Engeri y’Okufuna Essanyu mu Maka
Okwogera n’Abatiini
“Edda kyalinga kyangu okwogera ne mutabani wange, naye kati nga wa myaka 16, nze ne mwami wange tukisanga nga kizibu okumanya ky’alowooza. Ayagala kuba yekka mu kisenge kye era tatera kwogera naffe!”—MIRIAM, MEXICO.
“Edda abaana bange baali bampuliriza. Nga kye ŋŋamba kye bakola! Naye kati bwe bavubuse, balowooza nti siyinza kutegeera ngeri gye bawuliramu.”—SCOTT, AUSTRALIA.
BW’OBA olina omwana omutiini awaka, wandiba ng’okkiriziganya n’ebigambo by’abazadde abo. Oyinza okuba ng’edda wali onyumya bulungi nnyo n’abaana bo. Naye kati tekikyasoboka. Angela, omuzadde abeera mu Italy, agamba nti: “Mutabani wange yambuzanga ebibuuzo eby’okumukumu ng’akyali muto. Naye kati nze nnina okutandika emboozi. Bwe sikikola, wayinza okuyita ennaku nga tewali kya makulu kyonna kye twogedde.”
Okufaananako Angela, naawe oyinza okuba ng’okizudde nti omwana wo eyali ayogera ennyo kati bwe yavubuka takyavaamu kigambo. Buli lw’ogezaako okwogera naye akuddamu kimu ng’asirika. Oyinza okubuuza mutabani wo nti, “Olunaku lubadde lutya?” addamu kimu nti, “Lulungi.” Bw’obuuza muwala wo nti, “Bipya ki ebibadde ku ssomero?” addamu buzzi nti “Tewali.” Bw’ogezaako okumubuuza nti “Lwaki tokyayagala kwogera nange?” takunyega.
Kya lwatu nti abatiini abamu tebafuna buzibu bwonna kwogera kye balowooza. Naye bye boogera, bazadde baabwe si bye bandyagadde okuwulira. Edna, omuzadde omu ow’omu Nigeria, agamba nti: “Buli lwe nnagambanga muwala wange okubaako omulimu gw’akola, yanzirangamu nti ‘Nvaako.’” Ramón, ow’omu Mexico, naye alina mutabani we ow’emyaka 16 afaananako bw’atyo. Agamba nti: “Kumpi buli lunaku tuba mu kukaayana. Buli lwe mmugamba okukola ekintu, aŋŋamba nti tajja kusobola kukikola nga yeekwasa obusongasonga.”
Omuzadde awulira bubi nnyo bw’agezaako okwogera n’omwana we, nga ye tamufaako. Baibuli egamba nti, “awatali magezi okuteesa kufa.” (Engero 15:22) Anna, omuzadde ow’omu Russia ali obwannamunigina, agamba nti: “Bwe mba simanyi mutabani wange ky’alowooza, nkwatibwa obusungu n’empulira nga njagala kumuboggolera.” Lwaki mu kiseera kino we kyetaagisiza ennyo, abazadde n’abaana baabwe abatiini balemererwa okwogera?
Ebibalemesa Okwogera
Ebintu omuntu by’ayogera birina kye biraga. Yesu yagamba nti ‘ebyo ebijjula mu mutima akamwa bye koogera.’ (Lukka 6:45) N’olwekyo, bw’oyogera n’omuntu kikuyamba okumanya ekimuli ku mutima, era naye n’amanya ky’olowooza. Abatiini bazibuwalirwa nnyo okwogera ekibali ku mutima kubanga kaabuvubuka abaleetera okwetya. Abakugu bagamba nti abaana bwe bavubuka bafuna endowooza nti buli muntu aba abataddeko amaaso alabe bye boogera ne bye bakola. Kino kibaleetera okuteekawo olunkonko, bazadde baabwe baleme kumanya bibakwatako.
