LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ijwbq ekitundu 159
  • Ddala Ebisolo Bigenda mu Ggulu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ddala Ebisolo Bigenda mu Ggulu?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibuli ky’egamba
  • Kiki ekituuka ku bisolo nga bifudde?
  • Ebisolo bikola ekibi?
  • Kikkirizibwa okuyisa obubi ebisolo?
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Ddala Abantu Balina Omwoyo Ogutafa?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Ani Eyakutonda?
    Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 159
Embwa

Ddala Ebisolo Bigenda mu Ggulu?

Bayibuli ky’egamba

Bayibuli eyigiriza nti ku bitonde byonna ebiri ku nsi, abantu batono nnyo abagenda mu ggulu. (Okubikkulirwa 14:1, 3) Bagenda mu ggulu okufugira awamu ne Yesu nga bakabaka era bakabona. (Lukka 22:28-30; Okubikkulirwa 5:9, 10) Abantu abasinga obungi bajja kuzuukizibwa babeere mu lusuku lwa Katonda ku nsi.—Zabbuli 37:11, 29.

Tewali Bayibuli weeyogerera nti waliyo eggulu ly’ebisolo, era waliwo ensonga lwaki kiri bw’ekityo. Ebisolo tebisobola kutuukiriza bisaanyizo ‘eby’okuyitibwa okw’omu ggulu.’ (Abebbulaniya 3:1) Ebisaanyizo ebyo bizingiramu okufuna okumanya, okwoleka okukkiriza, era n’okugondera amateeka ga Katonda. (Matayo 19:17; Yokaana 3:16; 17:3) Abantu bokka be baatondebwa okubeerawo emirembe gyonna.—Olubereberye 2:16, 17; 3:22, 23.

Okusobola okugenda mu ggulu, ebitonde ebiri ku nsi biba birina okusooka okuzuukizibwa. (1 Abakkolinso 15:42) Bayibuli erimu ebyawandiikibwa bingi ebyogera ku kuzuukira. (1 Bassekabaka 17:17-24; 2 Bassekabaka 4:32-37; 13:20, 21; Lukka 7:11-15; 8:41, 42, 49-56; Yokaana 11:38-44; Ebikolwa 9:36-42; 20:7-12) Kyokka, buli kuzuukira okwogerwako kwali kuzingiramu bantu so si bisolo.

  • Kiki ekituuka ku bisolo nga bifudde?

  • Ebisolo bikola ekibi?

  • Kikkirizibwa okuyisa obubi ebisolo?

Kiki ekituuka ku bisolo nga bifudde?

Bayibuli eraga nti abantu n’ebisolo byonna biramu, eyo ye nsonga lwaki Katonda atwala obulamu abantu bwe balina okuba nga bwe bumu n’obwo ebisolo bwe zirina. (Okubala 31:28) Abantu n’ebisolo byakolebwa mu bintu bibiri: “enfuufu y’ensi” ‘n’omukka ogw’obulamu.’—Olubereberye 2:7

Bayibuli eyigiriza nti abantu n’ebisolo byonna bifa. (Eby’Abaleevi 21:11; Ezeekyeri 18:20) Era byonna bwe bifa, bidda mu nfuufu y’ensi. (Omubuulizi 3:19, 20) Mu ngeri endala, biba tebikyaliwo.a

Ebisolo bikola ekibi?

Nedda. Okukola ekibi kitegeeza okulowooza, okuwulira, oba okukola ekintu ekikontana n’amateeka ga Katonda. Okukola ekibi, ekitonde kiba kirina okuba n’obusobozi bw’okumanya engeri y’okweyisaamu, kyokka ebisolo tebirina busobozi obwo. Ebisolo bikola ebintu nga bigoberera amagezi agaabitonderwamu mu bbanga entono lye bibeerawo. (2 Peetero 2:12) Ebbanga lye birina okubaawo bwe ligwako, bifa wadde nga tebirina kibi.

Kikkirizibwa okuyisa obubi ebisolo?

Nedda. Katonda yawa abantu obuyinza ku bisolo naye teyabawa buyinza kubibonyaabonya. (Olubereberye 1:28; Zabbuli 8:6-8) Katonda afaayo ku bulamu bwa buli kisolo nga mw’otwalidde n’obunyonyi obutono. (Yona 4:11; Matayo 10:29) Yalagira abaweereza be okuyisa obulungi ebisolo.—Okuva 23:12; Ekyamateeka 25:4; Engero 12:10.

Ebyawandiikibwa ebyogera ku bisolo

Olubereberye 1:28: “Katonda [n’awa abantu abasooka] omukisa, Katonda n’abagamba nti: ‘Muzaale mwale mujjuze ensi mubeere n’obuyinza ku yo, era mufugenga ebyennyanja n’ebiramu ebibuuka mu bbanga n’ensolo zonna eziri ku nsi.’”

Kye kitegeeza: Katonda yawa abantu obuyinza ku bisolo.

Omubuulizi 3:19, 20: “Kubanga ekituuka ku bantu kye kituuka ne ku nsolo. Ng’ensolo bw’efa n’omuntu bw’atyo bw’afa; byonna birina omwoyo gwe gumu. N’olwekyo omuntu talina ky’asinga nsolo, kubanga byonna butaliimu. Byonna bigenda mu kifo kimu. Byonna byava mu nfuufu era byonna bidda mu nfuufu.”

Kye kitegeeza: Ebisolo n’abantu bwe bifa, byonna bidda mu nfuufu y’ensi.

Engero 12:10: “Omutuukirivu alabirira ebisolo bye.”

Kye kitegeeza: Abantu abalungi balabirira bulungi ebisolo byabwe.

Matayo 10:29: “Enkazaluggya ebbiri tezigula ssente emu ey’omuwendo omutono ennyo? Kyokka tewali n’emu egwa ku ttaka nga Kitammwe tamanyi.”

Kye kitegeeza: Katonda alaba era afaayo ku bisolo, nga mw’otwalidde n’obunyonyi obutono.

a Okumanya ebisingawo, laba essuula 6 ey’akatabo, Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share