Oluyimba 82
Koppa Obuwombeefu bwa Kristo
Printed Edition
1. Kristo yali mwawufu nnyo ku bonna;
Tabeerangako na malala gonna.
Yaweebwa omulimu omukulu;
Naye yasigala nga muwombeefu.
2. Abazitoowereddwa abayita
Mujje mwetikke ekikoligo kye,
Mulyoke mufune ekiwummulo.
Kristo muteefu era wa kisa nnyo.
3. Yagamba ‘muli ba luganda mmwenna.’
Tonoonyanga bukulu; ggwe weereza.
Abawombeefu Katonda b’asiima;
Ensi eno bajja kugisikira.
(Era laba Mat. 5:5; 23:8; Nge. 3:34; Bar. 12:16.)