LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 2/15 lup. 28-32
  • Okyawa Obujeemu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okyawa Obujeemu?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Weewale Okufugibwa Omwenge
  • Weewale eby’Obusamize
  • Weewala Ebikolwa eby’Obugwenyufu
  • Beera n’Endowooza ng’Eya Yesu eri Abo Abaagala Obujeemu
  • ‘Kyawa Obubi’
  • Obumenyi bw’Amateeka Obweyongedde Okwetooloola Ensi—Kiki Bayibuli ky’Ebwogerako?
    Ensonga Endala
  • Yagala Obutuukirivu era Kyawa Obujeemu
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Engeri Gye Tuyinza Okwekuumamu Ogumu ku Mitego gya Sitaani
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Koppa Ekyokulabirako kya Yesu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 2/15 lup. 28-32

Okyawa Obujeemu?

‘Yesu yakyawa obujeemu.’​—BEB. 1:9.

1. Kiki Yesu kye yayigiriza ku kwagala?

NG’ALAGA obukulu bw’okuba n’okwagala, Yesu Kristo yagamba abayigirizwa be nti: “Mbawa etteeka eriggya, mwagalanenga; nga bwe nnabaagala mmwe, nammwe bwe muba mwagalana. Ku kino bonna kwe bajja okutegeerera nti muli bayigirizwa bange bwe munaayagalananga.” (Yok. 13:34, 35) Yesu yalagira abagoberezi be okwoleka okwagala okwa nnamaddala buli omu eri munne. Okwagala okwo kwe kwandibaawuddewo ng’abayigirizwa be. Era Yesu yabagamba nti: “Mweyongere okwagala abalabe bammwe era n’okusabira abo ababayigganya.”​—Mat. 5:44.

2. Kiki abagoberezi ba Kristo kye balina okukyawa?

2 Ng’oggyeko okuyigiriza abayigirizwa be ebikwata ku kwagala, Yesu yabayigiriza n’ekyo kye baalina okukyawa. Nga byogera ku Yesu, Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Wayagala obutuukirivu n’okyawa obujeemu [obubi].” (Beb. 1:9; Zab. 45:7) Kino kiraga nti tetusaanidde kukoma ku kwagala butuukirivu kyokka, naye era tulina n’okukyawa ekibi, oba obujeemu. Tekyewuunyisa nti omutume Yokaana yagamba nti: “Buli muntu akola ekibi aba akola eby’obujeemu, bwe kityo ekibi bwe bujeemu.”​—1 Yok. 3:4.

3. Bintu ki bye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?

3 Ng’Abakristaayo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Ddala nkyawa obujeemu?’ Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tuyinza okulagamu nti tukyawa obujeemu bwe kituuka: (1) ku ndowooza gye tulina ku mwenge, (2) ku by’obusamize, (3) ku bikolwa eby’obugwenyufu, ne (4) ku ngeri gye tutunuuliramu abo abaagala obujeemu.

Weewale Okufugibwa Omwenge

4. Lwaki Yesu teyaliimu kutya kwonna bwe yali alabula ku ky’okwewala okunywa omwenge omungi?

4 Oluusi Yesu yanywanga ku mwenge, ng’akimanyi nti omwenge kirabo ekiva eri Katonda. (Zab. 104:14, 15) Kyokka, teyakozesa bubi kirabo kino ng’anywa omwenge omungi. (Nge. 23:29-33) Bwe kityo, Yesu yali asobola okuvumirira omuze ogwo nga taliimu kutya kwonna. (Soma Lukka 21:34.) Okukozesa obubi omwenge kiyinza okutuviirako okukola ebibi ebirala bingi eby’amaanyi. Bwe kityo, omutume Pawulo yawandiika nti: “Temutamiiranga mwenge kubanga ekyo kibaleetera okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, naye mujjuzibwenga omwoyo.” (Bef. 5:18) Era yakubiriza n’abakazi abakulu mu kibiina okwewala “okufugibwa omwenge omungi.”​—Tit. 2:3.

5. Bibuuzo ki abo abasalawo okunywa ku mwenge bye balina okwebuuza?

5 Bw’osalawo okunywa ku mwenge, kiba kirungi okusooka okwebuuza: ‘Nnina endowooza nga Yesu gye yalina ku bikwata ku kunywa omwenge omungi? Nsobola okubuulirira abalala ku nsonga eno nga siriimu kutya kwonna? Nnywa omwenge nga njagala kuwummuza ku birowoozo oba okukendeeza ku binneeraliikiriza? Omwenge gwe nnywa buli wiiki gwenkana wa? Nneeyisa ntya singa wabaawo aŋŋamba nti omwenge gwe nnywa mungi nnyo? Ngezaako okwewolereza oboolyawo ne ntuuka n’okumunyiigira?’ Bwe tukkiriza okufugibwa omwenge, ekyo kiyinza okutulemesa okulowooza n’okusalawo obulungi. Abagoberezi ba Kristo bafuba okulaba nti buli kiseera obwongo bwabwe buba bukola bulungi.​—Nge. 3:21, 22.

Weewale eby’Obusamize

6, 7. (a) Bwe kituuka ku Sitaani ne badayimooni, kiki Yesu kye yakola? (b) Lwaki waliwo abantu bangi leero abeenyigira mu by’obusamize?

6 Bwe yali ku nsi, Yesu yaziyiza Sitaani ne badayimooni. Teyakkiriza Sitaani kumenya bugolokofu bwe. (Luk. 4:1-13) Yaziyiza n’obukoddyo obwekusifu Sitaani bwe yali ayagala okukozesa okwonoona ebirowoozo bye. (Mat. 16:21-23) Yesu yayamba abantu ab’emitima emirungi okuva mu bufuge bwa badayimooni.​—Mak. 5:2, 8, 12-15; 9:20, 25-27.

7 Oluvannyuma lw’okutuuzibwa ku ntebe mu 1914, Yesu yagoba Sitaani ne badayimooni mu ggulu. Era okuva olwo, Sitaani​—okusinga bwe kyali kibadde​—abadde akola butaweera ‘okubuzaabuza ensi yonna.’ (Kub. 12:9, 10) N’olwekyo, tekisaanidde kutwewuunyisa nti leero waliwo abantu bangi nnyo abeenyigira mu bikolwa eby’obusamize. Kati olwo tusaanidde kukola ki okusobola okwewala eby’obusamize?

8. Bwe kituuka ku by’okwesanyusaamu, bibuuzo ki buli omu ku ffe by’asaanidde okwebuuza?

8 Bayibuli erabula ku kabi akali mu by’obusamize. (Soma Ekyamateeka 18:10-12.) Leero, Sitaani ne badayimooni babuzaabuza abantu nga bakozesa firimu, ebitabo, n’emizannyo gya kompyuta ebikubiriza eby’obusamize. N’olwekyo, bwe kituuka ku by’okwesanyusaamu, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Mu myezi egiyise, nnasomako ku bitabo ebyogera ku by’obusamize oba nnalabako ku firimu, oba programu za ttivi omuli eby’obusamize? Ndaba obukulu bw’okwewala ebintu ebirina akakwate n’eby’obusamize, oba mbitwala ng’ebitalina mutawaana? Nnali nkirowoozezaako nti Yakuwa afaayo ku ebyo bye nnondawo okwesanyusaamu? Bwe kiba nti eby’obusamize bibadde bitandise okuntwaliriza, okwagala kwe nnina eri Yakuwa awamu n’emitindo gye egy’obutuukirivu kunaankubiriza okusalawo okubireka?’​—Bik. 19:19, 20.

