Tufuna Amaanyi Ageetaagisa Okwaŋŋanga Okugezesebwa Kwonna
“Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.”—BAF. 4:13.
1. Lwaki abantu ba Yakuwa bafuna ebizibu bingi?
ABANTU ba Yakuwa nabo bafuna ebizibu ebitali bimu. Ebizibu ebimu biva ku butali butuukirivu bwaffe oba ku nteekateeka eno ey’ebintu. Ebirala biva ku bulabe obuli wakati w’abo abaweereza Katonda n’abo abatamuweereza. (Lub. 3:15) Okuviira ddala ku ntandikwa y’olulyo lw’omuntu, Katonda azze ayamba abaweereza be abeesigwa okugumira okuyigganyizibwa, okupikirizibwa, awamu n’ebizibu ebirala. Omwoyo gwe omutukuvu naffe gusobola okutuyamba.
Gutuyamba Okugumira Okuyigganyizibwa olw’Enzikiriza Yaffe
2. Abo abayigganya abalala olw’enzikiriza yaabwe baba na kigendererwa ki, era okuyigganyizibwa ng’okwo kujja mu ngeri ki?
2 Okuyigganya abalala kwe kubatulugunya oba okubatuusaako obulabe mu bugenderevu. Oluusi abantu bayigganyizibwa olw’enzikiriza yaabwe. Kino kitera okukolebwa n’ekigendererwa eky’okusaanyawo enzikiriza eyo, okugiremesa okusaasaana, oba okumenya obugolokofu bw’abo abagikkiririzaamu. Okuyigganyizibwa kuyinza okujja mu ngeri ez’enjawulo, okumu kujja butereevu ate okulala kuba kwekusifu. Baibuli egeraageranya obulumbaganyi bwa Sitaani ku bulumbaganyi bw’empologoma ento oba obw’essalambwa.—Soma Zabbuli 91:13.
3. Sitaani ayigganya atya abantu ba Katonda ng’empologoma era ng’essalambwa?
3 Ng’alinga empologoma enkambwe, Sitaani emirundi mingi alumba butereevu abantu ba Katonda ng’akozesa ebikolwa eby’obukambwe, ng’abasuula mu makomera, oba ng’aleetera omulimu gwabwe okuwerebwa. (Zab. 94:20) Ebyo ebifulumira mu Yearbook biraga nti ebintu ng’ebyo bituuka ku Bajulirwa ba Yakuwa mu kiseera kino. Ebibinja by’abantu ababi, ng’ebimu bikulemberwa abakulembeze b’amadiini ne bannabyabufuzi, bitulugunyizza abantu ba Katonda mu bitundu by’ensi ebitali bimu. Obulumbaganyi buno obulinga obw’empologoma buleetedde abamu okulekerawo okuweereza Yakuwa. Ng’alinga essalambwa, Omulyolyomi era alumba abantu ba Katonda mu ngeri enneekusifu ng’agezaako okwonoona ebirowoozo byabwe era ng’abalimbalimba basobole okukola by’ayagala. Ekigendererwa ky’obulumbaganyi buno kwe kutunafuya mu by’omyoyo. Kyokka omwoyo gwa Katonda omutukuvu gusobola okutuyamba okugumira okuyigganyizibwa okw’engeri ezo zombi.
4, 5. Ngeri ki esingayo obulungi gye tuyinza okwetegekeramu okuyigganyizibwa, era lwaki? Waayo ekyokulabirako.
4 Okulowooza ku kuyigganyizibwa okuyinza okututuukako mu biseera eby’omu maaso si y’engeri esingayo obulungi ey’okukwetegekera. Ekituufu kiri nti tetuyinza kumanya kuyigganyizibwa kwa ngeri ki kunaatutuukako mu biseera eby’omu maaso, n’olwekyo tekiyamba kweraliikirira bintu ebiyinza n’obutabaawo. Kyokka, waliwo ekintu kye tuyinza okukola. Bangi ku abo abasobodde okugumira okuyigganyizibwa ekibayambye kwe kufumiitiriza ku byokulabirako ebiri mu Byawandiikibwa eby’abo abaakuuma obugolokofu bwabwe, awamu n’ebyo Yesu bye yayigiriza n’ekyokulabirako kye yateekawo. Kino kibayambye okweyongera okwagala Yakuwa. N’ekivuddemu, okwagala okwo, kubayambye okugumira okugezesebwa kwonna kwe boolekagana nakwo.
