Ebirimu
Jjanwali 15, 2011
Ebitundu eby’Okusoma
EBITUNDU EBY’OKUSOMA MU WIIKI EYA:
Febwali 28 2011–Maaki 6 2011
‘Erinnya lya Yakuwa Lifuule Ekiddukiro Kyo’
OLUPAPULA 3
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 49, 74
Maaki 7-13 2011
Obufumbo Butwale ng’Ekirabo Ekiva eri Katonda
OLUPAPULA 13
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 36, 94
Maaki 14-20 2011
Kozesa Bulungi Ekirabo Kyo eky’Obwannamunigina
OLUPAPULA 17
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 85, 121
Maaki 21-27 2011
Tufuna Amaanyi Okuziyiza Ebikemo n’Okwaŋŋanga Ebintu Ebitumalamu Amaanyi
OLUPAPULA 22
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 81, 17
Maaki 28, 2011–Apuli 3 2011
Tufuna Amaanyi Ageetaagisa Okwaŋŋanga Okugezesebwa Kwonna
OLUPAPULA 26
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 133, 100
Ekigendererwa ky’Ebitundu eby’Okusoma
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 1 OLUPAPULA 3-7
Wa gye tuyinza okufuna obuddukiro mu kiseera kino ekizibu? Ekigambo kya Katonda kiraga nti tusobola okufuula erinnya lya Yakuwa ekiddukiro kyaffe. Ekitundu kino kiraga engeri gye tusobola okufuna obukuumi kati era ne mu kiseera ‘ng’olunaku olukulu olwa Yakuwa’ lutandise. Kiraga ekyawandiikibwa ky’omwaka 2011.
EBITUNDU EBY’OKUSOMA 2, 3 OLUPAPULA 13-21
Obufumbo n’obwannamunigina byombi birabo okuva eri Katonda, era buli kimu kirimu emiganyulo. Ka tube bafumbo oba nga tuli bwannamunigina, ebitundu bino bijja kutulaga ensonga lwaki tulina okusiima ebirabo bino era n’engeri gye tuyinza okulagamu nti tubisiima.
EBITUNDU EBY’OKUSOMA 4, 5 OLUPAPULA 22-30
Twetaaga obuyambi bwa Yakuwa okusobola okutuukiriza okwewaayo kwaffe gy’ali. Ebitundu bino bijja kulaga engeri omwoyo omutukuvu gye gutuyamba okuziyiza ebikemo, okwaŋŋanga ebintu ebitumalamu amaanyi, okugumira okuyigganyizibwa, okupikirizibwa, n’ebizibu ebirala.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO:
9 Ndi Musanyufu Okuba nti Mpeerezza Yakuwa, ne mu Biseera Ebizibu
31 Ssa Ebirowoozo Byo ku Ebyo Yakuwa by’Akukoledde
[Ensibuko y’Ebifaananyi ebiri ku lupapula 2]
© Stähli Rolf A/age fotostock