LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Okuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri—Kkubo Erituusa mu Kulokolebwa?
    Omunaala gw’Omukuumi—2009 | Jjulaayi 1
    • Okuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri​—Kkubo Erituusa mu Kulokolebwa?

      WANDIZZEEMU otya singa omuntu akubuuza nti, “Wazaalibwa omulundi ogw’okubiri?” Obukadde n’obukadde bw’abantu abeeyita Abakristaayo okwetooloola ensi yonna bajja kuddamu ekibuuzo ekyo nti, “Yee!” Balowooza nti okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri ke kabonero akaawulawo Abakristaayo bonna ab’amazima era nti lye kkubo lyokka eribatuusa mu kulokolebwa. Bakkiriziganya n’endowooza z’abakulembeze b’eddiini gamba ng’eya Robert Sproul eyagamba nti: “Omuntu bw’atazaalibwa mulundi gwa kubiri,  . . . taba Mukristaayo.”

      Oli omu ku abo abakkiriza nti okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri lye kkubo erituusa mu kulokolebwa? Bwe kiba bwe kityo, awatali kubuusabuusa oyagala okuyamba ab’eŋŋanda zo n’emikwano gyo okuzuula ekkubo eryo era n’okutandika okulitambuliramu. Kyokka, okusobola okukola ekyo beetaaga okutegeera enjawulo eriwo wakati w’omuntu azaaliddwa omulundi ogw’okubiri n’oyo atannaba. Kati olwo, oyinza otya okubannyonnyola amakulu agali mu kuzaalibwa omulundi ogw’okubiri?

      Bangi balowooza nti ekigambo “okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri” kitegeeza nti omuntu aba yeewaddeyo okuweereza Katonda ne Kristo, era mu ngeri eyo n’aba ng’afuuse mulamu mu by’omwoyo. Mu butuufu, enkuluze emu ekozesebwa leero eyogera ku muntu azaaliddwa omulundi ogw’okubiri nga “Omukristaayo aba akyusizza obulamu bwe era ne yeewaayo okuweereza Katonda.”​—Merriam-Webster’s Collegiate Dictionary​—Eleventh Edition.

      Kyandikwewuunyisizza okukitegeera nti Baibuli tekkiriziganya na nnyinyonnyola eyo? Wandyagadde okumanya ekyo Baibuli ky’eyigiriza ku kuzaalibwa omulundi ogw’okubiri? Awatali kubuusabuusa, ojja kuganyulwa nnyo bw’oneekenneenya ensonga eno. Lwaki? Kubanga okutegeera obulungi kye kitegeeza okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri kirina kye kijja okukola ku bulamu bwo kati n’engeri gy’otunuuliramu biseera eby’omu maaso.

      Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?

      Yokaana 3:​1-​12, we wokka ‘okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri,’ we kwogererwa mu Baibuli yonna, era awalaga emboozi eyaliwo wakati wa Yesu n’omukulembeze w’eddiini ow’omu Yelusaalemi. Ennyiriri ezo ojja kuzisanga mu kasanduuko akaweereddwa era tukusaba ozisome n’obwegendereza.

      Mu kyawandiikibwa ekyo, Yesu ayogera ku bintu eby’enjawulo ebikwata ku ‘kuzaalibwa omulundi ogw’okubiri.’a Mu butuufu, ebyo Yesu bye yayogera bituyamba okufuna eky’okuddamu mu bibuuzo bino ebitaano ebikulu:

      ◼ Okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri kikulu kwenkana wa?

      ◼ Ffe twesalirawo okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri?

      ◼ Okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri kulina kigendererwa ki?

      ◼ Omuntu ayinza atya okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri?

      ◼ Kumuyamba kuba na nkolagana ki ne Katonda?

      Ka twekenneenye ebibuuzo bino kinnakimu.

      [Obugambo obuli wansi]

      a Ebigambo ‘okuzaalibwa obuggya’ bisangibwa mu 1 Peetero 1:​3, 23.

