EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BUBAKA KI OBULI MU BAYIBULI?
Lwaki Osaanidde Okusoma Bayibuli?
Bayibuli kye kitabo abantu mu nsi yonna kye basinga okwagala. Lwaki? Kubanga obubaka obugirimu bukwata ku buli muntu. Eyogera ku bantu abaaliwo ddala, engeri gye baakolaganangamu ne bantu bannaabwe era ne Katonda. Erimu eby’okuyiga bingi era obubaka obugirimu bwangu okutegeera. Evvuunuddwa mu nnimi nnyingi era abantu aba buli ngeri basobola okugisoma ne bagitegeera. Ate era abantu bangi nnyo baganyuddwa olw’okukolera ku ebyo by’eyigiriza.
N’ekisinga obukulu, Bayibuli si kitabo ekyogera obwogezi ku Katonda naye era kyava eri Katonda. Etutegeeza erinnya lya Katonda, engeri ze, n’ekigendererwa kye mu kutonda ensi n’abantu. Bayibuli era eyogera ku ngeri ebizibu ebiriwo ku nsi gye byatandikamu n’engeri gye bijja okugonjoolwamu. N’olwekyo, bw’osoma Bayibuli ng’olina endowooza ennuŋŋamu kikusobozesa okuba n’okukkiriza era n’essuubi.
Bayibuli erimu obubaka bwe tutasobola kusanga walala wonna. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli etutegeeza amazima agakwata ku bintu nga bino:
Engeri gye twajjawo n’ensonga etuviirako okubonaabona
Enteekateeka Katonda gy’akoze okununula abantu
Ekyo Yesu kye yatukolera
Ensi bw’eneebera mu biseera eby’omu maaso n’ebyo Katonda by’anaakolera abantu
Tukukubiriza okusoma ebyo ebiri ku mpapula eziddirira osobole okumanya obubaka obuli mu Bayibuli?