LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 10/1 lup. 15
  • Okunywa Ssigala Kibi mu Maaso ga Katonda?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okunywa Ssigala Kibi mu Maaso ga Katonda?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Similar Material
  • Okunywa Sigala Kibi mu Maaso ga Katonda?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Okunywa Ssigala Katonda Akutwala Atya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 10/1 lup. 15

Abasomi Baffe Babuuza . . .

Okunywa Ssigala Kibi mu Maaso ga Katonda?

▪ Omuntu omwesimbu ayinza okwebuuza ekibuuzo ekyo, okuva bwe kiri nti tewali tteeka mu Bayibuli lyogera ku kunywa ssigala oba taaba. Ekyo kiba kitegeeza nti kizibu okumanya endowooza ya Katonda ku nsonga eyo? Nedda.

Bayibuli egamba nti, “buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda”. (2 Timoseewo 3:16) Bayibuli eraga nti Katonda ayagala tufeeyo nnyo ku bulamu bwaffe. Ka tusooke twetegereze ebyo bakakensa mu by’obulamu bye bazudde ku kabi akali mu kunywa ssigala. Oluvannyuma tujja kulaba ekyo Bayibuli ky’egamba.

Ssigala akosa obulamu bw’oyo amunywa, era y’asinga okutta abantu. Ku bantu abataano abafa mu Amerika, omu ku bo aba afudde lwa kunywa ssigala. Lipoota eyafulumizibwa ekitongole kya National Institute on Drug Abuse eraga nti, mu Amerika abantu abafa buli mwaka olw’okunywa ssigala basinga abo abafa “olw’okunywa omwenge, okukozesa ebiragalalagala, abatemulwa, abetta, abafa obubenje n’abafa siriimu nga bonna obagasse.”

Okunywa ssigala kikosa obulamu bw’abalala. Omukka oguva mu ssigala, ka gube mutono gutya, gwa kabi eri oyo aba aliraanye omuntu aba anywa ssigala, era kiba kyangu okulwala kookolo n’obulwadde bw’omutima. Mu myaka egiyise abasawo baakizuula nti obutwa omukka gwa ssigala bwe guleka ku ngoye, ne ku bintu ebirala, busobola okukosa obulamu bw’abantu. Obutwa obwo bw’akabi nnyo nnaddala eri abaana abato era bubalemesa okuyiga obulungi.

Okunywa ssigala kisobola okufuuka omuze. Omuntu asobola okufuuka omuddu wa ssigala. Mu butuufu bakakensa mu by’obulamu bagamba nti ekireetera abantu okuzibuwalirwa okuva ku ssigala kye kirungo ekiyitibwa nicotine ekireetera omuntu okuba ng’ayagala okunywa ssigala buli kiseera.

Ebyo ebyazuulibwa bikwatagana ne Bayibuli ky’egamba? Weetegereze emisingi gino wammanga:

Katonda ayagala tusse ekitiibwa mu bulamu. Mu Mateeka Katonda ge yawa eggwanga lya Isiraeri, yakiraga nti abo abaagala okumusanyusa basaanidde okussa ekitiibwa mu bulamu. (Ekyamateeka 5:17) Buli Muisiraeri yalina okuzimba omuziziko ku kasolya k’ennyumba ye. Lwaki? Obusolya bw’abanga buseeteevu era ab’omu maka oba abantu abalala baawummulirangayo. Omuziziko ogwo gwabayambanga obutagwa wansi ekyandibaviiriddeko okufuna ebisago oba okufa. (Ekyamateeka 22:8) Okugatta ku ekyo, Abaisiraeri baalinanga okukuuma ebisolo byabwe bireme kutuusa bulabe ku balala. (Okuva 21:28, 29) Omuntu anywa ssigala aba amenya emisingi egiri mu mateeka ago. Aba akosa obulamu bwe mu bugenderevu era aba akosa n’obw’abo abamuliraanye.

Katonda ayagala tumwagale era twagale ne bantu bannaffe. Yesu Kristo yagamba nti abagoberezi be balina okugondera amateeka abiri agasinga obukulu. Bateekwa okwagala Katonda, n’omutima gwabwe gwonna, n’obulamu bwabwe bwonna, n’amagezi gaabwe gonna, n’amaanyi gaabwe gonna, era n’okwagala muntu munnaabwe nga bwe beeyagala. (Makko 12:28-31) Okuva bwe kiri nti obulamu kirabo Katonda kye yatuwa, omuntu anywa ssigala aba tasiima kirabo ekyo era aba tayagala Katonda. (Ebikolwa 17:26-28) Omuntu ng’oyo akosa obulamu bw’abalala, era bw’agamba nti ayagala muntu munne, aba mulimba.

Katonda ayagala twewalire ddala empisa ezitali nnyonjo. Bayibuli eragira Abakristaayo okweggyako “byonna ebyonoona omubiri n’omwoyo.” (2 Abakkolinso 7:1) Awatali kubuusabuusa, okunywa ssigala kwonoona omuntu. Abo abaagala okuva ku ssigala basobole okusanyusa Katonda tekitera kubanguyira. Naye Katonda abayamba ne baleka omuze ogwo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share