      [Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]

      “Muteekwa Okuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri”

      “Waaliwo omusajja Omufalisaayo ayitibwa Nikodemu, nga mufuzi mu Bayudaaya. Yajja eri Yesu ekiro n’amugamba nti: ‘Labbi, tumanyi nti ggwe ng’omuyigiriza wava eri Katonda, kubanga tewali muntu ayinza kukola byamagero bino by’okola okuggyako nga Katonda ali naye.’ Yesu n’amuddamu nti: ‘Mazima ddala nkugamba nti, Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa omulundi ogw’okubiri, tasobola kulaba bwakabaka bwa Katonda.’ Nikodemu n’amugamba nti: ‘Omuntu ayinza atya okuzaalibwa nga mukulu? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogw’okubiri n’azaalibwa?’ Yesu n’addamu nti: ‘Mazima ddala nkugamba nti, Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa amazzi n’omwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Ekizaaliddwa omubiri kiba mubiri, n’ekizaaliddwa omwoyo, kiba mwoyo. Teweewuunya kubanga nkugambye nti muteekwa okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. Embuyaga ekuntira gy’eyagala, era owulira okuwuuma kwayo, naye tomanya gy’eva na gy’egenda. Bwe kityo bwe kiri eri oyo yenna azaaliddwa omwoyo.’ Nikodemu n’amuddamu nti: ‘Ebintu bino biyinzika bitya?’ Yesu n’amuddamu nti: ‘Ggwe omuyigiriza wa Isiraeri n’otomanya bintu bino? Mazima ddala nkugamba nti, Bye tumanyi bye twogera, bye tulabye bye tuwaako obujulirwa, naye mmwe temukkiriza bujulirwa bwe tuwa. Bwe kiba nti mbabuulira ebintu eby’oku nsi ne mutakkiriza, munakkiriza mutya bwe nnaababuulira eby’omu ggulu?’ ”​—Yokaana 3:​1-​12

  • Okuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri—Kikulu Kwenkana Wa?
    Omunaala gw’Omukuumi—2009 | Jjulaayi 1
    • Okuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri​—Kikulu Kwenkana Wa?

      BWE yali ng’anyumya ne Nikoodemo, Yesu yakiggumiza nti kikulu nnyo okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. Kino yakiggumiza atya?

      Weetegereze engeri Yesu gye yaggumizaamu obukulu bw’okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri bwe yali ng’anyumya ne Nikoodemo. Yagamba nti: “Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa omulundi ogw’okubiri, tasobola kulaba bwakabaka bwa Katonda.” (Yokaana 3:⁠3) Ebigambo “okuggyako” ne “tasobola” biraga nti kyetaagisa omuntu okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. Okuwaayo ekyokulabirako: Singa omuntu agamba nti, “Okuggyako ng’omusana gwase, tewasobola kubaawo kitangaala,” aba ategeeza nti omusana gulina okwaka okusobola okufuna ekitangaala. Mu ngeri y’emu, Yesu yagamba nti omuntu alina okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri okusobola okulaba Obwakabaka bwa Katonda.

      Kirabika, okusobola okumalawo okubuusabuusa kwonna ku nsonga eno, Yesu yagamba nti: “Muteekwa okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri.” (Yokaana 3:⁠7) Okusinziira ku ebyo Yesu bye yayogera, kyeyoleka bulungi nti omuntu ateekwa okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri okusobola ‘okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.’​—Yokaana 3:⁠5.

      Okuva bwe kiri nti Yesu yakitwala nti kikulu nnyo okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri, Abakristaayo basaanidde okutegeera obulungi ensonga eno. Ng’ekyokulabirako, olowooza Omukristaayo ye yeesalirawo okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri?

      [Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 5]

      “Okuggyako ng’omusana gwase, tewasobola kubaawo kitangaala”

  • Okuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri—Omuntu y’Akwesalirawo?
    Omunaala gw’Omukuumi—2009 | Jjulaayi 1
    • Okuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri​—Omuntu y’Akwesalirawo?

