Ddala Waliwo Asobola Okuleetawo Enkyukakyuka mu Nsi?
“Abaavu batugamba nti ekintu kye basinga okwagala gye mirembe n’obukuumi. Ekirala, baagala okuba n’obulamu obulungi. Baagala enkola ey’obwenkanya mu nsi yonna, ng’ensi ne kampuni engagga tezinyigiriza baavu.”
EBIGAMBO ebyo byayogerwa omukulu w’ekitongole ekimu ekigaba obuyambi mu nsi yonna, ng’alaga ebyo abaavu bye baagala. Mu butuufu, okusinziira ku bigambo bye abo abali mu bizibu n’abo abayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya bonna baagala ensi erimu emirembe n’obukuumi. Naye, ddala kirisoboka ensi ng’eyo okubaawo? Waliwo asobola okuleetawo obwenkanya mu nsi yonna?
Okufuba Okukoleddwa
Abantu bangi bagezezaako okubaako kye bakolawo okusobola okuleetawo enkyukakyuka. Ng’ekyokulabirako, Florence Nightingale omukyala Omungereza eyaliwo mu kyasa 19, yeewaayo okulabirira abalwadde n’okulaba nti baba bayonjo. Mu kiseera ekyo—nga tebannavumbula ddagala litta buwuka obusaasaanya endwadde—amalwaliro gaali tegalabirira bulungi balwadde nga bwe kiri kati. Ekitabo ekimu kigamba nti: “Abasawo tebaali batendeke bulungi, tebaali bayonjo, baali banywa nnyo omwenge era nga beenyigira ne mu bikolwa eby’obugwenyufu.” Florence Nightingale yasobola okuleetawo enkyukakyuka mu ngeri y’okulabirira abalwadde? Yee. Mu ngeri y’emu, wabaddewo n’abantu abalala nkumi na nkumi abasobodde okuleetawo enkyukakyuka, gamba nga mu by’enjigiriza, mu by’ekisawo, mu kuzimba, mu by’endya ne mu bintu ebirala bingi. N’ekivuddemu, embeera ey’obukadde n’obukadde bw’abantu erongoose.
Wadde nga wabaddewo okufuba okwo kwonna, obukadde n’obukadde bw’abantu bakyabonaabona olw’entalo, obumenyi bw’amateeka, endwadde, enjala, n’ebizibu ebirala bingi. Ekitongole kya Irish aid agency Concern kyagamba nti: “Buli lunaku abantu 30,000 be bafa mu nsi yonna olw’obwavu.” Wadde ng’abantu bangi bagezezaako okumalawo obuddu, bukyaliwo ne mu kiseera kino. Akatabo Disposable People—New Slavery in the Global Economy kaagamba nti abantu abakozesebwa ng’abaddu mu kiseera kino bangi n’okusinga abo abaaggyibwa mu Afirika ne batundibwa mu nsi endala okukola ng’abaddu.
Biki ebiremesezza abantu okuleetawo obwenkanya? Bannagagga, ab’obuyinza oba waliwo n’ebirala ebizingirwamu?
Ebireetedde Ensi Obutabaamu Bwenkanya
Okusinziira ku Kigambo kya Katonda, asingira ddala okuleetawo obutali bwenkanya mu nsi ye Setaani Omulyolyomi. Omutume Yokaana atugamba nti ‘ensi yonna eri mu buyinza bwa mubi.’ (1 Yokaana 5:19) Mu kiseera kino, Setaani ‘abuzaabuza ensi yonna.’ (Okubikkulirwa 12:9) N’olwekyo, okuggyako ng’aggiddwawo, abantu tebajja kulekera awo kuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Kiki ekyaviirako embeera okuba embi bw’etyo?
Bazadde baffe abaasooka Adamu ne Kaawa, baaweebwa ensi erabika obulungi ebeeremu olulyo lw’omuntu—ensi eyali ‘ennungi ennyo.’ (Olubereberye 1:31) Ani yagyonoona? Ye Setaani. Yalaga nti Katonda si y’agwanidde okuteerawo abantu amateeka. Ate era yalaga nti enfuga ya Katonda si ya bwenkanya. Yasendasenda Adamu ne Kaawa batandike okwesalirawo ekirungi n’ekibi. (Olubereberye 3:1-6) Kino kye kyavaako ekibi, n’obutali butuukirivu—ekintu ekirala ekiviirako ensi obutabaamu bwenkanya.—Abaruumi 5:12.
