LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w13 4/1 lup. 16
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Laba Ebirala
  • Katonda Tumuwuliriza Tutya?
    Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna
  • Ekyawandiikibwa Okitegeera mu Ngeri Entuufu?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Lwaki Osaanidde Okuyigirizibwa Katonda?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Ddala Kisoboka Okutegeera Baibuli?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 4/1 lup. 16

BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO

Kisoboka okutegeera Bayibuli?

[[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Bayibuli Kigambo kya Katonda. Eringa ebbaluwa taata gy’awandiikidde abaana be b’ayagala ennyo. (2 Timoseewo 3:16) Mu Bayibuli, Katonda atunnyonnyola engeri gye tusobola okumusanyusaamu, ensonga lwaki aleseewo okubonaabona, n’ebyo by’ajja okukolera abantu mu biseera eby’omu maaso. Naye abakulembeze b’amadiini banyoddenyodde enjigiriza za Bayibuli; ekiviiriddeko abantu bangi okulowooza nti tebayinza kugitegeera.​—Ebikolwa 20:29, 30.

Yakuwa Katonda ayagala tumanye amazima agamukwatako. Eyo y’ensonga lwaki atuwadde ekitabo kye tusobola okusoma ne tukitegeera.​—Soma 1 Timoseewo 2:3, 4.

Osobola Otya Okutegeera Bayibuli?

Ng’oggyeko okutuwa Bayibuli, Yakuwa atuwa obuyambi tusobole okugitegeera. Ng’ekyokulabirako, yatuma Yesu ku nsi atuyigirize. (Lukka 4:16-21) Yesu yajulizanga Ebyawandiikibwa okusobola okuyamba abo be yabanga ayigiriza okubitegeera.​—Soma Lukka 24:27, 32, 45.

Yesu yatandikawo ekibiina Ekikristaayo kisobole okweyongera okuyigiriza abantu ebikwata ku Katonda. (Matayo 28:19, 20) Leero, abagoberezi ba Yesu ab’amazima bayamba abantu okutegeera ebyo Bayibuli by’eyigiriza ku Katonda. Bw’oba nga wandyagadde okutegeera Bayibuli, Abajulirwa ba Yakuwa beetegefu okukuyamba.​—Soma Ebikolwa 8:30, 31.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza