LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 1/15 lup. 31-32
  • Ssa Ebirowoozo Byo ku Ebyo Yakuwa by’Akukoledde

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ssa Ebirowoozo Byo ku Ebyo Yakuwa by’Akukoledde
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Tuwulira Tutya ng’Ebyo Bye Tubadde Tusuubira Tebituukiridde?
  • Ebyo Yakuwa by’Akoze
  • Bye Tuyigira ku Yesu mu Nnaku 40 Ezaasembayo ng’Ali ku Nsi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Kristo—Oyo Obunnabbi Gwe Bwali Busongako
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Mutendeke Ab’oluganda Okuweereza mu Kibiina
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • “Okwagala kwa Kristo Kutusindiikiriza”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 1/15 lup. 31-32

Ssa Ebirowoozo Byo ku Ebyo Yakuwa by’Akukoledde

AMANGU ddala nga Yesu yakamala okuzuukizibwa, babiri ku bayigirizwa be baali batambula nga bava e Yerusaalemi nga bagenda ku kyalo ekiyitibwa Emawo. Enjiri ya Lukka egamba nti: “Bwe baali banyumya era nga bakubaganya ebirowoozo, Yesu n’ajja we bali n’atandika okutambula nabo, naye ne batamutegeera.” Yesu yabagamba nti: “‘Biki ebyo bye mwogerako nga mutambula?’ Ne bayimirira nga banakuwadde.” Kiki ekyali kibaleetedde okunakuwala? Abayigirizwa baali balowooza nti mu kiseera ekyo Yesu mwe yali agenda okununulira Isiraeri okuva mu bufuge bw’Ab’amawanga, naye ekyo kyali tekituukiridde. Mu kifo ky’ekyo, Yesu yali attiddwa. Kino kyabaleetera okunakuwala.​—Luk. 24:15-21; Bik. 1:6.

Yesu yatandika okukubaganya ebirowoozo n’abayigirizwa abo. “[Y]atandikira ku biwandiiko bya Musa n’ebya Bannabbi bonna, n’abannyonnyola ebintu ebyali bimwogerwako mu Byawandiikibwa byonna.” Mu butuufu, waliwo ebintu bingi ebikulu era ebinyweza okukkiriza ebyali bibaddewo mu buweereza bwa Yesu! Abayigirizwa bwe baawulira ebyo Yesu bye yayogera ennaku yabaggwaako ne bafuna essanyu. Oluvannyuma baagamba nti: “Emitima gyaffe tegyakwatiddwako nnyo bwe yabadde ng’ayogera naffe mu kkubo era ng’atunnyonnyola Ebyawandiikibwa?” (Luk. 24:27, 32) Kiki kye tuyigira ku bayigirizwa ba Yesu?

Tuwulira Tutya ng’Ebyo Bye Tubadde Tusuubira Tebituukiridde?

Abayigirizwa abo ababiri abaali bagenda ku kyalo ekiyitibwa Emawo baali banakuwavu olw’okuba ebintu bye baali baasuubira byali tebituukiridde. Baali batuukiddwako ekyo ekyogerwako mu Engero 13:12 awagamba nti: “Essuubi erirwawo lisinduukiriza emmeeme.” Mu ngeri y’emu, abamu ku ffe abamaze ebbanga eddene nga tuweereza Yakuwa n’obwesigwa twali tulowooza nti ekiseera kino we kyandituukidde, “ekibonyoobonyo ekinene” kyandibadde kyamala dda okubaawo. (Mat. 24:21; Kub. 7:14) Kituufu nti olw’okuba kino tekinnatuukirira ekyo kiyinza okutuleetera okunakuwala.

Kijjukire nti abayigirizwa abo ababiri baddamu okufuna essanyu Yesu bwe yabayamba okussa ebirowoozo bwabwe ku bunnabbi obwali bumaze okutuukirira​—ng’obumu ku bwo bwali butuukiridde mu kiseera kyabwe. Mu ngeri y’emu, naffe ekyo kisobola okutuyamba okukuma essanyu lyaffe n’okwolekagana n’ebintu ebitumalamu amaanyi. Omukadde omu alina obumanyirivu ayitibwa Michael yagamba nti: “Tomalira birowoozo byo ku bintu Yakuwa by’atannaba kukola. Mu kifo ky’ekyo, ssa ebirowoozo byo ku ebyo by’amaze okukola.” Ng’ago magezi malungi nnyo!

Ebyo Yakuwa by’Akoze

Lowooza ku bimu ku bintu Yakuwa by’amaze okukola. Yesu yagamba nti: “Oyo anzikiriza ajja kukola emirimu gye nkola; era ajja kukola egisinga na gino.” (Yok. 14:12) Leero, abaweereza ba Katonda bakola emirimu ku kigero ekitabangawo mu byafaayo by’Abakristaayo. Kati abantu abassuka mu bukadde omusanvu balina essuubi ery’okuwonawo mu kibonoobono ekinene. Kirowoozeeko, ku nsi tekubeerangako baweereza ba Yakuwa bangi kwenkana abo abaliwo leero! Obunnabbi Yesu bwe yayogera ng’agamba nti abagoberezi be bandikoze ‘emirimu egisinga ku gino,’ Yakuwa abutuukirizza.

Kiki ekirala Yakuwa ky’atukoledde? Asobozesezza abantu ab’emitima emirungi okuva mu nsi ya Sitaani ne bayingira mu lusuku lwe olw’eby’omwoyo lw’ataddewo. (2 Kol. 12:1-4) Funayo akaseera ofumiitirize ku bintu ebitali bimu bye tufuna mu lusuku olwo olw’eby’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, tunulako ku tterekero lyo ery’ebitabo oba eryo eriri mu Kizimbe ky’Obwakabaka gy’okuŋŋaanira. Gyayo Watch Tower Publications Index oyiseeyiseemu amaaso, oba tunulako mu Watchtower Library. Teekako akatambi okuli omuzannyo ogwesigamiziddwa ku Baibuli. Gezaako okujjukira bye wawulira ne bye walaba ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti olwakaggwa. Okugatta ku ekyo, lowooza ku ssanyu lye tufuna nga tuli wamu ne baganda baffe ne bannyinnaffe. Nga Yakuwa atuwadde ebintu ebirungi bingi, omuli emmere ey’eby’omwoyo awamu n’oluganda olw’ensi yonna​—mazima ddala tuli mu lusuku olw’eby’omwoyo!

Omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi yagamba nti: “Ebikolwa eby’ekitalo bye wakola, ai Mukama Katonda wange, bingi, n’ebirowoozo byo ebiri gye tuli.” (Zab. 40:5) Yee, singa tussa ebirowoozo byaffe ku bintu eby’ekitalo Yakuwa by’amaze okutukolera era ne tulowooza ku kwagala kwalina gye tuli, tujja kufuna amaanyi aganaatusobozesa okweyongera okuweereza Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa, n’omutima gwaffe gwonna.​—Mat. 24:13.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Yesu yayamba abayigirizwa be okussa ebirowoozo byabwe ku ebyo Yakuwa bye yali amaze okubakolera

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 32]

Gezaako okujjukira bye wawulira ne bye walaba ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti olwakaggwa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share