OLUYIMBA 142
Okunywereza Ddala Essuubi Lyaffe
Printed Edition
	- 1. ’Bantu baludde nga bali mu nzikiza. - Batawaana ng’abagoba empewo. - Kyeraze lwatu nti boonoonyi bonna; - Alokola banne taliiwo. - (CHORUS) - ’Bwakabaka bwa Katonda bujja. - Omwana we ajja kutununula. - Ebintu ebibi binaavaawo; - ’Ssuubi lino ffe lye tunywereddeko. 
- 2. Luli kumpi olunaku lwa Katonda, - Bakome okugamba nti ‘Ng’aludde!’ - Anaalokol’e bitonde ’bisinda. - Ka tumutendereze ffenna. - (CHORUS) - ’Bwakabaka bwa Katonda bujja. - Omwana we ajja kutununula. - Ebintu ebibi binaavaawo; - ’Ssuubi lino ffe lye tunywereddeko. 
(Laba ne Zab. 27:14; Mub. 1:14; Yow. 2:1; Kaab. 1:2, 3; Bar. 8:22.)