Tukwebaza, Yakuwa
Printed Edition
1. Yakuwa, tukwebaza, buli lukya,
Olw’okutuwa ekitangaala.
Tukwebaza enkizo y’okusaba,
Buli kimu tukikwanjulira.
2. Yakuwa, tukwebaza, Omwana wo,
Oyo eyawangula ensi eno.
Tukwebaza lw’okutuluŋŋamyanga,
Ne tutuukiriza bye tweyama.
3. Tukwebaza, Katonda waffe, ’nkizo
Ey’okubuulira erinnya lyo.
Twebaza nti ensi onoogitereeza,
Gijje ’mikisa gy’obwakabaka.
(Era laba Zab. 50:14; 95:2; 147:7; Bak. 3:15.)