Osobola Okukola Ekisingawo Okulabula Abalala?
Ku ntandikwa y’ekyasa ekya 20, abantu baali banyumirwa nnyo okulaba firimu eyitibwa A Trip Down Market Street. Firimu eyo yali eraga engeri obulamu gye bwali butambulamu mu kibuga San Francisco eky’Amerika mu kiseera ekyo. Abaakwata firimu eyo baateeka kamera ku mmotoka ne bagenda nga bakwata ebintu ebyali bigenda mu maaso ku luguudo olumu olw’ekibuga ekyo. Firimu eyo yali eraga ebigaali ebisikibwa embalaasi, emmotoka ezaaliwo mu biseera ebyo, abantu abaali bagula ebintu, awamu n’abavubuka abaali batunda empapula z’amawulire.
Firimu eyo enakuwaza nnyo kubanga kisuubirwa okuba nga yakwatibwa mu Apuli 1906, ng’ebula ennaku ntono nnyo wabeewo musisi n’omuliro ebyaliwo nga Apuli 18, omwaka ogwo. Musisi n’omuliro byatta abantu bangi era ne byonoona nnyo ebintu n’ebizimbe mu kitundu ekyo. Abantu abamu abalagibwa mu firimu eyo baali basigazzaayo ennaku ntono bafe, naye nga tebakimanyi. Scott Miles, alina oluganda ku omu ku abo abaakwata firimu eyo, yagamba nti: “Bwe ntunuulira abantu abali mu firimu eyo bankwasa ennaku, kubanga ndaba nga tebamanyi kyali kinaatera kubatuukako.”
Musisi n’omuliro ebyaliwo mu 1906 byajja mbagirawo era ne byonoona ekitundu ekimu eky’ekibuga San Francisco
Ebyo ebiriwo mu kiseera kyaffe bifaananako n’ebyo ebiragibwa mu firimu eyo. Leero abantu bangi beemalidde ku bintu ebya bulijjo era tebamanyi kabi kaboolekedde. Enteekateeka y’ebintu eno embi eneetera okuzikirizibwa. Kyokka obutafaananako musisi agwawo obugwi, tukyalina akakisa okulabula abantu ku lunaku lwa Yakuwa olw’omusango. Oteekwa okuba ng’ofunayo ekiseera buli wiiki okubuulira nnyumba ku nnyumba, naye osobola okukola ekisingawo okulabula abalala?
YESU YABANGA MWETEGEFU OKUBUULIRA
Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Yabanga mwetegefu okubuulira buli muntu gwe yasanganga. Ng’ekyokulabirako, yabuulira omusolooza w’omusolo gwe yasanga mu kkubo, n’omukazi eyamusanga ku luzzi ng’awumuddemu. (Luk. 19:1-5; Yok. 4:5-10, 21-24) Ne bwe yabanga ayagala okuwummulamu, Yesu yeefiirizanga okuwummula asobole okuyigiriza abalala. Olw’okuba yasaasiranga abantu, yakolanga kyonna ekisoboka okubabuulira. (Mak. 6:30-34) Leero, ababuulizi bakoppye batya Yesu?
BAKOZESA BULI KAKISA OKUBUULIRA
Mwannyinaffe Melika apangisa ku mayumba agakuumibwa obutiribiri era si kyangu kutuuka ku bantu ababeera mu mayumba ago. Bangi ku baliraanwa be bayizi abava mu nsi ezitali zimu era amannya gaabwe n’ennamba z’amasimu gaabwe si byangu kufuna. Naye Melika akozesa buli kakisa k’afuna okwogera n’abo b’aba asanze mu lukuubo oba mu lifuti. Agamba nti, “Ekyo nkitwala ng’ekitundu kyange eky’okubuuliramu.” Melika afuba okulaba nti aba n’ebitabo byaffe mu nnimi ez’enjawulo, era asobodde okugabira abantu bangi tulakiti ne magazini zaffe. Era alagirira abantu abo ku mukutu gwaffe ogwa jw.org. Melika afunye abayizi ba Bayibuli abawerako.
Mwannyinaffe Sonia naye akozesa buli kakisa k’afuna okubuulira. Akola mu ddwaliro, era yeeteerawo ekiruubirirwa okubuulira buli omu ku bakozi banne. Yasooka kulowooza ku byetaago bya buli omu ku bakozi banne. Oluvannyuma, yakozesa ebiseera by’eky’emisana okubuulira bakozi banne. N’ekyavaamu, Sonia yafuna abayizi ba Bayibuli babiri. Kati Sonia alina ekiruubirirwa okukozesa ekiseera kye eky’okuwummulamu okubuulira abalwadde ababa balinze okulaba omusawo.
KOZESA BULI KAKISA K’OFUNA
Omu ku abo abaawonawo mu musisi eyayita mu 1906 yagamba nti “ako ke katyabaga akakyasinzeeyo okuba ak’amaanyi akaali kagudde mu kibuga.” Naye obutyabaga bwonna obwali bubaddewo butono nnyo bw’obugeraageranya ku lunaku lwa Yakuwa olw’okuwoolera eggwanga ku “abo abatamanyi Katonda.” (2 Bas. 1:8) Yakuwa ayagala abantu beenenye era bakolere ku bubaka obw’okulabula Abajulirwa be bwe babuulira.—2 Peet. 3:9; Kub. 14:6, 7.
Osobola okukozesa buli kakisa k’ofuna okubuulira abantu b’osanga?
Naawe olina akakisa okuyamba abantu okukimanya nti tuli mu kiseera eky’enkomerero era n’okubayamba okunoonya Yakuwa mu kifo ky’okwemalira ku kunoonya ebyabwe ku bwabwe. (Zef. 2:2, 3) Osobola okukozesa buli kakisa k’ofuna okubuulira bakozi banno, baliraanwa bo, n’abantu abalala b’osanga? Onookola ekisingawo okulabula abalala?