LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 1/15 lup. 3-7
  • ‘Erinnya Lya Yakuwa Lifuule Ekiddukiro Kyo’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Erinnya Lya Yakuwa Lifuule Ekiddukiro Kyo’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ennaku Ezaalinga Omuyaga mu Biseera bya Baibuli
  • Obuddukiro obw’Eby’Omwoyo n’obw’Eby’Omubiri
  • Abo Abatukuza Erinnya lya Katonda Bafuna Obukuumi
  • Erinnya lya Katonda ku Bwalyo Si Lye Liwa Obukuumi
  • Engeri gye Tufunamu Obuddukiro Leero
  • Oddukira eri Yakuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Yakuwa kye Kiddukiro Kyaffe
    Muyimbire Yakuwa n’Essanyu
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 1/15 lup. 3-7

‘Erinnya Lya Yakuwa Lifuule Ekiddukiro Kyo’

“Ndireka . . . abantu abawombeefu era abateefu, era balifuula erinnya lya Yakuwa ekiddukiro kyabwe.”​—ZEF. 3:12, NW.

1, 2. Muyaga ki ogw’akabonero ogunaatera okutuuka ku bantu?

WALI weesanzeeko mu mbeera ng’olina okuddukira mu kayumba okusobola okweggama enkuba ey’amaanyi oba okwewogoma kibuyaga? Akayumba kasobola okukuwonya enkuba oba kibuyaga, naye omuyaga bwe guba ogw’amaanyi ennyo kayinza obutakuyamba.

2 Kyokka waliwo omuyaga ogw’enjawulo ogujja​—gwa maanyi nnyo n’okusinga omuyaga gwonna gwe wali olowoozezzaako. Luno lwe ‘lunaku olw’okuzikirirako’ olulinga omuyaga. ‘Olunaku luno olukulu olwa Yakuwa’ lujja kukwata ku bantu bonna. Naye tusobola okufuna obuddukiro bwe twetaaga. (Soma Zeffaniya 1:14-18.) Kati olwo tusobola tutya okufuna obuddukiro mu kiseera ‘ky’olunaku olw’obusungu bwa Yakuwa’ olunaatera okutuuka?

Ennaku Ezaalinga Omuyaga mu Biseera bya Baibuli

3. “Kibuyaga” ki eyatuuka ku bwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi?

3 Olunaku lwa Yakuwa lujja kutandika n’okuzikirizibwa kw’amadiini gonna ag’obulimba. Okusobola okumanya engeri y’okufunamu obuddukiro, ka twetegereze ebyafaayo by’abantu ba Katonda abaaliwo mu biseera by’edda. Isaaya, eyaliwo mu kyasa eky’omunaana E.E.T., yageraageranya omusango Yakuwa gwe yali asalidde obwakabaka obw’ebika ekkumi ebya Isiraeri ku “kibuyaga” abantu gwe batandisobodde kuziyiza. (Soma Isaaya 28:1, 2.) Obunnabbi obwo bw’atuukirizibwa mu 740 E.E.T. amagye ga Bwasuli bwe gaalumba obwakabaka obwo. Ekika kya Efulayimu kye kyali kikiikirira obwakabaka obwo obw’ebika ekkumi.

4. ‘Olunaku olukulu olwa Yakuwa’ lwatuuka lutya ku Yerusaalemi mu 607 E.E.T.?

4 Ng’obwakabaka bwa Isiraeri obujeemu bumaze okubonerezebwa, ‘olunaku olukulu olwa Yakuwa’ lwatuuka ku Yerusaalemi n’obwakabaka bwa Yuda mu 607 E.E.T. Ekyo kyaliwo olw’okuba abantu ba Yuda nabo baali bafuuse bakyewaggula. Abababulooni nga bakulemberwa Nebukadduneeza baali bateekateeka okulumba obwakabaka bwa Yuda awamu n’ekibuga kyabwo ekikulu, Yerusaalemi. Abantu b’omu Yuda baasalawo okufuna obuyambi okuva mu ‘kiddukiro eky’obulimba,’ nga bakola omukago ne Misiri. Naye, okufaananako embuyaga ezizikiriza, Abababulooni baayera “ekiddukiro” ekyo.​—Is. 28:14, 17.