      ANI aleetera omuntu okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri? Nga bakubiriza abantu okufuuka Abakristaayo abazaaliddwa omulundi ogw’okubiri, ababuulizi abamu bajuliza ebigambo bya Yesu bino: “Muteekwa okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri.” (Yokaana 3:⁠7) Ababuulizi ng’abo bakozesa ebigambo bino ng’ekiragiro nti, ‘Muzaalibwe omulundi ogw’okubiri!’ Bwe kityo bayigiriza nti buli muntu alina okugondera Yesu era n’abaako ky’akolawo okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. Okusinziira ku bigambo ng’ebyo, baba ng’abagamba nti omuntu ye yeesalirawo okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. Naye endowooza eyo etuukagana n’ebyo Yesu bye yagamba Nikoodemo?

      Bwe twetegereza obulungi ebigambo bya Yesu tulaba nti teyayigiriza nti omuntu ye yeesalirawo okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. Lwaki tugamba bwe tutyo? Ekigambo eky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri’ era kisobola okuvvuunulwa nga “asaanidde okufuna okuzaalibwa okuva waggulu.”a Bwe kityo, okusinziira ku nzivuunula eyo, okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri “kuva waggulu”​—kwe kugamba, ‘okuva mu ggulu,’ oba ‘okuva eri Kitaffe.’ (Yokaana 19:11; Yakobo 1:​17) N’olwekyo, okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri kuva eri Katonda.​—1 Yokaana 3:⁠9.

      Singa tujjukira amakulu g’ebigambo “okuva waggulu,” tekiba kizibu kutegeera nsonga lwaki omuntu si ye yeesalirawo okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. Lowooza ku kuzaalibwa kwo. Ggwe wakwesalirawo? Kya lwatu nedda! Wazaalibwa kubanga kitaawo ye yasalawo okukuzaala. Mu ngeri y’emu, tusobola okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri singa Katonda, Kitaffe ow’omu ggulu, asalawo okutuzaala mu ngeri eyo. (Yokaana 1:​13) Bwe kityo, omutume Peetero yagamba bw’ati: “Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo atenderezebwe, kubanga olw’obusaasizi bwe yatuzaala buggya.”​—1 Peetero 1:⁠3.

      Okuzaalibwa Omulundi Ogw’okubiri, Kiragiro?

      Abamu bayinza okwebuuza nti ‘Bwe kiba nti omuntu si ye yeesalirawo okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri, lwaki ate Yesu yalagira nti: “Muteekwa okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri”?’ Ekibuuzo ekyo kikulu nnyo. Bwe kiba nti ebigambo bya Yesu kyali kiragiro, awo aba ng’atulagira okukola ekintu kye tutasobola kukola. Ekyo Yesu tayinza kukikola. Kati olwo, makulu ki agali mu bigambo muteekwa “okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri”?

      Bwe twekenneenya obulungi engeri ebigambo ebyo gye byakozesebwamu mu lulimi olwasooka, tulaba nti tekyali kiragiro. Wabula Yesu yali ayogera bwogezi. Ku luuyi olulala, bwe yagamba nti “muteekwa okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri,” Yesu yali ayogera ekyo ekyetaagisa okusobola okuzaalibwa mu ngeri eyo, so si nti yali awa kiragiro.  Yagamba nti: “Kibeetaagisa okufuna okuzaalibwa okuva waggulu.”​—Yokaana 3:​7, okusinziira ku nkyusa eya Modern Young’s Literal Translation.