5 Lowooza ku kyokulabirako kya bannyinnaffe babiri mu Malawi. Nga bagezaako okubakaka okugula kaadi z’ekibiina ky’eby’obufuzi, abantu abaali baswakidde baabakuba, ne babambula, era ne batiisatiisa n’okubakwata. Baabalimbalimba nti n’ab’oluganda abali ku Beseri baali bamaze okugula kaadi ezo. Bannyinnaffe abo baabaddamu ki? “Ffe tuweereza Yakuwa Katonda yekka. N’olwekyo, bwe kiba nti ab’oluganda ku ofiisi y’ettabi baguze kaadi, ekyo tekitukwatako. Tetujja kwekkiriranya, ne bwe kiba kitegeeza kufa!” Oluvannyuma lw’okwoleka obuvumu obwo obw’ekitalo, bannyinnaffe baateebwa.
6, 7. Yakuwa awa atya abaweereza be amaanyi okugumira okuyigganyizibwa?
6 Omutume Pawulo yakiraba nti Abakristaayo mu Sessaloniika baali bakkirizza ekigambo eky’amazima “mu kubonaabona okungi,” kyokka ng’ate ‘baalina essanyu ery’omwoyo omutukuvu.’ (1 Bas. 1:6) Mu butuufu, Abakristaayo bangi abagumidde okuyigganyizibwa bagamba nti bwe baali mu mbeera enzibu ennyo, baafuna emirembe mu mutima, nga kino ky’ekimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda omutukuvu. (Bag. 5:22) N’ekyavaamu, emirembe egyo gyakuuma emitima gyabwe n’ebirowoozo byabwe. Yee, Yakuwa akozesa omwoyo gwe omutukuvu okuwa abaweereza be amaanyi okwaŋŋanga okugezesebwa n’okweyisa mu ngeri ey’amagezi nga bafunye ebizibu.a
7 Abantu bangi kibeewuunyisa okulaba nti abaweereza ba Katonda bamalirivu okukuuma obugolokofu bwabwe ne bwe baba nga bayigganyizibwa nnyo. Bakiraba nti Abajulirwa balinga abalina amaanyi agatali ga buntu, era nga ddala bwe kityo bwe kiri. Omutume Peetero atukakasa nti: “Bwe muvumibwa olw’erinnya lya Kristo muba basanyufu, kubanga omwoyo ogw’ekitiibwa, era omwoyo gwa Katonda guli ku mmwe.” (1 Peet. 4:14) Eky’okuba nti tuyigganyizibwa olw’okunywerera ku mitindo egy’obutuukirivu kiraga nti tusiimibwa Katonda. (Mat. 5:10-12; Yok. 15:20) Nga kitusanyusa nnyo okukimanya nti tusiimibwa Yakuwa!
Gutuyamba Okuziyiza Okupikirizibwa
8. (a) Kiki ekyayamba Yoswa ne Kalebu okuziyiza okupikirizibwa? (b) Ekyokulabirako kya Yoswa ne Kalebu kituyigiriza ki?
8 Engeri emu enneekusifu Sitaani gy’akozesa okulumba Abakristaayo kwe kupikirizibwa. Kyokka, okuva bwe kiri nti omwoyo gwa Yakuwa gwa maanyi nnyo okusinga omwoyo gw’ensi, tusobola okuziyiza abantu abatusekerera, abatwogerako eby’obulimba, oba abo abaagala okutusendasenda okutambulira ku mitindo gyabwe. Ng’ekyokulabirako, kiki ekyayamba Yoswa ne Kalebu okuba n’endowooza ey’enjawulo ku y’abakessi abalala ekkumi be bagenda nabo mu nsi y’e Kanani? Omwoyo omutukuvu gwabaleetera okuba ‘n’omwoyo’ omulala oba endowooza ey’enjawulo ku y’abalala.—Soma Okubala 13:30; 14:6-10, 24.
