Oluyimba 49
Yakuwa Kye Kiddukiro Kyaffe
Printed Edition
1. Yakuwa kiddukiro,
Y’oyo gwe twesiga.
Ekisiikirize kye
Mwe tuba twekweka.
Ajja kutulwanirira;
Twesigamye ku maanyi ge.
Yakuwa abudamya,
Abo bonna ’bamwesiga.
2. Wadde ’nkumi baligwa
Kulusegere lwo,
Oliba n’obukuumi,
Ng’oli n’abeesigwa.
Toliba na kutya kwonna,
Oba kweraliikirira.
Oliraba n’amaaso;
Katonda alikukuuma.
3. Katonda akuwonya
Emitego mingi;
Tojja kuterebuka
Lwa kutya okungi.
Tolitya empologoma;
Olirinnya ne ku nswera.
Yakuwa kiddukiro,
Bulijjo ye y’atukuuma.
(Era laba Zab. 97:10; 121:3, 5; Is. 52:12.)