      Okusobola okutegeera obanga kino kyali kiragiro oba nga yali ayogera bwogezi ekintu ekituufu, lowooza ku kyokulabirako kino. Kuba akafaananyi ng’ekibuga kirimu amasomero ag’enjawulo. Erimu ku go nga lisomerwamu abaana enzaalwa y’omu nsi eyo abava mu kitundu ekyesudde okuva ku kibuga ekyo. Lumu, omulenzi atali nzaalwa ya mu nsi eyo agamba omukulu w’essomero eryo nti, “Nange njagala kusomera mu ssomero lyo.” Omukulu w’essomero amugamba nti, “Okusobola okuba omuyizi mu ssomero lino, olina okuba enzaalwa y’omu nsi eno.” Kya lwatu, wano omukulu w’essomero aba talagira mulenzi ono nti: “Beera mwana nzaalwa y’omu nsi eno!” Omukulu w’essomero aba amugamba ekyo ekyetaagisa okusobola okusomera mu ssomero eryo. Mu ngeri y’emu, Yesu bwe yagamba nti: “Muteekwa okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri,”  yali ayogera ku ekyo ekyetaagisa okusobola  ‘okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.’

      Ebigambo ebyo⁠—Obwakabaka bwa Katonda​—birina akakwate n’ensonga endala ekwata kuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. Bikwata ku kibuuzo ekigamba nti, Okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri kirina  kigendererwa ki? Okumanya eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kijja kutuyamba okutegeera obulungi amakulu g’okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri.

      [Obugambo obuli wansi]

      a Enkyusa za Baibuli eziwerako zivvuunula bwe zityo Yokaana 3:⁠3. Ng’ekyokulabirako, enkyusa emu eyitibwa A Literal Translation of the Bible egamba nti: “Omuntu bw’atafuna okuzaalibwa okuva waggulu, tasobola kulaba bwakabaka bwa Katonda.”

      [Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

      Kakwate ki akaliwo wakati w’okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri n’okuzaalibwa kwennyini okwa bulijjo?

  • Okuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri—Kulina Kigendererwa Ki?
    Omunaala gw’Omukuumi—2009 | Jjulaayi 1
    • Okuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri​—Kulina Kigendererwa Ki?

      BANGI balowooza nti omuntu alina kuzaalibwa mulundi gwa kubiri okusobola okufuna obulokozi obw’olubeerera. Naye, weetegereze ekyo Yesu kennyini kye yayogera ku bikwata ku kigendererwa ky’okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. Yagamba nti: “Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa omulundi ogw’okubiri, tasobola kulaba bwakabaka bwa Katonda.” (Yokaana 3:​3) Bwe kityo, omuntu kimwetaagisa okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri okusobola okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda, so si okufuna obulokozi. ‘Naye,’ abamu bayinza okwebuuza nti, ‘Ebigambo bino​—okuyingira mu Bwakabaka n’okufuna obulokozi​​—⁠tebitegeeza kufuna mpeera y’emu?’ Nedda. Okusobola okutegeera enjawulo eriwo wakati w’ebigambo bino byombi, ka tusooke twetegereze amakulu g’ebigambo “bwakabaka bwa Katonda.”

      Obwakabaka gavumenti. N’olwekyo, ebigambo ‘obwakabaka bwa Katonda’ bitegeeza “gavumenti ya Katonda.” Baibuli eyigiriza nti Yesu Kristo, “omwana w’omuntu,” ye Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda era nti Kristo alina bajja okufuga nabo. (Danyeri 7:​1, 13, 14; Matayo 26:​63, 64) Okugatta ku ekyo, okwolesebwa omutume Yokaana kwe yafuna kwalaga nti abo abagenda okufugira awamu ne Kristo bantu abaalondebwa okuva “mu buli kika n’olulimi n’abantu n’eggwanga” era bajja ‘kufuga nga bakabaka ku nsi.’ (Okubikkulirwa 5:​9, 10; 20:⁠6) Ekigambo kya Katonda era kyongera okulaga nti abo abanaafuga nga bakabaka be bakola “ekisibo ekitono” eky’abantu 144,000 “abaagulibwa mu nsi.”​—Lukka 12:32; Okubikkulirwa 14:​1, 3.

      Obwakabaka bwa Katonda bufugira wa? ‘Obwakabaka bwa Katonda’ era buyitibwa ‘obwakabaka obw’omu ggulu,’ ekiraga nti Yesu n’abo banaafuga nabo nga bakabaka bajja kufugira mu ggulu. (Lukka 8:​10; Matayo 13:11) Bwe kityo, Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya mu ggulu ekolebwa Yesu Kristo awamu n’abo abanaafugira awamu naye abaalondebwa okuva mu bantu.