5. Kiki ekinaatuuka ku bantu ba Katonda ng’ekibiina ng’amadiini ag’obulimba gazikirizibwa?

5 Olunaku olukulu olwa Yakuwa olwatuuka ku Yerusaalemi lwali lulaga ekyo ekigenda ­okutuuka ku Kristendomu mu kiseera kyaffe. Ate era, n’ekitundu ekirala ekya “Babulooni Ekinene,” amadiini gonna ag’obulimba, nakyo kijja kuzikirizibwa. Oluvannyuma, enteekateeka ya Sitaani yonna ey’ebintu eneeba esigaddewo nayo ejja kuzikirizibwa. Naye bo abantu ba Katonda ng’ekibiina bajja kuwonawo kubanga bafudde Yakuwa ekiddukiro kyabwe.​—Kub. 7:14; 18:2, 8; 19:19-21.

Obuddukiro obw’Eby’Omwoyo n’obw’Eby’Omubiri

6. Abantu ba Yakuwa bayinza batya okufuna obuddukiro?

6 Abantu ba Katonda bayinza batya okufuna obuddukiro ne mu kiseera kino eky’enkomerero? Tusobola okufuna obuddukiro obw’eby’omwoyo nga tufuba ‘okulowooza ku linnya lya Katonda’ era nga tumuweereza n’obunyiikivu. (Soma Malaki 3:16-18.) Kyokka, tulina okukimanya nti kino kisingawo ku kulowooza obulowooza ku linnya lya Katonda. Tusoma nti: “Buli akoowoola erinnya lya Yakuwa alirokolebwa.” (Bar. 10:13) Waliwo akakwate wakati w’okukoowoola erinnya lya Yakuwa n’okulokolebwa Yakuwa. Abantu bangi ab’emitima emirungi balaba enjawulo eri wakati w’Abakristaayo ab’amazima abafuba ‘okulowooza ku linnya lye’ era abamuweereza ng’Abajulirwa be n’abantu abalala abatamuweereza.

7, 8. Abakristaayo mu kyasa ekyasooka baafuna batya obuddukiro obw’eby’omubiri, era ekyo kifaanana kitya n’ekyo ekinaabaawo mu kiseera kyaffe?

7 Kyokka, Katonda tatuwa buddukiro bwa bya mwoyo bwokka. Asuubiza n’okuwa abantu be obuddukiro obw’eby’omubiri. Kino tukirabira ku ekyo ekyaliwo mu 66 E.E. amagye g’Abaruumi agaali gakulemberwa Cestius Gallus bwe gaalumba Yerusaalemi. Yesu yali yalagula nti ennaku z’ekibonyoobonyo ekyo zandibadde ‘zikendeezebwako.’ (Mat. 24:15, 16, 21, 22) Ekyo kyatuukirira amagye g’Abaruumi bwe gaagumbulukuka nga tekisuubirwa, kino ne kiwa akakisa Abakristaayo ab’amazima ‘okuwonawo.’ Baasobola okudduka okuva mu Yerusaalemi ne mu bitundu ebiriraanyewo. Abamu baasomoka Yoludaani ne bafuna obuddukiro mu nsonzi eziri ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’omugga ogwo.

8 Waliwo ebintu Abakristaayo abo bye bafaanaganya n’abantu ba Katonda leero. Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baanoonya obuddukiro, era n’abaweereza ba Katonda leero bajja kukola kye kimu. Kyokka, ku mulundi guno Abakristaayo ab’amazima tekijja kubeetaagisa kubaako kifo kimu kye baddukiramu, okuva bwe kiri nti basangibwa mu nsi yonna. Wadde kiri kityo, ng’ekibiina, “abalonde” awamu ne bannaabwe abeesigwa bajja kuwonawo nga Kristendomu kizikirizibwa olw’okuba bajja kufuna obuddukiro mu Yakuwa n’ekibiina kye ekiri ng’olusozi.

