Oluyimba 102
Yimba Oluyimba lw’Obwakabaka!
1. Oluyimba luno lwa buwanguzi;
Lumutenda Oyo ’w’oku ntikko.
Ebigambo byalwo bigumya bonna.
Yimba naffe, kuba lunyuvu nnyo:
(CHORUS)
‘Ka tusinze ’Yatutonda.
Omwana we Ye Kabaka!
Oluyimba luno lwa Bwakabaka;
Tutendenga ’linnya lya Katonda.’
2. Nga tuyimba, tulanga ’Bwakabaka.
Yesu Kristo ’nsi anaagifuga.
Era kati waliwo ’ggwanga eppya,
Nga be basika bw’Obwakabaka:
(CHORUS)
‘Ka tusinze ’Yatutonda.
Omwana we Ye Kabaka!
Oluyimba luno lwa Bwakabaka;
Tutendenga ’linnya lya Katonda.’
3. Oluyimba luno lwangu ’kuyiga.
Ebigambo byalwo bicamula.
Mu nsi yonna, bangi nnyo baluyize,
Era nabo bayita ’balala:
(CHORUS)
‘Ka tusinze ’Yatutonda.
Omwana we Ye Kabaka!
Oluyimba luno lwa Bwakabaka;
Tutendenga ’linnya lya Katonda.’
(Era laba Zab. 95:6; 1 Peet. 2:9, 10; Kub. 12:10.)