Okyajjukira?
Onyumiddwa okusoma magazini za Omunaala gw’Omukuumi ezaafulumizibwa gye buvuddeko awo? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:
• Tusobola tutya okwogera obulungi “olulimi olulongoofu,” nga gano ge mazima agakwata ku Katonda n’ebigendererwa bye? (Zef. 3:9)
Nga bwe kibeera nga tuyiga okwogera olulimi olulala, okusobola okwogera obulungi “olulimi olulongoofu” tulina okuwuliriza obulungi, okukoppa abo abalwogera obulungi, okukwata amannya g’ebitabo bya Baibuli n’ennyiriri ezimu, okwejjukanya bye tuyiga, okusoma mu ddoboozi eriwulikika, okwekkaanya amateeka agafuga olulimi, okweyongera okukulaakulana, okussaawo ekiseera eky’okwesomesa, n’okufubanga “okwogera” olulimi olwo olulongoofu.—8/15, olupapula 21-25.
• Biki ebizingirwa mu kumanya Katonda?
‘Erinnya lye ye Yakuwa,’ era ayagala lye tuba tumuyita. (Kuv. 15:3, NW) Ye ‘Katonda ow’okwagala era ow’emirembe.’ (2 Kol. 13:11) Ye ‘Katonda ow’okumanya’ era “ow’obulokozi.” (1 Sam. 2:3; Zab. 25:5) Katonda ajja kusemberera abo abamutegeera obulungi bwe batyo.—9/1-E, olupapula 4-7.
• Obufumbo buyinza butya okuba ‘ng’omuguwa ogw’emiyondo esatu’?
Ebigambo “omuguwa ogw’emiyondo esatu” bikozesebwa mu ngeri ya kabonero. (Mub. 4:12) Bwe bikozesebwa ku bufumbo, emiyondo ebiri, ng’ono ye mwami n’omukyala, girina kuzingirirwa ku muyondo omukulu, Yakuwa Katonda. Okuba obumu ne Katonda kiyamba abafumbo okugumira ebizibu n’okufuna essanyu.—9/15, olupapula 16.
• “Okuteekako emikono” okwogerwako mu Abaebbulaniya 6:2 kitegeeza ki?
Kirabika kitegeeza ku kussa mikono ku bakkiriza basobole okufuna ebirabo by’omwoyo, so si kulondebwa kwa bakadde. (Bik. 8:14-17; 19:6)—9/15, olupapula 32.
• Byetaago ki taata omulungi by’alina okuwa abaana be?
Ebimu ku byo kwe (1) kwagala kwe, (2) ekyokulabirako ekirungi, (3) embeera ey’essanyu, (4) okuyigirizibwa eby’omwoyo, (5) okubakangavvula, (6) obukuumi.—10/1-E, olupapula 18-21.
• Abo abatwala obukulembeze bayinza batya okuwa abalala ekitiibwa?
Engeri emu omukadde gy’ayinza okukikola kwe kwewala okugamba abalala okukola ekintu nga ye si mwetegefu kukikola. Era alaga nti abassaamu ekitiibwa ng’abawa ensonga bw’aba alina ky’abagamba okukola oba ng’abawa obulagirizi.—10/15, olupapula 22.
• Kiki ekisobola okuyamba abafumbo okuba n’essanyu mu maka?
Ebintu bibiri: (1) Obufumbo bwo butwale ng’ekintu ekikulu. (2) Beera mwesigwa eri munno. Ka kibe nti obufumbo bwo bugenda bulungi oba nedda, munno alina okukiraba nti ofuba okubunyweza; ebintu ebyo ebibiri bijja kubayamba.—11/1-E, olupapula 18-21.
• Kiki omukadde ky’ayinza okuyigira ku ngeri omusumba gye yakozesangamu omuggo gwe?
Omusumba yakozesanga omuggo gwe okuluŋŋamya endiga ze. Endiga bwe zaabanga ziyingira oba nga zifuluma mu kisibo, ‘zaayitanga wansi wa muggo ogwo’ n’asobola okuzibala. (Leev. 27:32) Omusumba Omukristaayo naye bw’atyo alina okumanya ebikwata ku ndiga za Katonda ezaamukwasibwa.—11/15, olupapula 9.
• Maama ayinza atya okulaga nti obuyonjo abutwala nga kintu kikulu?
Waliwo engeri nnyingi emmere gy’esobola okugendamu obuwuka, n’olwekyo alina okunaaba mu ngalo nga tannakwata ku mmere era akakasa nti eba mbikkeko buli kiseera. Ennyumba ye agiyonja ereme kujjamu mmese na biyenje. N’ekirala, alina okulaba nti engoye zoozebwa era nti anaaba buli lunaku. Ebyo byonna bituukagana bulungi n’emitindo gya Baibuli.—12/1-E, olupapula 9-11.