9. Baani abafubye okukweka erinnya lya Yakuwa? Waayo ekyokulabirako.

9 Ku luuyi olulala, Kristendomu kigwanidde okuzikirizibwa olw’okukuumira abantu mu kizikiza eky’eby’omwoyo n’olw’obukyayi bwe kiraze erinnya lya Katonda. Wakati w’emyaka gya 500 ne 1500, erinnya lya Katonda lyali limanyiddwa nnyo mu Bulaaya. Erinnya eryo eriwandiikibwa mu nnukuta ennya ez’Olwebbulaniya eziyitibwa Tetragrammaton era ezitera okuwandiikibwa nga YHWH (oba JHVH), lyawandiikibwanga ku binusu, ku bizimbe, mu bitabo, mu Baibuli, era ne ku gamu ku makereziya g’Abakatuliki n’amakanisa g’Abapolotesitante. Kyokka, leero bangi bafubye okuggya erinnya lya Katonda mu nkyusa zaabwe eza Baibuli era beewala n’okulikozesa. Kino kyeyolekera mu kiwandiiko ekyawandiikibwa nga Jjuuni 29, 2008 eri Olukiiko lwa Babisopu olwalina omutwe, ‘Erinnya lya Katonda.’ Mu kiwandiiko ekyo, Ekkereziya Katolika yagamba nti ennukuta ennya ez’Olwebbulaniya ezikiikirira erinnya lya Katonda zirina okuggibwa wonna we zisangibwa wateekebwewo ekitiibwa “Mukama.” Olukiiko lwa Vatikaani lwalagira nti erinnya lya Katonda teririna kukozesebwa oba kwatulwa mu nnyimba eziyimbibwa ne mu ssaala ezisabibwa mu misa z’Abakatuliki. Abakulembeze b’amadiini amalala nabo balemesezza obukadde n’obukadde bw’abantu okutegeera Katonda ow’amazima.

Abo Abatukuza Erinnya lya Katonda Bafuna Obukuumi

10. Erinnya lya Katonda lissibwamu litya ekitiibwa leero?

10 Okwawukana ku ekyo amadiini amalala kye gakola, Abajulirwa ba Yakuwa bassa ekitiibwa mu linnya lya Katonda era baligulumiza. Balitukuza nga balikozesa mu ngeri eriweesa ekitiibwa. Yakuwa asiima nnyo abo bonna abamwesiga, era asobola okufuuka ekyo kyonna ekyetaagisa okusobola okuwa omukisa abantu be n’okubakuuma. “Amanyi abo abamwesiga.”​—Nak. 1:7; Bik. 15:14.

11, 12. Baani abaafuula erinnya lya Yakuwa ekiddukiro kyabwe mu Yuda, era baani abalifudde ekiddukiro kyabwe mu kiseera kyaffe?

11 Wadde ng’abantu abasinga obungi mu Yuda baali bafuuse bajeemu, waaliwo abamu abaasigala nga ‘beesiga erinnya lya Yakuwa.’ (Soma Zeffaniya 3:12, 13.) Yee, Katonda bwe yabonereza obwakabaka bwa Yuda olw’obujeemu bwabwo ng’aleka Abababulooni okubuwamba n’okutwala abantu baabwo mu buwambe, abantu abamu, gamba nga Yeremiya, Baluki, ne Ebedumereki, baalekebwa. Baali “wakati” mu ggwanga ejjeemu. Abalala baasigala nga beesigwa nga bali mu buwambe. Mu 539 E.E.T., Abameedi n’Abaperusi nga bakulemberwa Kuulo baawamba Babulooni. Oluvannyuma Kuulo yakkiriza ensigalira y’Abayudaaya okuddayo ku butaka.

12 Ng’ayogera ku abo abandibadde mu kusinza okw’amazima okwandizziddwawo, Zeffaniya yalagula nti Yakuwa yandibalokodde era yandibasanyukidde. (Soma Zeffaniya 3:14-17.) Ebigambo ebyo bituukiridde ne mu kiseera kyaffe. Oluvannyuma lw’Obwakabaka bwa Katonda okuteekebwawo mu ggulu, Yakuwa yanunula ensigalira y’abaafukibwako amafuta abeesigwa okuva mu buwambe obw’eby’omwoyo obwa Babulooni Ekinene. Era n’okutuusa leero akyabasanyukira.

