LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 1/1 lup. 16
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Similar Material
  • Ddala Ebisolo Bigenda mu Ggulu?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Obulamu Bwatandika Butya?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 1/1 lup. 16

BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO

Lwaki abantu bangi bakkiriza nti Katonda gyali?

Omukyala ng’atunuulidde omwana we

Obulamu si kyamagero?

Emyaka nga 3,000 egiyise, omuwandiisi omu owa Bayibuli yagamba nti: ‘Nnakolebwa mu ngeri ey’ekitalo.’ (Zabbuli 139:14) Tekikwewuunyisa nnyo bw’olowooza ku ngeri omwana gy’akulamu okuviira ddala ng’akyali mu lubuto lwa nnyina? Abantu bangi bakkiriza nti wateekwa okubaawo Katonda eyatonda ebintu byonna ebiramu.​—Soma Zabbuli 139:13-17; Abebbulaniya 3:4.

Oyo eyatonda ensi mu ngeri esobozesa ebintu ebiramu okugibeerako, era ye yatonda ebintu byonna ebiramu. (Zabbuli 36:9) Atutegeeza ebimukwatako.​—Soma Isaaya 45:18.

Ddala abantu baava mu nsolo?

Engeri emibiri gyaffe gye gyatondebwamu efaananako n’engeri ensolo gye zaatondebwamu. Ekyo kiri bwe kityo kubanga abantu baatondebwa kubeera ku nsi era n’ensolo bwe zityo. Omuntu eyasooka, Katonda teyamutonda kuva mu nsolo wabula yamutonda mu nfuufu.—Soma Olubereberye 1:24; 2:7.

Abantu ba njawulo ku nsolo mu ngeri bbiri enkulu. Engeri esooka, abantu balina obusozi bw’okumanya Omutonzi waabwe, okumwagala, n’okumuwa ekitiibwa. Engeri ey’okubiri, ensolo tezaatondebwa kubeerawo mirembe gyonna, naye bo abantu baatondebwa okubeerawo emirembe gyonna. Naye kati abantu bonna bafa olw’okuba omuntu eyasooka yajeemera Katonda.​—Soma Olubereberye 1:27; 2:15-17.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 1 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Osobola okukafuna ne ku mukutu www.pr418.com

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share