LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 8/15 lup. 25-29
  • Ba Munywevu Weewale Emitego gya Sitaani!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ba Munywevu Weewale Emitego gya Sitaani!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OKWAGALA EBINTU​—OMUTEGO OGUTUGA
  • OBWENZI​—OMUTEGO OGULINGA EKINNYA
  • ‘Sanyukanga n’Omukazi ow’Omu Buvubuka Bwo’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Osobola Okulwanyisa Sitaani—N’Omuwangula!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Weekuume Emitego gy’Omulyolyomi!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 8/15 lup. 25-29

Ba Munywevu Weewale Emitego gya Sitaani!

‘Mube banywevu nga muziyiza enkwe z’Omulyolyomi.’​—BEF. 6:11.

WANDIZZEEMU OTYA?

Omuweereza wa Yakuwa ayinza atya okwewala okugwa mu mutego ogw’okwagala ebintu?

Kiki ekiyinza okuyamba Omukristaayo omufumbo okwewala okugwa mu mutego ogw’obwenzi?

Miganyulo ki gy’oyinza okufuna singa weewala okwagala ebintu n’obwenzi?

1, 2. (a) Lwaki Sitaani tayagala abaafukibwako amafuta ‘n’ab’endiga endala’? (b) Mitego ki Sitaani gy’akozesa gye tugenda okulaba mu kitundu kino?

SITAANI OMULYOLYOMI tayagala bantu, naddala abo abaweereza Yakuwa. Mu butuufu, Sitaani alwanyisa Abakristaayo abaafukibwako amafuta abakyali ku nsi. (Kub. 12:17) Abakristaayo abo be bawomye omutwe mu mulimu gw’okubuulira era bayambye abantu okumanya nti Sitaani ye mufuzi w’ensi eno. Ate era Omulyolyomi tayagala ‘ab’endiga endala,’ abawagira Abakristaayo abaafukibwako amafuta era abalina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwawo. (Yok. 10:16) Sitaani talina ssuubi lya kubeerawo mirembe gyonna. Eyo ye nsonga lwaki musunguwavu nnyo. Ka tube nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi, ffenna Sitaani tatwagala. Ye ky’ayagala kwe kutukwasa.​—1 Peet. 5:8.

2 Okusobola okutukwasa, Sitaani ateze emitego egitali gimu. Okuva bwe kiri nti ‘azibye amaaso’ g’abo abatakkiriza, abantu abo bagaana amawulire amalungi era tebasobola kulaba mitego egyo. Kyokka, Omulyolyomi asobodde okukwasa n’abamu ku abo abakkiriza amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (2 Kol. 4:3, 4) Mu kitundu ekyayita twalaba engeri gye tuyinza okwewala emitego gya Sitaani esatu: (1) obutafuga lulimi, (2) okutya abantu n’okupikirizibwa, ne (3) okulumizibwa ekisukkiridde olw’ensobi ze twakola. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri gye tuyinza okwewala emitego emirala ebiri Sitaani gy’akozesa: okwagala ebintu n’obwenzi.

OKWAGALA EBINTU​—OMUTEGO OGUTUGA

3, 4. Okweraliikirira okw’obulamu obw’omu kiseera kino kuyinza kutya okutuleetera okugwa mu mutego ogw’okwagala ebintu?

3 Mu lumu ku ngero ze, Yesu yayogera ku nsigo eyasigibwa mu maggwa. Yagamba nti omuntu asobola okuwulira ekigambo, “naye okweraliikirira kw’obulamu obw’omu kiseera kino n’obulimba bw’obugagga [ne] bizisa ekigambo n’atabala.” (Mat. 13:22) Okwagala ebintu gwe gumu ku mitego omulabe waffe Sitaani gy’akozesa.