13. Abantu okuva mu mawanga gonna banunulibwa batya leero?

13 Abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna nabo bavudde mu Babulooni Ekinene era banunuddwa okuva mu njigiriza ez’obulimba. (Kub. 18:4) Bwe kityo, Zeffaniya 2:3 lutuukiriziddwa mu bujjuvu mu kiseera kyaffe: “Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab’omu nsi.” Abantu abawombeefu okuva mu mawanga gonna, ka babe nga balina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi, kati bafuula erinnya lya Yakuwa ekiddukiro kyabwe.

Erinnya lya Katonda ku Bwalyo Si Lye Liwa Obukuumi

14, 15. (a) Bintu ki abamu bye bakozesezza nga basuubira nti bijja kubawa obukuumi? (b) Kiki kye tutasaanidde kukozesa ng’ekintu eky’okwekuumisa?

14 Abaisiraeri abamu baali batwala yeekaalu ng’ekintu ekyali kiyinza okubakuuma eri abalabe baabwe. (Yer. 7:1-4) Emabegako, Abaisiraeri baali batwala ssanduuko y’endagaano ng’ekintu ekyali kisobola okubawa obukuumi mu lutalo. (1 Sam. 4:3, 10, 11) Konsitantiini Omukulu yawandiika ku ngabo z’abasirikale be ennukuta ez’Oluyonaani ezatulwa nga khi ne rho, nga zino ze nnukuta ebbiri ezisooka ez’ekigambo “Kristo” mu lulimi Oluyonaani, ng’alowooza nti ekyo kyandikuumye abasirikale be mu lutalo. Ate era kirabika Kabaka Gustav Adolph II owa Sweden, eyalwana olutalo olwamala emyaka 30, ye yayambalanga ekyuma eky’omu kifuba ekiri ku lupapula 7. Weetegereze nti ekyuma ekyo kiriko erinnya “Iehova.”

15 Abantu ba Katonda abamu abalumbiddwa dayimooni bafunye obuddukiro mu Yakuwa nga bakoowoola erinnya lye. Wadde kiri kityo, ekintu kyonna ekiriko erinnya lya Katonda tekisaanidde kutwalibwa ng’ekintu ekiwa obukuumi oba eky’okwekuumisa. Eyo si y’engeri gye tufuula erinnya lya Yakuwa ekiddukiro kyaffe.

Engeri gye Tufunamu Obuddukiro Leero

16. Tuyinza tutya okufuna obuddukiro obw’eby’omwoyo leero?

16 Tufuna obuddukiro obw’eby’omwoyo Katonda bw’awa abantu be bonna okutwalira awamu. (Zab. 91:1) Okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi’ era n’abakadde mu kibiina, tuyambibwa okulaba ebintu ebiri mu nsi ebisobola okututuusaako akabi mu by’omwoyo. (Mat. 24:45-47; Is. 32:1, 2) Lowooza ku ngeri gye tukubiriziddwa enfunda n’enfunda okwewala okululunkanira ebintu, era lowooza ne ku ngeri gye tukuumiddwa mu by’omwoyo olw’okukolera ku kulabula okwo. Ate lowooza ne ku kulabula okukwata ku kwewala omwoyo gw’obuteefiirayo, oguyinza okutuleetera okuddirira mu buweereza bwaffe eri Yakuwa. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Ekizikiriza abasirusiru buteefiirayo. Naye buli ampuliriza, anaabeeranga mirembe era anaatereeranga nga talina kabi k’atya.” (Nge. 1:32, 33, NW) Okufuba okuba abayonjo mu mpisa nakyo kituyamba okusigala nga tulina obukuumi obw’eby’omwoyo.

17, 18. Kiki ekiyambye obukadde n’obukadde bw’abantu okufuula erinnya lya Yakuwa ekiddukiro kyabwe?

17 Ate era lowooza ku ngeri omuddu omwesigwa gy’atukubirizaamu okukolera ku kiragiro kya Yesu eky’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu nsi yonna etuuliddwamu. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Zeffaniya yayogera ku kintu ekyandiyambye abantu okufuula erinnya lya Katonda ekiddukiro kyabwe. Tusoma nti: “Mu biro ebyo ndikyusiza amawanga olulimi olulongoofu, bonna bakaabirire erinnya lya Mukama, okumuweereza n’omwoyo gumu.”​—Zef. 3:9.

