LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 1/15 lup. 9-12
  • Ndi Musanyufu Okuba nti Mpeerezza Yakuwa, ne mu Biseera Ebizibu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ndi Musanyufu Okuba nti Mpeerezza Yakuwa, ne mu Biseera Ebizibu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “Maama, Onookomawo Mangu?”
  • “Teweeraliikirira Mukwano”
  • Obulamu mu Nkambi
  • Okwennyamira, Okwejjusa, n’Okuzzibwamu Amaanyi
  • Ekintu Ekyandeetera Ennaku ey’Amaanyi
  • Emikisa n’Essanyu
  • Yakuwa Ndimusasula Ki?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 1/15 lup. 9-12

Ndi Musanyufu Okuba nti Mpeerezza Yakuwa, ne mu Biseera Ebizibu

Byayogerwa Maatje de Jonge-van den Heuvel

NDI wa myaka 98. Mmaze emyaka 70 nga mpeereza Yakuwa​—kyokka mu myaka egyo okukkiriza kwange kugezeseddwa nnyo. Nga Ssematalo II ayinda, nnakwatibwa era ne nsuulibwa mu nkambi y’abasibe. Nga ndi eyo nnaggwaamu nnyo amaanyi era ne nsalawo okukola ekintu kye nnejjusa oluvannyuma. Nga wayise emyaka, nnafuna ekigezo ekirala eky’amaanyi. Wadde kiri kityo, ndi musanyufu okuba nti mbadde n’enkizo ey’okuweereza Yakuwa, ne mu biseera ebizibu.

Obulamu bwange bwakyuka mu Okitobba 1940. Nnali mbeera mu Hilversum, ekibuga ekyesudde mayiro 15 mu bukiika ddyo bwa Amsterdam ekya Netherlands. Ensi eyo yali efugibwa Abanazi. Nnali nnaakamala emyaka etaano nga nfumbiddwa Jaap de Jonge, omwami wange omwagalwa, era nga tulina muwala waffe, Willy, eyalina emyaka essatu. Twali tubeera kumpi n’omwami n’omukyala abaali abaavu ennyo, kyokka nga balina abaana munaana mulamba. Wadde nga baali mu mbeera eyo, waliwo omuvubuka gwe bakkiriza okubeera nabo awaka era nga be bamuliisa. Nneebuuzanga, ‘Lwaki bakkiriza omuntu oyo okubeera nabo?’ Lumu bwe nnabatwalirayo ku mmere, nnakizuula nti omuvubuka oyo yali payoniya. Yambuulira ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda n’emikisa gye bunaaleeta. Nnakwatibwako nnyo ebyo bye nnayiga era ne nzikiriza amazima. Mu mwaka ogwo gwennyini, nneewaayo eri Yakuwa ne mbatizibwa. Waayita omwaka gumu omwami wange naye nnakkiriza amazima.

Wadde nga nnali sinnayiga bingi, nnali nkimanyi bulungi nti okufuuka omu ku Bajulirwa, kyali kinfudde omu ku abo abali mu kibiina ekyawerebwa. Era nnali nkimanyi nti waliwo Abajulirwa bangi abaali basibiddwa olw’okubuulira amawulire g’Obwakabaka. Wadde kyali kityo, nnatandikirawo okubuulira nnyumba ku nnyumba, era nze n’omwami wange twasuzanga bapayoniya n’abalabirizi abatambula mu maka gaffe. Era ennyumba yaffe yaterekebwangamu ebitabo ebinnyonnyola Baibuli, baganda baffe ne bannyinaffe bye baaleetanga okuva e Amster­dam. Ebitabo bino babireeteranga ku magaali gaabwe, nga babibiseeko ebiveera. Ng’ab’oluganda abo baayoleka obuvumu n’okwagala okw’amaanyi! Baateeka obulamu bwabwe mu kabi ku lwa baganda baabwe.​—1 Yok. 3:16.

“Maama, Onookomawo Mangu?”

Nga waakayita emyezi mukaaga bukya mbatizibwa, abasirikale ba poliisi basatu bajja ewaffe. Baayingira mu nnyumba ne bajaaza. Wadde nga tebaalaba kabada eyali ejjudde ebitabo, baalaba ebitabo ebyali bikwekeddwa wansi w’ekitanda kyaffe. Amangu ago, baantwala ku poliisi e Hilversum. Bwe nnali musiibula, muwala wange Willy yambuuza nti, “Maama, onookomawo mangu?” Nnamuddamu nti, “Nja kukomawo mangu mukwano.” Naye waayita emyezi 18 mulamba nga sinnaddamu kumusitulako.