Lwaki Katonda Yakireka Okubaawo
Abamu bayinza okwebuuza nti: ‘Lwaki Katonda aleseewo ekibi n’obutali butuukirivu? Lwaki teyakozesa buyinza bwe n’azikiriza abajeemu abo era n’addamu okutonda abantu abalala?’ Ekyo kiyinza okulabika ng’ekyandigonjodde ensonga. Naye singa yakola bw’atyo kyandireetedde abantu okubuusabuusa obuyinza bwe. Si kituufu nti okukozesa obubi obuyinza kye kiviiriddeko abaavu okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya n’okunyigirizibwa? Tekireetera bantu kubuusabuusa enkola y’omuntu akozesa obuyinza bwe okuzikiriza abalala abatakkiriziganya na nfuga ye?
Okusobola okukakasa abantu nti takozesa bubi buyinza bwe, Katonda yasalawo okuleka Setaani n’abantu abajeemu babeerewo ku bwabwe okumala ekiseera awatali bulagirizi bwe. Bwe wandiyiseewo ekiseera abantu banditegedde nti enfuga ya Katonda ye ntuufu. Ate era banditegedde nti amateeka ge galiwo ku lwa bulungi bwaffe. Amazima gali nti, ebyo ebivudde mu bujeemu bikakasizza obutuufu bw’ensonga eyo. Ate era kireetedde abantu okutegeera nti Katonda aba mutuufu bw’akozesa obuyinza bwe okuzikiriza ababi. Era kino ajja kukikola mu kiseera ekitali kya wala.—Olubereberye 18:23-32; Ekyamateeka 32:4; Zabbuli 37:9, 10, 38.
Okuggyako nga Katonda alina ky’akozeewo, ensi tejja kuggwaamu butali bwenkanya, era abantu tebajja kulekera awo ‘kusinda n’okulumwa.’ (Abaruumi 8:22) Ne bwe tukola ki, tetusobola kuggyawo Setaani, na butali butuukirivu obutuviirako okubonaabona. Mazima ddala tetusobola kwenunula mu kibi kye twasikira okuva ku Adamu.—Zabbuli 49:7-9.
Yesu Kristo Ajja Kuleetawo Enkyukakyuka ez’Olubeerera
Kino kitegeeza nti tewaliwo ssuubi lyonna? N’akatono. Waliwo asinga abantu amaanyi aweereddwa obuyinza okuleetawo enkyukakyuka ez’olubeerera. Y’ani oyo? Ye Yesu Kristo. Baibuli emwogerako ng’Omukulu era omulokozi w’abantu Katonda gw’ataddewo.—Ebikolwa 5:31.
Mu ‘kiseera kya Katonda ekigereke’ ajja kubaako ky’akolawo. (Okubikkulirwa 11:18) Kiki ky’anaakola? Ajja kuleeta “[e]biro eby’okulongoosezaamu byonna, Katonda bye yayogereranga mu kamwa ka bannabbi be abatukuvu abaaliwo okuva ku lubereberye.” (Ebikolwa 3:21) Ng’ekyokulabirako, Yesu ajja ‘kuwonya omunafu akaaba; n’omwavu atalina mubeezi. Anaanunula emmeeme zaabwe mu kujoogebwa.’ (Zabbuli 72:12-16) Okuyitira mu Yesu Kristo, Katonda asuubiza ‘okuggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y’ensi.’ (Zabbuli 46:9) Ate era asuubiza nti “n’oyo atuulamu [mu nsi eyonjeddwa] talyogera nti Ndi mulwadde.” Bamuzibe, bakiggala, n’abalema—bonna abakoseddwa endwadde bajja kuwonyezebwa. (Isaaya 33:24; 35:5, 6; Okubikkulirwa 21:3, 4) N’abo abaafa bajja kuganyulwa. Asuubiza okuzuukiza abo bonna abaafa olw’ebyo ebisibuka ku butali bwenkanya n’olw’okunyigirizibwa.—Yokaana 5:28, 29.