9. Lwaki Abakristaayo tebasaanidde kutya kuba ba njawulo ku balala?
9 Mu ngeri y’emu, omwoyo omutukuvu gwawa abatume ba Yesu amaanyi okugondera Katonda mu kifo ky’okugondera abo abantu abasinga obungi be baali batwala okuba nti be baali bayigiriza amazima. (Bik. 4:21, 31; 5:29, 32) Abantu abasinga batera okugoberera ekyo bangi kye baba bakkiriza, okusobola okwewala okuba ab’enjawulo oba okukyayibwa. Kyokka Abakristaayo ab’amazima basalawo okunywerera ku ekyo kye bamanyi nti kye kituufu. Omwoyo gwa Katonda gubayamba obutatya kuba ba njawulo. (2 Tim. 1:7) Lowooza ku mbeera emu mwe tutasaanidde kwekkiriranyiza.
10. Mbeera ki Abakristaayo abamu gye bayinza okwesangamu?
10 Abavubuka bangi bayinza okubulwa eky’okukola bwe bakimanya nti mukwano gwabwe akoze ekintu ekikontana n’emisingi gya Baibuli. Bayinza okulowooza nti bwe banaabuulirako abakadde bajja kuba ng’abamuliddemu olukwe; bwe kityo basalawo okusirika nga balowooza nti mu kukola ekyo bajja kuba balaze obwesigwa. Oyo akoze ekibi ayinza n’okupikiriza banne okukweka ekibi kye. Kyokka embeera ng’eyo teri mu bavubuka bokka. N’abantu abakulu kiyinza okubazibuwalira okutuukirira abakadde bwe wabaawo mukwano gwabwe oba ow’omu maka gaabwe akoze ekibi. Naye kiki Abakristaayo ab’amazima kye basaanidde okukola mu mbeera ng’eyo?
11, 12. Kiki ky’osaanidde okukola singa ow’oluganda mu kibiina akwegayirira obutabuulira bakadde kibi ky’aba akoze, era lwaki?
11 Lowooza ku mbeera eno. Alex, ow’oluganda omuto, akitegeerako nti mukwano gwe Steve, ali mu kibiina kye, alina omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu. Alex atuukirira Steve n’amugamba nti ekyo ky’akola si kituufu. Kyokka, Steve tafaayo ku ekyo munne ky’amugamba. Alex bw’amukubiriza okwogerako n’abakadde ku nsonga eyo, Steve amugamba nti bw’aba nga ddala mukwano gwe, talina kumuloopa eri abakadde. Alex yanditidde okufiirwa omukwano gwe ne Steve? Ayinza n’okutandika okwebuuza ani ddala abakadde gwe banakkiriza singa Steve abyegaana. Ate era, Alex akiraba nti bw’atamuloopayo, Steve tagenda kukyusa. Mu butuufu, akiraba nti kino kiyinza okuleetera Steve okufiirwa enkolagana ye ne Yakuwa. Alex asaanidde okukijjukira nti “okutya abantu kuleeta ekyambika: naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.” (Nge. 29:25) Kiki ekirala Alex ky’asaanidde okukola? Mu ngeri ey’okwagala ayinza okuddamu okutuukirira Steve ne boogera ku kizibu kye. Ekyo kyetaagisa obuvumu. Naye ku mulundi guno, Steve ayinza okwagala okwogera ku kizibu kye. Alex asaanidde okuddamu okukubiriza Steve okwogerako n’abakadde era amugambe nti singa alwawo okukikola, ye ajja kwogera nabo.—Leev. 5:1.
12 Singa weesanga mu mbeera ng’eyo, kijjukire nti mukwano gwo mu kusooka ayinza obutasiima ekyo ky’okola okumuyamba. Naye ekiseera bwe kinaagenda kiyitawo, ajja kukiraba nti ddala wali omulumirirwa. Kyokka singa oyo aba akoze ekibi akkiriza obuyambi obuba bumuweereddwa, oluvannyuma ajja kukusiima nnyo olw’obuvumu n’obwesigwa bw’oyolese. Ku luuyi olulala, singa akunyiigira, ddala oyo ye muntu gwe wandyagadde abeere mukwano gwo? Kya lwatu nti okusanyusa Mukwano gwaffe asingayo, Yakuwa, kye kintu ekisinga obukulu. Bwe tukulembeza Yakuwa mu bulamu bwaffe, abo abamwagala bajja kutusiima olw’obwesigwa bwaffe era bafuuke mikwano gyaffe egya nnamaddala. Tetusaanidde kuwa Mulyolyomi mwagaanya mu kibiina Ekikristaayo. Singa tumuwa omwagaanya, tujja kunakuwaza omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu. Naye singa tufuba okukuuma ekibiina Ekikristaayo nga kiyonjo, olwo tuba tukolera wamu n’omwoyo gwe omutukuvu.—Bef. 4:27, 30.
