Yan Zabolotnyi/stock.adobe.com
BEERA BULINDAALA!
Obumenyi bw’Amateeka Obweyongedde Okwetooloola Ensi—Kiki Bayibuli ky’Ebwogerako?
Waliwo agabinja g’abamenyi b’amateeka ageenyigira mu bikolwa eby’obukambwe mu Haiti. Ebikolwa eby’obukambwe byeyongedde mu South Africa, Mexico ne mu nsi endala eza America. Ne mu nsi ezitakyalimu nnyo bumenyi bw’amateeka, abantu bawulira nga tebalina bukuumi era beeraliikirivu olw’okuba abantu boonoona ebintu n’okubyokya.
Kiki Bayibuli ky’eyogera ku bumenyi bw’amateeka obugenda mu maaso mu nsi yonna?
Bayibuli kye Yayogera ku Bumenyi bw’Amateeka
Bayibuli yalaga nti obumenyi bw’amateeka kye kimu ku ebyo ebyandibadde mu kabonero akalaga “amafundikira g’enteekateeka y’ebintu.” (Matayo 24:3) Yesu Kristo bwe yali ayogera ku ebyo ebyandibadde mu kabonero ako, yagamba nti:
“Olw’okweyongera kw’obujeemu, okwagala kw’abasinga obungi kuliwola.”—Matayo 24:12.
Ate era Bayibuli yagamba nti, “mu nnaku ez’enkomerero,” abantu bandibadde “tebeefuga, nga bakambwe, nga tebaagala bintu birungi.” (2 Timoseewo 3:1-5) Engeri ezo zireetedde abantu okwenyigira mu bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka obuliwo leero.
Naye tulina essuubi. Bayibuli egamba nti mu kiseera ekitali kya wala, obumenyi bw’amateeka bujja kuggwaawo.
“Mu kaseera katono, ababi tebalibaawo; olitunula we baabeeranga, naye tebalibaawo. Naye abawombeefu balisikira ensi, era baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.”—Zabbuli 37:10, 11.
Yiga ebisingawo ku bubaka obuli mu Bayibuli obuwa essuubi, n’ensonga lwaki osobola okuba omukakafu nti ebintu ebiriwo leero, bituukiriza obunnabbi obuli mu Bayibuli. Laba ebitundu bino:
“A Real Hope for a Better Tomorrow”