panitan/stock.adobe.com
Yesu Ajja Kumalawo Obwavu
Yesu bwe yali ku nsi yalaga abantu okwagala naddala abaali abaavu n’abaali mu nnaku. (Matayo 9:36) Yawaayo n’obulamu bwe ku lw’abalala. (Matayo 20:28; Yokaana 15:13) Mu kiseera ekitali kya wala, ajja kuddamu ayoleke okwagala gye bali ng’akozesa obuyinza bwe nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, amalewo obwavu mu nsi yonna.
Bayibuli eraga ebyo Yesu by’ajja okukola:
“K’alwanirirenga abanaku mu bantu, alokolenga abaana b’abaavu.”—Zabbuli 72:4.
Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ebyo byonna Yesu by’atukoledde n’ebyo by’ajja okutukolera? Engeri emu gye tuyinza okukiragamu nti tusiima, kwe kuyiga ebikwata ku ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda,’ Yesu ge yabuulira. (Lukka 4:43) Soma ekitundu “Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?”