4 Waliwo ebintu bibiri ebisobola ‘okuzisa ekigambo.’ Ekisooka kwe ‘kweraliikirira kw’obulamu obw’omu kiseera kino.’ Mu ‘biseera bino ebizibu,’ waliwo ebintu bingi ebisobola okukweraliikiriza. (2 Tim. 3:1) Oyinza okuba ng’okaluubirirwa okwetuusaako ebintu bye weetaaga mu bulamu olw’okuba ebintu biri ku buseere oba olw’okuba tolina mulimu. Oyinza n’okuba nga weeraliikirira ebiseera byo eby’omu maaso era nga weebuuza engeri gy’oneeyimirizaawo ng’okaddiye. Olw’okweraliikirira ebintu ng’ebyo, abamu basazeewo okunoonya eby’obugagga nga balowooza nti bwe banaaba ne ssente ennyingi, bajja kusobola okwetuusaako ebintu byonna bye beetaaga.

5. Eby’obugagga biyinza bitya okutulimba?

5 Ekintu ekirala Yesu kye yayogerako bwe ‘bulimba bw’obugagga.’ Obulimba bw’obugagga awamu n’okweraliikirira bisobola okuzisa ekigambo. Bayibuli egamba nti “ssente ziwa obukuumi.” (Mub. 7:12, NW) Kyokka, tekiba kya magezi kwagala kubeera mugagga. Abantu bangi bakizudde nti gye bakoma okunoonya eby’obugagga, gye bakoma okwagala ebintu. Abamu bafuuse baddu ba bya bugagga.​—Mat. 6:24.

6, 7. (a) Mbeera ki esobola okubaawo ku mulimu gwo eyinza okukuleetera okugwa mu mutego ogw’okwagala ebintu? (b) Bintu ki Omukristaayo by’asaanidde okulowoozaako singa asabibwa okumala ekiseera ekisinga ku ekyo ky’abadde amala ku mulimu?

6 Bw’oba teweegenderezza, oyinza okwesanga ng’otandise okwagala eby’obugagga. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mbeera eno. Mukama wo ku mulimu akutuukirira n’akugamba nti: “Nnina amawulire amalungi! Kampuni yaffe ewangudde ttenda eriko ssente empitirivu. Naye ekyo kitegeeza nti ojja kuba olina okukola ekiseera ekisinga ku kya bulijjo okumala emyezi egiwerako. Naye nkukakasa nti omusaala gw’ojja okufuna gujja kuba musava.” Bwe weesanga mu mbeera ng’eyo, kiki ky’oyinza okukola? Kya lwatu nti okulabirira ab’omu maka go kintu kikulu nnyo, naye obwo si bwe buvunaanyizibwa bwokka bw’olina. (1 Tim. 5:8) Waliwo n’ebintu ebirala bingi by’olina okulowoozaako. Kiseera kyenkana wa ky’onooyongera ku biseera by’obadde omala bulijjo ku mulimu? Omulimu gwo teguukulemese okuweereza obulungi Katonda, n’oba nga tosobola kubaawo mu nkuŋŋaana zonna n’okukubiriza Okusinza kw’Amaka obutayosa?

7 Bwe weesanga mu mbeera ng’eyo, kiki ky’onookulembeza? Onookulembeza ssente oba enkolagana yo ne Yakuwa? Okwagala okufuna ssente ezisingawo kinaakuleetera okulekera awo okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwo? Osobola okulaba engeri okwagala ebintu gye kuyinza okwonoona enkolagana yo ne Yakuwa awamu n’enkolagana ab’omu maka go gye balina ne Yakuwa? Singa weesanga mu mbeera ng’eyo, oyinza otya okwewala okugwa mu mutego ogw’okwagala ebintu?​—Soma 1 Timoseewo 6:9, 10.

8. Byakulabirako ki okuva mu Byawandiikibwa ebisobola okutuyamba okwekebera?

8 Bwe tuba ab’okwewala okugwa mu mutego ogw’okwagala ebintu, tuba tulina okwekebera buli kiseera. Tetwagala kuba nga Esawu, ataasiima bintu eby’omwoyo! (Lub. 25:34; Beb. 12:16) Ate era tetwagala kuba ng’omusajja omugagga Yesu gwe yagamba okutunda ebintu bye, agabire abaavu, era afuuke omugoberezi we. Mu kifo ky’okukola ekyo, omusajja oyo ‘yagenda anakuwadde kubanga yalina ebintu bingi.’ (Mat. 19:21, 22) Okwagala ebintu kwaleetera omusajja oyo okufiirwa enkizo ey’amaanyi ey’okuba omugoberezi wa Yesu! Tusaanidde okuba abeegendereza okulaba nti tetufiirwa nkizo ey’okuba abagoberezi ba Yesu Kristo.

