Oluyimba 83
Tulina Okwefuga
Printed Edition
1. Wadde tetutuukiridde ffenna,
Tulina okuyiga okwefuga.
Eby’omubiri tubyesambe.
Eby’omwoyo tubyettanire.
2. Bulijjo Sitaani atukema;
N’ekibi kiyinza okutuwabya.
Kyokka ’mazima ga maanyi nnyo.
Tusobola okuwangula.
3. Ttukuvu erinnya lya Katonda,
N’olwekyo tuleme kulivumisa.
Tumuweesenga ekitiibwa,
Nga tufaayo nnyo okwefuga.
(Era laba 1 Kol. 9:25; Bag. 5:23; 2 Peet. 1:6.)