Enkyukakyuka Yesu Kristo z’anaaleeta zijja kuganyula abantu bonna era zijja kuba za lubeerera. Ajja kuggyawo ebintu byonna ebireetera ensi okubaamu obutali bwenkanya. Ajja kuggyawo ekibi n’obutali butuukirivu era azikirize Setaani Omulyolyomi n’abo bonna abajeemu. (Okubikkulirwa 19:19, 20; 20:1-3, 10) Okubonaabona Katonda kw’akyaleseewo okumala akaseera “te[k]uliyimuka omulundi ogw’okubiri.” (Nakkumu 1:9) Ekyo kye kyali mu birowoozo bya Yesu bwe yatukubiriza okusaba Obwakabaka bwa Katonda okujja, by’ayagala bikolebwe ku ‘nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.’—Matayo 6:10.
Kyokka, oyinza okubuuza nti, ‘Yesu si ye yagamba nti “mujja kubeera n’abaavu bulijjo”? Yali tategeeza nti obutali bwenkanya n’obwavu bijja kubeerawo ekiseera kyonna?’ (Matayo 26:11, NW) Kyo kituufu nti bw’atyo Yesu bwe yayogera. Kyokka, okusinziira ku nsonga gye yali ayogerako n’ebisuubizo ebiri mu Kigambo kya Katonda, yali ategeeza nti abantu bajja kweyongera okuba abaavu okutuusa ng’enteekateeka y’ebintu eno eggiddwawo. Yesu yali akimanyi nti tewali muntu ayinza kumalawo bwavu na butali bwenkanya ebiri mu nsi. Ate era yali akimanyi nti ebyo byonna ye yali ow’okubimalawo. Mu kiseera ekitali kya wala ajja kuzza buggya ebintu byonna, kwe kugamba aleetewo “eggulu eriggya n’ensi empya” omutalibeera bulumi, bulwadde, bwavu n’okufa.—2 Peetero 3:13; Okubikkulirwa 21:1.
‘Temwerabiranga Kukola Bulungi’
Kino kitegeeza nti tutawaanira bwereere okubaako kye tukolawo okuyamba abalala? N’akatono. Baibuli etukubiriza okuyamba abalina ebizibu. Kabaka Sulemaani ow’edda yagamba nti: “Tommanga birungi abo abagwanira, bwe ki[ba] mu buyinza bw’omukono gwo okubikola.” (Engero 3:27) Ate ye omutume Pawulo atukubiriza ‘obuteerabiranga kukola bulungi.’—Abaebbulaniya 13:16.
Yesu Kristo naye yatukubiriza okukola kyonna kye tusobola okuyamba abalala. Yagera olugero lw’Omusamaliya omulungi eyayamba omusajja eyagwa mu batemu ne bamukuba era ne bamunyagako ebintu bye. Yesu yagamba nti Omusamaliya ‘yakwatirwa omusajja oyo ekisa’ n’amujjanjaba okutuusa lwe yawona. (Lukka 10:29-37) Wadde Omusamaliya oyo ow’ekisa teyaleetawo nkyukakyuka mu nsi yonna, yayamba omusajja eyali agudde mu batemu. Naffe tusobola okukola kye kimu.
Kyokka, ye Yesu Kristo asobola okukola ekisingawo ku kuyamba abantu kinnoomu. Asobola okuleetawo enkyukakyuka mu nsi yonna, era ajja kukikola mu kiseera ekitali kya wala. Bw’alirongoosa ensi, abo bonna abanyigirizibwa olw’embeera zino embi bajja kubeera mu bulamu obweyagaza nga bali mu mirembe era nga balina obukuumi.—Zabbuli 4:8; 37:10, 11.
Nga tulindirira ekiseera ekyo, ka ‘tukolere bonna ebirungi’ nga tubayamba mu by’omwoyo ne mu by’omubiri.—Abaggalatiya 6:10.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]
Florence Nightingale yaleetawo enkukakyuka mu by’okulabirira abalwadde
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Courtesy National Library of Medicine
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]
Abagoberezi ba Kristo bakolera abalala ebirungi
[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
The Star, Johannesburg, S.A.