BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO
Tuliddamu okulaba abaafa?
Okufa kuli ng’okwebaka kubanga abafu tebaliiko kye bamanyi era tebasobola kukola kintu kyonna. Naye, Oyo eyatonda ebintu byonna ebiramu asobola okuzuukiza abafu. Obukakafu obulaga nti ekyo asobola okukikola kwe kuba nti yawa Yesu amaanyi n’azuukiza abantu abawerako.—Soma Omubuulizi 9:5; Yokaana 11:11, 43, 44.
Lwaki okufa kuli ng’okwebaka?
Katonda asuubiza nti ajja kuzuukiza abafu babeere mu nsi empya ey’obutuukirivu. Ekyo ajja kukikola mu kiseera kye ekigereke. Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna ayagala nnyo okuzuukiza abafu.—Soma Yobu 14:14, 15.
Abafu balizuukizibwa batya?
Katonda bw’anaazuukiza abafu, buli omu ajja kuba asobola okutegeera munne, mikwano gye, n’ab’omu maka ge. Wadde ng’omuntu bw’afa omubiri gwe guvunda, Katonda asobola okuzuukiza omuntu oyo n’omubiri omupya naye ng’ali nga bwe yali nga tannafa.—Soma 1 Abakkolinso 15:35, 38.
Abantu batono nnyo abazuukirira obuluma obw’omu ggulu. (Okubikkulirwa 20:6) Abantu abasinga obungi abanaazuukizibwa bajja kubeera ku nsi eneeba efuuliddwa olusuku lwa Katonda. Bajja kuba n’essuubi ery’okuba abalamu emirembe gyonna.—Soma Zabbuli 37:29; Ebikolwa 24:15.