AspctStyle/stock.adobe.com
Yesu Ajja Kumalawo Entalo
Yesu bwe yali ku nsi yayagala nnyo abantu n’atuuka n’okubafiiririra. (Matayo 20:28; Yokaana 15:13) Mu kiseera ekitali kya wala, ajja kuddamu ayoleke okwagala gye bali ng’akozesa obuyinza bwe nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, ‘amalewo entalo mu nsi yonna.’—Zabbuli 46:9.
Weetegereze ebyo Bayibuli by’eyogerako, Yesu by’ajja okukola:
“Anaanunulanga abaavu abawanjaga, n’abanaku era na buli atalina amuyamba. Anaasaasiranga abanaku n’abaavu, era anaawonyanga obulamu bw’abaavu. Anaabawonyanga okunyigirizibwa era n’ebikolwa eby’obukambwe.”—Zabbuli 72:12-14.
Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ebyo byonna Yesu by’atukoledde n’ebyo by’ajja okutukolera? Engeri emu gye tukiragamu nti tusiima, kwe kuyiga ebisingawo ebikwata ku ‘mawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda,’ Yesu ge yabuulira. (Lukka 4:43) Soma ekitundu “Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?”