9, 10. Okusinziira ku Byawandiikibwa ndowooza ki gye tusaanidde okuba nayo ku bintu?

9 Bwe tuba twagala okwewala obulimba bw’obugagga, tulina okukolera ku bigambo bya Yesu bino: “Temweraliikiriranga nga mugamba nti, ‘Tunaalya ki?’ oba nti, ‘Tunaanywa ki?’ oba nti, ‘Tunaayambala ki?’ Ebintu bino byonna amawanga bye geemalirako. Kitammwe ali mu ggulu amanyi nti ebintu bino byonna mubyetaaga.”​—Mat. 6:31, 32; Luk. 21:34, 35.

10 Okusobola okwewala obulimba bw’obugagga, tulina okufuba okuba n’endowooza ng’ey’omuwandiisi wa Bayibuli Aguli eyagamba nti: “Tondeka kuba mwavu nnyo oba mugagga nnyo. Mpa ebyo byokka bye nneetaaga.” (Nge. 30:8, Contemporary English Version) Tewali kubuusabuusa nti Aguli yali amanyi omugaso gwa ssente awamu n’obulimba bw’obugagga. Tusaanidde okukijjukiranga nti okweraliikirira kw’obulamu obw’omu kiseera kino n’obulimba bw’obugagga bisobola okutuleetera okufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa. Bwe tweraliikirira ekisukkiridde, tuyinza okuwulira nga tetukyalina biseera na maanyi kukola ku bintu eby’omwoyo era tuyinza okuwulira nga tetukyayagala kukulembeza Bwakabaka mu bulamu bwaffe. N’olwekyo, ka tube bamalirivu obutakkiriza Sitaani kutukwasa ng’akozesa omutego ogw’okwagala ebintu!​—Soma Abebbulaniya 13:5.

OBWENZI​—OMUTEGO OGULINGA EKINNYA

11, 12. Omukristaayo ayinza atya okweteeka mu mbeera eyinza okumusuula mu bwenzi ng’ali ku mulimu?

11 Abayizzi ababa baagala okukwasa ensolo ennene bayinza okusima ekinnya mu kkubo ensolo eyo mw’etera okuyita. Ku kinnya ekyo bayinza okwalirirako obuti era ne bayiwako obutakataka. Ne Sitaani alina omutego ogufaananako ng’ogwo gw’akozesa okukwasa abantu bangi. Omutego ogwo bwe bwenzi. (Nge. 22:14; 23:27) Abakristaayo abamu bagudde mu mutego ogwo oluvannyuma lw’okweteeka mu mbeera ezaakifuula ekyangu gye bali okugwa mu bwenzi. Abakristaayo abamu abafumbo bagudde mu bwenzi oluvannyuma lw’okutandika okuba n’enkolagana etasaana n’abantu abatali bannaabwe mu bufumbo.

12 Omuntu ayinza okutandika okuba n’enkolagana etasaana n’omuntu gw’atafaanaganya naye kikula ng’ali ku mulimu. Okunoonyereza okumu okwakolebwa kwalaga nti abakazi nga kimu kya kubiri abenzi n’abasajja abasinga obungi abenzi, benda ku bakozi bannaabwe. Ku mulimu gy’okolera, okolera wamu n’abantu b’otofaanaganya nabo kikula? Bwe kiba kityo, okolagana otya nabo? Omanyi w’olina okukoma ne kiba nti totandikawo nkolagana eteetaagisa n’omuntu gw’otofaanaganya naye kikula? Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe ayinza okuba ne mukozi munne omusajja gw’atera okunyumya naye. Ayinza okutandika okumubuulira ku byama bye nga mw’otwalidde n’ebizibu by’alina mu bufumbo bwe. Oba ow’oluganda ayinza okukola omukwano ku mukozi munne omukazi. Ayinza n’okutandika okugamba nti: “Ampuliriza nga ndiko kye mugamba era bye mugamba abitwala nga bikulu. Ate era anzisaamu ekitiibwa. Singa ne mukyala wange bw’atyo bw’ampisa!” Okiraba nti Omukristaayo eyeeyisa bw’atyo aba yeetadde mu mbeera eyinza okumuleetera okugwa mu bwenzi?