Weewala Ebikolwa eby’Obugwenyufu

9. Omuntu ayinza atya okulaga nti ayagala obujeemu?

9 Yesu yanywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa. Yagamba nti: “Temusomangako nti oyo eyabatonda okuva ku lubereberye yatonda omusajja n’omukazi n’agamba nti, ‘Olw’ensonga eno omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina n’abeera ne mukazi we era bombi banaabanga omubiri gumu’? Nga tebakyali babiri naye nga bali omubiri gumu. N’olwekyo, Katonda kye yagatta awamu, omuntu yenna takyawulanga.” (Mat. 19:4-6) Yesu yali akimanyi nti ebyo bye tulaba n’amaaso gaffe birina kinene kye bikola ku mutima gwaffe. Eyo ye nsonga lwaki mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, yagamba nti: “Mwawulira bwe kyagambibwa nti, ‘Toyendanga.’ Naye mbagamba nti, buli atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe.” (Mat. 5:27, 28) Abo bonna abasambajja okulabula kwa Yesu okwo baba balaga nti baagala obujeemu.

10. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti omuntu asobola okwekutula ku muze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu.

10 Sitaani atumbula ebikolwa eby’obugwenyufu ng’ayitira mu bifaananyi eby’obugwenyufu. Ebifaananyi ng’ebyo bicaase nnyo leero. Abo abalaba ebifaananyi eby’obugwenyufu bakisanga nga kizibu okubyerabira. Okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu kiyinza n’okubafuukira omuze. Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku Mukristaayo omu. Agamba nti: “Nnateranga okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu mu nkukutu. Nnali mu nsi yange, era nga ndowooza nti bye nkola eyo tebirina kakwate konna na buweereza bwange eri Yakuwa. Nnali nkimanyi nti kye nnali nkola kyali kikyamu naye nga nneerimbalimba nti obuweereza bwange Katonda yali akyabusiima.” Kiki ekyayamba ow’oluganda ono okukyusa endowooza ye? Agamba nti: “Wadde nga kino kye kintu ekikyasinzeeyo okumbeerera ekizibu okukola, nnasalawo okubuulira abakadde ku kizibu kyange.” Kya ddaaki ow’oluganda ono yeekutula ku muze ogwo omubi ennyo. Agamba nti: “Oluvannyuma lw’okwekutula ku muze ogwo, nnatandika okuwulira nga nnina omuntu ow’omunda omuyonjo.” Abo abakyawa obujeemu bateekwa okukyawa ebifaananyi eby’obugwenyufu.

11, 12. Bwe kituuka ku nnyimba ze tuwuliriza, tuyinza tutya okulaga nti tukyawa obujeemu?

11 Ennyimba ze tuwuliriza zirina kinene kye ziyinza okukola ku mutima gwaffe ogw’akabonero. Okuyimba kirabo okuva eri Katonda era okuva edda n’edda, ennyimba zibadde zikozesebwa mu kusinza okw’amazima. (Kuv. 15:20, 21; Bef. 5:19) Naye ennyimba nnyingi eziri mu nsi ya Sitaani eno zikubiriza ebikolwa eby’obugwenyufu. (1 Yok. 5:19) Oyinza otya okumanya obanga ennyimba z’owuliriza nnungi?

12 Kiba kirungi okwebuuza: ‘Ennyimba ze mpuliriza zikubiriza ettemu, obwenzi, obukaba, oba zivvoola? Singa nsomera omuntu omulala ebigambo ebiri mu nnyimba ezo, omuntu oyo anaakiraba nti nkyawa obujeemu, oba ebigambo ebizirimu binaamulaga nti omutima gwange gwayonooneka dda?’ Tetusobola kugamba nti tukyawa obujeemu ate nga mu kiseera kye kimu tuwuliriza ennyimba ezibukubiriza. Yesu yagamba nti: “Ebintu ebifuluma mu kamwa biva mu mutima era ebyo bye byonoona omuntu. Ng’ekyokulabirako, mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obutemu, obwenzi, obukaba, obubbi, okuwaayiriza, n’okuvvoola.”​—Mat. 15:18, 19; geraageranya Yakobo 3:10, 11.