      Kati olwo, kiki Yesu kye yali ategeeza bwe yagamba nti omuntu kimugwanira okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri okusobola ‘okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda’? Yali ategeeza nti omuntu kimwetaagisa okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri okusobola okufugira awamu ne Kristo mu ggulu. Kino kiba kitegeeza nti ekigendererwa ky’okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri kwe kuteekateeka ekibinja ky’abantu abatonotono abajja okufugira mu ggulu.

      Kati tukitegedde nti kikulu nnyo okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri, Katonda y’asalawo omuntu okuzaalibwa mu ngeri eyo, era nti ye kennyini y’ateekateeka ekibinja ky’abo abanaafugira mu ggulu. Naye omuntu azaalibwa atya omulundi ogw’okubiri?

      [Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 7]

      Ekigendererwa ky’okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri kwe kuteekateeka ekibinja ky’abantu abatonotono abajja okufugira mu ggulu

      [Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

      Yesu Kristo awamu n’abo abanaafugira awamu naye abaalondebwa okuva mu bantu be bakola Obwakabaka bwa Katonda

  • Okuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri—Kubaawo Kutya?
    Omunaala gw’Omukuumi—2009 | Jjulaayi 1
    • Okuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri​—Kubaawo Kutya?

      YESU bwe yali ayogera ne Nikoodemo ku bikwata ku kuzaalibwa omulundi ogw’okubiri teyakoma ku kwogera ku bukulu bwakwo, oyo akuleetawo, n’ekigendererwa kyakwo naye era yayogera ne ku ngeri gye kuyinza okubaawo. Yesu yagamba nti: “Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa amazzi n’omwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” (Yokaana 3:⁠5) Bwe kityo, ekisobozesa omuntu okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri ge mazzi n’omwoyo. Naye ebigambo “amazzi n’omwoyo” bitegeeza ki?

      “Amazzi n’Omwoyo”​​—⁠Bye Biki?

      Olw’okuba yali muyigiriza w’eddiini y’Ekiyudaaya, Nikoodemo ateekwa okuba nga yali amanyi bulungi engeri Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya gye bikozesaamu ebigambo “omwoyo gwa Katonda”​​—⁠amaanyi ga Katonda agakola agaleetera abantu okukola ebintu ebyewuunyisa. (Olubereberye 41:38; Okuva 31:3; 1 Samwiri 10:⁠6) N’olwekyo, Yesu bwe yakozesa ekigambo “omwoyo,” Nikoodemo ateekwa okuba nga yakitegeera nti yali ayogera ku mwoyo omutukuvu, amaanyi ga Katonda agakola.

      Ate Yesu yali ategeeza ki bwe yayogera ku mazzi? Lowooza ku ebyo ebyali byakabaawo nga Yesu tannayogera ne Nikoodemo era n’ebyo ebyaddirira oluvannyuma lw’okwogera naye. Bino biraga nti Yokaana Omubatiza n’abayigirizwa ba Yesu baali babatiza abantu mu mazzi. (Yokaana 1:​19, 31; 3:​22; 4:​1-3) Ekikolwa kino kyamanyika nnyo mu Yerusaalemi. N’olwekyo, Yesu bwe yayogera ku mazzi, Nikoodemo yakitegeera bulungi nti Yesu yali tayogera ku mazzi gonna okutwalira awamu, wabula yali ayogera ku mazzi ag’okubatiza.a

      Okubatizibwa “n’Omwoyo Omutukuvu”

