LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 4/1 lup. 16
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Similar Material
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 4/1 lup. 16
Yesu akutte olugoye ng’ali ng’alongoosa ensi

BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO

Biki Yesu by’anaakola mu biseera eby’omu maaso?

Mu mwaka gwa 33 embala eno, Yesu yafa, n’azuukira, era n’agenda mu ggulu. Nga wayiseewo ekiseera, Yesu yaweebwa obuyinza okufuga nga Kabaka. (Danyeri 7:13, 14) Mu biseera eby’omu maaso, Yesu ajja kuleeta emirembe ku nsi era aggyewo obwavu.​—Soma Zabbuli 72:7, 8, 13.

Yesu bw’anaaba afuga ensi ajja kugirongoosa

Yesu bw’anaaba afuga nga Kabaka, ajja kukolera abantu ebirungi bingi. Ajja kukozesa amaanyi Kitaawe ge yamuwa asobozese abantu okufuna obulamu obutuukiridde. Bajja kunyumirwa obulamu ku nsi emirembe gyonna nga tebakaddiwa era nga tebafa.​—Soma Yokaana 5:26-29; 1 Abakkolinso 15:25, 26.

Biki Yesu by’akola kati?

Mu kiseera kino, Yesu alabirira omulimu gw’okubuulira abagoberezi be ab’amazima gwe bakola mu nsi yonna. Bayigiriza abantu ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda nga bakozesa Bayibuli. Yesu yagamba nti ajja kweyongera okuwagira omulimu guno ogw’okubuulira okutuusa Obwakabaka bwa Katonda lwe bulizikiriza gavumenti z’abantu.​—Soma Matayo 24:14; 28:19, 20.

Ng’akozesa ekibiina Ekikristaayo eky’amazima, Yesu ayamba abantu okuba n’obulamu obw’amakulu. Bw’aliba azikiriza ababi, ajja kuwonyaawo abalungi babeere mu nsi empya Katonda gye yasuubiza.​—Soma 2 Peetero 3:7, 13; Okubikkulirwa 7:17.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 8 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Osobola okukafuna ne ku mukutu www.pr418.com

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share