Omu ku basirikale ba poliisi yantwalira ku ggaali y’omukka e Amsterdam gye baambuuliza ebibuuzo. Abo abaali bambuuza ebibuuzo baalina ab’oluganda basatu okuva e Hilversum be baali baagala mbabuulire obanga baali Bajulirwa ba Yakuwa. Nnabagamba nti: “Manyiiko omu yekka, omusajja atuleetera amata.” Ekyo kyali kituufu; kubanga ow’oluganda oyo yatuguzanga amata. Nnagattako nti, “Naye oba Mujulirwa wa Yakuwa oba nedda, ekyo mulina kukibuuza ye so si nze.” Bwe nnagaana okubaako ekirala kye mbabuulira, bankuba empi mu maaso era ne banzigalira mu kaduukulu okumala emyezi ebiri. Omwami wange bwe yamanya gye nnali, yandeeteranga emmere n’engoye. Mu Agusito 1941, nnatwalibwa e Ravensbrück​—enkambi gye baatulugunyizanga abakazi eyali yeesudde mayiro 50 mu bukiika kkono bw’ekibuga Berlin ekya Bugirimaani.

“Teweeraliikirira Mukwano”

Bwe twatuuka eyo, baatugamba nti baali basobola okututa bwe twandikkiriza okussa omukono ku kiwandiiko ekiraga nti twegaanyi okukkiriza kwaffe. Kya lwatu, nnagaana okukissaako omukono. Nnatwalibwa mu kiyigo gye nnasanga baganda bange Abakristaayo okuva e Nether­lands, gye baatuggirako ebintu byaffe byonna n’engoye. Twaweebwa engoye z’abasibe okwali akabonero ak’ensonda essatu aka kakobe, essowaani, ekikopo, n’ejjiiko. Olunaku olwasooka, baatusuza mu nkambi omwakuumirwanga abasibe okumala akaseera. Okuva lwe nnasibibwa, guno gwe mulundi gwe nnasooka okukaaba amaziga. Nnali nneebuuza, “Kiki ekigenda okuntuukako? Nnaamala bbanga ki wano?” Ekituufu kiri nti, mu kiseera ekyo enkolagana yange ne Yakuwa yali tennaba kunywera, okuva bwe kiri nti nnali nnaakayiga amazima. Nnali nkyalina bingi eby’okuyiga. Enkeera, bwe baali basoma amannya gaffe okulaba obanga ffenna weetuli, muganda wange Omuddaaki yakiraba nti nnali munakuwavu. Yaŋŋamba nti: “Teweeraliikirira mukwano, teweeraliikirira! Kiki ekiyinza okutukolako akabi?”

Oluvannyuma lw’okutusoma amannya, twatwalibwa mu nkambi endala gye twasanga baganda baffe Abakristaayo bikumi na bikumi okuva e Bugirimaani n’e Netherlands. Abamu ku baganda baffe Abagirimaani baali basussizza mu mwaka nga bali mu nkambi eyo. Banzizaamu nnyo amaanyi​—mu butuufu, bannyamba obuteeraliikirira nnyo. Era nnasanyuka nnyo okulaba nti ekifo baganda baffe we baali basula kyali kiyonjo nnyo okusinga ekifo ekirala kyonna mu nkambi eyo. Ng’oggyeko okuba nti ekifo kyaffe kyali kiyonjo, kyali kimanyiddwa ng’ekifo omutali bubbi, kuwemula, wadde okulwana. Wadde twali tutulugunyizibwa, ekifo we twali tusula kyali ng’ekizinga ekiyonjo ekyetooloddwa ennyanja enkyafu.

Obulamu mu Nkambi

Baatukozesanga nnyo naye ng’emmere batuwa ntono nnyo. Twalinanga okuzuukuka ku ssaawa 11 ez’oku makya, era amangu ddala ne batandika okutusoma amannya. Abakuumi baatuyimirizanga ebweru okumala essaawa ng’emu, obudde ne bwe bwabanga bubi. Bwe twannyukanga, ku ssaawa 11 ez’olweggulo, baddangamu okutusoma amannya. Oluvannyuma twawuutanga ssupu ne tulyayo n’akagaati olwo ne tugenda okwebaka​—nga nzenna nkooye.

