Oluyimba 22
“Yakuwa ye Musumba Wange”
Printed Edition
1. Yakuwa Musumba wange;
Lwaki nnandibadde ntya?
Alabirira endiga ze
Talyerabira yiye.
Antwala eri amazzi,
Akomyawo emmeeme.
Annuŋŋamya mu makubo ge
Ag’obutuukirivu.
Annuŋŋamya mu makubo ge
Ag’obutuukirivu.
2. Ka mbe nzekka nga ntambula
Ng’enzikiza ekutte,
Sitya kuba ndi n’Omusumba;
Omuggo gwe gunkuuma.
Ansiigako amafuta;
Ajjuzza ekikompe.
Ekisa kye kingoberera,
Nnaatuula mu nnyumba ye.
Ekisa kye kingoberera
Nnaatuula mu nnyumba ye.
3. ’Musumba wange mwagazi!
Mmuyimbira n’essanyu.
’Mawulire ge amalungi
Ngatwalira endiga.
Nnaakwata Ekigambo kye,
Mbeerenga mu kkubo lye.
Enkizo y’okumuweereza,
Ngikozesa bulijjo.
Enkizo y’okumuweereza,
Ngikozesa bulijjo.
(Era laba Zab. 28:9; 80:1.)