Beera n’Endowooza ng’Eya Yesu eri Abo Abaagala Obujeemu

13. Yesu yatwala atya abantu abaagaana okuleka ebikolwa byabwe ebibi?

13 Yesu yagamba nti yajja okuyita aboonoonyi, oba abajeemu, basobole okwenenya. (Luk. 5:30-32) Naye yatwala atya abo abaagaana okuleka ebikolwa byabwe ebibi? Yesu yalabula abagoberezi be okwewala okutwalirizibwa abantu ng’abo. (Mat. 23:15, 23-26) Era yagamba nti: “Si buli muntu aŋŋamba nti, ‘Mukama wange, Mukama wange,’ y’aliyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu, wabula oyo akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala. Bangi abaliŋŋamba ku lunaku luli [Katonda lw’alizikiririzaako ababi] nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni mu linnya lyo, era ne tukola ebyamagero bingi mu linnya lyo?’” Kyokka, ajja kwegaana abo abagaanyi okuleka ebikolwa byabwe eby’obujeemu, ng’abagamba nti: “Muve we ndi.” (Mat. 7:21-23) Lwaki abantu ng’abo ajja kubagoba mu maaso ge? Kubanga tebawa Katonda kitiibwa era n’ebikolwa byabwe eby’obujeemu birumya abalala.

14. Lwaki aboonoonyi abagaana okwenenya balina okugobebwa mu kibiina?

14 Ekigambo kya Katonda kiraga nti aboonoonyi abagaana okwenenya balina okugobebwa mu kibiina. (Soma 1 Abakkolinso 5: 9-13.) Waliwo ensonga enkulu ssatu lwaki kino kirina okukolebwa: (1) okwewala okuleeta ekivume ku linnya lya Yakuwa, (2) okukuuma ekibiina nga kiyonjo, ne (3) okuyamba omwonoonyi okwenenya bwe kiba kisoboka.

15. Bwe tuba twagala okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?

15 Naawe otunuulira abantu abagaanyi okuleka ebikolwa byabwe eby’obujeemu nga Yesu bw’abatunuulira? Buli omu ku ffe asaanidde okufumiitiriza ku bibuuzo bino: ‘Kiba kya magezi okukolagananga n’omuntu agobeddwa mu kibiina Ekikristaayo oba oyo akyeyawuddeko? Watya singa omuntu oyo aba omu ku b’eŋŋanda zo naye nga tobeera naye?’ Engeri gye tweyisaamu mu mbeera eyo esobola okulaga obanga twagala obutuukirivu era obanga tuli beesigwa eri Katonda.a

16, 17. Buzibu ki mwannyinaffe omu bwe yayolekagana nabwo, era kiki ekyamuyamba okukolera ku bulagirizi obukwata ku ngeri y’okukolaganamu n’omuntu aba agobeddwa mu kibiina?

16 Lowooza ku mwannyinaffe omu eyalina mutabani we eyali ayagala Yakuwa. Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera, mutabani we oyo yatandika okwenyigira mu bikolwa eby’obujeemu era n’agaana okwenenya. Bw’atyo yagobebwa mu kibiina. Mwannyinaffe oyo yali ayagala nnyo Yakuwa, naye era yali ayagala nnyo ne mutabani we. Bw’atyo yakisanga nga kizibu okwewala okukolagana naye ng’Ebyawandiikibwa bwe biragira.

17 Magezi ki ge wandiwadde mwannyinaffe oyo? Omukadde omu yamuyamba okukijjukira nti Yakuwa yali ategeera bulungi embeera gye yalimu. Yamuyamba okulowooza ku ngeri Yakuwa gye yawuliramu ng’omu ku bamalayika be amujeemedde. Yamulaga nti wadde nga Yakuwa amanyi bulungi obulumi omuntu ali mu mbeera ng’eyo bw’awulira, yeetaagisa aboonoonyi abagaana okwenenya okugobebwa mu kibiina. Ebigambo ebyo byamukwatako nnyo bw’atyo n’akkiriza okukolera ku bulagirizi obukwata ku ngeri y’okukolaganamu n’omuntu aba agobeddwa mu kibiina.b Bwe tuba abeesigwa eri Yakuwa mu ngeri eyo kisanyusa omutima gwe.​—Nge. 27:11.

