Oluyimba 45
Weeyongere mu Maaso!
1. Weeyongere okukulaakulana!
Mazima Katonda ky’atwagaliza ffenna.
Obuweereza bwo bulongoosenga,
Oweebwe emikisa.
’Mulimu gwaffe kubuulira;
Era ne Yesu yabuulira.
Weesige Katonda oleme kugwa.
Nyweza ’butuukirivu.
2. Yongera kubuulira n’obuvumu!
Tuusa obubaka ku bantu buli wamu.
’Kutenda Yakuwa kwenyigiremu,
Ng’obuulira nju ku nju.
Ka wabeewo abakutiisa,
Totya naye babuulirenga.
bwakabaka bwa Katonda bujja.
Yigiriza ’mazima.
3. Weeyongere mu maaso; todda nnyuma.
Eby’okukola bingi; yongera ’kuguka.
Goberera omwoyo gwa Katonda.
Onoofuna essanyu.
Yagala ’bantu b’obuulira;
Yongera okubaddiŋŋana.
Bayambe nabo ’kukulaakulana,
Bazuule ’kitangaala.
(Era laba Baf. 1:27; 3:16; Beb. 10:39.)