BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO
Baani abanaagenda mu ggulu, era lwaki?
Abantu bangi baagala nnyo okugenda mu ggulu. Yesu yagamba nti abatume be abeesigwa bandigenze mu ggulu. Bwe yali akyali ku nsi, yabasuubiza okubateekerateekera ekifo mu ggulu eri Kitaawe.—Soma Yokaana 14:2.
Lwaki abantu bajja kuzuukira bagende mu ggulu? Bagenda kukolayo ki? Yesu yagamba abatume be nti bajja kuba bakabaka. Bajja kufuga ensi.—Soma Lukka 22:28-30; Okubikkulirwa 5:10.
Abantu bonna abalungi bagenda mu ggulu?
Mu nsi nnyingi, abantu batono nnyo abafuga. N’olwekyo, abo Yesu b’azuukiza okugenda mu ggulu okufuga ensi nabo twandibasuubidde okuba abatono. (Lukka 12:32) Bayibuli etubuulira omuwendo gw’abantu abanaafuga ne Yesu.—Soma Okubikkulirwa 14:1.
Yesu yateekerateekera abamu ku bagoberezi be ebifo mu ggulu. Omanyi kye bagenda okukolayo?
Abo abagenda mu ggulu si be bokka abajja okufuna empeera. Abantu abeesigwa abanaafugibwa Obwakabaka bwa Yesu bajja kufuna obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda wano ku nsi. (Yokaana 3:16) Katonda bw’aliba azikiriza omulembe guno omubi, abamu bajja kuwonawo babeere mu nsi empya. Abalala bajja kusooka kuzuukizibwa balyoke babeere mu nsi empya.—Soma Zabbuli 37:29; Yokaana 5:28, 29.