Gutuyamba Okugumira Ebizibu Ebitali Bimu
13. Bizibu ki abantu ba Yakuwa bye boolekagana nabyo, era lwaki bingi nnyo leero?
13 Twolekagana n’ebizibu ebitali bimu, omuli okugootaana kw’eby’enfuna, okufiirwa emirimu, obutyabaga, okufiirwa abaagalwa baffe, n’obulwadde. Okuva bwe kiri nti tuli mu ‘biseera ebizibu,’ ffenna tusuubira nti tusobola okufuna ebizibu ng’ebyo, mu kiseera kino oba mu kiseera eky’omu maaso. (2 Tim. 3:1) Ekyo bwe kibaawo, tetulina kutya. Omwoyo omutukuvu gusobola okutuwa amaanyi okugumira ekizibu kyonna.
14. Kiki ekyayamba Yobu okugumira ebizibu bye yafuna?
14 Yobu yafuna ebizibu eby’omuddiriŋŋanwa. Yafiirwa eby’obugagga bye, abaana be, mikwano gye, yafuna obulwadde obw’amaanyi, era ne mukazi we n’alekera awo okwesiga Yakuwa. (Yob. 1:13-19; 2:7-9) Kyokka, Eriku yamubudaabuda. Obubaka bwa Eriku, awamu n’obwa Yakuwa eri Yobu, bwali nti: “Yimirira buyimirizi, olowooze ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo.” (Yob. 37:14) Kiki ekyayamba Yobu okugumira okugezesebwa? Era naffe kiki ekiyinza okutuyamba okugumira okugezesebwa? Kwe kujjukira n’okufumiitiriza ku bintu ebitali bimu Yakuwa by’akoze ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu era ebyoleka amaanyi ge. (Yob. 38:1-41; 42:1, 2) Oboolyawo tulina ebintu ebyaliwo mu bulamu bwaffe bye tujjukira ebyatukakasa nti ddala Yakuwa atufaako kinnoomu. Ne leero akyatufaako.
15. Kiki ekyayamba Pawulo okugumira okugezesebwa?
15 Omutume Pawulo yafuna ebizibu eby’amaanyi bingi olw’okukkiriza kwe era byonna yasobola okubigumira. (2 Kol. 11:23-28) Kiki ekyamuyamba obutaterebuka n’asobola okugumira ebizibu ebyo byonna? Yasabanga Yakuwa era n’amwesiga. Mu kiseera mwe yayolekaganira n’okugezesebwa okw’amaanyi ennyo oboolyawo ng’anaatera n’okuttibwa, Pawulo yawandiika nti: “Mukama waffe yali kumpi nange n’ampa amaanyi nsobole okubuulira mu bujjuvu amawulire amalungi era amawanga gonna gasobole okugawulira; era nnawonyezebwa okuva mu kamwa k’empologoma.” (2 Tim. 4:17) N’olwekyo, okusinziira ku ebyo bye yayitamu mu bulamu, Pawulo yali asobola okukakasa bakkiriza banne nti tebasaanidde ‘kweraliikiriranga kintu kyonna.’—Soma Abafiripi 4:6, 7, 13.
16, 17. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri Yakuwa gy’awaamu abantu be amaanyi okusobola okugumira ebizibu.
