 155 Essanyu Lyaffe Ery’Olubeerera
a EKIFAANANYI: Bannyinaffe babiri abavubuka bazze okuyambako mwannyinaffe akaddiye kisobozese oyo amulabirira okutambulako.