18, 19. (a) Bwe twewala okukolagana n’omuntu akola ebikolwa eby’obujeemu kiba kiraga ki? (b) Bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Katonda n’eri ekibiina kye, kiki ekiyinza okuvaamu?

18 Bwe weesanga mu mbeera ng’eyo, kijjukirenga nti Yakuwa aba amanyi bulungi obulumi bw’oba owulira. Bwe weewala okukolagana n’omuntu aba agobeddwa mu kibiina oba oyo aba akyeyawuddeko, oba olaga nti okyawa ebikolwa bye eby’obujeemu. Ate era oba olaga nti oyagala omwonoonyi oyo era nti omwagaliza ekisingayo obulungi. Bw’osigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa, kiyinza okuyamba omwonoonyi okwenenya n’akomawo eri Yakuwa.

19 Omuntu omu eyagobebwa mu kibiina naye oluvannyuma n’akomezebwawo yagamba nti: “Ndi musanyufu okukimanya nti olw’okuba Yakuwa ayagala nnyo abantu be, akola kyonna ekyetaagisa okukuuma ekibiina kye nga kiyonjo. Wadde ng’okugoba omuntu mu kibiina kiyinza okulabika ng’ekintu ekitali kya bwenkanya eri abantu abataweereza Yakuwa, kyetaagisa era kikolwa ekyoleka okwagala.” Olowooza omuntu oyo yandisobodde okutegeera obulungi ensonga eyo singa ab’oluganda mu kibiina awamu n’ab’omu maka gy’abeera baasigala bakolagana naye ng’agobeddwa mu kibiina? Bwe tugoberera obulagirizi obuli mu Byawandiikibwa obukwata ku ngeri gye tulina okukolaganamu n’abo ababa bagobeddwa mu kibiina, tuba tulaga nti twagala obutuukirivu era nti Yakuwa gwe tutwala ng’Oyo agwanidde okututeerawo emitindo gy’empisa kwe tulina okutambulira.

‘Kyawa Obubi’

20, 21. Lwaki tusaanidde okufuba okukyawa obujeemu?

20 Omutume Peetero agamba nti: “Mubeere nga mutegeera bulungi, mubeere bulindaala.” Lwaki? Kubanga “omulabe wammwe Sitaani atambulatambula ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.” (1 Peet. 5:8) Anaalya ggwe? Kino kijja kusinziira nnyo ku ngeri gy’ofubamu okukyawa obujeemu.

21 Si kyangu kukyawa bubi. Twazaalibwa mu kibi, era tuli mu nsi ekubiriza ebikolwa eby’omubiri. (1 Yok. 2:15-17) Naye bwe tukoppa Yesu Kristo era ne tweyongera okwagala Yakuwa Katonda, tujja kusobola okukyawa obujeemu. N’olwekyo, ka tube bamalirivu ‘okukyawa obubi,’ nga tuli bakakafu nti Yakuwa ‘akuuma abatukuvu be, era abawonya mu mukono gw’omubi.’​—Zab. 97:10.

[Obugambo obuli wansi]

a Okumanya ebisingawo ku nsonga eno, laba Watchtower eya Ssebutemba 15, 1981, olupapula 26-31.

b Laba Watchtower eya Jjanwali 15, 2007, olupapula 17-20.

Wandizzeemu Otya?

• Kiki ekinaatuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku mwenge?

• Tuyinza kukola ki okusobola okwewala ebikolwa eby’obusamize?

• Lwaki okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu kya kabi nnyo?

• Tuyinza tutya okulaga nti tukyawa obujeemu nga waliwo omuntu gwe twagala agobeddwa mu kibiina?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Bw’osalawo okunywa ku mwenge, bintu ki by’osaanidde okulowoozaako?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]

Weewale eby’okwesanyusaamu ebikubiriza endowooza za Sitaani

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Omuntu bw’alaba ebifaananyi eby’obugwenyufu kiba kiraga ki?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share