13. Enkolagana etasaana wakati w’abantu abatafaanaganya kikula esobola etya okubaawo mu kibiina?

13 Enkolagana etasaana wakati w’abantu abatafaanaganya kikula esobola okubaawo ne mu kibiina. Lowooza ku kintu kino ekyaliwo ddala. Daniel ne mukyala we, Sarah,a baali baweereza nga bapayoniya aba bulijjo. Daniel yali mukadde mu kibiina era nga ye muntu akkiriza okukola buli mulimu oguba gumuweereddwa mu kibiina. Daniel yalina abasajja bataano be yali ayigiriza Bayibuli era basatu ku bo ne babatizibwa. Abasajja bano abaali baakabatizibwa baali beetaaga omuntu abafaako. Okuva bwe kiri nti Daniel yalina emirimu mingi egy’okukola mu kibiina, Sarah ye yabafangako. Kyokka ne Sarah yali yeetaaga omuntu amufaako, era abayizi ba Daniel baalaganga nti bamufaako. Embeera eyo yafuuka omutego. Daniel yagamba nti: “Mukyala wange yamalanga ebiseera bingi ng’ayamba abantu abalala, kyokka naye yali yeetaaga okufiibwako n’okuyambibwa mu by’omwoyo. Mu kiseera ekyo nnali sikyamuwa budde bumala, era ebyavaamu tebyali birungi n’akamu. Mukyala wange yagwa mu bwenzi n’omu ku basajja be nnasomesa Bayibuli. Nnalina eby’okukola bingi ne kiba nti nnali sisobola na kukiraba nti mukyala wange yali anafuye nnyo mu by’omwoyo.” Oyinza otya okwewala ekyo okubaawo?

14, 15. Kiki ekiyinza okuyamba Abakristaayo abafumbo okwewala okugwa mu bwenzi?

14 Okusobola okwewala okugwa mu bwenzi, kikwetaagisa okufumiitiriza ku bweyamo bwe wakola ng’ofumbiriganwa ne munno. Yesu yagamba nti: “Katonda kye yagatta awamu, omuntu yenna takyawulanga.” (Mat. 19:6) Tosaanidde kulowooza nti emirimu gy’okola mu kibiina mikulu nnyo okusinga munno mu bufumbo. Ate era, kijjukire nti singa ogufuula muze okulekangawo munno n’ogenda okukola ebintu ebitali bikulu nnyo, ekyo kiyinza okunafuya obufumbo bwammwe era kiyinza okubaviirako okukemebwa ne mugwa mu bwenzi.

15 Bw’oba ng’oli mukadde osaanidde okufaayo ku b’oluganda abali mu kibiina. Omutume Peetero yawandiika nti: “Mulundenga ekisibo kya Katonda ekyabakwasibwa, si lwa buwaze wabula kyeyagalire; era si lwa kwagala kwefunira magoba, naye lwa kwagala kuweereza.” (1 Peet. 5:2) Tosaanidde kulagajjalira ba luganda mu kibiina. Kyokka, tolina kugwa lubege; tosaanidde kufuba kuliisa ba luganda mu kibiina ate ng’eka mukyala wo “afa njala.” Daniel, ayogeddwako waggulu, agamba nti: “Tosaanidde kwemalira ku mirimu gya kibiina n’otuuka n’okulagajjalira ab’omu maka go.”

16, 17. (a) Bintu ki Abakristaayo abafumbo bye bayinza okukola nga bali ku mulimu okulaga nti obufumbo bwabwe babutwala ng’ekintu ekikulu? (b) Ebimu ku bitundu ebifulumidde mu bitabo byaffe ebisobola okuyamba Abakristaayo okwewala obwenzi bye biruwa?

