LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Tukwanirizza.
Ku layibulale eno kuliko ebitabo ebikubiddwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nnimi ez’enjawulo ebisobola okukuyamba ng’oliko ky’onoonyereza.
Bw'oba olina by'oyagala okuwanula, genda ku jw.org.
Announcement
New language available: Dendi
  • Leero

Lwakusatu, Jjulaayi 16

Yakuwa akimanyi nti abantu abagezi bye balowooza tebiriimu nsa.—1 Kol. 3:20.

Tusaanidde okwewala okukolera ku ndowooza z’abantu. Bwe tutandika okulowooza ng’abantu abatagoberera mitindo gya Yakuwa, naffe tuyinza okulekera awo okugigoberera. (1 Kol. 3:19) “Amagezi g’ensi eno” emirundi mingi galeetera abantu okujeemera Katonda. Abamu ku Bakristaayo mu Perugamo ne Suwatira baatwalirizibwa endowooza z’abantu abaali mu bibuga ebyo abaali basinza ebifaananyi era abaali abagwenyufu. Yesu yanenya nnyo Abakristaayo mu bibiina ebyo olw’okugumiikiriza abo abaali beenyigira mu bikolwa ebyo. (Kub. 2:​14, 20) Leero abantu abatwetoolodde bayinza okugezaako okutuleetera okutwalirizibwa endowooza enkyamu. Ab’eŋŋanda zaffe ne mikwano gyaffe bayinza okugezaako okutukakasa nti ekibiina kyaffe kikugira nnyo, era nti si kikyamu okumenya amateeka ga Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, bayinza okutugamba nti si kikyamu okukolera ku kwegomba kwaffe, era nti emitindo gya Bayibuli egikwata ku mpisa gyava dda ku mulembe. Ate oluusi tuyinza okulowooza nti obulagirizi Yakuwa bw’atuwa tebumala. Tuyinza n’okugezaako ‘okusukka ku bintu ebyawandiikibwa.’—1 Kol. 4:6. w23.07 16 ¶10-11

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2025

Lwakuna, Jjulaayi 17

Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ekiseera kyonna, era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.—Nge. 17:17.

Maliyamu maama wa Yesu yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi. Maliyamu teyali mufumbo, kyokka yali agenda kuba lubuto. Wadde nga teyalina bumanyirivu mu kukuza baana, yali agenda kukuza omwana eyali agenda okuba Masiya. Yali teyeegattangako na musajja yenna, kyokka yalina okugamba Yusufu, eyali amwogereza, nti ali lubuto. Kya lwatu ekyo tekyali kyangu. (Luk. 1:​26-33) Maliyamu yafuna atya amaanyi? Yanoonya obuyambi okuva eri abalala. Ng’ekyokulabirako, yasaba Gabulyeri amubuulire ebisingawo ku buvunaanyizibwa obwo obwamuweebwa. (Luk. 1:34) Ate oluvannyuma lw’ekiseera kitono, yagenda “mu kitundu eky’ensozi” ekya Yuda okukyalira Erizabeesi gwe yalinako oluganda. Erizabeesi yayogera bulungi ku Maliyamu, era Yakuwa yamuluŋŋamya okwogera obunnabbi obuzzaamu amaanyi obwali bukwata ku mwana Maliyamu gwe yali agenda okuzaala. (Luk. 1:​39-45) N’ekyavaamu, Maliyamu yagamba nti Yakuwa yali “akoze eby’amaanyi n’omukono gwe.” (Luk. 1:​46-51) Yakuwa yazzaamu Maliyamu amaanyi okuyitira mu Gabulyeri ne Erizabeesi. w23.10 14-15 ¶10-12

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2025

Lwakutaano, Jjulaayi 18

Yatufuula obwakabaka, bakabona ba Katonda we era Kitaawe.—Kub. 1:6.

Abayigirizwa ba Kristo abatonotono baafukibwako omwoyo omutukuvu, era balina enkolagana ey’enjawulo ne Yakuwa. Bali 144,000 era ba kuweereza nga bakabona ne Yesu mu ggulu. (Kub. 14:1) Awatukuvu awa weema entukuvu wakiikirira embeera yaabwe ey’okuba nti baafuulibwa baana ba Katonda ab’omwoyo nga bakyali wano ku nsi. (Bar. 8:​15-17) Awasinga Obutukuvu awa weema wakiikirira eggulu Yakuwa gy’abeera. ‘Olutimbe’ olwali lwawula Awatukuvu ku Awasinga Obutukuvu lukiikirira omubiri gwa Yesu ogwali gumulemesa okuyingira mu ggulu nga Kabona Asinga Obukulu ow’omu yeekaalu ey’eby’omwoyo. Yesu bwe yawaayo omubiri gwe nga ssaddaaka ku lw’abantu, yaggulirawo Abakristaayo abaafukibwako amafuta bonna ekkubo ery’okufuna obulamu mu ggulu. Nabo okusobola okufuna empeera yaabwe ey’omu ggulu, tebalina kugenda na mibiri gyabwe.— Beb. 10:​19, 20; 1 Kol. 15:50. w23.10 28 ¶13

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2025
Tukwanirizza.
Ku layibulale eno kuliko ebitabo ebikubiddwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nnimi ez’enjawulo ebisobola okukuyamba ng’oliko ky’onoonyereza.
Bw'oba olina by'oyagala okuwanula, genda ku jw.org.
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share