LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 10/1 lup. 16
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Similar Material
  • Obwavu Okuzuula Ekinaabugonjoolera Ddala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Yesu Ajja Kumalawo Obwavu
    Ensonga Endala
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 10/1 lup. 16

BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO

Obwavu buliggwaawo?

Omukazi ali n’omwana era ng’akutte ebbakuli

Katonda anaamalawo atya obwavu mu nsi?​—Matayo 6:9, 10.

Obwavu obuyitiridde buviirako abantu bukadde na bukadde okufa buli mwaka olw’endwadde n’endya embi. Wadde ng’abantu mu bitundu by’ensi ebimu bagagga, abantu abasinga obungi bakyali baavu lunkupe. Bayibuli eraga nti obwavu bwava dda.​—Soma Yokaana 12:8.

Okusobola okumalawo obwavu, kyetaagisa gavumenti emu efuga ensi yonna. Gavumenti eyo eba erina okuba n’obuyinza okugabanyaamu eby’obugagga by’ensi kyenkanyi, n’okumalawo entalo kubanga ze zisinga okuviirako abantu okwavuwala. Katonda ajja kuleeta gavumenti ng’eyo esobola okufuga ensi yonna.​—Soma Danyeri 2:44.

Mufuzi ki asobola okumalawo obwavu?

Katonda yalonda Omwana we Yesu, okufuga ensi yonna. (Zabbuli 2:4-8) Yesu ajja kununula abaavu era abawonye okunyigirizibwa n’ebikolwa eby’obukambwe.​—Soma Zabbuli 72:8, 12-14.

Bayibuli eyita Yesu “Omukulu ow’emirembe,” era ekyo kitegeeza nti ajja kuleetawo emirembe n’obutebenkevu mu nsi yonna. Awo buli muntu anaabeera ku nsi ajja kubeera n’amaka agage ku bubwe, omulimu ogumuleetera essanyu, era n’emmere mu bungi.​—Soma Isaaya 9:6, 7; 65:21-23.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 8 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Osobola okukafuna ne ku www.pr418.com/lg

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share