LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ijwbq ekitundu 32
  • Ddala Bayibuli Esobola Okunnyamba nga Ndi Mwennyamivu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ddala Bayibuli Esobola Okunnyamba nga Ndi Mwennyamivu?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibuli ky’egamba
  • Engeri Katonda gy’ayambamu abennyamivu
  • Okubudaabuda Abennyamivu
    Okubudaabuda Abennyamivu
  • Kiki Ekiviirako—Abavubuka Okwennyamira?
    Zuukuka!—2017
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 32

Ddala Bayibuli Esobola Okunnyamba nga Ndi Mwennyamivu?

Bayibuli ky’egamba

Yee, kubanga “Katonda abudaabuda abo abaweddemu amaanyi,” asobola okutuwa obuyambi obusingayo obulungi.​—2 Abakkolinso 7:6.

Engeri Katonda gy’ayambamu abennyamivu

  • Abawa amaanyi. Bw’osaba Katonda, akuwa amaanyi ge weetaaga okwaŋŋanga ekizibu ky’olina. (Abafiripi 4:13) Ba mukakafu nti Katonda akuwulira, kubanga Bayibuli egamba nti: “Yakuwa ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese; alokola abo bonna abalina omwoyo oguboneredde.” (Zabbuli 34:18) Bw’osaba Katonda akuwulira ne bw’oba nga tosobola kumunnyonnyolera ddala ngeri gy’owuliramu.​—Abaruumi 8:26, 27.

  • Ebyokulabirako ebirungi. Omuwandiisi wa Bayibuli yasaba Katonda nti: “Nkukoowoola nga ndi mu buziba.” Omuwandiisi wa Bayibuli oyo yafuna obuweerero bwe yakijjukira nti Katonda mwetegefu okutusonyiwa ebibi byaffe. Yagamba Katonda nti: “Singa wali otunuulira nsobi, Ai Yakuwa, ani yandisobodde okuyimirira? Kubanga ggwe osonyiyira ddala, bw’otyo olyoke oweebwe ekitiibwa.”​—Zabbuli 130:1, 3, 4.

  • Abawa essuubi. Ng’oggyeeko okubudaabuda abennyamivu, Katonda era asuubizza okuggyawo ebizibu byonna ebireetera abantu okwennyamira. Katonda bw’anaatuukiriza ekisuubizo ekyo, “Ebintu ebyasooka [nga mw’otwalidde n’okwenyamira] tebirijjukirwa, era tebirisigala mu mutima.”​—Isaaya 65:17.

Weetegereze: Wadde nga bakimanyi nti Katonda abudaabuda abennyamivu, Abajulirwa ba Yakuwa bwe bafuna obulwadde obw’okwennyamira, bagenda mu malwaliro okufuna obujjanjabi. (Makko 2:17) Abajulirwa ba Yakuwa tebalina bujjanjabi bwe bakubiriza bantu kufuna; bakimanyi nti buli muntu asaanidde okwesalirawo ku lulwe obujjanjabi bw’ayagala.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share