Ekirala ekiyinza okuleetawo kiremya kwe kuba nti abaana bwe bavubuka baba baagala nnyo okwemalirira. Ekituufu kyo kiri nti omwana bw’agenda akula, atandika okwetongola. Kino tekitegeeza nti omwana wo aba atuuse okuva awaka. Mu butuufu, mu kiseera kino omwana w’asinga n’okukwetaagira. Naye agenda yeetongola mpolampola nga tannatuusiza ddala kuva waka. Abaana bwe bagenda bakula baba baagala nnyo okusooka okulowooza ku kintu ku lwabwe nga tebannakibuulirako muntu yenna.
Nga Jessica, omuzadde omu ow’omu Mexico, bwe yakizuula, abatiini tebatera kukweka batiini bannaabwe kye balowooza. Agamba nti: “Muwala wange bwe yali akyali muto, ebizibu bye byonna yabimbuuliranga. Naye kati abibuulira mikwano gye.” Omwana wo bw’aba nga naye bw’atyo bw’akola, tekitegeeza nti gwe nga muzadde we takyakutwala nga kikulu. Mu butuufu, okunoonyereza okukoleddwa kulaga nti abatiini batwala amagezi agabaweebwa bazadde baabwe okuba ag’omuwendo okusinga agabaweebwa mikwano gyabwe. Naye, kiki ky’oyinza okukola okulaba nti osobola okwogera n’omwana wo?
Ebinaakuyamba Okwogera n’Omwana Wo
Kuba akafaananyi ng’ovuga mmotoka ku luguudo olutereevu obulungi. Ovuze mayiro nnyingi nga tolina kkoona lyonna ly’owese. Naye amangu ddala ng’olisanze, oba olina okuliweta osobole okusigala ku luguudo. Kino kifaananako n’ekyo ekibaawo ng’omwana wo avubuse. Oboolyawo obadde okuza omwana wo okuva obuto nga tofuna buzibu bwonna kwogera naye. Naye kati ng’avubuse, ebintu bikyuse era naawe olina okukyusa mu ngeri gy’omukwatamu. Weebuuze ebibuuzo bino nga bino.
▪ ‘Mutabani wange oba muwala wange bw’aba ayagala okubaako ky’ambulira, mba mwetegefu okwogera naye?’ Baibuli egamba: “Ekigambo ekyogerwa nga bwe kisaanye kiringa amapeera aga zaabu mu bisero ebya ffeeza.” (Engero 25:11) Ng’ekyawandiikibwa ekyo bwe kiraga, kikulu nnyo okwogerera mu kiseera ekisaanira. Ng’ekyokulabirako: Omulimi si y’asalawo ebimera bye we birina okutuukira okukungula. Alina okulinda okutuusa nga bituuse okukungula. Wayinza okubaawo ekiseera omwana wo lw’ayanguyirwa okwogera. Tosubwa kakisa ako. Frances, maama ali obwannamunigina abeera mu Australia, agamba nti: “Emirundi mingi muwala wange yajjanga mu kisenge kyange ekiro, oluusi ng’amalamu essaawa nnamba. Kino kyali kinkaluubirira olw’okuba ssaagala kwebaka nga buyise, naye buli lwe yajjanga twayogeranga ku buli kimu.”
GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Omwana wo bw’aba tayagala kwogera, funayo ekintu kye muyinza okukolerako awamu, gamba ng’okutambulako, okubaako omuzannyo gwe muzannya, oba okukola emirimu gy’awaka. Mu mbeera ng’ezo, abatiini bangi batera okwogera ekibali ku mutima.
▪ ‘Ntegeera amakulu agali mu bye boogera?’ Yobu 12:11 wagamba: “Okutu [tekutegeera] bigambo, era ng’amatama bwe galega ku mmere yaago?” Kino kye kiseera ‘okutegeera,’ oba okutegeerera mutabani wo oba muwala wo ky’agamba. Abatiini batera okusavuwaza bye boogera. Ng’ekyokulabirako, muwala wo oba mutabani wo ayinza okukugamba, “Buli kiseera ontwala nga mwana muto!” oba nti “Buli kye mba ŋŋamba tompuliriza!” Mu kifo ky’okugamba nti ky’ayogedde tokikola “buli kiseera,” kimanye nti omwana wo ekyo kyennyini si ky’ategeeza. Bw’agamba nti, “Buli kiseera ontwala nga mwana muto” ayinza okuba ng’ategeeza nti, “Mpulira nga tonneesiga,” era bw’agamba “Buli kye ŋŋamba tompuliriza,” ayinza okuba ategeeza nti, “Njagala kukubuulira ekindi ku mutima.” Gezaako okutegeera amakulu agali mu by’ayogera.
GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Omwana wo bw’ayogera ekiraga nti munyiivu, oyinza okuddamu nti: “Kirabika toli musanyufu, nandyagadde okumanya ky’ogamba. Kiki ekikuleetera okulowooza nti nkutwala nga mwana muto.” Olwo muleke ayogere nga tomusala kirimi.
▪ ‘Omwana wange mmukaka okumbuulira ekimuli ku mutima ne kimuleetera okwewala okwogera nange?’ Baibuli egamba: “Ekibala eky’obutuukirivu kisigibwa mu mirembe eri abo abaleeta emirembe.” (Yakobo 3:18) Fuba okulaba nti engeri gy’omukwatamu ne gy’oyogera naye biyamba ‘okuleetawo emirembe,’ omwana wo asobole okwogera ekimuli ku mutima. Jjukira nti ekigendererwa kyo kwe kuyamba omwana wo. N’olwekyo, bwe muba mwogera ku nsonga, toba ng’amuwozesa obuwozesa, era togezaako kumulaga nti by’ayogera si bituufu. Taata omu ow’omu Korea ayitibwa Ahn agamba nti: “Omuzadde ow’amagezi tayogera bigambo nga, ‘Olikula ddi ggwe?’ oba, ‘Ekyo nkikugambye emirundi emeka?’ Oluvannyuma lw’emirundi egiwerako, nga njogera bwentyo, nnakiraba nti batabani bange baanyiiga olw’ebyo bye nnayogera n’engeri gye nnabyogeramu.”
GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Bw’obaako by’obuuza omwana wo ng’olaba takuddamu, gezaako engeri endala. Ng’ekyokulabirako, mu kifo ky’okubuuza muwala wo olunaku bwe lwagenze, gwe mubuulire olulwo bwe lubadde olabe obanga anaddamu. Oba mubuuze ku kintu nga tekikwata ku ye, olabe ky’alowooza. Mubuuze kiki mukwano gwe ky’akirowoozaako. Olwo mubuuze magezi ki ge yandiwadde mukwano gwe.
Kituufu nti okwogera n’abatiini si kyangu, naye kisoboka. Kyusa mu ngeri gy’oyogeramu n’omwana wo ng’embeera bw’eba yeetaagisa. Yogerako ne bazadde banno abasobodde okwogera obulungi n’abaana baabwe. (Engero 11:14) Bw’oba oyogera ne mutabani wo oba muwala wo, ‘ba mwangu okuwuliriza, lwawo okwogera era lwawo okusunguwala.’ (Yakobo 1:19) N’okusinga byonna, tokoowa kuyamba baana bo abatiini ng’obakuza ‘mu kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Mukama waffe.’—Abaefeso 6:4.
WEEBUUZE . . .
▪ Nkyukakyuka ki ze ndabye mu mwana wange okuva lwe yatandika okuvubuka?
▪ Nnyinza ntya okulongoosa mu ngeri gye njogeramu n’abaana bange?
[Akasanduuko akali ku lupapula 20]
Ebiyambye Abazadde Abamu
“Mutabani wange ayanguyirwa nnyo okwogera nga waliwo abantu abalala. Bwe bavaawo ŋŋenda bugenzi mu maaso ne kye tubadde twogerako.”—ANGELA, ITALY.
“Tukizudde nti bawala baffe batera okwogera ekibali ku mutima bwe tubagamba nti tubaagala nnyo era ne tubasiima olw’ebirungi bye baba bakoze.”—DONIZETE, BRAZIL.
“Nnayogerako n’abantu be baakuliza ku mitindo gya Baibuli, ne mbabuuza engeri gye baawuliranga nga bakyali batiini, n’engeri bazadde baabwe gye baabayambamu. Kyannyamba okuyiga ebintu bingi.”—DAWN, BRITAIN.