      Bwe kiba nti “okuzaalibwa amazzi” kirina akakwate n’okubatizibwa mu mazzi, kati olwo kitegeeza ki ‘okuzaalibwa omwoyo’? Nikoodemo bwe yali nga tannayogera ne Yesu, Yokaana Omubatiza yali akyogeddeko nti omuntu tabatizibwa na mazzi gokka naye era n’omwoyo. Yagamba nti: “Nze nababatiza n’amazzi, naye ye [Yesu] ajja kubabatiza n’omwoyo omutukuvu.” (Makko 1:​7, 8) Makko omuwandiisi w’Enjiri ayogera ku kiseera okubatizibwa okw’engeri eyo lwe kwasookera ddala okubaawo. Agamba nti: “Mu nnaku ezo, Yesu n’ava e Nazaaleesi eky’e Ggaliraaya, Yokaana n’amubatiza mu Yoludaani. Amangu ddala nga yaakava mu mazzi, yalaba eggulu nga libikkuka, era n’omwoyo nga gumukkako nga gulinga ejjiba.” (Makko 1:​9, 10) Yesu bwe yannyikibwa mu mugga Yoludaani, yabatizibwa n’amazzi. Ate bwe yafuna omwoyo omutukuvu okuva mu ggulu, awo yali abatiziddwa n’omwoyo omutukuvu.

      Oluvannyuma lw’emyaka ng’esatu nga Yesu amaze okubatizibwa, yagamba abagoberezi be nti: “Mmwe mujja kubatizibwa n’omwoyo omutukuvu mu nnaku ntono.” (Ebikolwa 1:⁠5) Ekyo kyaliwo ddi?

      Ku lunaku lwa Pentekoote mu mwaka 33 E.E. [Embala Eno], abayigirizwa ba Yesu nga 120 baali bakuŋŋaanidde mu maka agamu mu Yerusaalemi. “Awo ku lunaku lw’embaga ya Pentekooti bonna baali bakuŋŋaanidde mu kifo kimu, amangu ago ne wabaawo okuwuuma okw’amaanyi okwava mu ggulu nga kulinga okw’embuyaga ey’amaanyi, ne kujjula enju yonna mwe baali batudde. Ne balaba ennimi eziringa ez’omuliro. . .  Bonna ne bajjula omwoyo omutukuvu.” (Ebikolwa 2:​1-4) Ku lunaku olwo lwennyini, abantu abalala abaali mu Yelusaalemi bakubirizibwa okubatizibwa mu mazzi. Omutume Peetero yagamba ekibiina ky’abantu nti: “Mwenenye, era buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musobole okusonyiyibwa ebibi byammwe, era mujja kufuna ekirabo eky’omwoyo omutukuvu.” Kiki kye baakola? “Abo abakkiriza ebigambo bye ne babatizibwa, era ku lunaku olwo abantu ng’enkumi ssatu ne beeyongerako.”​—Ebikolwa 2:​38, 41.

      Okubatizibwa okw’Engeri Ebbiri

      Okubatizibwa kuno kulaga ki ku kuzaalibwa omulundi ogw’okubiri? Kulaga nti omuntu okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri aba alina kubatizibwa mu ngeri bbiri. Weetegereze nti Yesu yasooka kubatizibwa na mazzi, oluvannyuma n’alyoka afuna omwoyo omutukuvu. Mu ngeri y’emu, abayigirizwa ab’omu kyasa ekyasooka, baasooka kubatizibwa n’amazzi (abamu nga babatizibwa Yokaana omubatiza ), oluvannyuma ne balyoka bafuna omwoyo omutukuvu. (Yokaana 1:​26-36) Era n’abayigirizwa abapya 3,000 baasooka kubatizibwa mu mazzi oluvannyuma ne balyoka bafuna omwoyo omutukuvu.

      Okusinziira ku kubatizibwa okwaliwo mu Pentekoote 33 E.E., omuntu ayinza atya okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri leero? Asobola okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri nga bwe kyali eri abatume ba Yesu n’abayigirizwa be ab’omu kyasa ekyasooka. Okusookera ddala, omuntu yeenenya ebibi bye, n’akyusa empisa ze embi, ne yeewaayo okusinza Yakuwa n’okumuweereza era ne yeewaayo mu lujjudde ng’abatizibwa. Katonda bw’amulonda okufuga nga kabaka mu Bwakabaka bwe, amufukako omwoyo omutukuvu. Okubatizibwa okusooka (okubatizibwa n’amazzi) omuntu y’akwesalirawo; okubatizibwa okw’okubiri (okubatizibwa n’omwoyo) Katonda y’akusalawo. Omuntu bw’abatizibwa mu ngeri zino zombi, aba azaaliddwa omulundi ogw’okubiri.