18 Olulimi luno olulongoofu kye ki? Olulimu olulongoofu ge mazima agakwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye ebisangibwa mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa. Bw’oyigiriza abalala amazima agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda n’engeri gye bujja okutukuzaamu erinnya lye, era bw’obalaga nti Katonda y’agwanidde okufuga obutonde bwonna, era n’obalaga emikisa abantu abeesigwa gye bajja okufuna, mu ngeri eyo oba oyogera olulimi olulongoofu. Okuva bwe kiri nti kati abantu bangi boogera olulimi luno olw’akabonero, omuwendo gw’abantu ‘abakaabirira erinnya lya Yakuwa’ era ‘abamuweereza n’omwoyo ogumu,’ gweyongedde. Yee, kati abantu bukadde na bukadde bafuna obuddukiro mu Yakuwa.​—Zab. 1:1, 3.

19, 20. “Ekiddukiro eky’obulimba” kyalemererwa kitya okuwa abantu obukuumi mu biseera bya Baibuli?

19 Leero, abantu boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi ennyo. Okusobola okugonjoola ebizibu byabwe, bangi basazeewo okunoonya obuddukiro mu bantu abatatuukiridde. Abalala basuubira nti ebibiina by’abantu bye bijja okugonjoola ebizibu byabwe, nga ne Isiraeri ey’edda bwe yanoonya obuddukiro mu mawanga agaali gagiriraanye ng’ekola nago omukago. Kyokka nga naawe bw’omanyi, ekyo tekyagiyamba. Ne leero tewali ggwanga lyonna lisobola kumalawo bizibu by’abantu era n’ekibiina ky’Amawanga Amagatte tekisobola kubimalawo. Kati olwo, lwaki omuntu yenna yandinoonyezza obuddukiro mu bibiina by’abantu? Ebibiina ng’ebyo, Baibuli ebyogerako ‘ng’ekiddukiro eky’obulimba.’ Ekyo kituufu kubanga abo bonna ababyesiga bajja kwejjusa.​—Soma Isaaya 28:15, 17.

20 Mu kiseera ekitali kya wala, omuyaga ogw’akabonero ogw’olunaku lwa Yakuwa gujja kukuba ensi. Kijja kweyoleka nti abantu, eby’obugagga, n’ebifo abantu we basobola okwewogoma eby’okulwanyisa by’amaanyi ga nukiriya tebisobola kuwa bukuumi. Isaaya 28:17 wagamba nti: “Omuzira gulyerera ddala ekiddukiro eky’obulimba, n’amazzi galyanjaala ku kifo eky’okwekwekamu.”

21. Miganyulo ki egiri mu kukolera ku kyawandiikibwa ky’omwaka 2011?

21 Mu kiseera kino ne mu kiseera ekyo ekijja, abantu ba Katonda bajja kufuna obukuumi mu Katonda waabwe, Yakuwa. Erinnya lya Zeffaniya eririna amakulu, “Yakuwa Akwese,” liraga nti mu kiseera ekyo Yakuwa y’ajja okusobola okukweka abantu be. Nga kituukirawo bulungi okuba nti ekyawandiikibwa ky’omwaka 2011 kigamba nti: ‘Fuula erinnya lya Yakuwa ekiddukiro kyo.’ (Zef. 3:12, NW) Ne leero tusobola era tusaanidde okufuula erinnya lya Yakuwa ekiddukiro kyaffe, nga tumwesigira ddala. (Zab. 9:10) Ka bulijjo tujjukirenga ebigambo bino ebyaluŋŋamizibwa: ‘Erinnya lya Yakuwa kigo kya maanyi: omutuukirivu addukira omwo n’aba mirembe.’​—Nge. 18:10.

Ojjukira?

• Tuyinza tutya okufuula erinnya lya Yakuwa ekiddukiro kyaffe leero?

• Lwaki tetulina kussa bwesige bwaffe mu ‘kiddukiro eky’obulimba’?

• Buddukiro ki bwe tujja okufuna mu kiseera eky’omu maaso?

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 6]

Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2011 kigamba nti: ‘Fuula erinnya lya Yakuwa ekiddukiro kyo.’​​—Zeffaniya 3:12, NW.

[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Thüringer Landesmuseum Heidecksburg Rudolstadt, Waffensammlung “Schwarzburger Zeughaus”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share