16 Magazini ya Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! zirimu amagezi amalungi agasobola okuyamba abafumbo okwewala okugwa mu bwenzi. Ng’ekyokulabirako, magazini ya Omunaala gw’Omukuumi eya Okitobba 1, 2006, yalimu amagezi gano: “Ku mulimu gy’okolera ne mu bifo ebirala, weewale embeera eyinza okukuviirako okukulaakulanya enkolagana ey’oku lusegere n’omuntu bwe mutafaananya naye kikula. Ng’ekyokulabirako, okweyongera okukola n’omuntu ng’oyo oluvannyuma lw’essaawa ez’okunnyuka, kiyinza okubaviirako okugwa mu bwenzi. Ng’omwami oba omukyala omufumbo, olina okukyoleka kaati mu bigambo ne mu bikolwa nti toli mwetegefu kussaawo nkolagana ya ku lusegere n’omuntu atali munno mu bufumbo. Ng’omuntu atya Katonda, osaanidde okwewala okuzannyirira n’omuntu gw’otofaanaganya naye kikula, okwambala obubi oba okwekolako mu ngeri etasaana, kubanga ekyo kiyinza okuleetera abalala okufuna ebirowoozo ebibi. . . . Bw’obeera n’ekifaananyi kya munno mu bufumbo n’eky’abaana bo mu kifo gy’okolera, kijja kukujjukiza ggwe kennyini era kijjukize n’abalala nti obufumbo bwo obutwala ng’ekintu ekikulu. Beera mumalirivu obutakkiriza muntu yenna kugezaako kukusendasenda kuba na nkolagana etasaana naye.”

17 Ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti “Kitegeeza ki Okuba Omwesigwa eri Munno mu Bufumbo?” ekyafulumira mu Awake! eya Apuli 2009 kyalaga akabi akali mu kulowooza ku kwegatta n’omuntu atali munno mu bufumbo. Ekitundu ekyo kyalaga nti singa omuntu aba n’ebirowoozo ng’ebyo, kiba kyangu okugwa mu bwenzi. (Yak. 1:14, 15) Bw’oba ng’oli mufumbo, kiba kya magezi buli luvannyuma lw’ekiseera okusoma ebitundu ng’ebyo ne munno mu bufumbo. Yakuwa ye yatandikawo obufumbo era obufumbo butukuvu. Bw’ofuba okufissangawo akaseera okwogerako ne munno ebikwata ku bufumbo bwammwe ekyo kiba kiraga nti ossa ekitiibwa mu bintu ebitukuvu.​—Lub. 2:21-24.

18, 19. (a) Bintu ki ebibi ebiva mu bwenzi? (b) Miganyulo ki egiri mu kuba omwesigwa eri munno mu bufumbo?

18 Bw’oba owulira ng’oyagala okutandikawo enkolagana etasaana n’omuntu gw’otofaanaganya naye kikula, lowooza ku bintu ebibi ebiva mu bukaba n’obwenzi. (Nge. 7:22, 23; Bag. 6:7) Abo abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu banyiiza Yakuwa. Beerumya era ne balumya nnyo ne bannaabwe mu bufumbo. (Soma Malaki 2:13, 14.) Ku luuyi olulala, lowooza ku miganyulo egiri mu kwewala obukaba n’obwenzi. Bwe weewala ebintu ebyo, ojja kuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo era ojja kuba n’obulamu obulungi mu kiseera kino awamu n’omuntu ow’omunda omulungi.​—Soma Engero 3:1, 2.

19 Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Abaagala amateeka [ga Katonda] balina emirembe mingi; so tebaliiko kibeesittaza.” (Zab. 119:165) N’olwekyo, yagala nnyo amazima era ‘weegendereze nnyo engeri gy’otambulamu; totambula ng’atalina magezi naye tambula ng’alina amagezi’ mu nnaku zino embi. (Bef. 5:15, 16) Leero, Sitaani akozesa emitego egitali gimu okukwasa abaweereza ba Yakuwa. Naye Yakuwa atuwadde byonna bye twetaaga “okuba abanywevu” tusobole “okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obw’omubi.”​—Bef. 6:11, 16.

[Obugambo obuli wansi]

a Amannya gakyusiddwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapul 26]

Okwagala ebintu kuyinza okwonoona enkolagana y’omuntu ne Katonda. Tokkiriza ekyo kukutuukako

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Okuzannyirira n’omuntu gw’otofaanaganya naye kikula kisobola okukuviirako okugwa mu bwenzi

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share