      Kati olwo Yesu bwe yali ayogera ne Nikoodemo, lwaki yakozesa ebigambo ‘okuzaalibwa amazzi n’omwoyo’? Kino yakyogera okusobola okukiggumiza nti abo abazaalibwa amazzi n’omwoyo baba balina okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe. Ekitundu ekiddako kyogera ku nsonga eyo ekwata ku kuzaalibwa omulundi ogw’okubiri.

      [Obugambo obuli wansi]

      a Mu ngeri y’emu, omutume Peetero yayogera bw’ati ku abo abaali bagenda okubatizibwa: “Waliwo ayinza okugaana abantu bano okubatizibwa n’amazzi?”​—Ebikolwa 10:⁠47.

      [Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

      Yokaana yabatiza n’amazzi Abaisiraeri abaali beenenyeza

  • Okuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri—Kutuukiriza Ki?
    Omunaala gw’Omukuumi—2009 | Jjulaayi 1
    • Okuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri​—Kutuukiriza Ki?

      LWAKI Yesu yakozesa ebigambo ‘okuzaalibwa omwoyo’ bwe yali ayogera ku kubatizibwa n’omwoyo omutukuvu? (Yokaana 3:⁠5) Ekigambo “okuzaalibwa” bwe kikozesebwa mu ngeri ey’akabonero kitegeeza “entandikwa.” Bwe kityo, ebigambo ‘okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri’ biraga “entandikwa empya.” N’olwekyo, ebigambo bino eby’akabonero “okuzaalibwa” ne “okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri” biraga nti wabaawo enkolagana empya wakati wa Katonda n’abo ababa babatiziddwa n’omwoyo omutukuvu. Enkolagana eyo ejjawo etya?

      Ng’annyonnyola engeri Katonda gy’ateekateekamu abo abanaafugira mu ggulu, omutume Pawulo yakozesa ekyokulabirako ekikwata ku maka. Yawandiikira Abakristaayo ab’omu kiseera kye nti bandibadde ‘bafuulibwa abaana’ era nti Katonda yandibadde abayisa “ng’abaana.” (Abaggalatiya 4:5; Abaebbulaniya 12:⁠7) Okusobola okulaba engeri ekyokulabirako ekikwata ku ngeri omuntu gy’afuukamu omwana gye kiyamba omuntu okutegeera enkyukakyuka ejjawo ng’abatiziddwa n’omwoyo omutukuvu, ddamu weetegereze ekyokulabirako ekikwata ku mulenzi ayagala okuba omuyizi mu ssomero erisomerwamu abaana enzaalwa y’omu nsi emu.

      Enkyukakyuka Ezijjawo ng’Omuntu Afuuliddwa Omwana

      Mu kyokulabirako ekyo, omwana tasobola kusomera mu ssomero lya kisulo kubanga si mwana nzaalwa ya mu nsi eyo. Kati, kuba akafaananyi ng’olumu wazeewo enkyukakyuka ey’amaanyi. Wabaawo omuzadde enzaalwa y’omu nsi eyo afuula omulenzi oyo omwana we. Kino kikola ki ku mulenzi oyo? Olw’okuba waliwo omuzadde enzaalwa y’omu nsi eyo aba amufudde omwana we, kati naye ayinza okusomera mu ssomero eryo okufaananako abaana enzaalwa y’omu nsi eyo. Okufuulibwa omwana kimusobozesezza okutuuka ku ekyo ky’atandisobodde kutuukako.