16 Mwannyinaffe Roxana, aweereza nga payoniya, y’omu ku abo abalabye engeri Yakuwa gy’alabiriramu abantu be. Bwe yasaba mukama we olukusa okugenda ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti, yamukambuwalira n’amugamba nti singa agenda, yali ajja kumugoba ku mulimu. Roxana yasalawo okugenda, era yeegayirira Yakuwa amuyambe okusigaza omulimu gwe. Oluvannyuma lw’okusaba, yawulira emirembe mu mutima. Nga bwe yali amugambye, bwe yakomawo ku Bbalaza okuva ku lukuŋŋaana, mukama we yamugoba. Roxana ebintu byamusobera. Yali yeetaaga nnyo omulimu ogwo kubanga, wadde nga gwali gumusasula kitono, gwali gumusobozesa okuyimirizaawo ab’omu maka ge. Yaddamu okusaba, era n’agamba nti bwe kiba nti Katonda yasobola okumulabirira mu by’omwoyo ku lukuŋŋaana, awatali kubuusabuusa yandisobodde n’okumulabirira mu by’omubiri. Bwe yali addayo eka, Roxana yalaba akapande akaaliko ebigambo, “Twetaaga Abakozi,” era nga baali baagala abantu abalina obumanyirivu mu kukozesa ebyalaani mu kkolero. Yateekayo okusaba kwe. Wadde nga maneja w’ekkolero yakiraba nti yali talina bumanyirivu, yamuwa omulimu era n’amuwa omusaala ogwali gukubisaamu omusaala gwe yali afuna kumpi emirundi ebiri. Roxana yawulira nti essaala ze zaali ziddiddwaamu. Kyokka, omukisa ogusinga gwe yafuna, kwe kuba nti yasobola okubuulirako bakozi banne amawulire amalungi. Bataano ku bo, nga mw’otwalidde ne maneja, bakkiriza amazima era ne babatizibwa.
17 Oluusi kiyinza okulabika ng’essaala zaffe ezitaddiddwaamu—naddala singa ziba teziddiddwaamu mangu oba mu ngeri gye tubadde tusuubira. Ekyo bwe kibaawo, tulina okukimanya nti waliwo ensonga ennungi lwaki kiri bwe kityo. Yakuwa amanyi ensonga eyo, naye ffe tuyinza kugitegeera luvannyuma. Ekintu kye tulina okujjukira bulijjo kiri nti—Katonda tasobola kwabulira bantu be abeesigwa.—Beb. 6:10.
Gutuyamba Okugumira Okugezesebwa n’Ebikemo
18, 19. (a) Lwaki tekitwewuunyisa bwe tufuna ebigezo n’ebikemo? (b) Kiki ekinaakuyamba okwaŋŋanga okugezesebwa?
18 Abantu ba Yakuwa tekibeewuunyisa bwe bakemebwa, bwe bafuna ebintu ebibamalamu amaanyi, bwe bayigganyizibwa, oba bwe bapikirizibwa. Tukimanyi bulungi nti ensi tetwagala. (Yok. 15:17-19) Naye omwoyo omutukuvu gusobola okutuyamba okwaŋŋanga ekizibu kyonna kye tuyinza okwolekagana nakyo nga tuweereza Katonda. Yakuwa tasobola kutuleka kukemebwa kusukka ku kye tuyinza okugumira. (1 Kol. 10:13) Tasobola kutuleka n’akatono wadde okutwabulira. (Beb. 13:5) Bwe tugondera Ekigambo kye, tukuumibwa era tuzibwamu amaanyi. Ate era omwoyo gwa Katonda gusobola okukubiriza bakkiriza bannaffe okutuwa obuyambi mu kiseera we tuba tusinga okubwetaagira.
19 Ka ffenna tweyongere okufuna obuyambi bw’omwoyo omutukuvu okuyitira mu kusaba n’okusoma Ebyawandiikibwa. Ka tweyongere, ‘okuyitira mu maanyi ga Katonda, okufuna amaanyi gonna ge twetaaga, tusobole okugumira byonna n’okugumiikiriza n’essanyu.’—Bak. 1:11.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba ebyokulabirako mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maayi 1, 2001, olupapula 27; ne Awake! eya Febwali 8, 1993, olupapula 21 ne 22.
Wandizzeemu Otya?
• Oyinza otya okwetegekera okuyigganyizibwa?
• Kiki ky’osaanidde okukola singa mukwano gwo akwegayirira obutabuulira bakadde kibi ky’aba akoze?
• Kiki ky’olina okujjukira ng’oyolekagana n’ekizibu kyonna?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Kiki kye tuyigira ku Yoswa ne Kalebu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Oyinza otya okuyamba mukwano gwo eyeenyigira mu bikolwa ebikyamu?