BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO
Lwaki Yesu agenda kudda?
Yesu Kristo bwe yali tannagenda mu ggulu mu mwaka 33 embala eno, yasuubiza nti ajja kudda. Yeegeraageranya ku musajja omulangira eyagenda awantu n’amalayo ekiseera ekiwanvu, oluvannyuma n’akomawo ng’aweereddwa obuyinza okufuga nga kabaka. Yesu agenda kudda afuge ensi yonna nga Kabaka.—Soma Lukka 19:11, 12.
Yesu agenda kudda afuge ensi yonna nga Kabaka
Yesu Kristo anaakomawo na mubiri gwa ngeri ki? Yazuukizibwa na mubiri gwa mwoyo ogutalabika. (1 Peetero 3:18) Oluvannyuma yagenda mu ggulu n’atuula ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo. (Zabbuli 110:1) Nga wayiseewo ekiseera, Yesu yaleetebwa mu maaso ga Yakuwa Katonda, “omukadde eyaakamala ennaku ennyingi” era Yakuwa yamuwa obuyinza okufuga abantu bonna. N’olwekyo, Yesu ajja kukomawo nga Kabaka naye nga tetusobola kumulaba, kubanga tajja kuba na mubiri gwa nnyama.—Soma Danyeri 7:13, 14.
Kiki Yesu ky’anaakola ng’akomyewo?
Yesu ajja kujja ne bamalayika be okusala omusango. Abantu ababi bajja kuzikirizibwa naye abo abamukkiririzaamu baweebwe obulamu obutaggwaawo.—Soma Matayo 25:31-33, 46.
Yesu bw’anaaba afuga ensi, ajja kugifuula olusuku lwa Katonda. Ajja kuzuukiza abafu basobole okunyumirwa obulamu ku nsi.—Soma Lukka 23:42, 43.