      Ekyokulabirako kino kituyamba okutegeera ekyo ekibaawo eri abo abazaalibwa omulundi ogw’okubiri. Lowooza ku kufaanagana kuno okuliwo. Omulenzi ayogeddwako mu kyokulabirako tayinza kukkirizibwa kusomera mu ssomero eryo okuggyako ng’atuukiriza ebisaanyizo ebimufuula omwana enzaalwa y’omu nsi eyo. Ekyo tayinza kukikola ku lulwe. Mu ngeri y’emu, waliwo abantu abamu abajja okufugira mu Bwakabaka bwa Katonda oba mu gavumenti ey’omu ggulu, naye nga kino tekijja kusoboka okuggyako nga ‘bazaaliddwa omulundi ogw’okubiri.’ Naye, ku lwabwe tebasobola kuzaalibwa mulundi gwa kubiri kubanga kino Katonda y’akisalawo.

      Kiki ekyakyusa embeera y’omulenzi oyo? Kwe kuba nti waliwo eyamufuula omwana we. Oluvannyuma lw’okufuulibwa omwana enzaalwa y’omu nsi eyo, era yasigala muntu y’omu. Wadde kiri kityo, bwe yamala okufuulibwa omwana enzaalwa y’omu nsi eyo, embeera ye yakyuka. Mazima ddala, tusobola okugamba nti yazaalibwa omulundi ogw’okubiri. Yafuuka mwana era kino kyamusobozesa okusomera mu ssomero eryo era n’okubeera omu ku b’omu maka g’omuzadde eyamufuula omwana we.

      Mu ngeri y’emu, Yakuwa yakyusa embeera y’abantu abamu abatatuukiridde ng’abafuula baana be. Omutume Pawulo, eyali omu ku bantu bano, yawandiikira bw’ati bakkiriza banne: “Mwaweebwa omwoyo ogw’okubafuula abaana, era olw’omwoyo ogwo twogerera waggulu nti ‘Abba, Kitaffe!’ Omwoyo gwennyini guwa obujulirwa n’omwoyo gwaffe nti tuli baana ba katonda.” (Abaruumi 8:​15, 16) Yee, Abakristaayo abo bwe baafuulibwa abaana, bafuuka abamu ku ab’omu nnyumba ya Katonda, oba “baana ba Katonda.”​—1 Yokaana 3:1; 2 Abakkolinso 6:​18.

      Kya lwatu, okufuulibwa abaana ba Katonda tekyabafuula bantu abatuukiridde. (1 Yokaana 1:⁠8) Wadde kiri kityo, ng’omutume Pawulo bwe yagamba, bwe baamala okufuulibwa abaana ba Katonda embeera yaabwe yakyuka. Era mu kiseera kye kimu, omwoyo gwa Katonda gubaleetera okuba abakakafu nti bajja kuba ne Kristo mu ggulu. (1 Yokaana 3:⁠2) Obukakafu buno obubaweebwa omwoyo omutukuvu bubaleetera okutunuulira obulamu mu ngeri ey’enjawulo. (2 Abakkolinso 1:​21, 22) Mazima ddala, baazaalibwa omulundi ogw’okubiri.

      Baibuli eyogera bw’eti ku abo abaafuulibwa abaana ba Katonda: “Baliba bakabona ba Katonda era ba Kristo, era balifugira wamu naye nga bakabaka okumala emyaka lukumi.” (Okubikkulirwa 20:⁠6) Nga bali wamu ne Kristo, abo abaafuulibwa abaana ba Katonda bajja kuba bakabaka mu Bwakabaka bwa Katonda, oba mu gavumenti ey’omu ggulu. Omutume Peetero yawandiikira bakkiriza banne ng’abagamba nti bandifunye ‘obusika obutavunda, obulongoofu era obutaggwaawo, obubaterekeddwa mu ggulu.’ (1 Peetero 1:​3, 4) Mazima ddala, obusika obwo bwa muwendo nnyo!

      Wadde kiri kityo, ensonga eno ekwata ku bufuzi ereetawo ekibuuzo. Bwe kiba nti abo abazaalibwa omulundi ogw’okubiri bajja kufuga nga bakabaka mu ggulu, kati olwo baani be bagenda okufuga? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

      [Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

      Kiki omutume Pawulo kye yayogera ku kufuulibwa abaana ba Katonda?

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share