LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 8/1 lup. 16
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Similar Material
  • Katonda Yalina Kigendererwa Ki Okututonda?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Obulamu Bulina Kigendererwa Ki?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 8/1 lup. 16

BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO

Kisoboka okuba n’obulamu obw’amakulu?

Omwana ng’akuze n’akaddiwa

Muli otera okuwulira nti obulamu bumpi nnyo?

Wali weebuuzizzaako obanga obulamu bulina ekigendererwa ng’oggyeeko okukola, okuwasa oba okufumbirwa, okukuza abaana, n’okukaddiwa? (Yobu 14:1, 2) Bayibuli eraga nti n’abantu abagezi ennyo beebuuza obanga obulamu bulina amakulu.​—Soma Omubuulizi 2:11.

Ddala obulamu busobola okuba obw’amakulu? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, tulina okusooka okwebuuza nti: Obulamu bwatandika butya? Oluvannyuma lw’okwetegereza engeri ey’ekitalo obwongo bwaffe n’ebitundu ebirala eby’omubiri gwaffe gye byakolebwamu, bangi bakkirizza nti Katonda ye yatonda buli kimu. (Soma Zabbuli 139:14.) Katonda alina ensonga ennungi lwaki yatutonda. Okumanya ensonga eyo kijja kutuyamba okuba n’obulamu obw’amakulu.

Lwaki abantu baatondebwa?

Katonda yawa omukisa omusajja n’omukazi abaasooka era n’abawa omulimu oguleeta essanyu. Yali ayagala bazaale bajjuze ensi, bagifuule ekifo ekirabika obulungi, era bagibeereko emirembe gyonna.​—Soma Olubereberye 1:28, 31.

Ekigendererwa kya Katonda kyataataaganyizibwa abantu bwe baajeemera obufuzi bwe. Naye Katonda teyatwabulira era teyakyusa kigendererwa kye eri ensi n’abantu. Bayibuli etukakasa nti Katonda yakola enteekateeka okununula abantu abeesigwa era nti ekigendererwa kye eri ensi kijja kutuukirira! N’olwekyo, Katonda ayagala obe n’obulamu obw’amakulu ng’ekigendererwa kye bwe kyali! (Soma Zabbuli 37:29.) Okusoma Bayibuli kijja kukuyamba okumanya engeri gy’osobola okuganyulwa mu kigendererwa kya Katonda.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 3 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Osobola okukafuna ne ku www.pr418.com/lg

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share