Buli lunaku okuggyako olwa Ssande, nnakolanga mu nnimiro, nga nkozesa nnajjolo okusala eŋŋaano, nga ngogola emikutu gy’amazzi, era nga nnongoosa ebiyumba by’embizzi. Wadde ng’emirimu egyo gyali gya maanyi era nga micaafu, nnasobolanga okugikola olw’okuba nnali nkyali muto era nga nnina amaanyi. Okuyimbanga ennyimba ezeesigamiziddwa ku Baibuli nga nkola, nakyo kyanzizangamu nnyo amaanyi. Kyokka buli lunaku nnalowoozanga ku mwami wange n’omwana wange.

Wadde nga baatuwanga emmere ntono nnyo, buli omu ku ffe yaterekangayo akatundu k’omugaati buli lunaku tusobole okuba n’eby’okulya ebiwerako ku Ssande nga tukuŋŋaanye okwogera ku bintu ebiri mu Baibuli. Tetwalina kitabo kyonna kinnyonnyola Baibuli, naye nnassangayo omwoyo nga baganda bange Abagirimaani abaali abakulu mu by’omwoyo boogera ku bintu ebiri mu Baibuli. Twasobola n’okukwata Ekijjukizo ky’okufa kwa Kristo.

Okwennyamira, Okwejjusa, n’Okuzzibwamu Amaanyi

Ebiseera ebimu, twalagirwanga okukola emirimu egyalina akakwate n’okuwagira obutereevu olutalo lw’Abanazi. Olw’okuba tetwaliko ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi, baganda bange bonna baagaana okukola emirimu egyo, era nange nnakoppa ekyokulabirako kyabwe. Bwe kityo, baatubonereza nga batumma emmere okumala ekiseera era nga batuyimiriza mu kifo we baatusomeranga amannya okumala essaawa eziwerako. Lumu mu kiseera ky’obutiti, baagaana okutuwa ebintu ebibugumya we tusula okumala ennaku 40.

Ffe Abajulirwa ba Yakuwa, baatugambanga enfunda n’enfunda nti baali basobola okututa bwe twanditadde omukono ku kiwandiiko ekiraga nti twegaanyi okukkiriza kwaffe. Oluvannyuma lw’okusussa mu mwaka nga ndi e Ravensbrück, nnaggwaamu nnyo amaanyi. Nnali njagala nnyo okulaba ku mwami wange ne ku muwala wange era bwe kityo nnagenda eri abakuumi ne mbasaba bampe ekiwandiiko ekyali kiraga nti nnali sikyayagala kuba omu ku Bayizi ba Baibuli, era ne nkissaako omukono.

Baganda bange bwe baategeera ekyo kye nnali nkoze, abamu baatandika okunneewala. Kyokka baganda bange babiri Abagirimaani, Hedwig ne Gertrud, abaali bakuze mu myaka baantuukirira ne bankakasa nti baali bakyanjagala. Bwe twali tuyonja mu biyumba by’embizzi, bannyamba okutegeera obukulu bw’okukuuma obugolokofu bwaffe eri Yakuwa era n’engeri gye tuyinza okwolekamu okwagala kwaffe gyali nga tetukkiriza kwekkiriranya. Nnakwatibwako nnyo engeri gye bankwatamu n’okwagala kwe bandaga.a Nnakiraba nti ekyo kye nnali nkoze kyali kikyamu, ne njagala okusazaamu ekiwandiiko kye nnali nzijjuzza. Lumu akawungeezi nnabuulirako muganda wange nti nnali nsazeewo okusazaamu ekiwandiiko ekyo. Kirabika waliwo omu ku bakulu mu nkambi eyo eyawulira bye twali twogera kubanga ku olwo lwennyini akawungeezi, nnateebwa okuva mu nkambi ne nteekebwa ku ggaali y’omukka eyanzizaayo e Netherlands. Omu ku bakulu mu nkambi eyo​—nkyajjukira ne bw’afaanana​—yaŋŋamba nti, “Okyali Bibelfor­scher (Muyizi wa Baibuli), era ojja kusigala ng’oli ekyo.” Nnamuddamu nti, “Mm, nja kusigala nga ndi ekyo, Yakuwa bw’anaaba ayagadde.” Kyokka nnasigala nneebuuza, ‘Nkoze ntya okusazaamu ekiwandiiko ekyo?’

Ekimu ku bintu ebyali mu kiwandiiko ekyo kyali kigamba nti: “Ndayira nti sikyaddamu kukolera wamu na Kibiina ky’Abayizi ba Baibuli eky’Ensi Yonna.” Naye nnali mmanyi eky’okukola! Mu Jjanwali 1943, nga nnaakaddayo eka, nnaddamu okubuulira. Mu butuufu, singa Abanazi baddamu okunkwata nga mbuulira ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, bandimpadde ekibonerezo ekikakali.

