LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ijwbq ekitundu 143
  • Okunywa Sigala Kibi mu Maaso ga Katonda?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okunywa Sigala Kibi mu Maaso ga Katonda?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibuli ky’egamba
  • Bayibuli erina kyonna ky’eyogera ku kunywa enjaga oba okukozesa ebiragalalagala ebirala mu ngeri ey’okwesanyusaamu?
  • Okunywa Ssigala Kibi mu Maaso ga Katonda?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Okunywa Ssigala Katonda Akutwala Atya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 143
Anywa omunwe gwa sigala

Okunywa Sigala Kibi mu Maaso ga Katonda?

Bayibuli ky’egamba

Bayibuli teyogera ku kunywa sigalaa oba ku ngeri endala gye bakozesaamu taaba. Kyokka erimu emisingi egiraga nti Katonda tasanyukira mize emibi egikosa obulamu. N’olwekyo okunywa sigala akitwala ng’ekibi mu maaso ge.

  • Okussa ekitiibwa mu bulamu. ‘Katonda y’awa abantu bonna obulamu n’omukka gwe bassa.’ (Ebikolwa 17:24, 25) Olw’okuba obulamu kirabo okuva eri Katonda, tetusaanidde kukola kintu kyonna ekiyinza okubukendeezaako gamba ng’okunywa sigala. Okunywa sigala kye kimu ku bisinga okuleetera abantu okufa amangu.

  • Okwagala bantu bannaffe. “Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala.” (Matayo 22:39) Okunywera sigala mu bantu tekiraga kwagala. Abo abasika omukka gwa sigala nabo basobola okufuna obulwadde abo abanywa sigala bwe bafuna.

  • Okuba abatukuvu. ‘Muweeyo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu, entukuvu, era esiimibwa Katonda.’ (Abaruumi 12:1) “Ka twenaazeeko byonna ebyonoona omubiri n’omwoyo, obutukuvu bwaffe butuukirire mu kutya Katonda.” (2 Abakkolinso 7:1) Okuba omutukuvu kitegeeza okuba omuyonjo. Omuntu anywa sigala taba muyonjo kubanga aba asika omuka ogw’obutwa ogw’onoona omubiri gwe.

Bayibuli erina kyonna ky’eyogera ku kunywa enjaga oba okukozesa ebiragalalagala ebirala mu ngeri ey’okwesanyusaamu?

Bayibuli teyogera butereevu ku njaga oba ebiragalalagala ebirala. Naye erimu emisingi egivumirira okukozesa ebiragalalagala ng’ebyo mu ngeri ey’okwesanyusaamu. Okugatta ku misingi gye twogeddeko waggulu, lowooza ne ku gino wammanga:

  • Okukuuma ebirowoozo byaffe nga bikola bulungi. “Oyagalanga Yakuwa Katonda wo . . . n’amagezi go gonna.” (Matayo 22:37, 38) “Mubeere nga mutegeera bulungi.” (1 Peetero 1:13) Omuntu tasobola kukuuma birowoozo bye nga bikola bulungi bw’aba ng’akozesa ebiragalalagala, ate bangi bafuna omuze ogw’okukozesa ebiragalalagala ng’ebyo. Ebirowoozo byabwe babimalira ku kunoonya n’okukozesa ebiragalalagala mu kifo ky’okulowooza ku bintu ebizimba.—Abafiripi 4:8.

  • Okugondera ab’obuyinza. ‘Muwulire abafuzi n’ab’obuyinza.’ (Tito 3:1) Ensi nnyingi zirina amateeka agagaana okukozesa ebiragalalagala. Bwe tuba twagala okusanyusa Katonda tulina okugondera ab’obuyinza.—Abaruumi 13:1.

Okunywa Sigala oba Ttaaba Kya Bulabe eri Obulamu Bwo

kitongole ky’eby’obulamu mu nsi yonna kiteebereza nti abantu ng’obukadde mukaaga be bafa endwadde eziva ku kunywa sigala, nga mwe muli n’abantu abasukka mu 600,000 abafa olw’okusika omuka gwa sigala. Weetegereze nti sigala akosa obulamu bw’abo abamunywa n’obw’abo abatamunywa.

Obulwadde bwa kookolo. Omuka oguva mu sigala gulimu ebirungo ebisukka 50 ebireeta obulwadde bwa kookolo. Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa Encyclopædia Britannica “kirowoozebwa nti omuka gwa sigala gukola ebitundu 90 ku kimu eky’ebintu ebiviirako kookolo w’amawugwe.” Omuka gwa sigala guyinza okuleeta kookolo w’omu kamwa, mu mumiro, mu ddookooli, mu kibumba, mu kalulwe, ne mu kawago.

Endwadde z’amawuggwe. Omuka gwa sigala guleeta endwadde z’amawuggwe gamba nga nimoniya. Abaana abatera okusika omuka gwa sigala basobola okufuna obulwadde bwa asima, ekifuba eky’amaanyi, era n’amawuggwe gaabwe ne gaba nga tegakula era nga tegakola bulungi.

Obulwadde bw’omutima. Abantu abanywa sigala basobola okufuna stroke oba endwadde z’omutima. Omukka gwa carbon monoxide oguli mu sigala gusobola okuyita mu mawuggwe ne gugenda mu musaayi era ne gulemesa omukka gwa oxygen okutambula obulungi mu musaayi. Omukka gwa oxygen bwe gubeera omutono mu musaayi, omutima gukola nnyo okusobola okutuusa oxygen mu mubiri gwonna.

Okukosa omwana ali mu lubuto. Abakazi abanywa sigala nga bali mbuto basobola okuleetera abaana baabwe okuzaalibwa nga tebannatuuka, okuzaalibwa nga bawewuka nnyo, oba nga balina obulemu ku mubiri. Abaana ng’abo era basobola okufuna endwadde z’amawuggwe oba okufa amangu.

a Okunywa sigala okwogerwako wano kutegeeza okufuuweeta omuka gwa taaba mu ngeri ezitali zimu gamba ng’okufuuweeta eminwe gya sigala, emisokoto gya taaba, okunywa emmindi n’ebirala ebiri ng’ebyo. Kyokka emisingi egyogerwako gikwata ne ku kugaaya taaba, okumunuusa, okulya amayirungi n’ebirala ebiringa ebyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share