Oluyimba 127
Ekifo Ekiyitibwa Erinnya Lyo
Printed Edition
	1. Nga nki zo ya maanyi Yakuwa,
’Kkuzimbira ’kifo kino!
Tukiwaayo gy’oli kaakano
Omanyikire ddala nnyo.
Buli kintu ffe kye tukuwa,
Mazima ggwe wakituwa.
’Maanyi gaffe n’eby’omuwendo,
Tusanyuka ‘kubikuwa.
(CHORUS)
Tukukwase ’kifo kino,
’Linnya lyo limanyibwe.
Tukiwaayo mikono gyo;
Kitaffe kikkirize.
2. Ka tukutendenga Kitaffe,
Nga tuzze mu kifo kino.
Ka beeyongerenga obungi
Abayiga ’makubo go.
’Kifo kya kukusinzizaamu;
Tujja kukirabirira.
Nakyo kiwe obujulirwa,
Nga naffe bwe tubuulira.
(CHORUS)
Tukukwase ’kifo kino,
’Linnya lyo limanyibwe.
Tukiwaayo mikono gyo;
Kitaffe kikkirize.
(Era laba 1 Bassek. 8:18, 27; 1 Byom. 29:11-14; Bik. 20:24.)