Okusobola okulaga Yakuwa nti nnali nkyayagala okuba omuweereza we omwesigwa, nze n’omwami wange twaddamu okusuza ab’oluganda abaaleetanga ebitabo awamu n’abalabirizi abatambula. Nga nnali musanyufu okuddamu okufuna akakisa okulaga Yakuwa nti mwagala era nti njagala n’abantu be!

Ekintu Ekyandeetera Ennaku ey’Amaanyi

Ng’ebula emyezi mitono olutalo luggwe, nze n’omwami wange twafuna ekintu ekyatuleetera ennaku ey’amaanyi. Mu Okitobba 1944, obulwadde bwa muwala waffe bwattuka. Willy yalina obulwadde obuyitibwa diphtheria. Embeera yayonooneka mangu, era oluvannyuma lw’ennaku ssatu yafa. Mu kiseera ekyo yali wa myaka munaana.

Okufiirwa omwana waffe omu yekka gwe twalina, kyatukuba enkyukwe. Mu butuufu, ebizibu byonna bye nnafuna e Ravensbrück byali bitono nnyo bwe mbigeraageranya ku bulumi bwe nnawulira nga tufiiriddwa omwana waffe. Naye buli lwe twawuliranga ennaku, twazzibwangamu amaanyi ebigambo ebiri mu Zabbuli 16:8 awagamba nti: “[Yakuwa] mmutadde mu maaso gange bulijjo. Kubanga ye ali ku mukono gwange ogwa ddyo, sirisagaasagana.” Nze n’omwami wange twalina obwesige obw’amaanyi mu kisuubizo kya Yakuwa eky’okuzuukira. Twanywerera mu mazima era twasigala nga tuli babuulizi b’amawulire amalungi abanyiikivu. Omwami wange yannyamba nnyo okuweereza Yakuwa n’essanyu, okutuusiza ddala lwe yafa mu 1969.

Emikisa n’Essanyu

Ekimu ku bintu ebindeetedde essanyu kwe kukola omukwano ku b’oluganda abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Nga bwe kyali mu biseera by’olutalo, twasuzanga abalabirizi abatambula awamu ne bakyala baabwe mu maka gaffe buli lwe baakyaliranga ekibiina kyaffe. Ow’oluganda Maarten Kaptein eyali akola ng’omulabirizi atambula awamu ne mukyala we Nel baasula mu maka gaffe okumala emyaka 13! Nel bwe yalwala obulwadde obw’amaanyi ennyo, nnafuna enkizo okumulabirira ng’ali mu maka gaffe okumala emyezi essatu okutuusa lwe yafa. Okubeera n’ab’oluganda abo awamu n’abalala mu kibiina kyaffe kinnyambye okuganyulwa mu lusuku olw’eby’omwoyo lwe tulimu kati.

Ekimu ku bintu ebikulu ebibaddewo mu bulamu bwange kyaliwo mu 1995​—bwe nnayitibwa okubaawo ku mukolo ogw’okujjukira ebyo bye twayitamu mu Ravensbrück. Ku mukolo ogwo, nnasisinkana baganda bange be nnali nabo mu nkambi y’abasibe era be nnali mmaze emyaka egisukka mu 50 nga sibalabako! Siyinza kwerabira ssanyu lye nnafuna bwe nnaddamu okubasisinkana era n’akakisa ke twafuna okuzziŋŋanamu amaanyi nga bwe tulindirira ekiseera lwe tuliddamu okulaba abaagalwa baffe abaafa.

Mu Abaruumi 15:4, omutume Pawulo agamba nti “tusobole okuba n’essuubi okuyitira mu bugumiikiriza ne mu kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa.” Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okutuwa essuubi lino erinnyambye okumuweereza n’essanyu, ne mu biseera ebizibu.

[Obugambo obuli wansi]

a Okuva bwe kiri nti mu kiseera ekyo ab’oluganda baali tebawuliziganya na kitebe kikulu, ensonga ezikwata ku butabaako ludda mu bya bufuzi baazikwatanga okusinziira ku busobozi bwabwe. Bwe kityo, ensonga ng’ezo baazikwatanga mu ngeri za njawulo.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Nga ndi ne Jaap, 1930

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Muwala waffe, Willy, nga wa myaka munaana

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

Mu 1995, nnaddamu okusisinkana mikwano gyange. Nze ow’okubiri mu maaso okuva ku kkono

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share