BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO
Abafu baliddamu okuba abalamu?
Omutonzi w’ebintu byonna asobola okuzuukiza abafu
Yakuwa Katonda ye nsibuko y’obulamu. (Zabbuli 36:9) Ekyo tekikukakasa nti Katonda asobola okuzuukiza abantu abaafa? Bayibuli eraga nti ekyo kyennyini ky’agenda okukola mu biseera eby’omu maaso. (Soma Ebikolwa 24:15) Naye, lwaki ajja kuzuukiza abafu?
Omutonzi waffe yatutonda ng’ayagala tubeere ku nsi emirembe gyonna. (Olubereberye 1:31; 2:15-17) Ekyo kye kigendererwa kye eri abantu n’okutuusa leero. Tekimusanyusa kulaba nga tubonaabona era nga tubeerawo emyaka mitono nnyo.—Soma Yobu 14:1, 14, 15.
Abanaazuukizibwa banaabeera wa?
Katonda yatonda abantu ng’ayagala babeere mu ggulu? Nedda. Bamalayika Katonda be yatonda okubeera mu ggulu, naye abantu yabatonda kubeera ku wano nsi. (Olubereberye 1:28; Yobu 38:4, 7) Ate lowooza ku bantu Yesu be yazuukiza. Abantu abo baddamu ne babeera wano ku nsi. Mu ngeri y’emu, abantu abasinga obungi ku abo abanaazuukizibwa bajja kubeera wano ku nsi.—Soma Yokaana 5:28, 29; 11:44.
Kyokka, waliwo abantu Katonda b’ajja okuzuukiza bagende mu ggulu, era bajja kuba n’emibiri gya myoyo. (Lukka 12:32; 1 Abakkolinso 15:49, 50) Abo abanaazuukizibwa okugenda mu ggulu bajja kufuga ensi nga bakabaka nga bali wamu ne Yesu Kristo.—Soma Okubikkulirwa 5:9, 10.