LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mrt ekitundu 109
  • Yesu Ajja Kumalawo Obumenyi bw’Amateeka

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yesu Ajja Kumalawo Obumenyi bw’Amateeka
  • Ensonga Endala
  • Similar Material
  • Yesu Ajja Kumalawo Obwavu
    Ensonga Endala
  • Yesu Ajja Kumalawo Entalo
    Ensonga Endala
  • Ani gw’Oyinza Okwesiga?—Kiki Bayibuli ky’Egamba?
    Ensonga Endala
  • Obumenyi bw’Amateeka Obweyongedde Okwetooloola Ensi—Kiki Bayibuli ky’Ebwogerako?
    Ensonga Endala
See More
Ensonga Endala
mrt ekitundu 109
Omumenyi w’amateeka ng’alondoola omukazi ali yekka. Omukazi oyo alaba omumenyi w’amateeka amuli emabega era akuba essimu okufuna obuyambi.

alfa27/stock.adobe.com

Yesu Ajja Kumalawo Obumenyi bw’Amateeka

Yesu amanyi engeri omuntu gy’awuliramu ng’atuusiddwako ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka era ng’ayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Yesu yawaayirizibwa, yakubibwa, yagezesebwa, yasibibwako emisango era yattibwa mu bulumi. Wadde nga teyalina musango, yawaayo obulamu bwe okuba ekinunulo ku lw’abangi. (Matayo 20:28; Yokaana 15:13) Kati Yesu afuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, era mu kiseera ekitali kya wala ajja kumalawo obutali bwenkanya n’obumenyi bw’amateeka mu nsi yonna.—Isaaya 42:3.

Bayibuli eraga engeri ensi bw’eriba nga Yesu afuga ensi mu bujjuvu nga Kabaka:

  • “Ababi tebalibaawo; olitunula we baabeeranga, naye tebalibaawo. Naye abawombeefu balisikira ensi, era baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.”—Zabbuli 37:10, 11.

Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ebyo byonna Yesu by’atukoledde n’ebyo by’ajja okutukolera? Engeri emu gye tukiragamu nti tusiima, kwe kuyiga ebisingawo ebikwata ku ‘mawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda,’ Yesu ge yabuulira. (Lukka 4:43) Soma ekitundu “Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share